Beera Mwetegefu!
“Mubeerenga beetegefu kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.”—MAT. 24:44.
1, 2. (a) Bintu ki Bayibuli bye yalagula ebiyinza okugeraageranyizibwa ku bulumbaganyi bw’engo? (b) Kiki ky’olina okukola okusobola okuwonawo nga Kristo azze okuzikiriza ensi ya Sitaani?
OKUMALA emyaka mingi, waaliwo omuzannyi w’emizannyo eyasanyusanga abantu ng’azannya n’engo ze, ze yali atendese obulungi. Omuzannyi oyo yagamba nti: “Ensolo bwe kwesiga, owulira ng’omuntu afunye ekirabo ekisingayo obulungi mu nsi yonna.” Kyokka, nga Okitobba 3, 2003, emu ku ngo ze yamwefuulira. Olw’ensonga etaategeerekeka, engo eyo eyali ezitowa kilo 172 yamutaagulataagula. Ekyo kyali tekisuubirwa, era omusajja oyo yali takyetegekedde.
2 Bayibuli eyogera ku bulumbaganyi obujja okukolebwa “ensolo,” nga tekisuubirwa. (Soma Okubikkulirwa 17:15-18.) “Ensolo” eno kye ki, era enneerumba ani? Ensolo eno ekiikirira Ekibiina ky’Amawanga Amagatte awamu n’enteekateeka y’eby’obufuzi eriwo mu nsi yonna. Ensolo eno ejja kwefuulira Babulooni Ekinene ekiringa malaaya, amadiini gonna ag’obulimba, ekizikirize. Kino kijja kwewuunyisa abantu bangi kubanga ensolo ne Babulooni Ekinene bya mukwano. Byombi kitundu kya nsi ya Sitaani. Obulumbaganyi buno bunaabaawo ddi? Tetumanyi lunaku wadde ekiseera. (Mat. 24:36) Naye kye tumanyi kiri nti bujja kubaawo mu kiseera kye tutabusuubiriramu era nti ekiseera ekyo kiri kumpi. (Mat. 24:44; 1 Kol. 7:29) N’olwekyo, tulina okubeera abeetegefu olwo nno obulumbaganyi obwo bwe bunaabaawo tusobole okuba mu abo Kristo b’anaanunula ng’azze okuzikiriza ababi! (Luk. 21:28) Ebyokulabirako eby’abaweereza ba Katonda abaali abeetegefu ne basobola okulaba okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda bisobola okutuyamba okubeera abeetegefu. Eby’okulabirako bino bituyigiriza ki?
Beera Mwetegefu—Nga Nuuwa
3. Mbeera ki eyakifuula ekizibu eri Nuuwa okuweereza Katonda n’obwesigwa?
3 Wadde nga mu kiseera kye ensi yali ejjudde ebikolwa ebibi, Nuuwa yasigala nga mwetegefu ng’alindirira okutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Katonda. Lowooza ku buzibu Nuuwa bwe yayolekagana nabwo nga bamalayika abajeemu beeyambazza emibiri gy’abantu ne batandika okwetaba n’abakazi wano ku nsi, ekintu ekitaali kya mu butonde! Bamalayika bano baazaala mu bakazi abaana abataali ba bulijjo, abaali ‘ab’amaanyi’ era abaatulugunyanga abalala. (Lub. 6:4) Lowooza ku bikolwa eby’obukambwe ebyakolebwanga agasajja gano agaali agawagguufu buli we gaabeeranga. Ekyo kyaviirako ebikolwa ebibi okubuna buli wamu era n’ebirowoozo by’abantu awamu n’ebikolwa byabwe byonna okwonooneka. Oluvannyuma Mukama Afuga Byonna Yakuwa yateekawo ekiseera mwe yandizikiririzza abantu abo bonna ababi.—Soma Olubereberye 6:3, 5, 11, 12.a
4, 5. Embeera eriwo mu kiseera kyaffe efaananako etya eyo eyaliwo mu kiseera kya Nuuwa?
4 Yesu yalagula nti embeera mu kiseera kyaffe yandibadde efaananako eyo eyaliwo mu kiseera kya Nuuwa. (Mat. 24:37) Ng’ekyokulabirako, ne leero emyoyo emibi gireetera abantu okwenyigira mu bikolwa ebibi. (Kub. 12:7-9, 12) Badayimooni abo beeyambaza emibiri gy’abantu mu kiseera kya Nuuwa. Wadde nga kati tebakyasobola kweyambaza mibiri gy’abantu, bafuba okuleetera abantu, abato n’abakulu, okukola ebikolwa ebibi. Badayimooni bano aboonoonefu, banyumirwa nnyo okulaba ng’abantu beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’ebikolwa ebirala ebibi.—Bef. 6:11, 12.
5 Ekigambo kya Katonda kiraga nti Omulyolyomi “mussi” era ‘y’oyo aleeta okufa.’ (Yok. 8:44; Beb. 2:14) Naye obuyinza bw’alina obw’okutta abantu buliko ekkomo. Kyokka, asobola okusendasenda abantu okutta abantu abalala oba okukola ebintu ebiyinza okubaviirako okufa. Ng’ekyokulabirako, ku buli baana 142 abazaalibwa mu Amerika, omu ku bo atemulwa. Bwe kiba nti Yakuwa yasobola okulaba ebikolwa ebibi ebyali bikolebwa mu kiseera kya Nuuwa, olowooza ebikolwa eby’obukambwe ebiyitiridde mu kiseera kino byo tabiraba? Olowooza taabeeko ne ky’akolawo?
6, 7. Nuuwa n’ab’omu maka ge baalaga batya nti baalina okukkiriza era nti baali batya Katonda?
6 Nga wayise ekiseera, Katonda yagamba Nuuwa nti yali agenda kuleeta amataba ku nsi azikirize buli kintu ekirina omubiri. (Lub. 6:13, 17) Yakuwa yalagira Nuuwa okuzimba eryato eddene. Nuuwa n’ab’omu maka ge baatandikirawo okuzimba eryato. Kiki ekyabayamba okugondera Katonda n’okubeera abeetegefu nga bwe balindirira Katonda okuzikiriza ababi?
7 Okukkiriza okw’amaanyi Nuuwa n’ab’omu maka ge kwe baalina awamu n’okutya Katonda byabakubiriza okukola nga Katonda bwe yabalagira. (Lub. 6:22; Beb. 11:7) Ng’omutwe gw’amaka, Nuuwa yasigala ng’atunula mu by’omwoyo n’atakkiriza kutwalirizibwa mpisa mbi ez’abantu abaali bamwetoolodde. (Lub. 6:9) Era yali akimanyi nti n’ab’omu maka ge kyali kibeetaagisa okwewala empisa embi n’omwoyo ogw’obujeemu ogw’abantu abaali babeetoolodde. Kyali kibeetaagisa okwewala okwemalira ku bintu ebya bulijjo. Katonda yali abakwasizza omulimu, era kyali kibeetaagisa okugwemalirako ng’amaka.—Soma Olubereberye 6:14, 18.
Nuuwa n’ab’Omu Maka Ge Baali Beetegefu
8. Kiki ekiraga nti ab’omu maka ga Nuuwa baali beemalidde ku Katonda?
8 Wadde nga Bayibuli esinga kwogera ku Nuuwa eyali omutwe gw’amaka, mukyala we, batabani be, awamu ne baka batabani be nabo baali basinza Yakuwa. Kino kyeyolekera mu bigambo bya nnabbi Ezeekyeri. Yakiraga nti singa Nuuwa yaliwo mu kiseera kye, abaana be tebandirokoleddwa lwa butuukirivu bwa kitaabwe. Baali bakulu ekimala okwesalirawo okugondera Katonda oba obutamugondera. Bwe kityo, baali bakyolese mu bulamu bwabwe nti baali baagala Katonda awamu n’amakubo ge. (Ez. 14:19, 20) Ab’omu maka ga Nuuwa bakkiriza obulagirizi bwe yabawa, baaweerereza wamu naye Katonda, era tebakkiriza bantu balala kubalemesa kukola mulimu Katonda gwe yali abawadde.
9. Byakulabirako ki ebiraga nti leero waliwo abantu abalina okukkiriza ng’okwa Nuuwa?
9 Nga kitusanyusa nnyo okulaba nga mu kibiina kya Yakuwa okwetooloola ensi mulimu emitwe gy’amaka bangi abafuba okukoppa Nuuwa! Bakimanyi bulungi nti tekimala kuwa ba mu maka gaabwe bya kulya, bya kwambala, wa kusula, awamu n’obuyigirize wabula balina n’okubalabirira mu by’omwoyo. Mu kukola batyo, baba bakiraga nti beetegefu nga bwe balindirira ekyo Yakuwa ky’anaatera okukola.
10, 11. (a) Nuuwa n’ab’omu maka ge baawulira batya nga bali mu lyato? (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza?
10 Nuuwa, mukyala we, batabani be, ne baka batabani be bayinza okuba nga baamala emyaka nga 50 nga bazimba eryato. Bwe baali bazimba eryato, bateekwa okuba nga baayingiranga nga bwe bafuluma mu lyato emirundi n’emirundi. Baaziba emiwaatwa gyonna amazzi mwe gaali gasobola okuyita okuyingira mu lyato. Baateekamu emmere era ne bayingiza n’ebisolo. Kuba akafaananyi. Kya ddaaki olunaku mulindwa lutuuka. Ennaku z’omwezi 17, omwezi gwa kubiri, omwaka 2370 E.E.T., Nuuwa n’ab’omu maka ge bayingira mu lyato. Yakuwa aggalawo oluggi lw’eryato, era enkuba etandika okutonnya. Eno si nkuba eya bulijjo. Ensulo z’amazzi amangi agali waggulu mu bbanga zizibukuka, era enkuba ey’amaanyi efukumuka. (Lub. 7:11, 16) Abantu abali ebweru w’eryato bafa so ng’ate bo abali mu lyato tewali kabi konna kabatuukako. Nuuwa n’ab’omu maka ge baawulira batya? Bateekwa okuba nga baasiima nnyo ekyo Katonda kye yali abakoledde. Bateekwa okuba nga muli baagamba nti ‘Nga twakola ekintu eky’amagezi okutambula ne Katonda n’okusigala nga tuli beetegefu!’ (Lub. 6:9) Osobola okukuba akafaananyi ng’owonyeewo ku Kalumagedoni, nga naawe osiima Katonda olw’ekyo ky’akukoledde?
11 Tewali kintu kyonna kiyinza kulemesa Muyinza w’Ebintu Byonna kutuukiriza kisuubizo kye eky’okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani eno ey’ebintu. Weebuuze, ‘Nneesiga Katonda nti ajja kutukkiriza ebisuubizo bye byonna mu kiseera kye ekigereke?’ Bwe kiba kityo, beera mwetegefu era okuumire mu birowoozo byo “olunaku lwa Yakuwa” olunaatera okutuuka.—2 Peet. 3:12.
Musa Yasigala ng’Ali Bulindaala
12. Bintu ki ebyali bisobola okuwugula Musa?
12 Ka twetegerezeeyo ekyokulabirako ekirala. Mu ndaba ey’obuntu, Musa yali mu bulamu obweyagaza mu Misiri. Ng’oyo eyali afuuse mutabani wa muwala wa Falaawo, Musa ateekwa okuba nga yali assibwamu nnyo ekitiibwa, ng’alya emmere ennungi, ng’ayambala engoye ennungi, era ng’abeera mu kifo ekisingayo okulabika obulungi. Yafuna n’obuyigirize obulungi. (Soma Ebikolwa 7:20-22.) Era ayinza okuba nga yali ajja kusikira ebintu bingi.
13. Kiki ekyayamba Musa okukuumira ebisuubizo bya Katonda mu birowoozo bye?
13 Tewali kubuusabuusa nti ebyo bazadde ba Musa bye baamuyigiriza ng’akyali muto byamuyamba okukiraba nti tekiba kya magezi kusinza bifaananyi ng’Abamisiri bwe baali bakola. (Kuv. 32:8) Obuyigirize bwe yafuna mu Misiri awamu n’eby’obugagga ebyali mu lubiri lwa Falaawo tebyaleetera Musa kuva ku kusinza okw’amazima. Ateekwa okuba nga yafumiitirizanga nnyo ku bintu Katonda bye yasuubiza bajjajja be era yali mwetegefu okukola Katonda by’ayagala. Musa yagamba abaana ba Isiraeri nti: “Mukama . . . Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe.”—Soma Okuva 3:15-17.
14. Okukkiriza kwa Musa n’obuvumu bwe yalina byagezesebwa bitya?
14 Obutafaananako ebifaananyi ebyali bikiikirira bakatonda b’e Misiri abataalina bulamu, Yakuwa, Katonda ow’amazima, yali wa ddala eri Musa. Engeri gye yatambuzaamu obulamu bwe, Musa yali ng’alaba “Oyo atalabika.” Yali akimanyi nti Katonda yandinunudde abantu be, naye yali tamanyi ddi ekyo lwe kyandibaddewo. (Beb. 11:24, 25, 27) Eky’okuba nti yali ayagala nnyo Abebbulaniya okununulibwa, kyeyolekera mu ekyo kye yakola bwe yalwanirira Omuisiraeri eyali ayisibwa obubi. (Kuv. 2:11, 12) Kyokka, ekiseera kya Yakuwa kyali tekinnatuuka, bwe kityo Musa yalina okugenda mu nsi ey’ewala n’abeera eyo ng’emmomboze. Tewali kubuusabuusa nti tekyali kyangu eri Musa eyali avudde mu bulamu obulungi mu Misiri okumanyira obulamu obw’omu ddungu. Wadde kyali kityo, Musa yali mwetegefu okukolera ku bulagirizi bwonna Yakuwa bwe yandimuwadde. Bwe kityo, oluvannyuma lw’okumala emyaka 40 ng’ali mu nsi y’e Midiyaani, Katonda yali asobola okumukozesa okununula baganda be. Katonda yamulagira okuddayo e Misiri, era ekyo Musa yakkiriza okukikola. Ekiseera kyali kituuse Musa okukwasibwa omulimu gwe yalina okukola nga Katonda bwe yali ayagala. (Kuv. 3:2, 7, 8, 10) Ng’azeeyo e Misiri, Musa, “omusajja eyali omuwombeefu ennyo, okusinga abantu bonna,” yali yeetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi n’okuba omuvumu okusobola okuyimirira mu maaso ga Falaawo. (Kubal. 12:3) Musa yali mwetegefu okugenda mu maaso ga Falaawo enfunda n’enfunda ng’ebibonyoobonyo bigenda mu maaso, wadde nga yali tamanyi mirundi emeka gye yandigenzeeyo.
15. Wadde nga Musa yafuna ebintu ebyamumalangamu amaanyi, kiki ekyamukubiriza okukozesa buli kakisa ke yafunanga okuwa Kitaawe ow’omu ggulu ekitiibwa?
15 Mu myaka 40 egyaddirira, okuva mu 1513 E.E.T. okutuuka mu 1473 E.E.T., Musa yafuna ebintu bingi ebyamumalangamu amaanyi. Wadde kyali kityo, yakozesanga buli kakisa ke yafunanga okuwa Yakuwa ekitiibwa era yakubiriza ne Baisiraeri banne okukola kye kimu. (Ma. 31:1-8) Lwaki? Kubanga yali ayagala nnyo erinnya lya Yakuwa n’obufuzi Bwe okusinga erinnya lye. (Kuv. 32:10-13; Kubal. 14:11-16) Wadde nga naffe tufuna ebintu ebitumalamu amaanyi, tulina okweyongera okuwagira obufuzi bwa Katonda, nga tuli bakakafu nti bulijjo engeri gy’akolamu ebintu bye ya magezi, ya butuukirivu, era ye esingirayo ddala obulungi. (Is. 55:8-11; Yer. 10:23) Naawe bw’otyo bw’okiraba?
Mubeerenga Bulindaala!
16, 17. Lwaki ebigambo ebiri mu Makko 13:35-37 bya makulu nnyo gy’oli?
16 “Mutunulenga, mubeerenga bulindaala, kubanga temumanyi ddi ekiseera ekigereke we kinaatuukira.” (Mak. 13:33) Yesu yayogera ebigambo ebyo bwe yali ng’ayogera ku kabonero akandiraze amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu. Lowooza ku bigambo bino ebifundikira obunnabbi bwa Yesu obwo ebiri mu kitabo kya Makko: “Mubeere bulindaala, kubanga temumanyi ddi nnyini nnyumba w’alijjira oba kawungeezi, oba kiro mu ttumbi, oba enkoko we zikookolimira, oba ku makya ennyo; aleme kubasanga nga mwebase singa aba abaguddeko bugwi. Naye kye mbabuulira mmwe nkibuulira bonna, Mubeere bulindaala.”—Mak. 13:35-37.
17 Ebigambo bya Yesu ebyo bikulu nnyo gye tuli. Yayogera ku bisisimuka bina eby’enjawulo. Tekyabanga kyangu muntu kusigala ng’atunula mu kisisimuka ekisembayo, kubanga kyavanga ku ssaawa mwenda ogw’ekiro okutuusa ng’enjuba evuddeyo. Abakugu mu by’entalo bagamba nti ekyo kye kiseera ekisingayo okuba ekirungi okulumbiramu abalabe, kubanga mu kiseera ekyo kiba kyangu okubasanga nga ‘beebase.’ Mu ngeri y’emu, leero ng’abantu abasinga obungi beebase mu by’omwoyo, kiyinza okutubeerera ekizibu ennyo okusigala nga tutunula mu by’omwoyo. Kati olwo waliwo ensonga yonna eyandituleetedde okubuusabuusa nti twetaaga okusigala nga ‘tutunula’ era nga ‘tuli bulindaala’ nga bwe tulindirira enkomerero awamu n’okununulibwa kwaffe?
18. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, nkizo ki ey’ekitalo gye tulina?
18 Omuzannyi w’emizannyo eyayogeddwako ku ntandikwa yawona okuttibwa engo. Naye obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti amadiini gonna ag’obulimba awamu n’enteekateeka ya Sitaani yonna ey’ebintu byo tebijja kuwona kuzikirizibwa okujja. (Kub. 18:4-8) Ka ffenna abaweereza ba Katonda, abato n’abakulu, tufube okuba abeetegefu nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa nga Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baakola. Ensi gye tulimu ejjudde abantu abatassa kitiibwa mu Katonda, nga muno mwe muli abakulembeze b’amadiini ag’obulimba, abantu ababuusabuusa obanga Katonda gyali, awamu n’abo abatakkiriza nti Katonda gyali. Kyokka tetulina kukkiriza kutwalirizibwa bantu ng’abo. N’olwekyo, ka tweyongere okufumiitiriza ku byokulabirako bye tulabye n’okukozesa buli kakisa ke tufuna okwogera ku Yakuwa “Katonda wa bakatonda,” yee, “Katonda omukulu, ow’amaanyi era ow’entiisa,” n’okumuwa ekitiibwa.—Ma. 10:17.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebikwata ku ‘myaka ekikumi mu abiri’ egyogerwako mu Olubereberye 6:3, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 15, 2010, olupapula 30.
Ojjukira?
• Lwaki Nuuwa yali yeetaaga okufaayo ennyo ku byetaago by’ab’omu maka ge eby’omwoyo?
• Ekiseera kyaffe kifaananako kitya ekiseera kya Nuuwa?
• Wadde nga Musa yafuna ebintu bingi ebyamumalangamu amaanyi, lwaki ebirowoozo bye yabikuumira ku bisuubizo bya Yakuwa?
• Bunnabbi ki obwa Bayibuli obukukubiriza okusigala ng’otunula mu by’omwoyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Nuuwa n’ab’omu maka ge beemalira ku mulimu gwa Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Ebisuubizo bya Yakuwa byayamba Musa okusigala ng’atunula