EKITUNDU 4
Omutima Okukulumiriza—“Nnaazaako Ekibi Kyange”
“Omulimu gwange omupya gwansobozesanga okulabirira obulungi ab’omu maka gange, naye era gwandeetera okwenyigira mu bintu ebibi. Nnatandika okukuza ennaku enkulu, okwenyigira mu by’obufuzi, n’okugendanga mu kkanisa. Nnaggwaamu amaanyi ne ndekera awo okuweereza Yakuwa okumala emyaka 40. Emyaka gye gyakoma okuyitawo, gye nnakoma okulowooza nti Yakuwa tasobola kunsonyiwa. Nnali mpulira nga sirina we ntandikira kwenenya bibi byange, kubanga nnali mmanyi amazima nga sinnakwata kkubo kkyamu.”—Martha.
OMUTIMA okukulumiriza kiyinza okukufuukira omugugu omuzito ennyo. Kabaka Dawudi yawandiika nti: “Ensobi zange zeetuumye ku mutwe gwange; ziringa omugugu omuzito, siyinza kuzeetikka.” (Zabbuli 38:4) Abakristaayo abamu banakuwala nnyo ne batuuka n’okulowooza nti Yakuwa tasobola kubasonyiwa. (2 Abakkolinso 2:7) Naawe eyo ye ndowooza gy’olina? Ne bw’oba nga wakola ekibi eky’amaanyi, tosaanidde kulowooza nti Yakuwa tasobola kukusonyiwa.
‘Jjangu Tutereeze Ensonga’
Yakuwa ayagala nnyo aboonoonyi abeenenya. Mu butuufu abayita bajje gy’ali! Mu lugero lw’omwana omujaajaamya, Yesu yageraageranya Yakuwa ku taata ow’okwagala eyalina mutabani we eyava awaka n’atandika okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Oluvannyuma lw’ekiseera, omwana oyo yasalawo okukomawo awaka. Yesu yagamba nti: “[Omwana] bwe yali akyali wala, kitaawe n’amulengera n’amukwatirwa ekisa, n’adduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.” (Lukka 15:11-20) Oyagala okuddamu okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa naye nga muli owulira nti ‘okyali wala’ naye? Nga taata ayogerwako mu lugero lwa Yesu, Yakuwa akwagala nnyo era akulumirirwa. Mwetegefu okukwaniriza ng’okomyewo mu kibiina.
Naye ate singa oba owulira nti ebibi byo bya maanyi nnyo era nti Yakuwa tasobola kukusonyiwa? Bwe kiba bwe kityo, lowooza ku bigambo bya Yakuwa ebiri mu Isaaya 1:18: “‘Kaakano mujje tutereeze ensonga,’ Yakuwa bw’agamba. ‘Ebibi byammwe ne bwe binaaba bimyufu ng’omusaayi, bijja kufuulibwa byeru ng’omuzira.’” Mu butuufu, ebibi byo ne bwe biba bya maanyi nga langi emmyufu eyiise ku lugoye olweru, Yakuwa asobola okukusonyiwa.
Yakuwa tayagala obeere nga omuntu wo ow’omunda akulumiriza buli kiseera. Kati olwo biki ebiyinza okukuyamba okufuna emirembe n’okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo? Lowooza ku bintu bibiri Kabaka Dawudi bye yakola. Ekisooka, yagamba nti: “Nja kwatulira Yakuwa ebyonoono byange.” (Zabbuli 32:5) Kijjukire nti Yakuwa akukubirizza okumutuukirira mu kusaba ‘n’okutereeza ensonga’ naye. Kola ekyo Yakuwa ky’akugamba. Yatula ebibi byo eri Yakuwa era mubuulire ekikuli ku mutima. Okusinziira ku ebyo bye yayitamu, Dawudi yasaba nti: “Nnaazaako ekibi kyange. . . . Omutima ogumenyese era oguboneredde toogugayenga, Ai Katonda.”—Zabbuli 51:2, 17.
Eky’okubiri, Dawudi yafuna obuyambi okuva eri nnabbi Nasani, eyali atumiddwa Yakuwa. (2 Samwiri 12:13) Leero, Yakuwa ataddewo abakadde mu kibiina okuyamba aboonoonyi abeenenya okuddamu okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Bw’onootuukirira abakadde, bajja kukozesa Ebyawandiikibwa era bajja kukusabira osobole okufuna emirembe mu mutima n’okuwona mu by’omwoyo.—Yakobo 5:14-16.
“Alina Essanyu Oyo Asonyiyiddwa Ensobi Ye”
Kyo kituufu nti, oyinza okuwulira nti kizibu okwatulira Yakuwa Katonda ebibi byo n’okutuukirira abakadde. Dawudi naye yaliko mu mbeera ng’eyo. ‘Yasirikira’ ebibi bye okumala akaseera. (Zabbuli 32:3) Naye oluvannyuma yaganyulwa bwe yayatula ebibi bye era n’atereeza ensobi ye.
Ogumu ku miganyulo Dawudi gye yafuna kwe kuddamu okufuna essanyu. Yawandiika nti: “Alina essanyu oyo asonyiyiddwa ensobi ye, oyo asonyiyiddwa ekibi kye.” (Zabbuli 32:1, obugambo obuli wansi) Ate era yasaba nti: “Ai Yakuwa, yasamya emimwa gyange, akamwa kange kalangirire ettendo lyo.” (Zabbuli 51:15) Olw’okuba omuntu we ow’omunda yali takyamulumiriza era nga musanyufu olw’okuba Yakuwa yali amusonyiye, Dawudi yabuulira abalala ebikwata ku Yakuwa.
Yakuwa ayagala obeere n’omuntu ow’omunda omuyonjo. Ate era ayagala obuulire abalala ebimukwatako n’ebigendererwa bye mu bwesimbu, ng’oli musanyufu era ng’omuntu wo ow’omunda takulumiriza. (Zabbuli 65:1-4) Jjukira nti ayagala ‘ebibi byo bisangulwe, akuwe ekiwummulo.’—Ebikolwa 3:19.
Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku Martha. Agamba nti: “Mutabani wange yampeerezanga magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’eya Awake! Mpolampola, nnatandika okuddamu okwagala Yakuwa. Ekintu ekyasinga okunkaluubirira kwe kusaba Yakuwa ansonyiwe ebibi byonna bye nnakola. Naye nnamala ne mmusaba ansonyiwe. Kizibu okukkiriza nti nnamala emyaka 40 nga sinnakomawo eri Yakuwa. Ebyantuukako biraga bulungi nti ne bwe waba wayise emyaka mingi, omuntu asobola okuddamu okuweereza era n’okwagalibwa Yakuwa.”