ESSOMO 18
Engeri y’Okumanyaamu Abakristaayo ab’Amazima
Abantu buwumbi na buwumbi bagamba nti Bakristaayo. Naye bye bakkiriza byawukana, era bagoberera emitindo gy’empisa gya njawulo. Kati olwo tuyinza tutya okumanya Abakristaayo ab’amazima?
1. Omukristaayo y’ani?
Omukristaayo ye muyigirizwa wa Yesu Kristo oba omugoberezi we. (Soma Ebikolwa 11:26.) Abantu bakiraga batya nti bayigirizwa ba Yesu? Yesu yagamba nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala.” (Yokaana 8:31) Ekyo kiraga nti Abakristaayo ab’amazima balina okukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza. Ate era olw’okuba ebyo byonna Yesu bye yayigirizanga yabyesigamyanga ku Byawandiikibwa, Abakristaayo ab’amazima ebyo bye bakkiririzaamu nabo babyesigamya ku Byawandiikibwa.—Soma Lukka 24:27.
2. Abakristaayo ab’amazima balaga batya okwagala?
Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mwagalanenga nga nange bwe mbaagadde.” (Yokaana 15:12) Yesu yakiraga atya nti yali ayagala nnyo abagoberezi be? Yawangayo akadde okubeerako nabo, yabazzangamu amaanyi, era yabayambanga. Ate era yawaayo obulamu bwe ku lwabwe. (1 Yokaana 3:16) Mu ngeri y’emu, Abakristaayo ab’amazima teboogera bwogezi ku kwagala. Mu bye boogera ne bye bakola, bakiraga nti baagalana.
3. Mulimu ki Abakristaayo ab’amazima gwe bakola?
Yesu alina omulimu gwe yawa abagoberezi be. ‘Yabatuma okubuulira Obwakabaka bwa Katonda.’ (Lukka 9:2) Ng’oggyeeko okuyigiririza mu bifo mwe baasinzizanga, Abakristaayo abaasooka baagendanga mu bifo ebya lukale ne mu maka g’abantu okubabuulira. (Soma Ebikolwa 5:42; 17:17.) Ne leero Abakristaayo ab’amazima babuulira obubaka obuli mu Bayibuli wonna we basobola okusanga abantu. Olw’okuba baagala bantu bannaabwe, bakozesa ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okubabuulira obubaka obuli mu Bayibuli obuwa essuubi era obubudaabuda.—Makko 12:31.
YIGA EBISINGAWO
Laba engeri gy’oyinza okwawulawo Abakristaayo ab’amazima ku bantu abatagoberera ebyo Yesu bye yayigiriza n’ekyokulabirako kye yassaawo.
4. Bafuba okutegeerera ddala amazima agali mu Bayibuli
Waliwo abantu bangi abagamba nti Bakristaayo naye nga tebakitwala nti kikulu okukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Amadiini agamu ageeyita Amakristaayo galemeddwa gatya okuyigiriza ebyo Yesu bye yayigiriza?
Yesu yayigiriza amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Soma Yokaana 18:37, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Okusinziira ku ebyo Yesu bye yayogera, tuyinza tutya okumanya Abakristaayo abali “ku ludda lw’amazima”?
5. Babuulira amazima agali mu Bayibuli
Yesu bwe yali tannaddayo mu ggulu, alina omulimu gwe yawa abagoberezi be, era bakyagukola n’okutuusa leero. Soma Matayo 28:19, 20 ne Ebikolwa 1:8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Omulimu gw’okubuulira gwandikoleddwa kutuuka wa?
6. Bakolera ku ebyo bye bayigiriza
Kiki ekyaleetera omusajja ayitibwa Tom okuba omukakafu nti yali azudde Abakristaayo ab’amazima? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Okusinziira ku vidiyo eyo, kiki ekyali kireetedde Tom okwetamwa eby’eddiini?
Lwaki mukakafu nti yazuula amazima?
Okubaako ky’okolawo kisinga okwogera obwogezi. Soma Matayo 7:21, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Kiki Yesu ky’atwala ng’ekisinga obukulu—ebyo bye tukkiriza, oba ebyo bye tukola?
7. Baagalana
Ddala Abakristaayo babadde beetegefu okufiirwa obulamu bwabwe ku lw’Abakristaayo bannaabwe? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Mu vidiyo, kiki ekyaleetera Lloyd okussa obulamu bwe mu kabi ku lwa mukkiriza munne ayitibwa Johansson?
Olowooza yeeyisa ng’Omukristaayo ow’amazima?
Soma Yokaana 13:34, 35, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Abakristaayo ab’amazima bayisa batya abantu aba langi endala oba ab’amawanga amalala?
Booleka batya okwagala mu kiseera ky’entalo?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Amadiini gonna ge gamu; tegalina njawulo.”
Kyawandiikibwa ki ky’oyinza okukozesa okulaga omuntu engeri gye tuyinza okumanyaamu Abakristaayo ab’amazima?
MU BUFUNZE
Abakristaayo ab’amazima bakolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli, booleka okwagala okwa nnamaddala, era babuulira amazima agali mu Bayibuli.
Okwejjukanya
Abakristaayo ab’amazima bye bayigiriza babyesigamya ku ki?
Ngeri ki enkulu Abakristaayo ab’amazima gye booleka?
Mulimu ki Abakristaayo ab’amazima gwe bakola?
LABA EBISINGAWO
Manya ebisingawo ebikwata ku bantu abafuba okukoppa Yesu Kristo n’okukolera ku ebyo bye yayigiriza.
Laba engeri omukazi omu eyali omubiikira gye yazuulamu Abakristaayo ab’amazima.
“Baakozesa Bayibuli Okuddamu Ebibuuzo Byange Byonna!” (Omunaala gw’Omukuumi, Apuli 1, 2014)
Laba engeri Abakristaayo ab’amazima gye balagamu okwagala bakkiriza bannaabwe ababa bakoseddwa obutyabaga.
Yaggibwa mu vidiyo, Okuyamba Bakkiriza Bannaffe nga Waguddewo Akatyabaga (3:57)
Laba ebyo Abakristaayo ab’amazima leero bye bafaanaganya n’Abakristaayo abaasooka, n’engeri gye batuukirizaamu ebyo Yesu bye yagamba nti bye byandyawuddewo abagoberezi be ab’amazima.
“Abakristaayo ab’Amazima Tubategeerera ku Ki?” (Watchtower, Maaki 1, 2012)