ESSUULA 12
“Nja Kubafuula Eggwanga Limu”
OMULAMWA: Yakuwa asuubiza okukuŋŋaanya awamu abantu be; obunnabbi obukwata ku miggo ebiri
1, 2. (a) Kiki ekiyinza okuba nga kiteeka Abayudaaya abali mu buwaŋŋanguse ku bunkenke? (b) Naye lwaki ku luno obubaka bwa Ezeekyeri bugenda kuba bwa njawulo? (c) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
YAKUWA azze alagira Ezeekyeri okukola ebintu ebitali bimu mu maaso g’Abayudaaya abali mu buwaŋŋanguse mu Babulooni era ebintu ebyo birina amakulu ag’obunnabbi. Ebintu Ezeekyeri bye yasooka okukola byalimu obubaka obw’omusango. (Ezk. 3:24-26; 4:1-7; 5:1; 12:3-6) Mu butuufu, ebintu byonna Ezeekyeri by’azze akola bibaddengamu obubaka obw’omusango Yakuwa gwe yasalira Abayudaaya.
2 Kati lowooza ku bunkenke Abayudaaya abali mu buwaŋŋanguse bwe baliko Ezeekyeri bw’addamu okuyimirira mu maaso gaabwe okubaako ekintu ekirala eky’obunnabbi ky’akola. Bayinza okuba nga beebuuza nti, ‘Kati musango ki Yakuwa gw’atusalidde Ezeekyeri gw’agenda okututegeeza?’ Naye ku luno obubaka Ezeekyeri bw’agenda okubategeeza bwa njawulo. Si bubaka bwa musango wabula bubaka obuwa essuubi. (Ezk. 37:23) Bubaka ki Ezeekyeri bw’ategeeza abo abali mu buwaŋŋanguse? Bulina makulu ki? Bukwata butya ku bantu ba Katonda leero? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.
“Bajja Kufuuka Omuggo Gumu mu Mukono Gwange”
3. (a) Omuggo “gwa Yuda” gwali gukiikirira ki? (b) Lwaki “omuggo gwa Efulayimu” gwali gukiikirira obwakabaka obw’ebika ekkumi?
3 Yakuwa yalagira Ezeekyeri afune emiggo ebiri, ogumu aguwandiikeko nti “gwa Yuda” ate omulala aguwandiikeko nti “gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu.” (Soma Ezeekyeri 37:15, 16.) Emiggo egyo ebiri gyali gikiikirira ki? Omuggo “gwa Yuda” gwali gukiikirira obwakabaka obw’ebika ebibiri, ekya Yuda n’ekya Benyamini. Bakabaka okuva mu lunyiriri lwa Yuda be baafuganga obwakabaka obwo obw’ebika ebibiri; ate era ne bakabona baaweererezanga mu bwakabaka obwo ku yeekaalu mu Yerusaalemi. (2 Byom. 11:13, 14; 34:30) N’olwekyo, obwakabaka bwa Yuda mwe mwali muva bakabaka ab’omu lunyiriri lwa Dawudi ne bakabona Abaleevi. “Omuggo gwa Efulayimu” gwali gukiikirira obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi. Mu ngeri ki omuggo ogwo gye gwalina akakwate ne Efulayimu? Kabaka eyasooka okufuga obwakabaka obw’ebika ekkumi yali Yerobowaamu, era yali ava mu kika kya Efulayimu. Ate era ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, ekika kya Efulayimu kyayitimuka okusinga ebika ebirala ebyali mu Isirayiri. (Ma. 33:17; 1 Bassek. 11:26) Weetegereze nti obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi tebwalimu bakabaka abava mu lunyiriri lwa Dawudi era tebwalimu bakabona Abaleevi.
4. Ekyo Ezeekyeri kye yakola ng’akozesa emiggo ebiri kyalaga ki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 129.)
4 Ate era Yakuwa yalagira Ezeekyeri okugatta awamu emiggo egyo ebiri “gibe ng’omuggo gumu.” Abo abaali mu buwaŋŋanguse bwe baalaba nga Ezeekyeri akola ekintu ekyo, baamugamba nti: “Tootubuulire bintu ebyo kye bitegeeza?” Yabaddamu nti ekyo kye yali akola kyali kiraga ekyo Yakuwa kye yali agenda okukola. Ng’ayogera ku miggo egyo ebiri, Yakuwa yagamba nti: “Gyombi nja kugifuula omuggo gumu, era bajja kufuuka omuggo gumu mu mukono gwange.”—Ezk. 37:17-19.
5. Ekyo Ezeekyeri kye yakola kyalina makulu ki? (Laba akasanduuko “Okugatta Awamu Emiggo Ebiri.”)
5 Oluvannyuma Yakuwa yannyonnyola amakulu g’okugatta awamu emiggo ebiri. (Soma Ezeekyeri 37:21, 22.) Abantu b’omu bwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri abaali mu buwaŋŋanguse n’ab’omu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi (Efulayimu) abaali mu buwaŋŋanguse bandikomezeddwawo mu nsi ya Isirayiri ne bafuuka “eggwanga limu.”—Yer. 30:1-3; 31:2-9; 33:7.
6. Bunnabbi ki obw’emirundi ebiri obusangibwa mu Ezeekyeri essuula 37?
6 Obunnabbi obw’emirundi ebiri obuli mu Ezeekyeri essuula 37 bwalaga nti Yakuwa yali agenda kuzzaawo abantu be (olunyiriri 1-14) era abasobozese okuddamu okuba obumu (olunyiriri 15-28). Obunnabbi obwo obw’emirundi ebiri butuyigiriza nti: Abafu basobola okuddamu okuba abalamu era n’abantu ababadde beeyawuddemu basobola okuddamu okuba obumu.
Yakuwa ‘Yabakuŋŋaanya’ Atya?
7. Ebyo bye tusoma mu 1 Ebyomumirembe 9:2, 3 biraga bitya nti “eri Katonda ebintu byonna bisoboka”?
7 Mu ndaba ey’obuntu, eky’Abayisirayiri okuva mu buwaŋŋanguse era ne baddamu ne baba ggwanga limu kyali ng’ekitasoboka.a Naye “eri Katonda ebintu byonna bisoboka.” (Mat. 19:26) Yakuwa yatuukiriza obunnabbi obwali buvudde gy’ali. Abayudaaya baasumululwa okuva mu buwambe e Babulooni mu 537 E.E.T., era oluvannyuma abantu ab’omu bwakabaka bwa Yuda n’obwa Isirayiri baakomawo mu Yerusaalemi era ne bakolera wamu okuzzaawo okusinza okw’amazima. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Abamu ku bazzukulu ba Yuda n’aba Benyamini n’aba Efulayimu n’aba Manase, bajja ne babeera mu Yerusaalemi.” (1 Byom. 9:2, 3; Ezer. 6:17) Mazima ddala, nga Yakuwa bwe yali agambye, abantu ab’omu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi baagattibwa wamu n’ab’omu bwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri ne baba bumu.
8. (a) Bunnabbi ki Isaaya bwe yayogera? (b) Bintu ki ebibiri bye twetegereza mu Ezeekyeri 37:21?
8 Emyaka nga 200 emabega, nnabbi Isaaya yali yalaga ekyandibaddewo oluvannyuma lwa Isirayiri ne Yuda okuva mu buwambe. Yagamba nti Yakuwa yali ajja kukuŋŋaanya “abantu ba Isirayiri abaasaasaana” n’abantu ‘ba Yuda abaasaasaana abaggye mu nsonda ennya ez’ensi,’ nga mwe muli n’abo abandibadde mu “Bwasuli.” (Is. 11:12, 13, 16) Nga Yakuwa bwe yali agambye, yaggya “Abayisirayiri mu mawanga.” (Ezk. 37:21) Weetegereze ebintu bibiri mu lunyiriri olwo: Kati abantu abaava mu buwaŋŋanguse Yakuwa yali takyabayita “Yuda” na “Efulayimu” wabula yali abayita “Abayisirayiri,” kwe kugamba, ekibiina kimu. Ate era Abayisirayiri baayogerwako ng’abava mu mawanga amangi oba abava “ku buli luuyi,” so si ng’abava mu ggwanga limu, erya Babulooni.
9. Yakuwa yasobozesa atya abo abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse okuba obumu?
9 Yakuwa yasobozesa atya Abayisirayiri abaali bakomyewo okuva mu buwaŋŋanguse okuba obumu? Yabateerawo abasumba abalungi, gamba nga Zerubbaberi, Yoswa Kabona Asinga Obukulu, Ezera, ne Nekkemiya. Yakuwa era yabateerawo nnabbi Kaggayi, Zekkaliya, ne Malaki. Abasajja abo bonna abeesigwa baakola butaweera okuyamba abantu ba Isirayiri okukwata ebiragiro bya Yakuwa. (Nek. 8:2, 3) Ate era Yakuwa yakuuma eggwanga lya Isirayiri ng’alemesa enkwe z’abalabe baabwe.—Es. 9:24, 25; Zek. 4:6.
10. Kiki Sitaani kye yasobola okukola?
10 Kyokka wadde nga Yakuwa yafuba okubayamba, Abayisirayiri abasinga obungi tebaanywerera ku kusinza okulongoofu. Ebyo bye baakola byogerwako mu bitabo bya Bayibuli ebyawandiikibwa oluvannyuma lw’Abayisirayiri okuva mu buwaŋŋanguse. (Ezer. 9:1-3; Nek. 13:1, 2, 15) Mu butuufu, nga tewannayita na myaka 100 bukya bakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, Abayisirayiri baava ku kusinza okulongoofu, Yakuwa n’atuuka n’okubagamba nti: “Mudde gye ndi.” (Mal. 3:7) Yesu we yajjira ku nsi, eddiini y’Ekiyudaaya yali yeekutuddemu obubiina obw’enjawulo era nga bukulemberwa abasumba abataali beesigwa. (Mat. 16:6; Mak. 7:5-8) Sitaani yali akyalemesezza abantu ba Katonda okuba obumu mu bujjuvu. Wadde kyali kityo, obunnabbi bwa Yakuwa obukwata ku kusobozesa abantu be okuba obumu bwali bwa kutuukirira. Mu ngeri ki?
“Omuweereza Wange Dawudi y’Anaaba Kabaka Waabwe”
11. (a) Kiki Yakuwa kye yalaga ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi obukwata ku bantu be okuba obumu? (b) Kiki Sitaani kye yagezaako okukola oluvannyuma lw’okugobwa mu ggulu?
11 Soma Ezeekyeri 37:24. Yakuwa yakiraga nti obunnabbi obukwata ku bantu be okuba obumu bwandituukiriziddwa mu bujjuvu oluvannyuma ‘lw’omuweereza we Dawudi,’ ng’ono ye Yesu, okutandika okufuga nga Kabaka, era nga kino kyaliwo mu 1914.b (2 Sam. 7:16; Luk. 1:32) Omwaka ogwo we gwatuukira, Yakuwa yali yeesamba Isirayiri ow’omubiri era nga kati akolagana ne Isirayiri ow’omwoyo, kwe kugamba, abaafukibwako amafuta. (Yer. 31:33; Bag. 3:29) Sitaani bwe yamala okugobwa mu ggulu, yafuba nnyo okulaba ng’amalawo obumu mu bantu ba Katonda. (Kub. 12:7-10) Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’Ow’oluganda Russell okufa mu 1916, Sitaani yagezaako okukozesa bakyewaggula okuleetawo enjawukana mu baafukibwako amafuta. Kyokka, waayita ekiseera kitono bakyewaggula abo ne bava mu kibiina. Sitaani era yaleetera ab’oluganda abaali batwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa mu kiseera ekyo okusibibwa mu kkomera, naye ekyo nakyo tekyasaanyaawo bantu ba Yakuwa. Ab’oluganda abaafukibwako amafuta abaasigala nga beesigwa eri Yakuwa beeyongera okuba obumu.
12. Lwaki Sitaani tasobodde kwawulayawulamu Isirayiri ow’omwoyo?
12 Obutafaananako Isirayiri ow’omubiri, Isirayiri ow’omwoyo ye teyakkiriza Sitaani kumuleetamu njawukana. Lwaki Sitaani tasobodde kwawulayawulamu Isirayiri ow’omwoyo? Ekyo kiri kityo kubanga abaafukibwako amafuta bafubye okunywerera ku mitindo gya Yakuwa. N’ekivuddemu, Kabaka waabwe Yesu Kristo, agenda nga yeeyongera okuwangula Sitaani, abakuumye.—Kub. 6:2.
Yakuwa Aleetera Abaweereza Be Okuba Obumu
13. Obunnabbi obukwata ku kugatta awamu emiggo ebiri bwali bulaga ki?
13 Obunnabbi obukwata ku kugatta awamu emiggo ebiri butuukiridde butya mu kiseera kyaffe? Kijjukire nti obunnabbi obwo bwali bulaga engeri ebibinja bibiri eby’abantu ba Katonda gye byandigattiddwa awamu. Ate era bwalaga nti Yakuwa ye yandireeseewo obumu obwo. Kati kiki ekikwata ku kusinza okulongoofu obunnabbi obwo obukwata ku kugatta awamu emiggo ebiri kye bwali bulaga? Bwali bulaga nti Yakuwa yandireetedde abaweereza be okuba obumu.—Ezk. 37:19.
14. Okuva mu 1919, obunnabbi obukwata ku kugatta awamu emiggo ebiri butuukiriziddwa butya ku kigero ekisingawo?
14 Okuva mu 1919, ng’abantu ba Katonda bamaze okulongoosebwa mu by’omwoyo era nga batandise okubeera mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, obunnabbi obukwata ku kugatta awamu emiggo ebiri bwatandika okutuukirizibwa ku kigero ekisingawo. Mu kiseera ekyo, abasinga obungi ku baweereza ba Katonda abaagattibwa awamu baalina essuubi ery’okufuuka bakabaka era bakabona mu ggulu. (Kub. 20:6) Abaafukibwako amafuta abo baali ng’omuggo “gwa Yuda,” eggwanga eryalimu bakabaka abava mu lunyiriri lwa Dawudi ne bakabona Abaleevi. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, abaafukibwako amafuta baagenda beegattibwako abaweereza ba Katonda abalala era nga bano baalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi baalinga “omuggo gwa Efulayimu,” eggwanga eritaalimu bakabaka bava mu lunyiriri lwa Dawudi ne bakabona Abaleevi. Ebibinja ebyo ebibiri biweerereza wamu Yakuwa nga biri bumu wansi wa Kabaka omu, Yesu Kristo.—Ezk. 37:24.
“Bajja Kuba Bantu Bange”
15. Obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 37:26, 27 butuukirizibwa butya leero?
15 Obunnabbi bwa Ezeekyeri bulaga nti abantu bangi bandyegasse ku baafukibwako amafuta mu kusinza okulongoofu. Yakuwa yayogera bw’ati ku bantu be: ‘Nja kubaaza’ era, “weema yange ejja kuba wamu nabo.” (Ezk. 37:26, 27; obugambo obuli wansi.) Ebigambo ebyo bitujjukiza obunnabbi omutume Yokaana bwe yayogera nga wayise emyaka nga 700 okuva mu kiseera kya Ezeekyeri. Yokaana yalaga nti “Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka” yandibadde ‘abikka weema ye ku kibiina ekinene.’ (Kub. 7:9, 15) Leero, abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene baweerereza wamu Katonda ng’eggwanga limu era Katonda abakuuma.
16. Bunnabbi ki Zekkaliya bwe yayogera obukwata ku kugatta awamu Isirayiri ow’omwoyo n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna?
16 Nnabbi Zekkaliya, omu ku abo abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse naye yayogera ku ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta okugattibwa wamu n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Yagamba nti ‘abantu kkumi okuva mu mawanga balikwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya ne bakinyweza’ ne bagamba nti: “Twagala kugenda nammwe kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.” (Zek. 8:23) Ekigambo “Omuyudaaya” tekitegeeza muntu omu wabula ekibiina ky’abantu, leero abakiikirirwa ensigalira y’abaafuukibwako amafuta, oba Abayudaaya ab’omwoyo. (Bar. 2:28, 29) ‘Abantu ekkumi’ bakiikirira abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. ‘Beekwata ne beenyweza ku baafukibwako amafuta ne bagenda nabo.’ (Is. 2:2, 3; Mat. 25:40) Okuba nti abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi ‘beekwata ne beenyweza’ ku baafukibwako amafuta era ne ‘bagenda nabo’ kiraga nti ebibinja ebyo ebibiri biri bumu.
17. Yesu yayogera ki ku bumu bwe tulina leero?
17 Yesu bwe yeeyogerako ng’omusumba eyandiwadde endiga ze (abaafukibwako amafuta) ‘n’endiga endala’ (abalina essuubi ery’okubeera ku nsi) obulagirizi ne ziba “ekisibo kimu,” ayinza okuba nga yali alowooza ku bunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku kugattibwa awamu okw’abaweereza ba Katonda. (Yok. 10:16; Ezk. 34:23; 37:24, 25) Ebigambo bya Yesu ebyo awamu n’ebyo ebyayogerwa bannabbi biraga bulungi obumu bwe tulina leero ka tube nga tulina ssuubi ki. Wadde ng’amadiini ag’obulimba geekutuddekutuddemu, ffe tuli bumu.
‘Ekifo Kyange Ekitukuvu Kinaabeeranga Wakati mu Bo Emirembe n’Emirembe’
18. Nga bwe kiragibwa mu Ezeekyeri 37:28, lwaki kikulu abantu ba katonda obutaba ba nsi?
18 Ebigambo ebisembayo mu bunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku kugattibwa awamu okw’abantu ba Katonda bitukakasa nti obumu bwe tulina tebuliggwaawo. (Soma Ezeekyeri 37:28.) Abantu ba Yakuwa bali bumu olw’okuba ekifo kye ekitukuvu, oba okusinza okulongoofu, kiri “wakati mu bo.” Era ekifo kye ekitukuvu kisigala wakati mu bo kasita basigala nga batukuvu, nga beeyawudde ku nsi ya Sitaani. (1 Kol. 6:11; Kub. 7:14) Yesu yalaga obukulu bw’obutaba ba nsi. Bwe yali asabira abagoberezi be yagamba nti: “Kitange Omutukuvu, bakuume . . . basobole okuba omu . . . Si ba nsi . . . Batukuze ng’okozesa amazima.” (Yok. 17:11, 16, 17) Weetegereze nti Yesu alaga nti waliwo akakwate wakati w’okuba obumu n’obutaba ba nsi.
19. (a) Tukiraga tutya nti ‘tukoppa Katonda’? (b) Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, kiki ekikwata ku bumu kye yalaga?
19 Ogwo gwe mulundi gwokka mu Bayibuli Yesu w’ayitira Katonda “Kitange Omutukuvu.” Yakuwa mutukuvu ku kigero ekituukiridde. Yakuwa yagamba Abayisirayiri ab’edda nti: “Mubenga batukuvu kubanga ndi mutukuvu.” (Leev. 11:45) Olw’okuba twagala ‘okukoppa Katonda,’ tufuba okukwata ekiragiro ekyo. (Bef. 5:1; 1 Peet. 1:14, 15) Ekigambo ‘obutukuvu’ bwe kikozesebwa ku bantu kitegeeza “okwawulibwawo.” N’olwekyo, Yesu bwe yali anaatera okuttibwa yakiraga nti abagoberezi okusobola okusigala nga bali bumu, balina okuba nga beeyawudde ku nsi n’ebintu byayo ebireetawo enjawukana.
“Obakuume olw’Omubi”
20, 21. (a) Kiki ekituleetera okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okutukuuma? (b) Kiki ky’omaliridde okukola?
20 Okuba nti Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bali bumu bukakafu obulaga nti Yakuwa yakola ekyo Yesu kye yamusaba bwe yagamba nti: “Obakuume olw’omubi.” (Soma Yokaana 17:14, 15.) Okuba nti Sitaani tasobodde kumalawo bumu mu bantu ba Katonda kituleetera okuba abakakafu nti Katonda ajja kweyongera okutukuuma. Mu bunnabbi bwa Ezeekyeri, Yakuwa yagamba nti emiggo ebiri gyafuuka omuggo gumu mu mukono gwe. N’olwekyo Yakuwa kennyini y’asobozesezza abantu be okuba obumu, era ekyo Sitaani tasobola kukiremesa kubaawo.
21 Kati olwo kiki kye tusaanidde okumalirira okukola? Tusaanidde okuba abamalirivu okukuuma obumu bwe tulina mu kibiina. Ekyo buli omu ku ffe ayinza atya okukikola? Nga yeenyigira obutayosa mu kusinza okulongoofu ku yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo. Ebizingirwa mu kusinza okwo bijja kwogerwako mu ssuula eziddako.
a Ng’ebula ebyasa nga bibiri Ezeekyeri aweebwe obunnabbi buno, Abaasuli baatwala abantu b’omu bwakabaka obw’ebika ekkumi (“omuggo gwa Efulayimu”) mu buwaŋŋanguse.—2 Bassek. 17:23.