ESSUULA 75
Yesu Alaga Ekyo Ekireeta Essanyu Erya Nnamaddala
AGOBA DAYIMOONI NG’AKOZESA ‘ENGALO YA KATONDA’
EKIREETA ESSANYU ERYA NNAMADDALA
Yesu yaakamala okuddamu okuyigiriza ebikwata ku kusaba, naye okusaba si ye nsonga yokka Yesu gy’ayogerako emirundi egisukka mu gumu mu buweereza bwe. Bwe yali akola ebyamagero mu Ggaliraaya, Yesu baamuwaayiriza nti yali abikola ng’akozesa amaanyi g’omufuzi wa dayimooni. Kyokka ne mu Buyudaaya gy’ali kati abantu abamu bagamba nti akozesa maanyi g’omufuzi wa dayimooni.
Yesu bw’agoba ku musajja dayimooni eyali emulemesa okwogera, ekibiina ky’abantu kyewuunya nnyo. Naye ate abo abamuwakanya? Abamu ku bo bagamba nti: “Agoba dayimooni ng’akozesa maanyi ga Beeruzebuli omufuzi wa badayimooni.” (Lukka 11:15) Ate abalala, olw’okwagala okufuna obukakafu obusingawo obulaga ekyo kyennyini Yesu ky’ali, bamusaba abalage akabonero okuva mu ggulu.
Yesu bw’akitegeera nti baagala bwagazi kumukema, abaddamu mu ngeri y’emu nga bwe yaddamu abantu abaamwogerako ebigambo ng’ebyo ng’ali mu Ggaliraaya. Abagamba nti obwakabaka bwonna obweyawulamu bugwa. Agattako nti: “Sitaani bw’aba nga yeeyawuddemu, obwakabaka bwe buba bunaayimirirawo butya?” Oluvannyuma Yesu abagamba butereevu nti: “Bwe mba nga ngoba dayimooni nga nkozesa ngalo ya Katonda, Obwakabaka bwa Katonda mubusubiddwa.”—Lukka 11:18-20.
Yesu bw’ayogera ku “ngalo ya Katonda,” ekyo kiyinza okuba nga kireetera abamuwuliriza okujjukira ebyo ebyaliwo edda mu Isirayiri. Abo abaali mu lubiri lwa Falaawo bwe baalaba ekyamagero Musa kye yakola, baagamba nti: “Eyo ngalo ya Katonda!” Ate era “engalo ya Katonda” ye yawandiika Amateeka Ekkumi ku bipande ebibiri eby’amayinja. (Okuva 8:19; 31:18) Mu ngeri y’emu, ‘engalo ya Katonda,’ omwoyo gwe omutukuvu oba amaanyi ge agakola, Yesu gy’akozesa okugoba dayimooni n’okuwonya abalwadde. N’olwekyo, abo abawakanya Yesu basubiddwa Obwakabaka bwa Katonda kubanga Kabaka waabwo Yesu Kristo kennyini y’ali awo nabo ng’akola ebyamagero ebyo.
Okuba nti Yesu agoba dayimooni kiraga nti alina obuyinza ku Sitaani, era ekyo kiyinza okugeraageranyizibwa ku musajja agenda n’alwanyisa omukuumi w’olubiri n’amusinza amaanyi. Yesu era addamu okwogera ku mwoyo omubi oguva mu muntu. Singa omuntu oyo tateeka bintu birungi mu kifo omwoyo ogwo omubi we guvudde, omwoyo ogwo gukomawo n’emyoyo musanvu emirala, era embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma eba mbi nnyo okusinga eyasooka. (Matayo 12:22, 25-29, 43-45) N’eggwanga lya Isirayiri bwe lityo bwe liri.
Mu abo abawuliriza Yesu mulimu omukazi akwatibwako ennyo n’ayogerera waggulu nti: “Alina essanyu omukazi eyakuzaala era eyakuyonsa!” Abakazi Abayudaaya bagitwala nga nkizo ya maanyi okuba maama wa nnabbi, nnaddala Masiya. Bwe kityo, omukazi oyo ayinza okuba ng’alowooza nti Maliyamu ateekwa okuba nga musanyufu nnyo olw’okuba nnyina w’omuyigiriza ng’oyo. Naye Yesu atereeza endowooza y’omukazi oyo ng’alaga ekyo ekireeta essanyu erya nnamaddala. Agamba nti: “Nedda, abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!” (Lukka 11:27, 28) Yesu takubirizangako bantu kuwa Maliyamu kitiibwa kya njawulo. Mu butuufu, Yesu akiraga nti ekisobozesa omuntu yenna, k’abe musajja oba mukazi, okufuna essanyu erya nnamaddala kwe kuweereza Katonda n’obwesigwa, so si kuba nti alina oluganda ku muntu omu oba omulala oba okuba nti alina by’atuuseeko mu bulamu.
Nga bwe yakola mu Ggaliraaya, ne ku luno Yesu anenya abantu olw’okumusaba akabonero okuva mu ggulu. Abagamba nti tewali kabonero kajja kubaweebwa wabula “aka Yona.” Akabonero ka Yona kazingiramu eky’okuba nti Yona yamala ennaku ssatu mu lubuto lw’ekyennyanja n’eky’okuba nti yabuulira n’obuvumu, ekintu ekyaviirako abantu b’e Nineeve okwenenya. Yesu agamba nti: “Naye laba! oyo asinga Yona ali wano.” (Lukka 11:29-32) Ate era Yesu asinga ne Sulemaani, omusajja eyalina amagezi amangi ne kireetera ne kabaka omukazi ow’e Seba okujja okumuwuliriza.
Yesu era agamba nti: “Omuntu bw’amala okukoleeza ettaala tagikweka era tagivuunikako kibbo, wabula agiteeka ku kikondo kyayo.” (Lukka 11:33) Ayinza okuba ng’ategeeza nti okuyigiriza abantu abo n’okukolera ebyamagero mu maaso gaabwe kiringa kukoleeza ttaala n’ogikweka. Olw’okuba tebassaayo mwoyo, tebategeera makulu g’ebyo by’akola.
Yesu abadde yaakamala okugoba dayimooni ku musajja era omusajja oyo n’atandika okwogera. Ekyo kyandibadde kikubiriza abantu okugulumiza Katonda n’okubuulirako abalala ku bintu Yakuwa by’akola. Bwe kityo, Yesu alabula abo abamuwakanya ng’agamba nti: “Weegendereze, si kulwa ng’ekitangaala ekiri mu ggwe kiba kizikiza. Kale, omubiri gwo gwonna bwe guba gwakaayakana nga tewali kitundu kyagwo na kimu kiri mu kizikiza, gujja kuba gwonna gwakaayakana ng’ettaala bw’ekumulisa n’ekitangaala kyayo.”—Lukka 11:35, 36.