“Ekiseera Kye Kyali nga Tekinnaba Kutuuka”
“Tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.”—YOKAANA 7:30.
1. Nsonga ki ebiri ezaafuga obulamu bwa Yesu ku nsi?
“OMWANA w’omuntu [teyajja] kuweerezebwa, wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky’abangi,” bw’atyo Yesu Kristo bwe yagamba abatume be. (Matayo 20:28) Eri omufuzi Omuruumi Pontiyo Piraato, yagamba bw’ati: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima.” (Yokaana 18:37) Yesu yali amanyi bulungi ensonga lwaki yandifudde era n’omulimu gwe yalina okukola nga tannaba kufa. Era yali amanyi ekiseera kye yalina okusobola okutuukiriza omulimu ogwamuweebwa. Obuweereza bwe ku nsi nga Masiya bwali bwa kumala emyaka esatu n’ekitundu gyokka. Bwatandika lwe yabatizibwa mu Mugga Yoludaani (mu 29 C.E.) ku ntandikwa ya wiiki 70 ez’akabonero ezaalagulwa era ne bukomekerezebwa n’okufa kwe ku muti ogw’okuboonyaboonya mu masekkati ga wiiki eyo (mu 33 C.E.). (Danyeri 9:24-27; Matayo 3:16, 17; 20:17-19) Bwe kityo, obulamu bwa Yesu bwonna ku nsi bwafugibwa ensonga biri: ekigendererwa kye eky’okujja era n’okukwata ebiseera.
2. Yesu Kristo ayogerwako atya mu Njiri, era yalaga atya nti yali amanyi omulimu gwe?
2 Ebiri mu Njiri byoleka Yesu Kristo ng’omusajja abaako ky’akolawo era eyatambula mu Palesitayini yonna, ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda era ng’akola eby’amagero bingi. Mu kitundu ekyasooka eky’obuweereza bwa Yesu obw’amaanyi, ayogerwako bw’ati: “Ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.” Yesu yennyini yayogera bw’ati: “Ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa.” Ng’anaatera okutuuka ku nkomerero y’obuweereza bwe, yakozesa ebigambo “obudde butuuse.” (Yokaana 7:8, 30; 12:23) Yesu okumanya obudde, oba ekiseera eky’okukola omulimu gwe ogwamuweebwa, nga mw’otwalidde n’okufa kwe okwa ssaddaaka, biteekwa okuba nga byakwata ku ebyo bye yayogeranga ne bye yakola. Okutegeera kino bwe kyamukwatako kitusobozesa okumanya engeri ze era n’endowooza ye, ne kituyamba ‘okutambuliranga mu bigere bye.’—1 Peetero 2:21.
Mumalirivu Okukola Katonda by’Ayagala
3, 4. (a) Kiki ekibaawo ku mbaga ey’obugole mu Kaana? (b) Lwaki Omwana wa Katonda agaana amagezi ga Malyamu nti asaanidde okubaako ky’akola kubanga enviinyo yali eweddewo, era kiki kye tuyinza okuyigira ku kino?
3 Omwaka guli 29 C.E. Waakayitawo ennaku ntono nnyo bukya Yesu kennyini alonda abayigirizwa be abaasooka. Bonna kati bazze mu kyalo ky’e Kaana mu ssaza ly’e Ggaliraaya okubeerawo ku mbaga ey’obugole. Maama wa Yesu, Malyamu, naye waali. Enviinyo eggwaawo. Ng’alaga nti ateekwa okubaako ky’akola, Malyamu agamba mutabani we: “Tebalina nviinyo.” Naye Yesu amuddamu: “Omukyala Onvunaana ki? [Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka.”—Yokaana 1:35-51; 2:1-4.
4 Okuddamu kwa Yesu nti, “Omukyala Onvunaana ki?” ye ngeri ey’edda ey’okubuuza ekibuuzo eraga nti amagezi agaweereddwa oba ekiteeso tekikkiriziddwa. Lwaki Yesu takkiriza bigambo bya Malyamu? Kaakano, awezezza emyaka 30 egy’obukulu. Wiiki ntono eziyiseewo, yabatizibwa, n’afukibwako omwoyo omutukuvu, era Yokaana Omubatiza n’amwanjula nga “Omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi.” (Yokaana 1:29-34; Lukka 3:21-23) Kati nno obulagirizi bwe bulina okuva eri Ow’Obuyinza ow’Oku Ntiko eyamutuma. (1 Abakkolinso 11:3) Tewali n’omu, ka abe ow’omu maka ow’oku lusegere, eyandibadde akkirizibwa okuyingirira omulimu Yesu gwe yajja okukola ku nsi. Nga bumalirivu bwa maanyi nnyo obw’okukola Kitaawe by’ayagala obulagibwa mw’ebyo Yesu bye yaddamu Malyamu! Mu ngeri, y’emu naffe ka tubeere bamalirivu okutuukiriza ‘obuvunaanyizibwa bwaffe bwonna’ eri Katonda.—Omubuulizi 12:13, NW.
5. Kyamagero ki Yesu Kristo ky’akola e Kaana, era kikola ki ku balala?
5 Ng’ategedde amakulu agali mu bigambo by’omwana we, amangu ago Malyamu ensonga agivaako era n’alagira abaweereza: “Ky’anaabagamba kyonna, kye muba mukola.” Awo Yesu n’agonjoola ekizibu. Agamba abaweereza okujjuza amasuwa amazzi, era amazzi n’agafuula enviinyo ennungi ennyo. Eno ye ntandikwa y’okwoleka amaanyi ga Yesu ag’okukola eby’amagero, ng’akabonero akalaga nti aliko omwoyo gwa Katonda. Abayigirizwa abappya bwe balaba eky’amagero kino, okukkiriza kwabwe kunywezebwa.—Yokaana 2:5-11.
Obuggya eri Ennyumba ya Yakuwa
6. Lwaki Yesu asunguwala nnyo olw’ebyo by’alaba mu Yeekaalu, era kiki ky’akolawo?
6 Mangu ddala ebiseera bya ddumbi mu mwaka gwa 30 C.E. bituuka, era Yesu ne banne bali ku lugendo nga bagenda e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Okuyitako. Nga bali eyo, abayigirizwa be balaba Omukulembeze waabwe nga yeeyisa mu ngeri oboolyawo gye batamulabangako nga yeeyisaamu. Abasuubuzi Abayudaaya Ab’omululu batunda ebisolo n’ebinnyonnyi eby’okuwaayo nga ssaddaaka munda mwennyini mu yeekaalu. Era basaba Abayudaaya abasinza abeesigwa emiwendo egya waggulu ennyo. Ng’alina obusungu bungi nnyo, Yesu abaako ky’akola. Afuula emigwa olukoba n’agoba abatunzi bonna. Ayiwa effeeza ez’abawaanyisa effeeza, n’avuunika emmeeza zaabwe. “Muggyeewo ebintu bino!” alagira abo abatunda amayiba. Abayigirizwa ba Yesu bwe bamulaba nga yeeyisa bw’atyo, bajjukira obunnabbi obukwata ku Mwana wa Katonda: “Obuggya bw’ennyumba yo bulindya.” (Yokaana 2:13-17; Zabbuli 69:9) Naffe tuteekwa okwekuuma ne tutakkiriza engeri ez’ensi okwonoona okusinza kwaffe.
7. (a) Kiki ekireetera Nikodemu okukyalira Masiya? (b) Kiki kye tuyigira ku kubuulira kwa Yesu eri omukyala Omusamaliya?
7 Ng’ali mu Yerusaalemi, Yesu akola obubonero obwewuunyisa, era abantu bangi ne bamukkiriza. Ne Nikoodemo, eyali ku Lukiiko oba kkooti enkulu ey’Abayudaaya , awuniikirira olw’ebyo Yesu bye yakola era n’ajja gyali ekiro okuyiga ebisingawo. Oluvannyuma lw’eyo Yesu n’abayigirizwa be basigala mu “nsi y’e Buyudaaya” okumala emyezi nga munaana, ng’ababuulira era ng’abafuula abayigirizwa. Kyokka, oluvannyuma lw’okusibibwa kwa Yokaana Omubatiza, bava e Buyudaaya ne bagenda e Ggaliraaya. Nga bayita mu ssaza ly’e Samaliya, Yesu akozesa omukisa gw’afuna okuwa obujulirwa omukyala Omusamaliya. Kino ne kigulirawo ekkubo Abasamaliya bangi okufuuka abakkiriza. Naffe tukozese emikisa gyonna gye tufuna okwogera ku Bwakabaka.—Yokaana 2:23; 3:1-22; 4:1-42; Makko 1:14.
Okuyigiriza okw’Amaanyi mu Ggaliraaya
8. Mulimu ki Yesu gw’atandikawo mu Ggaliraaya?
8 Nga “ekiseera” eky’okufa kwa Yesu tekinnaba kutuuka, alina bingi eby’okukola mu buweereza bwa Kitaawe ow’omu ggulu. Mu Ggaliraaya, Yesu atandikayo obuweereza obw’amaanyi ennyo okusinga mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemi. “N’abuna Ggaliraaya yonna, ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng’abuulira enjiri ey’obwakabaka era ng’awonya endwadde zonna n’obunafu bwonna mu bantu.” (Matayo 4:23) Ebigambo bye ebisoomooza: “Mwenenye; kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka,” bibuna mu ssaza lyonna. (Matayo 4:17) Nga wayiseewo emyezi mitono, abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza babiri bwe bajja okuwulira lipoota ekwata ku Yesu, abagamba: “Mugende, mubuulire Yokaana ebyo bye mulabye, ne bye muwulidde; abazibe b’amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b’amatu bawulira, abafu bazuukira, abaavu babuulirwa enjiri. Era alina omukisa oyo atalinneesittalako.”—Lukka 7:22, 23.
9. Lwaki ebibiina bijja eri Kristo Yesu, era kiki kye tuyigira ku kino?
9 ‘Ettutumu lya Yesu ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo,’ era ebibiina ebinene ne bijja gyali—okuva e Ggaliraaya, Dekapoli, Yerusaalemi, Buyudaaya n’emitala w’Omuga Yoludaani. (Lukka 4:14, 15; Matayo 4:24, 25) Bajja gyali si lwa bya magero eby’okuwoonya byokka naye era olw’okuyigiriza kwe okwewuunyisa ennyo. Obubaka bwe busikiriza era buzzaamu amaanyi. (Matayo 5:1–7:27) Ebigambo bya Yesu bisanyusa nnyo. (Lukka 4:22, NW) Ebibiina ne “byewuunya okuyigiriza kwe,” kubanga ayigiriza okuva mu Byawandiikibwa n’obuyinza. (Matayo 7:28, 29; Lukka 4:32) Ani atandisikiriziddwa eri omuntu ng’oyo? Naffe ka tukulaakulanye engeri ennungi ez’okuyigiriza abantu, ab’emitima emyesigwa basobole okusikirizibwa eri amazima.
10. Lwaki abantu b’omu kibuga ky’e Nazaleesi bagezaako okutta Yesu, naye lwaki balemererwa?
10 Kyokka, si bonna abawuuliriza Yesu nti bakkiriza. Wadde ne ku ntandikwa y’obuweereza bwe, ng’ayigiriza mu kuŋŋaaniro ly’omu kibuga ky’ewaabwe mu Nazaaleesi, bagezaako okumutta. Wadde ng’abantu b’omu kibuga beewuunya ‘ebigambo bye ebisanyusa,’ baagala okulaba eby’amagero. Kyokka, mu kifo ky’okukolerayo eby’amagero eby’amaanyi bingi, Yesu ayanika endowooza yaabwe ey’okwefaako n’obutaba na kukkiriza. Nga balina obusungu, abali mu kuŋŋaaniro bayimuka, ne bakwata Yesu ne bamutwala ku lusozi bamusuule wansi. Naye n’abaddukako n’agenda nga tatuukiddwako mutawaana. “Ekiseera” eky’okufa kwe tekinnaba kutuuka.—Lukka 4:16-30.
11. (a) Lwaki abakulembeze b’eddiini abamu bajja okuwuliriza Yesu? (b) Lwaki Yesu avunaanibwa obutakwata Ssabbiiti?
11 Abakulembeze b’ediini—abawandiisi, Abafalisaayo, Abasaddukaayo, n’abalala—nabo batera okubeerayo Yesu gy’abuulira. Bangi ku bo bagendayo si okuwulira n’okuyiga, naye okunoonyereza ensobi era n’eby’okusinziirako okumukwata. (Matayo 12:38; 16:1; Lukka 5:17; 6:1, 2) Ng’ekyokulabirako, ng’akyadde e Yerusaalemi ku Mbaga ey’Okuyitako mu 31 C.E., Yesu awonya omusajja eyali omulwadde okumala emyaka 38. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya bavunaana Yesu okumenya etteeka lya Ssabbiiti. Abaddamu nti: “Kitaange akola okutuusa kaakano, nange nkola.” Kati Abayudaaya bamuvunaana omusango ogw’okuvoola kubanga yeeyita Omwana wa Katonda ng’amuyita Kitaawe. Banoonya okutta Yesu, kyokka ye n’abayigirizwa be bava e Yerusaalemi ne bagenda e Ggaliraaya. Mu ngeri y’emu, kiba kya magezi singa naffe twewala okwolekagana n’abatuziyiza mu ngeri eteetaagisa nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufula abalala abayigirizwa.—Yokaana 5:1-18; 6:1.
12. Yesu abuulira kyenkana wa mu kitundu ky’omu Ggaliraaya?
12 Mu mwaka ogumu n’ekitundu oguddako, Yesu obuweereza bwe asinga kubukolera mu Ggaliraaya, e Yerusaalemi ng’agendayo okubeera ku mbaga z’Abayudaaya esatu ezaabangawo buli mwaka. Okutwalira awamu, yenyigidde mu ŋŋendo ssatu ez’okubuulira mu Ggaliraaya: olusooka ng’ali n’abayigirizwa 4 abappya, olw’okubiri ng’ali n’abatume 12, n’olulala olunene ng’ali wamu n’abatume abatendekeddwa nabo abatumibwa. Nga bujulirwa bw’amaanyi nnyo obuweereddwa ku mazima e Ggaliraaya!—Matayo 4:18-25; Lukka 8:1-3; 9:1-6.
Okubuulira n’Obuvumu mu Buyudaaya ne Pereya
13, 14. (a) Mu kiseera ki Abayudaaya lwe banoonya okukwata Yesu? (b) Lwaki abamboowa balemererwa okukwata Yesu?
13 Kati biseera bya ttogo mu 32 C.E., era “ekiseera” kya Yesu kikyali mu maaso. Embaga y’Ensiisira eneetera okutuuka. Baganda ba Yesu bamugamba nti: “Va wano, ogende e Buyudaaya.” Baagala Yesu alage amaanyi ge ag’okukola eby’amagero eri abo bonna abakuŋŋaanye ku mbaga e Yerusaalemi. Kyokka, Yesu, amanyi akabi akaliyo. N’olwekyo, agamba baganda be: “Sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa.”—Yokaana 7:1-8.
14 Oluvannyuma lw’okumala ekiseera ekiwerako mu Ggaliraaya, Yesu agenda e Yerusaalemi ‘si mu lwatu, naye mu kyama.’ Mazima ddala Abayudaaya bamunoonya ku mbaga, nga bagamba: “Ali ludda wa?” Awo ng’embaga etuuse wakati, Yesu agenda mu yeekaalu n’atandika okuyigiriza n’obuvumu. Baagala okumukwata, oboolyawo bamuteeke mu kkomera oba bamutte. Kyokka, balemererwa kubanga ‘ekiseera kye kyali tekinnatuuka.’ Bangi kati bakkiriza Yesu. N’abamboowa Abafalisaayo be batuma okumukwata baddayo nga tebamutute, ne bagamba: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.”—Yokaana 7:9-14, 30-46.
15. Lwaki Abayudaaya balonda amayinja okukuba Yesu, era kaweefube ki ow’okubuulira gw’atandikawo oluvannyuma?
15 Obukuubagano wakati wa Yesu n’Abayudaaya abamuziyiza bweyongera ng’ayigiriza ebikwata ku Kitaawe mu yeekaalu mu kiseera ky’embaga. Ku lunaku lw’embaga olusembayo, nga basunguwadde olw’ebigambo Yesu by’ayogera ebikwata ku kubeerawo kwe nga tannafuuka muntu, Abayudaaya balonda amayinja okumukuba. Naye yeekweka n’abaddukako. (Yokaana 8:12-59) Ng’ali ebweru wa Yerusaalemi, Yesu atandikawo kaweefube ow’amaanyi ow’okuwa obujulirwa mu Buyudaaya. Alonda abayigirizwa 70, era oluvannyuma lw’okubawa ebiragiro, abatuma kinnababirye okubuulira mu kitundu ekyo. Bagenda mu buli kifo n’ekibuga Yesu gy’ateekateeka okugenda ng’awerekerwako abatume be.—Lukka 10:1-24.
16. Kabi ki Yesu kasumatuka mu kiseera ky’Embaga ey’Okutukuza, era mulimu ki gwe yenyigiramu nate?
16 Mu biseera eby’obutiti ebya 32 C.E., “ekiseera” kya Yesu kigenda kisembera. Ajja e Yerusaalemi ku Mbaga ey’Okutukuza. Abayudaaya bakyamunoonya okumutta. Yesu bw’aba ng’atambulira mu kisasi kya Yeekaalu, bamwetooloola. Nga bamuvunaana nate okuvoola, balonda amayinja okumukuba bamutte. Naye nga bwe yakola ku mirundi emirala, Yesu abaddukako. Mangu ddala atandika okuyigiriza, ku mulundi guno ng’agenda mu bibuga ne mu byalo mu ssaza ly’e Pereya, emitala w’Omuga Yolodaani okuva e Buyudaaya. Era bangi bamukkiriza. Naye abatumibwa okumutegeeza ebikwata ku mukwano gwe Lazaalo bamuleetera okuddayo e Buyudaaya.—Lukka 13:33; Yokaana 10:20-42.
17. (a) Bubaka ki obw’amangu Yesu bw’afuna ng’abuulira mu Pereya? (b) Kiki ekiraga nti Yesu amanyi ekigendererwa eky’ekikolwa ky’ateekwa okukola era n’ebiseera ebintu lwe byandituukiriziddwa?
17 Obubaka obw’amangu buva eri Maliza ne Malyamu, bannyina ba Lazaalo, ababeera e Bessaniya eky’omu Buyudaaya. “Mukama waffe, laba, gw’oyagala alwadde,” bw’atyo omubaka bw’amugamba. “Obulwadde buno si bwa kufa,” Yesu addamu, “wabula olw’ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n’ekitiibwa olw’obwo.” Okusobola okutuukiriza ekigendererwa kino, Yesu mu bugenderevu asigala mu kifo ekyo okumala ennaku bbiri. N’alyoka agamba abayigirizwa be: “Tuddeyo e Buyudaaya.” Nga tebayinza ku kikkiriza, bamuddamu: “Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukuba amayinja, ate gy’oba odda?” Naye Yesu amanyi nti “essaawa ez’emisana” ezisigaddeyo, oba ekiseera Katonda ky’amuwadde okukoleramu obuweereza bwe obw’oku nsi, kimpi. Amanyidde ddala bulungi ky’asaanidde okukola era n’ensonga lwaki.—Yokaana 11:1-10.
Eky’Amagero Omuntu Yenna ky’Atayinza Kubuusa Maaso
18. Yesu bw’atuuka mu Bessaniya, mbeera ki eriyo, era kiki ekibaawo ng’amaze okutuuka?
18 Mu Bessaniya, Maliza y’asooka okusisinkana Yesu, era n’agamba: “Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.” Malyamu n’abo abaali baze ewaabwe bagoberera. Bonna bakaaba. “Mwamuteeka wa?” Yesu ababuuza. Awo ne baddamu: “Mukama waffe jjangu olabe.” Nga batuuse ku ntaana—empuku ng’eteekeddwako ejjinja kungulu—Yesu agamba: “Muggyeewo ejjinja.” Nga tategeera kiki Yesu ky’ayagala okukola, Maliza agamba: “Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.” Naye Yesu abuuza: “Sikugambye nti Bw’onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”—Yokaana 11:17-40.
19. Lwaki Yesu asaba mu lujjudde nga tannaba kuzuukiza Lazaalo?
19 Ejjinja eriteekeddwa kungulu ku ntaana ya Lazaalo nga ligiddwawo, Yesu asaba mu ddoboozi eriwulikika abantu bategeere nti ky’agenda okukola kituukirizibwa mu maanyi ga Katonda. Awo ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene nti: “Lazaalo, fuluma ojje.” Lazaalo afuluma ng’amagulu n’emikono bizingiddwa mu mbugo n’ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. “Mumusumulule, mumuleke agende,” bw’atyo Yesu bw’agamba.—Yokaana 11:41-44.
20. Abo abalaba Yesu ng’azuukiza Lazaalo bakola ki?
20 Nga balabye eky’amagero kino, Abayudaaya bangi abaali bazze okubudaabuda Maliza ne Malyamu bakkiriza Yesu. Abalala bagenda eri Abafalisaayo okubabuulira ebibaddewo. Bakolawo ki? Amangu ago, bo ne bakabona abakulu bakuba Olukiiko olw’amangu. Mu kutya, bagamba: “Tukole tutya? [K]ubanga omuntu ono akola obubonero bungi. Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n’Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n’eggwanga lyaffe.” Naye Kabona Omukulu Kayaafa abagamba: “Mmwe temuliiko kye mumanyi, so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n’eggwanga lyonna lireme okubula.” N’olw’ekyo, okuva ku lunaku olwo bateesa okutta Yesu.—Yokaana 11:45-53.
21. Eky’amagero eky’okuzuukiza Lazaalo kyoleka ki?
21 Bwe kityo, olw’okulwawo okutuuka e Bessaniya, Yesu asobola okukola eky’amagero omuntu yenna kya tayinza kubuusa maaso. Ng’aweereddwa Katonda amaanyi, Yesu azuukiza omusajja abadde afudde okumala ennaku nnya. N’Olukiiko olw’ekitiibwa luwaliriziddwa okukitegeera n’okusalira Omukozi w’Eby’Amagero ekibonerezo eky’okufa! Bwe kityo, eky’amagero kyoleka enkyukakyuka enkulu mu buweereza bwa Yesu—enkyukakyuka okuva mu kiseera nga “essaawa ye tennaba kutuuka” okutuuka ku kiseera nga “essaawa ye etuuse.”
Wandizzeemu Otya?
• Yesu yalaga atya nti yali amanyi omulimu gwe ogwa muweebwa Katonda?
• Lwaki Yesu agaana amagezi ga maama we agakwata ku nviinyo?
• Kiki kye tuyinza okuyiga ku ngeri Yesu gye yakolaganangamu n’abamuziyiza?
• Lwaki Yesu alwawo okubaako ky’akolawo ku bulwadde bwa Lazaalo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
Yesu yakozesa amaanyi ge okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwamuweebwa Katonda