Okukkiriza—Engeri Etuyamba Okuba Abanywevu
OKUKKIRIZA kulina amaanyi mangi. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Sitaani ayagala okututta mu by’omwoyo, okukkiriza kutusobozesa “okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.” (Bef. 6:16) Bwe tuba n’okukkiriza, tusobola okwaŋŋanga ebizibu ebiringa ensozi. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Singa muba n’okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mujja kugamba olusozi luno nti, ‘Va wano odde wali,’ era lujja kuvaawo.” (Mat. 17:20) Okuva bwe kiri nti okukkiriza kusobola okutunyweza mu by’omwoyo, tusaanidde okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Okukkiriza kye ki? Embeera y’omutima gwaffe ekwata etya ku kukkiriza kwaffe? Tuyinza tutya okunyweza okukkiriza kwaffe? Era ani gwe tusaanidde okukkiririzaamu?—Bar. 4:3.
OKUKKIRIZA KYE KI?
Okukkiriza kisingawo ku kukkiriza obukkiriza Bayibuli ky’egamba, kubanga “ne badayimooni nabo bakkiriza [nti Katonda gyali] era ne bakankana.” (Yak. 2:19) Kati olwo okukkiriza kye ki?
Bayibuli eraga nti okukkiriza kuzingiramu ebintu bibiri. Ekisooka, “okukkiriza bwe butaba na kubuusabuusa kwonna nti ky’osuubira kijja kutuukirira.” (Beb. 11:1a) Bw’oba n’okukkiriza, toba na kubuusabuusa kwonna nti buli kimu Yakuwa ky’agamba kituufu era nti kijja kutuukirira. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti: “Bwe muba nga musobola okumenya endagaano yange ekwata ku budde obw’emisana n’endagaano yange ekwata ku budde obw’ekiro, emisana n’ekiro bireme okubeerawo mu kiseera kyabyo, olwo endagaano gye nnakola n’omuweereza wange Dawudi esobola okumenyebwa.” (Yer. 33:20, 21) Waliwo lw’obeera awo ne weeraliikirira nti enjuba eyinza okulekera awo okuvaayo oba okugwa, ne tuba nga tetukyalina budde bwa misana na bwa kiro? Bwe kiba nti tobuusabuusa mateeka agafuga obwengula agasobozesa ensi okwebonga n’okwetooloola enjuba, wandibuusabuusizza Omutonzi eyateekawo amateeka ago nti asobola kutuukiriza kigambo kye? Kya lwatu nedda!—Is. 55:10, 11; Mat. 5:18.
Eky’okubiri, okukkiriza “bwe bukakafu obulaga nti ky’okkiriza ddala gye kiri wadde nga tekirabika.” Okukkiriza “bwe bukakafu obulaga” oba “obumatiza” nti ekintu ekitalabibwa na maaso weekiri era kya ddala. (Beb. 11:1b; obugambo obuli wansi) Lowooza ku kyokulabirako kino: Watya singa omwana akubuuza nti, ‘Omanya otya nti empewo weeri?’ Wadde nga tolabanga ku mpewo, oyinza okuyamba omwana okulowooza ku bintu ebikakasa nti empewo weeri, gamba nga, okuba nti tussa, okwenyeenya kw’ebintu empeewo by’efuuwa, n’ebirala. Omwana bw’alaba obukakafu obwo, atandika okukkiriza nti ekyo ky’atalaba ddala gyekiri. Mu ngeri y’emu, okukkiriza kwesigamiziddwa ku bukakafu obwenkukunala.—Bar. 1:20.
EMBEERA Y’OMUTIMA ENNUNGI
Okuva bwe kiri nti okukkiriza kwesigamiziddwa ku bukakafu, omuntu okusobola okufuna okukkiriza alina okusooka ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Tim. 2:4) Naye ekyo ku bwakyo tekimala. Omutume Pawulo yagamba nti: “Omuntu akkiriza na mutima gwe.” (Bar. 10:10) Ng’oggyeeko okukkiriza amazima, omuntu era alina okugatwala nga ga muwendo. Ekyo kye kimuyamba okwoleka okukkiriza, kwe kugamba, okukolera ku mazima. (Yak. 2:20) Omuntu alina omutima ogutasiima mazima asobola n’okugaana obukakafu obw’enkukunala nga tayagala kukyusa by’akkiririzaamu oba ng’ayagala okusigala ng’akola ye by’ayagala. (2 Peet. 3:3, 4; Yud. 18) Eyo ye nsonga lwaki mu biseera eby’edda abamu ku bantu abaalaba ebyamagero tebaayoleka kukkiriza. (Kubal. 14:11; Yok. 12:37) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu guyamba abo bokka abaagala amazima okufuna okukkiriza.—Bag. 5:22; 2 Bas. 2:10, 11.
EBYASOBOZESA DAWUDI OKUBA N’OKUKKIRIZA OKUNYWEVU
Omu ku bantu abaalina okukkiriza okunywevu yali Kabaka Dawudi. (Beb. 11:32, 33) Naye si buli omu mu maka Dawudi mwe yali ava nti yalina okukkiriza ng’okwo. Ng’ekyokulabirako, lumu Eriyaabu, muganda wa Dawudi omukulu, teyayoleka kukkiriza bwe yanenya Dawudi olw’okubuuza ebikwata ku Goliyaasi. (1 Sam. 17:26-28) Tewali muntu azaalibwa na kukkiriza era tewali akusikira kuva ku bazadde be. N’olwekyo okukkiriza Dawudi kwe yalina kwava ku nkolagana gye yalina ne Katonda.
Mu Zabbuli 27, Dawudi yalaga ebyamuyamba okuba n’okukkiriza okunywevu ng’okwo. (Luny. 1) Dawudi yafumiitirizanga ku bye yali ayiseemu ne ku ngeri Yakuwa gye yali amuyambyemu ng’abalabe be bamulumbye. (Luny. 2, 3) Yali asiima enteekateeka ey’okusinza Yakuwa. (Luny. 4) Dawudi yasinzanga Katonda ku weema ng’ali wamu ne bakkiriza banne. (Luny. 6) Yanyiikiriranga okusaba Yakuwa. (Luny. 7, 8) Ate era Dawudi yayagalanga okuyigirizibwa amakubo ga Katonda. (Luny. 11) Okukkiriza, Dawudi yali akutwala nga kukulu nnyo ne kiba nti yagamba nti: “Nnandibadde wa singa saalina kukkiriza?”—Luny. 13.
ENGERI GY’OYINZA OKUNYWEZA OKUKKIRIZA KWO
Osobola okuba n’okukkiriza okunywevu ng’okwa Dawudi singa ofuba okuba n’endowooza ng’eyiye era n’okola ebintu ebyogerwako mu Zabbuli 27. Okuva okukkiriza bwe kwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu, gy’okoma okusoma Ekigambo kya Katonda n’ebitabo ebikinnyonnyola, gy’okoma okukulaakulanya engeri eyo eri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Zab. 1:2, 3) Bw’oba osoma, fumiitiriza ku by’osoma. Bw’ofumiitiriza kikuyamba okukulaakulanya okusiima. Gy’okoma okusiima Yakuwa, gy’okoma okwagala okwoleka okukkiriza kwo ng’omusinziza mu nkuŋŋaana era ng’obuulirako abalala ku ssuubi ly’olina. (Beb. 10:23-25) Ate era twoleka okukkiriza bwe tunyiikirira ‘okusaba.’ (Luk. 18:1-8) N’olwekyo, ‘sabanga Yakuwa obutayosa’ ng’oli mukakafu nti ‘akufaako.’ (1 Bas. 5:17; 1 Peet. 5:7) Okukkiriza kutuleetera okubaako bye tukola era ebyo bye tukola byongera okunyweza okukkiriza kwaffe.—Yak. 2:22.
KKIRIRIZA MU YESU
Mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe, yagamba abayigirizwa be nti: “Mukkiririze mu Katonda; nange munzikiririzeemu.” (Yok. 14:1) N’olwekyo ng’oggyeeko okukkiririza mu Yakuwa, tulina n’okukkiririza mu Yesu. Oyinza otya okukiraga nti okukkiririza mu Yesu? Ka tulabeyo ebintu bisatu.
Ekisooka, ekinunulo kitwale ng’ekirabo Katonda kye yakuwa kinnoomu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Obulamu bwe nnina . . . mbulina lwa kukkiririza mu Mwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange.” (Bag. 2:20) Bw’oba ng’okkiririza mu Yesu, oba okikkiriza nti ekinunulo kisobola okukuyamba, nti Katonda ky’asinziirako okukusonyiwa ebibi byo, nti kikusobozesa okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo, era nti kye kintu ekisingayo okwoleka okwagala Katonda kw’alina gy’oli. (Bar. 8:32, 38, 39; Bef. 1:7) Ekyo kikuyamba obuteetwala ng’atali wa mugaso n’obutalumirizibwa mutima.—2 Bas. 2:16, 17.
Eky’okubiri, semberera Yakuwa mu kusaba ng’osinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Olw’ekinunulo ekyaweebwayo, tusobola okusaba Yakuwa “nga twogera n’obuvumu, tulyoke tusaasirwe era tulagibwe ekisa eky’ensusso mu kiseera we twetaagira obuyambi.” (Beb. 4:15, 16; 10:19-22) Okusaba kutusobozesa okuba abamalirivu okwewala okukola ekibi.—Luk. 22:40.
Eky’okusatu, gondera Yesu. Omutume Yokaana yagamba nti: “Oyo akkiririza mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo; oyo ajeemera Omwana talifuna bulamu, wabula Katonda alimwolekeza obusungu bwe.” (Yok. 3:36) N’olwekyo osobola okukiraga nti okkiririza mu Yesu ng’omugondera. Ogondera Yesu ng’okolera ku ‘tteeka lya Kristo,’ kwe kugamba, ebyo byonna bye yayigiriza ne bye yalagira. (Bag. 6:2) Era ogondera Yesu ng’okolera ku bulagirizi bw’atuwa okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Bw’ogondera Yesu, ojja kusobola okugumira ebizibu eby’amaanyi ebiringa omuyaga.—Luk. 6:47, 48.
“MWEZIMBIRE KU MUSINGI OGW’OKUKKIRIZA KWAMMWE OKUTUKUVU ENNYO”
Lumu omusajja yagamba Yesu nti: “Nnina okukkiriza! Naye nnyamba okukkiriza kwange kweyongereko!” (Mak. 9:24) Omusajja oyo yalina okukkiriza naye yakiraba nti yali yeetaaga okwongera ku kukkiriza okwo. Okufaananako omusajja oyo, ffenna wajja kubaawo embeera ezitwetaagisa okuba n’okukkiriza okusingako. Ffenna tusobola okunyweza okukkiriza kwaffe kati. Nga bwe tulabye, tunyweza okukkiriza kwaffe nga tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukifumiitirizaako, era ekyo kituyamba okwongera okusiima Yakuwa. Ate era okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera bwe tusinza Yakuwa nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe, bwe tubuulirako abalala ku ssuubi lye tulina, era bwe tunyiikirira okusaba. Bwe tunyweza okukkiriza kwaffe tufuna ekirabo ekisingayo obulungi. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Abaagalwa, mwezimbire ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo . . . musobole okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.”—Yud. 20, 21.