ESSUULA 99
Yesu Awonya Abazibe b’Amaaso era Ayamba Zaakayo
MATAYO 20:29-34 MAKKO 10:46-52 LUKKA 18:35–19:10
YESU AWONYA ABAZIBE B’AMAASO E YERIKO
ZAAKAYO, OMUSOLOOZA W’OMUSOLO YEENENYA
Yesu n’abo b’atambula nabo batuuka e Yeriko, era ng’okuva e Yeriko okutuuka e Yerusaalemi waliwo olugendo lwa lunaku nga lumu. Yeriko kirimu ebibuga bibiri, ekibuga ekikadde n’ekibuga ekipya ekyazimbibwa mu kiseera ky’Abaruumi, era ng’ekipya kyesudde ebbanga lya mayiro ng’emu okuva ku kibuga ekikadde. Yesu n’ekibinja ky’abantu abamugoberera bwe baba bafuluma ekibuga ekimu nga bagenda mu kirala, abazibe b’amaaso babiri abasabiriza bawulira oluyogaano. Omu ku bo ayitibwa Battimaayo.
Battimaayo ne munne bwe bakimanya nti Yesu ayitawo, batandika okuleekaanira waggulu nga bagamba nti: “Mukama waffe, Omwana wa Dawudi, tusaasire!” (Matayo 20:30) Abamu ku abo abali mu kibiina ky’abantu bababoggolera nga babagamba basirike, naye abasajja abo beeyongera okuleekaana. Yesu bw’abawulira ayimirira. Agamba abo b’ali nabo okuyita abo abaleekaana. Bagenda eri abasajja abasabiriza ne bagamba omu ku bo nti: “Guma! Yimuka; akuyita.” (Makko 10:49) Nga musanyufu, omuzibe w’amaaso asuula eri ekyambalo kye eky’okungulu n’asituka n’ajja eri Yesu.
Yesu ababuuza nti: “Kiki kye mwagala mbakolere?” Abazibe bombi bamuddamu nti: “Mukama waffe, tuzibule amaaso.” (Matayo 20:32, 33) Yesu abakwatirwa ekisa n’akwata ku maaso gaabwe, era agamba omu ku bo nti: “Genda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” (Makko 10:52) Abazibe bombi baddamu okulaba era batandika okutendereza Katonda. Abantu bwe balaba ekibaddewo, nabo batendereza Katonda. Abasajja abazibuddwa amaaso batandika okugoberera Yesu.
Waliwo abantu bangi nnyo abagoberera Yesu ng’ayita mu Yeriko, era buli omu ayagala kulaba ku oyo awonyezza abazibe b’amaaso. Abantu bangi beenyigiriza ku Yesu ku buli luuyi ne kiba nti abamu tebasobola kumulaba. Omu ku abo ye Zaakayo, akulira abasolooza omusolo mu kibuga Yeriko n’ebitundu ebiriranyeewo. Olw’okuba Zaakayo mumpi, talaba bigenda mu maaso. Adduka n’agenda mu maaso n’alinnya omuti oguyitibwa omusukomooli oguli ku kkubo Yesu ly’agenda okuyitamu. Ng’ali ku muti, alaba bulungi ebigenda mu maaso. Yesu bw’asembera n’alaba Zaakayo waggulu ku muti, amugamba nti: “Zaakayo, kka mangu wansi, kubanga leero ŋŋenda kubeera mu nnyumba yo.” (Lukka 19:5) Zaakayo akka okuva ku muti era ayanguwa okugenda ewuwe okwaniriza omugenyi oyo ow’enjawulo.
Abantu bwe bakiraba, batandika okwemulugunya. Balowooza nti si kituufu Yesu okukyalira omusajja atwalibwa ng’omwonoonyi. Zaakayo afuuse mugagga olw’okuba bw’aba asolooza omusolo abantu abaggyako ssente ezisukka mu ze balina okusasula.
Yesu bw’agenda mu maka ga Zaakayo, abantu beemulugunya nga bagamba nti: “Agenze mu nnyumba ey’omusajja omwonoonyi.” Wadde kiri kityo, ye Yesu akiraba nti Zaakayo asobola okwenenya era ebigambo byabwe tebimumalaamu maanyi. Zaakayo ayimirira n’agamba Yesu nti: “Mukama wange, kimu kya kubiri eky’ebintu bye nnina nkigabira abaavu, era buli gwe nnaggyako ekintu mmuliyirira emirundi ena.”—Lukka 19:7, 8.
Ekyo kiraga nti Zaakayo yeenenyezza mu bwesimbu. Kirabika asobola okukebera w’awandiika emisolo gy’asolooza ku Bayudaaya era yeeyama okubaliyirira emirundi ena. Ekyo ky’asalawo okukola kisinga ne ku ekyo amateeka kye galagira okukola. (Okuva 22:1; Eby’Abaleevi 6:2-5) Okugatta ku ekyo, Zaakayo asuubiza okuwa abaavu kimu kya kubiri eky’ebintu by’alina.
Yesu asanyuka nnyo olw’ebyo Zaakayo by’ayogedde ebiraga nti yeenenyezza era amugamba nti: “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba eno kubanga ono naye mwana wa Ibulayimu. Omwana w’omuntu yajja kunoonya na kulokola abo abaabula.”—Lukka 19:9, 10.
Emabegako, Yesu yayogera ku bantu “abaabula” ng’akozesa olugero lw’omwana omujaajaamya eyali azaaye. (Lukka 15:11-24) Zaakayo kyakulabirako eky’omuntu eyali azaaye n’azaawuka. Abakulembeze b’eddiini n’abagoberezi baabwe beemulugunya era bavumirira Yesu olw’okufaayo ku bantu nga Zaakayo. Wadde kiri kityo, Yesu yeeyongera okunoonya era n’okufaayo ku bazzukulu ba Ibulayimu abaabula.