ESSUULA EY’ABIRI
“Nzikiriza”
1. Maliza yali awulira atya, era lwaki?
MALIZA yatunuulira empuku mwe baali batadde Laazaalo. Yali tasobola kukikkiriza nti mwannyina gwe yali ayagala ennyo yali afudde, era buli lwe yamulowoozangako ng’ennaku ebula okumutta. Mu bbanga eryo ery’ennaku ennya nga mwannyina amaze okufa, abantu bangi bajjanga mu maka gaabwe e Bessaniya okubalabako n’okubakubagiza.
2, 3. (a) Maliza ateekwa okuba nga yawulira atya bwe yalaba Yesu? (b) Ebigambo eby’amakulu ennyo Maliza bye yayogera bitulaga ki?
2 Ne Yesu eyali mukwano gwa Laazaalo nfiirabulago yajja. Maliza ennaku eteekwa okuba nga yamweyongera bwe yamulaba, kubanga yali akimanyi nti singa Yesu yaliwo, mwannyinaabwe teyandifudde. Naye Yesu yayamba Maliza okuguma. Ebibuuzo bye yabuuza Maliza byamuyamba okulowooza ennyo ku kukkiriza kwe ne ku ssuubi ery’okuzuukira, era ne kimuleetera okwogera ebigambo eby’amakulu ennyo. Maliza yagamba Yesu nti: “Nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, eyali ow’okujja mu nsi.”—Yok. 11:27.
3 Ebigambo ebyo biraga nti Maliza yalina okukkiriza okw’amaanyi ennyo. Wadde nga Bayibuli terina bingi by’emwogerako, ebitono by’etubuulirako bituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. Kati ka twekenneenye ebyo Bayibuli by’esooka okwogera ku Maliza, era tulabe n’engeri gye bisobola okunyweza okukkiriza kwaffe.
‘Yali Yeeraliikirira era ng’Atawaana’
4. Kirabika Maliza yabeeranga ne baani, era bonsatule baalina nkolagana ki ne Yesu?
4 Lumu, emyezi mitono emabegako nga Laazaalo akyali mulamu, Yesu yali agenda kukyalako mu maka ga Laazaalo. Laazaalo, Maliza, ne Maliyamu baali ba luganda, era kirabika baabeeranga bonna. Abamu balowooza nti Maliza ayinza okuba ye yali mukulu waabwe, olw’okuba Yesu bwe yabakyalira, kirabika nga ye yateekateeka ekijjulo, ate nga n’amannya gaabwe bonsatule bwe gamenyebwa, erya Maliza lye litera okukulembera. (Yok. 11:5) Tetuyinza kumanya obanga ku bonna kuliko eyaliko omufumbo, naye ka kibe nti baaliko abafumbo oba nedda, bonna baali mikwano gya Yesu egy’oku lusegere. Yesu bwe yalinga abuulira mu ssaza ly’e Buyudaaya abantu gye baamuziyiza ennyo, yasulanga mu maka ga mikwano gye egyo. Alina okuba nga yawuliranga emirembe ng’ali mu maka gaabwe.
5, 6. (a) Lwaki Maliza yalina eby’okukola bingi nga Yesu abakyalidde? (b) Ye Maliyamu yakola ki nga Yesu atandise okuyigiriza?
5 Maliza yali mukazi mukozi nnyo. Yalabiriranga bulungi awaka waabwe, era yafangayo nnyo ne ku bagenyi abaabanga babakyalidde. Ku lunaku olwo Yesu lwe yali agenda okubakyalira, Maliza yali mu keetalo ng’ateekateeka ekijjulo ekinene. Mu biseera ebyo okusembeza abagenyi kyali kintu kikulu nnyo. Omugenyi bwe yatuukanga, baamunywegeranga, ne bamuggyamu engatto, ne bamunaaza ebigere, era ne bamusiiga amafuta ag’akaloosa mu mutwe. (Soma Lukka 7:44-47.) Ate era baamuwanga eby’okulya n’aw’okusula.
6 Maliza ne Maliyamu baalina eby’okukola bingi ku lunaku olwo Yesu lwe yabakyalira. Maliyamu, nga ku bombi y’atwalibwa okuba nga ye yali asinga okwagala okuyiga, ateekwa okuba nga yasooka kuyambako muganda we ku mirimu nga Yesu tannatuuka. Yesu bwe yakyala mu maka gano, yasalawo okukozesa omukisa ogwo okuyigiriza abaaliwo! Obutafaananako bakulembeze b’amadiini ab’omu kiseera ekyo, Yesu yali awa abakazi ekitiibwa, era yabayigirizanga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Maliyamu bwe yalaba nga Yesu atandise okuyigiriza, yasalawo okutuula awo kumpi naye n’awuliriza.
7, 8. Lwaki Maliza yali ku bunkenke, era ekyo kyamuleetera kwogera ki?
7 Maliza ateekwa okuba nga yali ku bunkenke. Anti yalina eby’okufumba bingi, nga kw’otadde n’ebintu ebirala bye yalina okukolera abagenyi be. Yali yeetala adda eno n’eri, kyokka nga muganda we atudde butuuzi tamuyambanako. Yandiba nga yanyiiga era oboolyawo n’endabika ye ey’oku maaso n’ekyukako? Tekyanditwewuunyisizza bw’aba nga bw’atyo bwe yakola. Emirimu egyo gyonna yali tayinza kugisobola bw’omu!
8 Kyaddaaki Maliza yawulira nga yali takyasobola kukigumiikiriza, era bw’atyo n’agamba Yesu nti: “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andese okukola ebintu bino byonna nzekka? Mugambe ajje annyambeko.” (Luk. 10:40) Maliza yayogerera ddala ekyamuli ku mutima.
9, 10. (a) Yesu yaddamu atya Maliza? (b) Tumanya tutya nti Yesu yali tanenya Maliza olw’okukola ennyo okumutegekera ekijjulo?
9 Ekyo Yesu kye yamuddamu kiteekwa okuba nga kyamwewuunyisa nnyo, era nga bwe kyewuunyisa bangi abasoma Bayibuli. Yesu yamuddamu mu bukkakkamu n’amugamba nti: “Maliza, Maliza, weeraliikirira era otawaana olw’ebintu ebingi. Ebintu bitono bye byetaagisa oba kimu. Maliyamu ye alonze ekisinga obulungi era tekijja kumuggibwako.” (Luk. 10:41, 42) Yesu yali ategeeza ki? Yali ategeeza nti Maliza yali afa nnyo ku by’omubiri okusinga eby’omwoyo? Yali amunenya olw’okukola ennyo okumutegekera ekijjulo?
10 Nedda, Yesu yali tamunenya. Yali akiraba nti byonna Maliza bye yali akola, yali abikola mu mutima mulungi. Ate era Yesu yali tagamba nti kiba kibi omuntu okukyaza abagenyi n’abagabula ebintu ebingi. Emabegako Matayo bwe yamuyita ewuwe ‘ng’amufumbidde ekijjulo ekinene’ Yesu yagenda. (Luk. 5:29) Obuzibu bwa Maliza kwali kulemwa kwawulawo kiki ekyali kisingako obukulu. Ebirowoozo bye byonna yali abimalidde ku kutegekera bagenyi kijjulo, bw’atyo ne yeerabira ekintu ekyali kisinga obukulu. Kintu ki ekyo?
Yesu yasiima omwoyo ogw’okusembeza abagenyi Maliza gwe yalaga, era yali akimanyi nti Maliza bye yali akola yali abikola mu mutima mulungi
11, 12. Yesu yawabula atya Maliza?
11 Yesu, Omwana wa Yakuwa Katonda yali akyalidde Maliza ne baganda be okubayigiriza amazima. Bye yali ayigiriza byali bikulu nnyo okusinga ebyo Maliza bye yali akola. Kale Yesu ateekwa okuba nga yawulira ennaku okulaba nga Maliza abisubwa, ate nga byandibadde bimuyamba okunyweza okukkiriza kwe. Maliza yali wa ddembe okukola ky’ayagala.a Naye eky’okumusaba agambe Maliyamu alekere awo okumuwuliriza, Yesu yali tayinza kukikkiriza.
12 Ng’agezaako okukkakkanya Maliza era n’okutereeza endowooza ye, Yesu yayita erinnya lye emirundi ebiri era mu bukkakkamu n’amugamba nti yali tasaanidde ‘kweraliikirira na kwetawaanya na bintu bingi.’ Engeri gye waaliwo ekijjulo eky’eby’omwoyo, eby’okulya ebitonotono byandibadde bimala. Maliyamu ye yali alonze ekintu “ekisinga obulungi,” era Yesu yali tagenda kukimuggyako.
13. Ebyo Yesu bye yagamba Maliza ng’amubuulirira bituyigiriza ki?
13 Ebyaliwo ebyo abagoberezi ba Kristo leero babifunamu eby’okuyiga. Tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kukola ku ‘bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo.’ (Mat. 5:3) Kirungi okukola ennyo era n’okusembeza abalala nga Maliza bwe yakola, naye tetusaanidde ‘kweraliikirira na kutawaana’ nnyo, ne tutuuka n’okuba nti tubuusa amaaso ebintu ebisinga obukulu. Bwe tuba tukyalidde oba nga tukyazizza Bakristaayo bannaffe, okulya n’okunywa si y’eba ensonga enkulu, wabula okuzziŋŋanamu amaanyi mu by’omwoyo. (Soma Abaruumi 1:11, 12.) Ne bwe waba nga tewali byakulya bingi, tusobola okuzziŋŋanamu amaanyi mu by’omwoyo.
Mwannyina Afa Naye Oluvannyuma Azuukizibwa
14. Lwaki tuyinza okugamba nti Maliza yakkiriza okuwabulwa okwamuweebwa?
14 Yesu bwe yawabula Maliza, Maliza yategeera obunafu bwe n’akyusaamu? Awatali kubuusabuusa. Omutume Yokaana bw’aba attottola ebyaliwo nga Laazaalo, mwannyina Maliza, alwadde, agamba nti: “Yesu yali ayagala nnyo Maliza ne muganda we era ne Laazaalo.” (Yok. 11:5) Laazaalo yagenda okulwala nga wayiseewo emyezi egiwerako bukya Yesu abakyalira. Kyeyoleka bulungi nti Maliza teyanyiigira Yesu, olw’okumuwabula. Yakolera ku magezi Yesu ge yamuwa. Ne mu nsonga eno Maliza yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi nnyo, kubanga ffenna tusobya, era ng’oluusi twetaaga okuwabulwa.
15, 16. (a) Maliza ateekwa okuba nga yakola atya nga mwannyina alwadde? (b) Kiki Maliza ne Maliyamu kye baali basuubira, naye kiki ekyabaawo?
15 Mwannyina bwe yalwala, Maliza ateekwa okuba nga yakola kyonna ekisoboka okumujjanjaba asobole okussuuka obulwadde, naye eky’ennaku obulwadde bwa Laazaalo bwali bweyongera bweyongezi. Ebbanga lyonna Laazaalo lye yamala nga mulwadde, bannyina bombi baali awo nga bamujjanjaba. Era Maliza buli lwe yatunulanga ku mwannyina obulwadde gwe bwali bugonzezza ennyo, alina okuba nga yajjukiranga ebintu bingi bye baali bayiseemu bonna emabega.
16 Maliza ne Maliyamu bwe baalaba ng’embeera ya Laazaalo eyonoonekedde ddala, baasalawo okutegeeza Yesu. Okuva awo, e Bessaniya, okutuuka Yesu gye yali abuulira waaliwo olugendo lwa nnaku nga bbiri. Obubaka bwe baamusindikira bwali bugamba nti: “Mukama waffe, oyo gw’oyagala ennyo mulwadde.” (Yok. 11:1, 3) Baali bakimanyi nti Yesu yali ayagala nnyo mwannyinaabwe, era baali bakakafu nti yali asobola okubaako ky’akola okuyamba mukwano gwe. Bandiba nga baali basuubira nti Yesu yali ajja kutuuka nga mwannyinaabwe tannafa? Bayinza okuba nti bwe batyo bwe baali basuubira, naye eky’ennaku mwannyinaabwe yafa nga Yesu tannatuuka.
17. Kiki Maliza kye yali yeebuuza, era yakola ki bwe yawulira nti Yesu yali ajja?
17 Maliza ne Maliyamu baakungubagira mwannyinaabwe. Abantu bangi ab’omu Bessaniya n’ebitundu ebyali biriraanyeewo bajja okubaziikirako n’okubakubagiza, naye Yesu yali tannatuuka. Maliza ateekwa okuba nga muli yali yeebuuza lwaki Yesu yali tajja. Kyokka oluvannyuma lw’ennaku nnya nga Laazaalo amaze okufa, Maliza yafuna amawulire nti Yesu yali mu kkubo ng’ajja. Maliza yasitukirawo amangu ago n’agenda okusisinkana Yesu.—Soma Yokaana 11:18-20.
18, 19. Maliza yalina ssuubi ki, era yayawukana atya ku bantu ab’omu kiseera kye?
18 Maliza bwe yalaba Mukama waffe, yamugamba nti: “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.” Ye ne Maliyamu ekyo kirina okuba nga kye kyabali ku mutima. Naye Maliza yali akyalina essuubi nti Yesu yali asobola okubaako ky’akolawo, era bw’atyo yagattako nti: “Naye ne kaakano mmanyi nti ebintu byonna by’osaba, Katonda abikuwa.” Amangu ago Yesu yayogera ebigambo ebyanyweza okukkiriza kwa Maliza. Yamugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.”—Yok. 11:21-23.
19 Maliza yali alowooza nti Yesu yali ayogera ku kuzuukira okw’omu biseera eby’omu maaso, era kyeyava amuddamu nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” (Yok. 11:24) Maliza yakyoleka bulungi nti yali akkiririza mu kuzuukira. Abakulu b’eddiini y’Ekiyudaaya abaali bayitibwa Abasaddukaayo baali tebakkiririza mu kuzuukira, wadde ng’enjigiriza eyo yali erambikiddwa bulungi mu Byawandiikibwa. (Dan. 12:13; Mak. 12:18) Kyokka ye Maliza yali akimanyi bulungi nti Yesu yayigirizanga nti waali wajja kubaawo okuzuukira kw’abantu abaafa, era nga yali azuukizzaayo ne ku bantu abaali bafudde—wadde nga yali tannazuukizaayo ku muntu eyali amaze ekiseera ekiwanvuko ng’afudde, nga Laazaalo. Maliza yali tamanyi Yesu kye yali agenda kukola.
20. Nnyonnyola amakulu g’ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 11:25-27, era n’ebyo Maliza bye yamuddamu.
20 Yesu yagamba Maliza ebigambo bino ebizzaamu ennyo amaanyi: “Nze kuzuukira n’obulamu.” Yakuwa Katonda yamala dda okukwasa Omwana we obuyinza obw’okuzuukiza abafu mu nsi yonna. Yesu yabuuza Maliza nti: “Kino okikkiriza?” Maliza yaddamu ekibuuzo kya Yesu ekyo mu bigambo bye twalabye ku ntandikwa y’essuula eno. Yali akkiriza nti Yesu ye Kristo, oba Masiya, era nti ye Mwana wa Yakuwa Katonda, era nti y’oyo bannabbi gwe baali baayogerako nti yali wa kujja mu nsi.—Yok. 5:28, 29; soma Yokaana 11:25-27.
21, 22. (a) Yesu yakiraga atya nti alumirirwa abo ababa bafiiriddwa? (b) Nnyonnyola ebyaliwo nga Laazaalo azuukizibwa.
21 Yakuwa Katonda n’Omwana we batwala batya abantu abalina okukkiriza okulinga okwa Maliza? Ebyaddirira bituwa eky’okuddamu. Maliza yagenda okuyita muganda we Maliyamu. Maliyamu bwe yajja, Yesu yatandika okwogera naye awamu n’abantu abalala abaaliwo abaali bazze okubakubagiza. Maliza yalaba Yesu ng’akulukusa amaziga olw’ennaku ey’amaanyi naye gye yali awulira olw’okufiirwa mukwano gwe, era yamuwulira ng’alagira baggyewo ejjinja ku mulyango gw’empuku mwe baali batadde omulambo gwa Laazaalo.—Yok. 11: 28-39.
22 Maliza yagamba Yesu nti omulambo gwa mwannyina guteekwa okuba nga gwali gutandise okuwunya, kubanga gwali gumaze mu ntaana ennaku nnya. Kyokka Yesu yamugamba nti: “Saakugambye nti bw’onokkiriza ojja kulaba ekitiibwa kya Katonda?” Maliza yayoleka okukkiriza okw’amaanyi, era yalaba ekitiibwa kya Yakuwa Katonda. Mu kiseera ekyo kyennyini, Yakuwa yawa Omwana we obuyinza obw’okuzuukiza Laazaalo! Maliza bye yalaba mu kaseera ako, ateekwa okuba nga yasigala akyabijjukira obulamu bwe bwonna. Yesu yayogera mu ddoboozi ery’omwanguka n’agambi nti “Laazaalo, fuluma ojje!” Laazaalo yayimuka n’afuluma mu mpuku, era yavaayo ng’akyaliko n’engoye ze baali bamusibye nga bagenda okumuziika. Awo Yesu n’agamba abaaliwo nti, “mumusumulule, mumuleke agende.” Maliza ne Maliyamu baawambaatira mwannyinaabwe nga bonna essanyu libula okubatta. (Soma Yokaana 11:40-44.) Ennaku yonna Maliza gye yali yeetisse ku mutima yaggwawo!
23. Kiki Yakuwa ne Yesu kye baagala okukukolera, era ggwe osaanidde kukola ki?
23 Ebyaliwo ebyo biraga nti okuzuukira kw’abafu si kirooto bulooto; njigiriza ya mu Bayibuli era eriko n’obukakafu. (Yob. 14:14, 15) Yakuwa n’Omwana we baagala okukolera ebirungi abo abooleka okukkiriza, era nga bwe baakolera Maliza, Maliyamu, ne Laazaalo ebirungi. Naawe ojja kufuna ebirungi singa onooyoleka okukkiriza okw’amaanyi.
‘Maliza Yali Aweereza’
24. Kiki Bayibuli ky’esembayo okutubuulira ku Maliza?
24 Oluvannyuma lw’okuzuukira kwa Laazaalo, Bayibuli eyogera ku Maliza omulundi omulala gumu, era by’emwogerako byaliwo ng’ebulayo wiiki emu Yesu attibwe. Yesu yali ayolekedde ekiseera ekizibu ennyo mu bulamu bwe, era bw’atyo yasalawo okubeera mu maka ga mikwano gye e Bessaniya, era ng’eno gye yasinziiranga okugenda e Yerusaalemi. Waaliwo olugendo lwa mayiro bbiri okutuuka e Yerusaalemi. Yesu ne Laazaalo baayitibwa ku kijjulo mu maka ga Simooni omugenge, era ne Maliza yaliyo. Bayibuli egamba nti: ‘Maliza yali abaweereza.’ (Yok. 12:2) Ekyo Bayibuli ky’esembayo okutubuulira ku Maliza.
25. Lwaki kisanyusa okuba nti mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa mulimu abakazi abalinga Maliza?
25 Wamma ddala Maliza yali mukyala mukozi! Bayibuli w’esookera okumwogerako aba alina by’akolera abalala, era Bayibuli w’esemberayo okumwogerako aba akola kye kimu. Mu bibiina by’abagoberezi ba Kristo leero mulimu abakazi abalinga Maliza—abavumu, abagabi, era abooleka okukkiriza okw’amaanyi ne baweereza n’amaanyi gaabwe gonna. Maliza yeeyongera okuba bw’atyo? Kirabika yeeyongera. Era bw’aba nga bw’atyo bwe yakola, yakola kya magezi nnyo, kubanga okukkiriza okunywevu kwandimuyambye okwaŋŋanga ebizibu bye yali agenda okwolekagana nabyo mu maaso eyo.
26. Okukkiriza okw’amaanyi Maliza kwe yalina kwamuyamba kutya?
26 Nga wayiseewo ennaku mbale, Maliza yayolekagana n’ennaku ey’okufiirwa Mukama we, Yesu, gwe yali ayagala ennyo. Okugatta ku ekyo, bannanfuusi abo abaali basse Yesu baali baagala n’okutta Laazaalo, olw’okuba okuzuukizibwa kwe kwaleetera abantu bangi okukkiririza mu Yesu. (Soma Yokaana 12:9-11.) Awatali kubuusabuusa, ekiseera kyatuuka okufa ne kwawukanya Maliza ne muganda we ne mwannyina. Tetumanyi ngeri ki na ddi ekyo lwe kyaliwo, naye tusobola okuba abakakafu nti okukkiriza okw’amaanyi Maliza kwe yalina kwamuyamba okugumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero. Eyo ye nsonga lwaki Abakristaayo ab’amazima leero basaanidde okwoleka okukkiriza okulinga okwa Maliza.
a Mu kyasa ekyasooka, abakazi mu Isiraeri baasinganga kuyigirizibwa bikwata ku mirimu gy’awaka. Tebaayigirizibwanga nnyo bintu birala. N’olwekyo Maliza ateekwa okuba nga yali talaba nnyo nsonga lwaki Maliyamu yali atudde awo awali Yesu okubaako by’ayiga.