Tufuna Amaanyi Okuziyiza Ebikemo n’Okwaŋŋanga Ebintu Ebitumalamu Amaanyi
“Mulifuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gulibakkako.”—BIK. 1:8.
1, 2. Buyambi ki Yesu bwe yasuubiza abayigirizwa be, era lwaki bandibwetaaze?
YESU yali akimanyi nti abayigirizwa be tebandisobodde kukwata byonna bye yali abalagidde mu maanyi gaabwe. Okusinziira ku bunene bw’omulimu gw’okubuulira gwe baalina okukola, ku maanyi g’abalabe baabwe, ne ku bunafu bw’omubiri gwabwe, kyeyoleka lwatu nti baali beetaga amaanyi agasinga ku g’obuntu. Bwe kityo, bwe yali tannalinnya mu ggulu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mulifuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gulibakkako, era muliba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.”—Bik. 1:8.
2 Ekisuubizo ekyo kyatandika okutuukirizibwa ku Pentekooti 33 E.E. omwoyo omutukuvu bwe gwawa abagoberezi ba Yesu Kristo amaanyi ne basobola okujjuza Yerusaalemi okuyigiriza kwabwe. Tewaliwo kintu kyonna kyali kisobola kubaziyiza. (Bik. 4:20) Abayigirizwa ba Yesu abeesigwa, nga naffe mw’otutwalidde, bandibadde beetaaga nnyo amaanyi agava eri Katonda, “ennaku zonna okutuusa ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.”—Mat. 28:20.
3. Amaanyi agava eri Yakuwa gatuyamba gatya?
3 Yesu yasuubiza abayigirizwa be nti ‘bandifunye amaanyi omwoyo omutukuvu bwe gwandibasseeko.’ Amaanyi Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna Yakuwa g’awa abaweereza be gatuyamba okutuukiriza okwewaayo kwaffe okw’Ekikristaayo, era bwe kiba kyetaagisa, gatuyamba okwaŋŋanga embeera yonna gye tuyinza okwolekagana nayo.—Soma Mikka 3:8; Abakkolosaayi 1:29.
4. Biki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino, era lwaki?
4 Amaanyi agatuweebwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu geeyoleka gatya? Omwoyo omutukuvu guyinza kutuleetera kweyisa tutya mu mbeera ezitali zimu? Bwe tuba tufuba okuweereza Katonda n’obwesigwa, emirundi egisinga twolekagana n’ebizibu ebireetebwa Sitaani, enteekateeka ye ey’ebintu, oba obutali butuukirivu bwaffe. Twetaaga okwaŋŋanga ebizibu ebyo okusobola okusigala nga tuli beesigwa ng’Abakristaayo, okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro obutayosa, n’okukuuma enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ka tulabe engeri omwoyo omutukuvu gye gutuyamba okufuna amaanyi okuziyiza ebikemo n’engeri gye gutuyamba nga tukooye era nga tuweddemu amaanyi.
Gutuyamba Okuziyiza Ebikemo
5. Okusaba kutuyamba kutya okufuna amaanyi?
5 Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Totuleka kukemebwa, naye tulokole okuva eri omubi.” (Mat. 6:13) Yakuwa tasobola kwabulira baweereza be abeesigwa abamusaba okubalokola okuva eri omubi. Ku mulundi omulala, Yesu yagamba nti ‘Kitaffe ow’omu ggulu ajja kuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ (Luk. 11:13) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asuubiza okutuwa omwoyo gwe okutuyamba okukola ekituufu! Kino tekitegeeza nti Yakuwa tajja kuleka kukemebwa kututuukako. (1 Kol. 10:13) Naye bwe tuba tukemebwa, ekyo kye kiseera mwe twetaagira okusaba ennyo.—Mat. 26:42.
6. Yesu yakozesa ki okuddamu Sitaani ng’amukema?
6 Omulyolyomi bwe yali amukema, Yesu yamuddamu ng’ajuliza ebyawandiikibwa. Yesu yakiraga nti yali amanyi bulungi Ekigambo kya Katonda bwe yagamba nti: “Kyawandiikibwa nti . . . Era kyawandiikibwa nti . . . Genda Sitaani! Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.’” Okwagala Yesu kwe yalina eri Yakuwa n’eri Ekigambo Kye kwamukubiriza okugaana okutwalirizibwa Omukemi. (Mat. 4:1-10) Yesu bwe yaziyiza ebikemo ebyo byonna, Sitaani yamuleka.
7. Baibuli etuyamba etya okuziyiza ebikemo?
7 Bwe kiba nti Yesu yeesigama ku Byawandiikibwa okusobola okuziyiza Omulyolyomi, ffe tetwandisinzeewo nnyo! Mu butuufu, okusobola okuziyiza Omulyolyomi awamu n’abo b’akozesa, tulina okusooka okutegeera obulungi emitindo gya Katonda era n’okuba abamalirivu okuginywererako. Abantu bangi basazeewo okugoberera emitindo gya Baibuli bwe bayize Ebyawandiikibwa era ne basiima amagezi ga Katonda n’obutuukirivu bwe. Mu butuufu, “ekigambo kya Katonda” kirina amaanyi agasobola okutegeera “ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” (Beb. 4:12) Omuntu gy’akoma okusoma n’okufumiitiriza ku Byawandiikibwa, gy’akoma okufuna ‘amagezi mu mazima ga Yakuwa.’ (Dan. 9:13) N’olw’ensonga eyo, kikulu nnyo okufumiitiriza ku byawandiikibwa naddala ebyo ebyogera ku bunafu bwe tuba nabwo.
8. Tuyinza tutya okufuna omwoyo omutukuvu?
8 Ng’oggyeko okumanya Ebyawandiikibwa, Yesu yasobola okuziyiza ebikemo olw’okuba yali “ajjudde omwoyo omutukuvu.” (Luk. 4:1) Mu ngeri y’emu, naffe okusobola okufuna amaanyi, twetaaga okusemberera Yakuwa nga tukozesa ebintu byonna by’atuwadde okutuyamba okujjula omwoyo gwe omutukuvu. (Yak. 4:7, 8) Muno mwe muli okwesomesa Baibuli, okusaba, n’okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe. Era bangi balabye emiganyulo egiri mu kwenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo, kubanga ekyo kibayamba okukuumira ebirowoozo byabwe ku bintu ebizimba.
9, 10. (a) Bikemo ki Abakristaayo bye bayinza okwolekagana nabyo? (b) Okufumiitiriza n’okusaba biyinza bitya okutuyamba okuziyiza ebikemo ne bwe tuba nga tukooye?
9 Bikemo ki by’olina okuziyiza? Wali okemeddwako okuzannyirira n’omuntu atali munno mu bufumbo? Bw’oba nga toli mufumbo, wali osikiriziddwako okwagala okutandika okwogerezeganya n’omuntu atali mukkiriza? Abakristaayo bwe baba balaba ttivi oba nga bakozesa Internet, bayinza okusikirizibwa okulaba ebintu ebibi. Ekyo kyali kikutuuseeko, bwe kiba kityo, wakola ki? Kiba kya magezi okufumiitiriza ku ngeri ekikolwa ekimu ekibi gye kiyinza okukutuusa ku kirala, oluvannyuma ne kikuviiramu okukola ekibi eky’amaanyi. (Yak. 1:14, 15) Lowooza ku bulumi Yakuwa, ab’oluganda mu kibiina, awamu n’abo b’obeera nabo mu maka bwe bayinza okuwulira singa okola ekibi eky’amaanyi. Ku luuyi olulala, okutambulira ku mitindo gya Katonda, kijja kukuyamba okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo. (Soma Zabbuli 119:37; Engero 22:3.) Buli lw’oyolekagana n’ebikemo ng’ebyo, fuba okusaba Katonda akuwe amaanyi okubiziyiza.
10 Waliwo ekintu ekirala kye tulina okujjukira ku bikemo Omulyolyomi bye yaleetera Yesu. Sitaani we yajjira okumukema, Yesu yali amaze ennaku 40 mu ddungu ng’asiiba. Tewali kubuusabuusa nti Omulyolyomi yalaba nti kano ke ‘kakisa’ ke yali afunye okugezesa obugolokofu bwa Yesu. (Luk. 4:13) Mu ngeri y’emu, Sitaani akozesa akakisa konna k’afuna okugezesa obugolokofu bwaffe. Bwe kityo, tulina okufuba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. Sitaani atera okukema omuntu mu kiseera w’alabira ng’anafuye nnyo. N’olwekyo, buli lwe tuwulira nga tukooye oba nga tuweddemu amaanyi, tusaanidde okufuba ennyo okusaba Yakuwa atuyambe era atuwe omwoyo gwe omutukuvu.—2 Kol. 12:8-10.
Gutuyamba nga Tukooye era nga Tuweddemu Amaanyi
11, 12. (a) Lwaki bangi leero bawulira nga baweddemu amaanyi? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba nga tuweddemu amaanyi?
11 Ng’abantu abatatuukiridde, tutera okuwulira nga tuweddemu amaanyi. Kino kiri kityo olw’okuba waliwo ebintu bingi leero ebitumalamu amaanyi. Tuli mu kiseera ekikyasinzeeyo okuba ekizibu mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu. (2 Tim. 3:1-5) Nga Kalumagedoni agenda asembera, ebizibu by’eby’enfuna, awamu n’ebirala bigenda byeyongera. N’olwekyo tekyewuunyisa nti bangi bakisanga nga kizibu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okulabirira ab’omu maka gaabwe. Bawulira nga baweddemu amaanyi, nga bakoowu, era nga bazitoowereddwa. Bwe kiba nti naawe bw’otyo bw’owulira, kiki ekinaakuyamba okuddamu amaanyi?
12 Kijjukire nti Yesu yasuubiza okuwa abayigirizwa be omuyambi—omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Soma Yokaana 14:16, 17.) Gano ge maanyi agasingayo mu butonde bwonna. Ng’akozesa amaanyi gano, Yakuwa asobola “okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba” ng’atuwa amaanyi ageetaagisa okugumira okugezesebwa kwonna. (Bef. 3:20) Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, omwoyo ogwo, gutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo,” wadde nga “tunyigirizibwa mu buli ngeri.” (2 Kol. 4:7, 8) Yakuwa tasuubiza kuggyawo bizibu, naye atukakasa nti ajja kukozesa omwoyo gwe okutuyamba okwolekagana nabyo.—Baf. 4:13.
13. (a) Omuvubuka omu afunye atya amaanyi okwaŋŋanga embeera enzibu? (b) Olinayo ekyokulabirako ekifaananako ng’ekyo ky’omanyi?
13 Lowooza ku Stephanie, mwannyinaffe ow’emyaka 19 aweereza nga payoniya owa bulijjo. Ku myaka 12, yasannyalala era ne kizuulwa nti yalina kkansa w’oku bwongo. Okuva olwo, yaakalongoosebwa emirundi ebiri, n’ajjanjabibwako ng’akalirirwa, era n’addamu okusannyalala emirundi emirala ebiri, bw’atyo n’aba nga takyasobola kutambula bulungi na kulaba bulungi. Stephanie afuba okukozesa amaanyi amatono g’alina mu bintu by’atwala ng’ebikulu, gamba ng’enkuŋŋaana n’obuweereza bw’ennimiro. Akirabye nti omwoyo gwa Yakuwa gumuyambye mu ngeri ezitali zimu okugumira embeera eyo. Ebyokulabirako bya bakkiriza banne ebiri mu bitabo byaffe bimuyamba nnyo buli lw’awulira ng’aweddemu amaanyi. Ab’oluganda bamuzzaamu nnyo amaanyi nga bamuwandiikira amabaluwa oba nga banyumyako naye ebintu ebizimba ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde. N’abantu Stephanie b’ayigiriza Baibuli bakiraga nti basiima ebyo by’abayigiriza nga bagenda ewuwe n’abayigiririza eyo. Bino byonna bireetera, Stephanie okusiima ennyo Yakuwa. Ekyawandiikibwa ky’asinga okwagala ye Zabbuli 41:3, ky’agamba nti kituukiridde ku ye.
14. Kiki kye tulina okwewala bwe tuba tuwulira nga tuweddemu amaanyi, era lwaki?
14 Bwe tuba tukooye oba nga tulina ebizibu, tetulina kulowooza nti okusobola okugonjoola ebizibu ebyo tulina kukendeeza ku biseera bye tumala ku bintu eby’omwoyo. Ekyo kiba kya kabi nnyo. Lwaki? Kubanga ebintu gamba ng’okwesomesa n’okusoma Baibuli ng’amaka, okubuulira, n’okubaawo mu nkuŋŋaana bye bituyamba okufuna omwoyo omutukuvu ogutuzzaamu amaanyi. Ebintu eby’omwoyo bituyamba okufuna ekiwummulo. (Soma Matayo 11:28, 29.) Tekyewuunyisa nti ab’oluganda bangi batera okujja mu nkuŋŋaana nga bakoowu naye we baddirayo eka, baba bawulira nga bazziddwamu nnyo amaanyi!
15. (a) Yakuwa asuubiza Abakristaayo obutasanga buzibu bwonna mu bulamu? Nnyonnyola ng’okozesa Ebyawandiikibwa. (b) Kiki Katonda ky’atusuubiza, era ekyo kireetawo kibuuzo ki?
15 Naye kino tekitegeeza nti abayigirizwa ba Kristo tebasanga buzibu bwonna mu bulamu. Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okusigala ng’oli Mukristaayo omwesigwa. (Mat. 16:24-26; Luk. 13:24) Wadde kiri kityo, Yakuwa asobola okuwa abo abakooye amaanyi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. Nnabbi Isaaya yawandiika nti: “Abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.” (Is. 40:29-31) Bwe kiba kityo, kati tusaanidde okwebuuza, Kiki ekiyinza okutuleetera okuwulira nti ebintu eby’omwoyo bitukooya?
16. Tuyinza kukola ki okusobola okwewala ebintu ebiyinza okutuleetera okukoowa oba okuggwaamu amaanyi?
16 Ekigambo kya Yakuwa kitukubiriza “okumanya ebintu ebisinga obukulu.” (Baf. 1:10) Ng’ageraageranya obulamu bw’Ekikristaayo ku mbiro empanvu, omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okugamba nti: “Ka tweyambuleko buli ekizitowa kyonna . . . , era ka tudduke n’obugumiikiriza embiro ez’empaka ezituteereddwawo.” (Beb. 12:1) Wano omutume oyo yali ategeeza nti tulina okwewala okwenoonyeza ebintu ebiteetaagisa n’okweteekako obuzito obuteetaagisa, ekiyinza okutuleetera okukoowa. Kiyinzika okuba nti abamu ku ffe tulina eby’okukola bingi naye ng’ate twagala okwongerako n’ebirala. Bwe kiba nti otera okuwulira ng’okooye era ng’eby’okukola bikuyitiriddeko, kiyinza okuba eky’amagezi okuddamu okwekenneenya amaanyi n’ebiseera by’omalira ku mulimu gwo, mu kutambula okugenda okwesanyusaamu, ne ku mizannyo. Okutegeera obusobozi bwaffe we bukoma kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okukendeeza ku maanyi n’ebiseera bye tumalira ku bintu ebiteetaagisa.
17. Lwaki abamu bayinza okuwulira nga baweddemu amaanyi, naye Yakuwa atukakasa ki?
17 Kiyinzika okuba nti abamu ku ffe tuweddemu amaanyi olw’okuba tuwulira nti enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu eruddewo okutuuka. (Nge. 13:12) Naye abo bonna abawulira batyo, basobola okuddamu amaanyi bwe balowooza ku bigambo ebiri mu Kaabakuuku 2:3 awagamba nti: “Okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.” Yakuwa atukakasa nti enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu ejja kujjira mu kiseera kye ekituufu!
18. (a) Bisuubizo ki ebikuzzaamu amaanyi? (b) Ekitundu ekiddako kinaatuganyula kitya?
18 Tewali kubuusabuusa nti abaweereza ba Yakuwa bonna beesunga nnyo ekiseera obukoowu n’okuggwamu amaanyi lwe biriba nga biweddewo, ng’abantu bonna ku nsi bali mu nnaku ‘ez’obuto bwabwe.’ (Yob. 33:25) Ne mu kiseera kino, omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okuba abanywevu mu ekyo kye tuli munda singa twenyigira mu bintu eby’omwoyo ebizzaamu amaanyi. (2 Kol. 4:16; Bef. 3:16) Tokkiriza bukoowu kukuleetera kufiirwa mikisa egyo egy’olubeerera. Buli kigezo—ka kibe nga kiva ku kukemebwa, ku bukoowu, oba ku kuggwaamu maanyi—kijja kuggwaawo, bwe kitaggwaawo kati, olwo nno kijja kuggwaawo mu nsi ya Katonda empya. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri omwoyo omutukuvu gye guwa Abakristaayo amaanyi okusobola okugumira okuyigganyizibwa, okupikirizibwa, n’ebizibu ebirala bingi.
Wandizzeemu Otya?
• Okusoma Baibuli kutuyamba kutya okufuna amaanyi?
• Okusaba n’okufumiitiriza bituyamba bitya okufuna amaanyi?
• Oyinza otya okwewala ebintu ebiyinza okukuleetera okuggwaamu amaanyi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zituzzaamu amaanyi mu by’omwoyo