Obadde Okimanyi?
Kwewandiisa kwa ngeri ki okwaviirako Yesu okuzaalibwa mu Besirekemu?
Okusinziira ku Njiri ya Lukka, Kayisaali Agusito bwe yayisa ekiragiro eky’okwewandiisa mu Twale lya Roma lyonna, “abantu bonna ne bagenda okwewandiisa buli omu mu kibuga ky’ewaabwe.” (Lukka 2:1-3) Besirekemu, kye kibuga Yusufu taata wa Yesu ow’oku nsi gye yali azaalibwa, era olugendo Yusufu ne Malyamu lwe battindigga nga bagondera ekiragiro ky’okwewandiisa lwaviirako Yesu okuzaalibwa mu Besirekemu. Okwewandiisa okw’engeri eyo kwasobozesanga ab’obuyinza okusolooza emisolo era n’okufuna abantu ab’okuyingiza mu magye.
Abaruumi we bawangulira Misiri mu 30 E.E.T. (Embala Eno nga Tennabaawo), enkola eno ey’okuwandiika abantu yali emaze emyaka mingi ng’ekozesebwa mu Misiri. Abeekenneenya bagamba nti Abaruumi baakoppa enkola y’Abamisiri ey’okuwandiika abantu era ne bagibunyisa mu matwale gaabwe gonna.
Obukakafu obukwata ku kuwandiika abantu okw’engeri eyo bulabikira mu kiragiro kya gavana Omuruumi eyali afuga Misiri mu mwaka gwa 104 E.E. (Embala Eno) Kopi y’ekiragiro kino, kati ekuumirwa mu terekero ly’ebitabo eriri mu Bungereza, egamba bw’eti: “Gaius Vibius Maximus, Omukungu w’e Misiri (agamba): Okuva bwe kiri nti ekiseera kituuse okuwandiika abantu nnyumba ku nnyumba, kyetaagisa okukubiriza abo bonna abali mu bitundu ebirala okuddayo ewaabwe bagoberere enkola eya bulijjo ey’okwewandiisa era n’okulima ebibanja byabwe.”
Lwaki Yusufu yali ayagala okuwa Maliyamu ebbaluwa eraga nti bagattuluddwa ng’ate baali baalagaana bulagaanyi okufumbiriganwa?
Okusinziira ku Njiri ya Matayo, Yusufu yakitegeera nti Maliyamu yali lubuto ‘bwe yali ng’amwogereza.’ Olw’okuba yali takimanyi nti Maliyamu yali lubuto “ku bw’omwoyo omutukuvu,” Yusufu ateekwa okuba nga yalowooza nti Maliyamu yali yeeyisizza mu ngeri etali ya bwesigwa, era bw’atyo n’asalawo okumuleka.—Matayo 1:18-20.
Mu Bayudaaya, abantu abaali balagaanye okufumbiriganwa batwalibwanga ng’abafumbo. Kyokka, tebaabeeranga wamu ng’omwami n’omukyala okutuusa nga bamaze okutuukiriza byonna ebyetaagisa okusobola okufumbiriganwa. Okulagaana okufumbiriganwa kwatwalibwanga ng’ekintu ekikulu ennyo ne kiba nti singa omusajja yakyusanga ekirowoozo kye, oba nga waliwo ensonga yonna ebalemesa okufumbiriganwa, omuwala yalinga tasobola kufumbirwa musajja mulala yenna okutuusa ng’aweereddwa ebbaluwa eraga nti bagattuluddwa. Omuwala bwe yafiirwanga omusajja eyabanga amulagaanyizza okumuwasa, yali atwalibwa nga nnamwandu. Ku luuyi olulala, singa omuwala oyo yeetabanga n’omusajja omulala, yatwalibwanga ng’omwenzi era yaweebwanga kibonerezo kya kuttibwa.—Ekyamateeka 22:23, 24.
Kirabika Yusufu yalowooza nnyo ku ebyo ebyandituuse ku Maliyamu ng’aswaziddwa. Wadde nga kyali kimukakatako okutwala ensonga ezo mu b’obuyinza, yayagala okumuyamba aleme okuswazibwa n’okuttibwa. Bwe kityo, yasalawo okumuleka mu kyama. Omukyala omuzadde ali obwannamunigina okuba n’ebbaluwa eraga nti yagattululwa, kyandibadde kiraga nti yali mufumbo.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Ekiragiro ky’Okwewandiisa Ekya Gavana Omuruumi Eyali Afuga Misiri mu 104 E.E.
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
© The British Library Board, all rights reserved (P.904)