EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OSIIMA EKIRABO EKY’OMUWENDO KATONDA KYE YATUWA?
Lwaki Ekirabo Ekyo Kya Muwendo Nnyo?
Bw’oweebwa ekirabo, osinziira ku ki okukitwala nga kya muwendo? Kisinziira ku bintu nga bina: (1) omuntu akuwadde ekirabo ekyo, (2) ensonga lwaki akikuwadde, (3) bye yeefiirizza okusobola okukikuwa, era (4) obanga ekirabo ekyo kya mugaso gy’oli. Okufumiitiriza ku bintu ebyo ebina, kijja kutuyamba okwongera okusiima ekirabo eky’omuwendo ennyo Katonda kye yatuwa.
EYATUWA EKIRABO EKYO
Ekirabo tukitwala nga kya muwendo oyo eyakituwa bw’aba nga muntu wa kitiibwa oba nga tumwagala nnyo. Ate ekirabo ne bwe kiba nga tekyagulibwa ssente nnyingi, tukitwala nga kya muwendo oyo eyakituwa bw’aba nga mukwano gwaffe oba nga tumulinako oluganda. N’ekirabo Russell kye yawa Jordan gwe twogeddeko mu kitundu ekivuddeko bwe kityo bwe kyali. Ekirabo ng’ekyo kifaananako kitya n’ekirabo Katonda kye yatuwa eky’Omwana we Yesu?
Bayibuli egamba nti “Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye.” (1 Yokaana 4:9) Ekyo nno kifuula ekirabo ekyo okuba eky’omuwendo ennyo. Tewali muntu alina buyinza kusinga Katonda. Bayibuli emwogerako bw’eti: “Ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.” (Zabbuli 83:18) Katonda omuyinza w’ebintu byonna ye yatuwa ekirabo ekyo.
Ate era Katonda ye “Kitaffe” olw’okuba ye yatuwa obulamu. (Isaaya 63:16) Okugatta ku ekyo, atufaako nga taata bw’afaayo ku baana be. Lumu Katonda bwe yali ayogera ku bantu be, yagamba nti: “Efulayimu si mwana wa muwendo nnyo gye ndi, omwana omwagalwa? . . . Omwoyo kyeguvudde gunnuma ku lulwe. Era nja kumukwatirwa ekisa.” (Yeremiya 31:20) Ne leero Katonda atufaako nnyo. Ye yatutonda, ye Kitaffe, era atwagala nnyo. Ekyo kifuula ekirabo kyonna ky’aba atuwadde okuba eky’omuwendo ennyo.
LWAKI YAKITUWA?
Omuntu bw’atuwa ekirabo nga tawaliriziddwa buwalirizibwa, wabula ng’akituwadde olw’okuba atwagala, ekirabo ekyo tukitwala nga kya muwendo. Omuntu oyo aba tatusuubira kumusasula.
Yakuwa Katonda yawaayo Omwana we ku lwaffe olw’okuba atwagala nnyo. Bayibuli egamba nti: “Bwe kuti okwagala kwa Katonda bwe kwayolesebwa gye tuli, Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye.” (1 Yokaana 4:9) Ekyo Katonda yali ateekeddwa okukikola? Nedda. Katonda yatuwa ekinunulo “olw’ekisa kye eky’ensusso.”—Abaruumi 3:24.
Ekirabo ekyo Katonda kye yatuwa kyoleka kitya “ekisa kye eky’ensusso”? Bayibuli egamba nti: “Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo yatufiirira.” (Abaruumi 5:8) Olw’okuba Katonda atwagala nnyo, yawaayo Omwana we tusobole okununulibwa okuva mu kibi. Twali tetusaanira kulagibwa kwagala ng’okwo, era tetuyinza kusasula Katonda olw’ekyo kye yatukolera. Ekirabo ekyo kye yatuwa kye kikyasinze okwoleka okwagala kw’alina gye tuli.
BYE YEEFIIRIZA OKUSOBOLA OKUKITUWA
Omuntu bwe yeefiiriza ekintu ky’ayagala ennyo n’akituwa ng’ekirabo, ekirabo ekyo tukitwala nga kya muwendo.
Yakuwa Katonda ‘yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka.’ (Yokaana 3:16) Tewali kitonde Katonda ky’ayagala okusinga Yesu. Emyaka gyonna Katonda gye yamala ng’atonda ebintu, Yesu yali akolera wamu naye, era Katonda ‘yamwagalanga nnyo.’ (Engero 8:30) Yesu ye ‘Mwana wa Katonda omwagalwa’ era “kye kifaananyi kya Katonda atalabika.” (Abakkolosaayi 1:13-15) Tewali bantu baali babaddeko na nkolagana ya ku lusegere nga Katonda gye yalina ne Yesu.
Kyokka, Katonda “teyalemwa kuwaayo Mwana we.” (Abaruumi 8:32) Yakuwa yeefiiriza n’atuwa Omwana we gw’ayagala ennyo.
EKIRABO EKYO TWALI TUKYETAAGA
Ekirabo kiba kya muwendo gye tuli bwe tuba nga tubadde tukyetaaga, era nga tukifunidde mu kiseera kyennyini we tubadde tukyetaagira. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe obadde mulwadde nnyo, wandiwulidde otya ng’omuntu akusasulidde obujjanjabi bw’obadde tosobola kusasulira? Awatali kubuusabuusa, omuntu oyo omusiima nnyo.
Bayibuli egamba nti: “Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.” (1 Abakkolinso 15:22) Olw’okuba tuli bazzukulu ba Adamu, ffenna tulwala, ‘tufa,’ era tewali n’omu ku ffe asobola kununula munne. Bayibuli egamba nti: “Tewali n’omu ku bo ayinza kununula muganda we, wadde okumuweerayo eri Katonda ekinunulo. Omuwendo ogusobola okununula obulamu bwabwe munene nnyo ne kiba nti tebasobola kugwesasulira.” (Zabbuli 49:7, 8) Ekyo kiraga nti twetaaga obuyambi kubanga tetusobola kwenunula.
Olw’okwagala kwe okungi, Yakuwa Katonda yatuweerayo ekinunulo, era okuyitira mu Yesu, abantu “bonna bajja kufuulibwa balamu.” Ekyo kinaasoboka kitya? Bayibuli egamba nti: “Omusaayi gw’Omwana we Yesu gutunaazaako ebibi byonna.” Bwe tukkiririza mu ssaddaaka Yesu gye yawaayo ku lwaffe, tusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe, era ne tufuna obulamu obutaggwaawo. (1 Yokaana 1:7; 5:13) Ate bo abantu baffe abaafa banaaganyulwa batya mu kinunulo kya Yesu? Bayibuli egamba nti: “Ng’okufa bwe kwayitira mu muntu, n’okuzuukira kw’abafu nakwo kuyitira mu muntu [Yesu].”—1 Abakkolinso 15:21.a
Tewali kirabo kye twali tufunye okuva eri omuntu atwagala ennyo, ekisinga ekirabo Katonda kye yatuwa eky’Omwana we Yesu. Tewali muntu yali yeefiirizza ku lwaffe nga Yakuwa Katonda bwe yeefiiriza. Ate era tewali kirabo kya muganyulo okusinga ssaddaaka ya Yesu etusobozesa okununulibwa okuva mu kibi n’okufa. Mazima ddala, ekinunulo kye kirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo.
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku kuzuukira, laba essuula 7 ey’akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukafuna ku mukutu www.jw.org/lg.