-
Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
3. Manya embeera omuntu gy’abeeramu ng’afudde
Okwetooloola ensi, abantu bangi balina endowooza za njawulo ku ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde. Naye endowooza ezo zonna si ntuufu.
Mu kitundu gy’obeera abantu balina ndowooza ki ku kituuka ku muntu ng’afudde?
Okusobola okumanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza, laba VIDIYO.
Soma Omubuulizi 3:20, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?
Omuntu bw’afa waliwo ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu?
Bayibuli eyogera ku kufa kwa Laazaalo eyali mukwano gwa Yesu. Bw’oba osoma Yokaana 11:11-14, weetegereze ekyo Yesu kye yayogera ku mbeera Laazaalo gye yalimu ng’afudde. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Okufa Yesu yakugeraageranya ku ki?
Ekyo Yesu kye yayogera kitulaga ki ku mbeera omuntu gy’abaamu ng’afudde?
Olowooza ebyo Bayibuli by’eyogera ku kufa bikola amakulu?
-
-
Abantu Bo Abaafa Basobola Okuddamu Okuba Abalamu!Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
4. Yesu yakiraga nti asobola okuzuukiza abafu
Manya ebisingawo ku ekyo Yesu kye yakolera mukwano gwe Laazaalo. Soma Yokaana 11:14, 38-44, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Tumanya tutya nti ddala Laazaalo yali afudde? Laba olunyiriri 39.
Singa Laazaalo yali agenze mu ggulu, olowooza Yesu yandimukomezzaawo wano ku nsi?
-