A1
Obulagirizi Abavvuunula Bayibuli Bwe Baagoberera
Bayibuli yasooka kuwandiikibwa mu lulimi Olwebbulaniya, Olulamayiki, n’Oluyonaani. Bayibuli evvuunuddwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi ezisukka 3,000. Abantu abasinga obungi leero tebategeera nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa, bwe kityo kyetaagisa Bayibuli okuvvuunulwa mu nnimi ze bategeera. Bulagirizi ki abo abavvuunula Bayibuli bwe basaanidde okugoberera, era abo abavvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya baabugoberera batya?
Abantu abamu balowooza nti okuvvuunula Bayibuli kigambo ku kigambo kisobola okuyamba abantu okufuna amakulu gennyini agaali mu Byawandiikibwa mu nnimi ezaasooka. Kyokka oluusi tekiba bwe kityo. Lowooza ku nsonga zino:
Ennimi zaawukana mu ngeri ebigambo gye bisengekebwamu. Ng’ayogera ku nnimi, profesa omu ow’olulimi Olwebbulaniya ayitibwa S. R. Driver yagamba nti: ‘Ennimi zaawukana mu ngeri nnyingi. Engeri ebigambo gye bisengekebwamu mu lulimi olumu si gye bisengekebwamu mu lulimi olulala.’
Leero, tewali lulimi na lumu lusobola kusengeka bigambo nga bwe byasengekebwanga mu Lwebbulaniya, mu Lulamayiki, ne mu Luyonaani, ennimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. N’olwekyo, okuvvuunula kigambo ku kigambo oluusi kiyinza obutaggyayo bulungi makulu oba kiyinza okuwa amakulu amakyamu.
Amakulu g’ekigambo gayinza okukyuka okusinziira ku sentensi mwe kiri.
Kyo kituufu nti oluusi omuvvuunuzi ayinza okusengeka ebigambo nga bwe byasengekebwa mu lulimi olwasooka, naye ekyo asaanidde okukikola n’obwegendereza.
Lowooza ku byokulabirako bino ebiraga engeri okuvvuunula kigambo ku kigambo gye kiyinza okubuza amakulu:
Mu Byawandiikibwa, ekigambo “okwebaka” oluusi kitegeeza okwebaka otulo oba okufa. (Matayo 28:13; Ebikolwa 7:60, obugambo obuli wansi) N’olwekyo, abavvuunuzi bwe basanga ekigambo “okwebaka” mu sentensi nga kitegeeza kufa, bakivvuunula mu ngeri eneesobozesa omuntu asoma Bayibuli okufuna amakulu ago gennyini.—1 Abakkolinso 7:39; 1 Abassessaloniika 4:13; 2 Peetero 3:4.
Singa Abeefeso 4:14 lwali luvvuunuddwa butereevu, mwandibaddemu ebigambo ebigamba nti “ludo w’abantu.” Pawulo yakozesa ekisoko ekyo olw’okuba edda abantu abamu babbanga bannaabwe nga bayitira mu muzannyo gwa ludo. Naye mu nnimi nnyingi ekisoko ng’ekyo tekikola makulu. Eyo ye nsonga lwaki okuvvuunula ebigambo ebyo ‘ng’obukuusa bw’abantu’ kiggyayo bulungi amakulu.
Singa Abaruumi 12:11 lwavvuunulwa butereevu, mwandibaddemu ebigambo ebigamba nti “omwoyo ka gubaleetere okwesera,” naye ebigambo ebyo byandibadde tebiggyayo bulungi makulu. N’olwekyo, okubivvuunula nti “omwoyo ka gubaleetere okuba abanyiikivu,” kiggyayo bulungi amakulu.
Mu kuyigiriza kwe okw’oku Lusozi, Yesu yakozesa ebigambo ebitera okuvvuunulwa nti “Balina omukisa abaavu mu mwoyo.” (Matayo 5:3, Bayibuli ey’Oluganda eya 1968) Naye mu nnimi nnyingi ebigambo ebyo bwe bivvuunulwa bwe bityo, tebiggyayo bulungi makulu. Mu nnimi ezimu okukozesa ebigambo “abaavu mu mwoyo” kiyinza okutegeeza nti abantu ng’abo tebalina ndowooza nnuŋŋamu, tebalina maanyi, oba nti tebasobola kukola kintu na bumalirivu. Naye mu lunyiriri olwo Yesu yali alaga nti omuntu okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala tekisinziira ku bintu by’alina naye kisinziira ku kuba nti akimanyi nti yeetaaga obulagirizi obuva eri Katonda. (Lukka 6:20) N’olwekyo, okuvvuunula ebigambo ebyo nga “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo” oba “abo abamanyi nti beetaaga Katonda” kiggyayo bulungi amakulu.—Matayo 5:3; The New Testament in Modern English.
Emirundi mingi, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “obuggya” kitegeeza okuwulira obusungu ng’omuntu gwe weesiga akuliddemu olukwe oba kitegeeza okukwatirwa omuntu ensaalwa olw’ebintu by’alina. (Engero 6:34; Isaaya 11:13) Kyokka ekigambo ekyo kye kimu, mu Lwebbulaniya kisobola okukozesebwa mu ngeri endala. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okukozesebwa okulaga nti Yakuwa ayagala nnyo okukuuma abaweereza be era nti ayagala nnyo abaweereza be bamwemalireko. (Okuva 34:14; 2 Bassekabaka 19:31; Ezeekyeri 5:13; Zekkaliya 8:2) Ate era ekigambo ekyo kisobola okukozesebwa okulaga okwagala okw’amaanyi abaweereza ba Katonda abeesigwa kwe balina eri erinnya lye oba eri okusinza okw’amazima.—Zabbuli 69:9; 119:139; Okubala 25:11.
Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitera okuvvuunulwa “omukono” kirina amakulu agatali gamu. Okusinziira ku ekyo ekiba kyogerwako, ekigambo ekyo kisobola okutegeeza ‘omwoyo omugabi’ oba “obuyinza.” (2 Samwiri 8:3; 1 Bassekabaka 10:13; Engero 18:21) N’olwekyo, mu Nkyusa ey’Ensi Empya ekigambo ekyo kivvuunuddwa mu ngeri ez’enjawulo.
Okusinziira ku nsonga ezo waggulu, abo abavvuunula Bayibuli basaanidde okutegeera amakulu g’ekyo ekiba kyogerwako, ne basobola okukivvuunula mu ngeri entuufu, so si kumala gavvuunula kigambo ku kigambo. Balina okufuba okulaba nti bakozesa ebigambo ebiggyayo obulungi amakulu agali mu nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. Okugatta ku ekyo, kyetaagisa okusengeka ebigambo okusinziira ku mateeka agafuga olulimu oluba luvvuunulwa, kiyambe abo abagisoma okutegeera obulungi bye basoma.
Ate era abavvuunula Bayibuli balina okwewala okugivvuunula nga balinga abaginnyonnyola obunnyonnyozi. Bwe bakola bwe batyo, kiyinza okuviirako amakulu okukyuka oba okubula. Mu ngeri ki? Abavvuunuzi bayinza okuteeka mu Bayibuli bo kye balowooza nti ge makulu agali mu Byawandiikibwa oba okuggyamu ebintu ebimu ebikulu bye baba balowooza nti si bikulu. Wadde ng’enkyusa ya Bayibuli evvuunuddwa mu ngeri eyo eyinza okuba ennyangu okusoma, abo abagisoma bayinza obutafuna makulu gennyini agali mu Byawandiikibwa.
Abavvuunula Bayibuli balina okwewala okugivvuunula nga basinziira ku njigiriza z’amadiini gaabwe. Ng’ekyokulabirako, Matayo 7:13 wagamba nti: ‘Ekkubo erituuka mu kuzikirira ddene.’ Abavvuunuzi ba Bayibuli abamu, bwe baba bavvuunula olunyiriri olwo bakozesa ekigambo “omuliro,” mu kifo ky’okukozesa ekigambo ‘okuzikirira’ ekiggyayo obulungi amakulu g’ekigambo ky’Oluyonaani ekyakozesebwa.
Abavvuunula Bayibuli balina okukijjukira nti Bayibuli bwe yali ewandiikibwa, baakozesa ebigambo abantu aba bulijjo, gamba ng’abalimi, abalunzi, n’abavubi bye baali bategeera obulungi. (Nekkemiya 8:8, 12; Ebikolwa 4:13) N’olwekyo, kikulu nnyo okuvvuunula Bayibuli mu ngeri abantu aba buli ngeri era abeesimbu gye bategeera obulungi. Kikulu okukozesa ebigambo ebitera okukozesebwa era ebyangu okutegeera okusinga okukozesa ebigambo ebijja okukaluubirira abantu aba bulijjo okutegeera.
Abavvuunuzi ba Bayibuli bangi beetulinkiriza ne baggya erinnya lya Katonda mu nkyusa zaabwe eza Bayibuli, kyokka nga mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka erinnya eryo mweriri. (Laba Ebyongerezeddwako A4.) Bangi ku bo mu kifo erinnya lya Katonda we lirina okuba bateekawo ebitiibwa, gamba nga “Mukama,” ate abalala baggya mu nkyusa zaabwe ebigambo ebiraga nti Katonda alina erinnya. Ng’ekyokulabirako, bwe kituuka ku bigambo Yesu bye yayogera ng’asaba, ebiri mu Yokaana 17:26, enkyusa za Bayibuli ezimu zisoma nti: “Nkumanyisizza gye bali,” ate mu Yokaana 17:6 zisoma nti, “Nkumanyisizza eri abantu be wampa.” Naye singa ebigambo ebyo bivvuunulwa mu ngeri entuufu, byandibadde bigamba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo,” era nti “Erinnya lyo ndimanyisizza eri abantu be wampa.”
Kyokka bwe twali tuvvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya twewala okuvvuunula Ebyawandiikibwa nga tulinga ababinnyonnyola obunnyonnyozi. Twafuba okuvvuunula Ebyawandiikibwa butereevu kasita kyabanga nti okukola ekyo tekibuza makulu matuufu agali mu Kigambo kya Katonda. Mu nkyusa ya Bayibuli eno, twafuba okuvvuunula Ebyawandiikibwa kigambo ku kigambo naye ate nga twewala okukozesa ebigambo ebitategeerekeka oba ebibuza amakulu. N’olwekyo, Enkyusa ey’Ensi Empya nnyangu okusoma era eggirayo ddala bulungi amakulu agali mu Kigambo kya Katonda.—1 Abassessaloniika 2:13.