Engeri Amazima gye Gatufuulamu ab’Eddembe
1 Lumu Yesu yagamba Abayudaaya abaali bamukkirizza nti: “Mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” (Yok. 8:32) Wano Yesu yali ayogera ku ddembe erisingira ewala abantu lye balina, kwe kugamba, abantu bonna lye bayinza okufuna ka babe baavu, bagagga, bayivu oba nga si bayivu. Yesu yayigiriza amazima aganditusumuludde okuva mu kibi n’okufa. Yesu yagamba nti, ‘buli muntu yenna akola ekibi ye muddu w’ekibi.’ (Yok. 8:34) Nga twesunga nnyo ekiseera abantu bonna abawulize lwe “baliweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda”!—Bar. 8:21.
2 Amazima agakwata ku Yesu n’ekifo kye mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda ge gatuwa eddembe ng’eryo. Gazingiramu okumanya ebikwata ku ssaddaaka y’ekinunulo gye yawaayo ku lwaffe. (Bar. 3:24) Ne kaakati bwe tuba abawulize ne tukolera ku mazima ga Baibuli, tusobola okufuna eddembe ery’ekigero nga tetutya era nga tetweraliikirira bikolwa byonna ebiyinza okutuleetako obulabe.
3 Eddembe Okuva mu Kutya n’Okweraliikirira: Tetusaanidde kweraliikirira mbeera eziri mu nsi kubanga tumanyi lwaki weeziri era tumanyi nti Yakuwa ajja kuzimalirawo ddala. (Zab. 37:10, 11; 2 Tim. 3:1; Kub. 12:12) Okugatta ku ekyo, amazima gatusumulula okuva mu njigiriza ez’obulimba ezikwata ku mbeera y’abafu. Tukimanyi nti abafu tebayinza kutulumya, tebabonyaabonyezebwa mirembe gyonna, era nti Katonda tatta bussi bantu asobole okuba nabo mu twale ery’emyoyo.—Mub. 9:5; Bik. 24:15.
4 Amazima ng’ago gaanyweza abafumbo abaali bafiiriddwa mutabani waabwe mu kabenje k’emmotoka. Maama we yagamba: “Ennaku ey’amaanyi gye tulina ku mwoyo teyinza kuggwaawo okutuusa nga tumaze okuddamu okulaba mutabani waffe ng’azuukiziddwa, era tumanyi nti obulumi bwe tulina bwa kaseera buseera.”
5 Eddembe Okuva mu Bikolwa eby’Akabi: Amazima ga Baibuli gasobola okukyusa endowooza n’embeera z’omuntu n’avvuunuka ebizibu ebisoboka okwewalibwa. (Bef. 4:20-24) Ng’ekyokulabirako, okubeera abeesigwa n’okuba abanyiikivu kiyambako okukendeeza ku bwavu. (Nge. 13:4) Okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza n’okwagala birongoosa enkolagana yaffe n’abalala. (Bak. 3:13, 14) Okussa ekitiibwa mu bukulembeze obw’Ekikristaayo kikendeeza ku bizibu by’omu maka. (Bef. 5:33–6:1) Okwewala ebitamiiza, obukaba, taaba n’enjaga kirongoosa obulamu.—Nge. 7:21-23; 23:29, 30; 2 Kol. 7:1.
6 Omusajja eyali amaze emyaka mwenda ng’akozesa enjaga, yali alemeddwa okugyekutulako. Lumu mwannyinaffe aba abuulira ku luguudo n’amusisinkana. Omusajja ono yakkiriza okusigaza akatabo era ne bakola enteekateeka ey’okumukyalira awaka we. Yatandika okuyiga Baibuli era waayita emyezi ebiri n’alekera awo okukozesa enjaga. Oluvanyuma lw’emyezi munaana okuva lwe baatandika okusoma naye Baibuli, yeewaayo n’abatizibwa. Mwannyina era ne muganda we bwe baalaba nti omusajja ono takyakozesa njaga, nabo baasikirizibwa okutandika okusoma Baibuli.
7 Yamba Abalala Okufuna Eddembe: Abo abaludde mu bufuge bw’enjigiriza ez’obulimba, bayinza okukisanga nga kizibu okutegeera eddembe eriva mu Kigambo kya Katonda. Okusobola okutuuka ku mitima gy’abali ng’abo, omuyigiriza kimwetaagisa okufuba mu ngeri ey’enjawulo. (2 Tim. 4:2, 5) Kino si kye kiseera okuddirira mu mulimu gwaffe ‘ogw’okulangirira eddembe eri abawambe.’ (Is. 61:1) Eddembe ery’Ekikristaayo lya muwendo nnyo. Okulifuna kiviiramu obulamu obutaggwaawo.—1 Tim. 4:16.