-
Yesu Alabula ku by’ObugaggaYesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
-
-
Naye ddala baani abanaanoonyanga Obwakabaka? Yesu akiraga nti abantu abatonotono abeesigwa, “ekisibo ekitono,” bajja kunoonya Obwakabaka. Oluvannyuma kijja kumanyibwa nti ‘ab’ekisibo ekitono’ bali 144,000. Kiki kye bajja okufuna? Yesu abagamba nti: “Kitammwe asazeewo okubawa Obwakabaka.” Abantu abo tebandyemalidde ku kwefunira bya bugagga ku nsi, ababbi we bayinza okubibbira. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo byabwe byonna bandibitadde ku ‘ky’obugagga eky’olubeerera mu ggulu,’ gye bajja okufugira awamu ne Kristo.—Lukka 12:32-34.
-
-
Beera Mwetegefu, Omuwanika Omwesigwa!Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
-
-
Yesu yaakamala okukiraga nti ‘ab’ekisibo ekitono’ be bokka abajja okufugira awamu naye mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Lukka 12:32) Ekirabo ekyo kya muwendo nnyo. Mu butuufu, Yesu akiraga nti kikulu nnyo omuntu agenda okufugira awamu naye mu Bwakabaka okuba n’endowooza ennuŋŋamu.
-