Okuva mu Buddu Edda ne mu Kiseera Kino
Blessinga yaggibwa mu nsi ye n’atwalibwa e Bulaaya nga bamugamba nti yali agenda kukola mu saaluuni. Naye abaamutwalayo baali bamututte kukola bwamalaaya, era bwe yagezaako okugaana baamukuba era ne batiisatiisa n’okutuusa akabi ku bantu be.
Omukyala eyali atutte Blessing e Bulaaya yali amusuubira okukola wakati wa ddoola 200 ne 300 buli lunaku okusobola okusasula ddoola ezisukka mu 40,000 ze yali asaasaanyizza okumutwala e Bulaaya. Blessing agamba nti: “Nnayagala okutoloka nveeyo, naye nnali ntya nti abantu bange bandituusiddwako akabi. Nnali simanyi kya kukola.” Ekyatuuka ku Blessing kye kituuka ku bantu ng’obukadde buna abakozesebwa mu bwamalaaya mu nsi yonna.
Emyaka nga 4,000 egiyise, baganda b’omuvubuka ayitibwa Yusufu baamutunda n’atwalibwa e Misiri n’afuuka omuddu w’omukungu wa kabaka wa Misiri. Naye obutafaananako Blessing, mu kusooka mukama wa Yusufu teyamuyisa bubi. Kyokka Yusufu bwe yagaana okwegatta ne muka mukama we, omukazi oyo yamuwaayiriza nti yali agezaako okumukwata. Ekyo kyaviirako Yusufu okusibibwa mu kkomera.—Olubereberye 39:1-20; Zabbuli 105:17, 18.
Yusufu yali muddu mu biseera bya dda nnyo, naye Blessing abadde muddu mu kiseera kino. Kyokka bombi kye bafaananya kwe kuba nti baggibwa mu nsi yaabwe ne batundibwa mu nsi endala.
ENGERI ENTALO GYE ZAALEETERA OBUDDU OKWEYONGERA
Amawanga okusinga gaafunanga abaddu mu biseera by’entalo. Kigambibwa nti Kabaka wa Misiri eyali ayitibwa Thutmose III yawamba abantu 90,000 ng’agenze okulwana mu nsi ya Kanani. Abamisiri baakozesa abantu abo ng’abaddu mu birombe, okuzimba ebizimbe mwe baasinzizanga, n’okusima emikutu gy’amazzi.
Mu kiseera ky’obufuzi bw’Abaruumi, abaddu bangi baafunibwanga mu biseera by’entalo, era oluusi Abaruumi baalwananga entalo olw’okwagala okufuna abaddu. Kigambibwa nti mu kyasa ekyasooka, kumpi kimu kya kubiri eky’abantu abaali babeera mu kibuga Rooma baali baddu. Abamisiri n’Abaruumi baayisanga bubi nnyo abaddu. Kigambibwa nti abaddu abaakozesebwanga mu birombe by’Abaruumi tebaawangalanga kusukka myaka 30.
Emyaka bwe gyagenda giyitawo, abantu abaatwalibwanga mu buddu beeyongera obungi. Okuva mu kyasa eky’ekkumi n’omukaaga okutuuka mu kyasa eky’ekkumi n’omwenda, okugula abaddu mu Afirika okubatwala mu Amerika ye yali bizineesi esinga okuvaamu ssente. Okusinziira ku lipoota y’ekitongole ky’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekikola ku by’enjigiriza n’embeera z’abantu (UNESCO), abasajja, abakazi, n’abaana abali wakati w’obukadde 20 n’obukadde 30 be baawambibwa ne batundibwa.’ Kigambibwa nti abantu nkumi na nkumi baafiira mu guyanja Atlantic nga basaabazibwa okutwalibwa mu buddu. Olaudah Equiano, omu ku abo baawonawo, yagamba nti: “Okulaba abakazi abaaziirana n’abantu abafa kyatukuba entiisa etalojjeka.”
Eky’ennaku, ne leero abantu bangi bakyakozesebwa ng’abaddu. Okusinziira ku kitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abakozi mu nsi yonna (International Labour Organization), abasajja, abakazi, n’abaana ng’obukadde 21 bakozesebwa ng’abaddu. Abamu basasulwa obusente butono nnyo ate abalala tebasasulwa. Abantu abakola ng’abaddu mu kiseera kino bakola mu birombe, mu makolero g’engoye, mu kukuba amatoffaali, mu bwamalaaya, ne mu maka g’abantu. Obuddu obw’engeri eno bweyongera bweyongezi, wadde nga tebukkirizibwa mu mateeka.
OKUVA MU BUDDU
Olw’okuba abaddu baali bayisibwa bubi nnyo, bangi baasalawo okwerwanako. Mu kyasa ekyasooka, omusajja ayitibwa Spartacus yakulembera abaddu 100,000 ne balwanyisa Abaruumi nga baagala okuva mu buddu, naye tebyabagendera bulungi. Mu Kyasa eky’ekkumi n’omunaana, abaddu mu Hispaniola nabo beegugunga ne balwana olutalo olwamala emyaka 13, era olutalo olwo lwabaviirako okufuna obwetwaze mu 1804. Olutalo olwo lwava ku kuba nti baali bayisibwa bubi nnyo ku masamba g’ebikajjo gye baakolanga.
Okuva mu buddu okukyasinze okuba okw’ebyafaayo kwe kw’Abayisirayiri bwe baave e Misiri. Eggwanga ddamba ery’abantu ng’obukadde busatu be baanunulibwa mu buddu. Embeera gye baalimu yali mbi nnyo. Bayibuli egamba nti Abamisiri baali “babakozesa buli mulimu ogw’obuddu.” (Okuva 1:11-14) Kabaka wa Misiri yatuuka n’okuyisa etteeka abaana b’Abayisirayiri battibwe.—Okuva 1:8-22.
Ekirala ekifuula okununulibwa kw’Abayisirayiri okuba okw’ebyafaayo kwe kuba nti Katonda kennyini ye yabanunula. Katonda yagamba Musa nti: “Mmanyi bulungi obulumi bwe balimu. Ŋŋenda kukka mbanunule.” (Okuva 3:7, 8) N’okutuusa leero, Abayudaaya bakuza embaga ey’Okuyitako okujjukira olunaku bajjajjaabwe lwe baava mu buddu e Misiri.—Okuva 12:14.
OBUDDU BUJJA KUKOMA
Bayibuli egamba nti: “Yakuwa Katonda waffe takola bitali bya bwenkanya,” era takyuka. (2 Ebyomumirembe 19:7; Malaki 3:6) Katonda yatuma Omwana we Yesu ‘okulangirira nti abawambe bajja kuteebwa, n’okusumulula abo abanyigirizibwa.’ (Lukka 4:18) Ekyo kitegeeza nti Yesu yali wa kununula abantu mu buddu obw’engeri zonna? Nedda. Yesu yatumibwa okununula abantu mu buddu bw’ekibi n’okufa. Yagamba nti: “Amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:32) Ne leero, ebyo Yesu bye yayigiriza biyamba abantu okufuuka ab’eddembe.—Laba ebiri wansi w’omutwe, “Okununulibwa mu Buddu obw’Engeri Endala.”
Katonda yayamba Yusufu ne Blessing okuva mu buddu, naye buli omu yamuyamba mu ngeri ya njawulo. Osobola okusoma ebikwata ku Yusufu mu Olubereberye essuula 39 okutuuka 41. Engeri Blessing gye yava mu buddu nayo yeewuunyisa.
Bwe yagobebwa mu nsi gye baali baamutwala, yagenda mu Sipeyini. Ng’ali eyo, Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okumuyigiriza Bayibuli. Yafuna omulimu, era ne yeegayirira omukyala eyali mukama we amukendeereze ku ssente ze yali amubanja. Lumu omukyala oyo yakubira Blessing essimu n’amugamba nti ebbanja yali alimusonyiye era n’amusaba amusonyiwe. Kiki ekyamuleetera okukola ekyo? Omukyala oyo naye Abajulirwa ba Yakuwa baali batandise okumuyigiriza Bayibuli. Blessing agamba nti: ‘Bayibuli eyamba abantu mu ngeri ez’enjawulo.’
Yakuwa yawulira bubi nnyo olw’engeri Abayisirayiri gye baali bayisibwamu mu Misiri. Ne mu kiseera kino awulira bubi nnyo bw’alaba abantu nga banyigirizibwa. Leero waliwo obuddu obw’engeri ezitali zimu. Embeera eyo okusobola okukoma, walina okubaawo enkyukakyuka ez’amaanyi mu nsi. Ekyo kyennyini Katonda ky’anaatera okukola. Bayibuli egamba nti: “Tulindirira eggulu eriggya n’ensi empya, era nga muno obutuukirivu mwe bulibeera.”—2 Peetero 3:13.
a Erinnya likyusiddwa.