ESSUULA 77
Yesu Alabula ku by’Obugagga
OLUGERO LW’OMUNTU OMUGAGGA
YESU AYOGERA KU NNAMUŊŊOONA N’AMALANGA
“EKISIBO EKITONO” KYA KUBA MU BWAKABAKA
Yesu bw’aba mu nnyumba y’Omufalisaayo ng’alya emmere, abantu nkumi na nkumi bakuŋŋaanira ebweru nga bamulindirira. Ekintu ekifaananako ng’ekyo kyaliwo ne bwe yali e Ggaliraaya. (Makko 1:33; 2:2; 3:9) Wano mu Buyudaaya, obutafaananako Abafalisaayo ababadde ku kijjulo, abantu bangi baagala nnyo okulaba Yesu n’okumuwuliriza.
Ebigambo Yesu by’asooka okwogera bikulu nnyo eri abayigirizwa be. Agamba nti: “Mwegendereze ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo, nga bwe bunnanfuusi.” Ensonga eyo Yesu yali yagyogerako emabega, naye ebyo by’alabye ku kijjulo bimulaze nti kyetaagisa okugikkaatiriza. (Lukka 12:1; Makko 8:15) Abafalisaayo bayinza okugezaako okukweka ekyo kye bali nga beefuula okuba abantu abatya Katonda, naye ba mutawaana nnyo era kyetaagisa okubaanika. Yesu agamba nti: “Tewali kyakwekebwa ekitalikwekulwa, era tewali kyama ekitalimanyibwa.”—Lukka 12:2.
Oboolyawo bangi ku bantu abakuŋŋaanye okuwuliriza Yesu babeera mu Buyudaaya era nga tebaawulira Yesu ng’ayigiriza mu Ggaliraaya. Bwe kityo, Yesu addamu okwogera ku bintu ebikulu bye yayogerako emabega. Agamba bonna abamuwuliriza nti: “Temutya abo abatta omubiri naye ng’oluvannyuma lw’ekyo tebalina kisingawo kye bayinza kukola.” (Lukka 12:4) Nga bw’abaddenga akola, Yesu yeeyongera okukiraga nti kikulu nnyo abagoberezi be okwesiga Katonda nti asobola okubalabirira. Ate era balina okukkiririza mu Mwana w’omuntu n’okuba abakakafu nti Katonda asobola okubayamba.—Matayo 10:19, 20, 26-33; 12:31, 32.
Mu kiseera ekyo, wabaawo omusajja mu kibiina ky’abantu agamba Yesu nti: “Omuyigiriza, gamba muganda wange anjawulize ku by’obusika.” (Lukka 12:13) Amateeka gagamba nti omwana ow’obulenzi omubereberye alina okufuna emigabo ebiri ku by’obusika, n’olwekyo omusajja oyo tasaanidde kuba na buzibu bwonna. (Ekyamateeka 21:17) Naye kirabika nti omusajja oyo ayagala afune ebisinga ku ebyo by’agwanidde okufuna. Yesu yeewala okubaako oludda lw’awagira. Amubuuza nti: “Ani yannonda okuba omulamuzi wammwe oba oyo ow’okubagabanyizaamu ebyammwe?”—Lukka 12:14.
Awo Yesu agamba bantu bonna nti: “Mutunule era mwekuume okwegomba okwa buli ngeri, kubanga omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, ebintu ebingi by’aba nabyo si bye bimuwa obulamu.” (Lukka 12:15) Omuntu ne bw’aba mugagga nnyo, ekiseera kituuka n’afa eby’obugagga bye n’abireka. Yesu ayongera okukkaatiriza ensonga eyo ng’agera olugero olulaga obukulu bw’okuba n’erinnya eddungi mu maaso ga Katonda. Agamba nti:
“Ennimiro y’omuntu omu yabala nnyo. N’atandika okulowooza mu mutima gwe nti: ‘Nnaakola ntya kati nga sirina we nkuŋŋaanyiza birime byange?’ Awo n’agamba nti, ‘Nja kukola bwe nti: Nja kumenya amawanika gange nzimbe agasingako obunene era omwo mwe nja okukuŋŋaanyiza ebirime byange byonna eby’empeke n’ebintu byange byonna ebirungi; era nja kwegamba nti: “Olina ebintu ebirungi bingi ebinaakumazaako emyaka mingi; weewummulire, olye, onywe, era osanyuke.”’ Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe, mu kiro kino bagenda kukuggyako obulamu bwo. Kati olwo, ani agenda okutwala ebintu by’oterese?’ Bwe kityo bwe kibeera eri omuntu eyeeterekera eby’obugagga naye nga si mugagga mu maaso ga Katonda.”—Lukka 12:16-21.
Abayigirizwa ba Yesu n’abantu abalala abamuwuliriza basobola okutwalirizibwa omwoyo ogw’okwagala eby’obugagga. Ate era okweraliikirira eby’obulamu kiyinza okubaviirako okuwugulibwa. Bwe kityo, Yesu addamu okwogera ku nsonga gye yayogerako omwaka nga gumu n’ekitundu emabega bwe yali ng’ayigiriza ku Lusozi. Agamba nti:
“Mulekere awo okweraliikirira ebikwata ku bulamu bwammwe nti munaalya ki, oba ebikwata ku mibiri gyammwe nti munaayambala ki. . . . Mutunuulire nnamuŋŋoona: tezisiga, tezikungula era tezirina ggwanika; kyokka Katonda aziriisa. Mmwe temuli ba muwendo nnyo okusinga ebinyonyi? . . . Mulowooze ku ngeri amalanga gye gakulamu: Tegakuluusana era tegaluka ngoye; naye mbagamba nti, ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambala ng’erimu ku go. . . . Kale, mulekere awo okunoonya kye munaalya ne kye munaanywa, era mulekere awo okweraliikirira . . . Kitammwe akimanyi nti mubyetaaga. . . . Munoonyenga Obwakabaka bwe, era ebintu bino biribongerwako.”—Lukka 12:22-31; Matayo 6:25-33.
Naye ddala baani abanaanoonyanga Obwakabaka? Yesu akiraga nti abantu abatonotono abeesigwa, “ekisibo ekitono,” bajja kunoonya Obwakabaka. Oluvannyuma kijja kumanyibwa nti ‘ab’ekisibo ekitono’ bali 144,000. Kiki kye bajja okufuna? Yesu abagamba nti: “Kitammwe asazeewo okubawa Obwakabaka.” Abantu abo tebandyemalidde ku kwefunira bya bugagga ku nsi, ababbi we bayinza okubibbira. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo byabwe byonna bandibitadde ku ‘ky’obugagga eky’olubeerera mu ggulu,’ gye bajja okufugira awamu ne Kristo.—Lukka 12:32-34.