Yokaana Omubatiza—Tumuyigirako Okusigala nga Tuli Basanyufu
WALIWO ekintu mu kibiina ky’owulira nga wandyagadde okukola naye nga tekisoboka? Oboolyawo omuntu omulala y’akola ekintu ekyo. Buyinza okuba nga buweereza oba nkizo edda gye walina. Oboolyawo emyaka gyo, obulwadde, obuzibu bw’eby’enfuna, oba obuvunaanyizibwa bw’amaka tebikusobozesa kwenyigira mu buweereza obwo. Oboolyawo olw’enkyukakyuka ezajjawo mu kibiina, walina okulekayo obuvunaanyizibwa bwe wali omaze ekiseera kiwanvu ng’otuukiriza. K’ebe nsonga ki, oyinza okuba ng’owulira nti toweereza Yakuwa nga bwe wandyagadde okumuweereza. Mu mbeera ng’eyo tekyewuunyisa nti oyinza okuwulira ng’oweddemu amaanyi. Wadde kiri kityo, kiki ekiyinza okukuyamba obutaggwaamu maanyi, obutanyiiga, oba obutasiba kiruyi? Oyinza otya okusigala ng’oli musanyufu?
Ebyo bye tusoma ku Yokaana Omubatiza bituyamba okumanya engeri gye tuyinza okusigala nga tuli basanyufu. Yokaana yafuna enkizo ez’amaanyi, naye ebizibu bye yayolekagana nabyo mu buweereza bwe eri Yakuwa ayinza okuba nga yali tabisuubira. Ayinza okuba nga teyakirowoozaako nti yandimaze mu kkomera ekiseera kiwanvu okusinga ekyo kye yamala ng’aweereza. Wadde kiri kityo, Yokaana yasigala nga musanyufu. Kiki ekyamuyamba? Tusobola tutya okusigala nga tuli basanyufu wadde nga twolekagana n’embeera ezimalamu amaanyi?
OBUWEEREZA OBWAMULEETERA ESSANYU
Awo nga mu Apuli mu mwaka gwa 29 E.E., Yokaana yatandika omulimu Yakuwa gwe yamuwa, kwe kugamba, okuyamba abantu okwetegekera okujja kwa Masiya. Yabagambanga nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.” (Mat. 3:2; Luk. 1:12-17) Bangi baawuliriza. Mu butuufu abantu bangi okuva mu bitundu eby’okumpi n’eby’ewala bajja okuwuliriza obubaka bwe era bangi beenenya ne babatizibwa. Yokaana era yalabula n’abakulembeze b’eddiini abaali beetwala okuba abatuukirivu nti bwe batandyenenyezza bandisaliddwa omusango. (Mat. 3:5-12) Yokaana yakola ekintu ekyasingayo obukulu mu buweereza bwe bwe yabatiza Yesu awo nga mu Okitobba mu mwaka gwa 29 E.E. Okuva olwo Yokaana yagambanga abantu okugoberera Yesu, Masiya eyasuubizibwa.—Yok. 1:32-37.
Olw’enkizo ey’ekitalo Yokaana gye yafuna, Yesu yagamba nti: “Mu abo abaazaalibwa abakazi, tewabangawo muntu asinga Yokaana Omubatiza.” (Mat. 11:11) Tewali kubuusabuusa nti Yokaana yasanyuka nnyo olw’emikisa gye yafuna. Okufaananako Yokaana, bangi leero bafunye emikisa mingi. Lowooza ku w’oluganda Terry. Ye ne mukyala we, Sandra, bamaze emyaka egisukka mu 50 mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Terry agamba nti: “Nfunye nkizo nnyingi ezindeetedde essanyu. Mpeerezzaako nga payoniya owa bulijjo, ng’Omubeseri, nga payoniya ow’enjawulo, ng’omulabirizi akyalira ebibiina, ng’omulabirizi wa disitulikiti, era kati nnaddamu okuweereza nga payoniya ow’enjawulo.” Ng’ekyokulabirako kya Yokaana bwe kiraga, kireeta essanyu okuweebwa enkizo yonna mu kibiina kya Yakuwa, naye kyetaagisa okufuba okusigala nga tuli basanyufu singa embeera yaffe ekyuka.
SIGALA NG’OSIIMA EBYO YAKUWA BY’AKUSOBOZESEZZA OKUKOLA
Yokaana yasigala nga musanyufu kubanga yasigala ng’asiima enkizo ze yafuna. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lwa Yesu okubatizibwa, obuweereza bwa Yokaana bwagenda bukendeera ng’ate obwa Yesu bugenda bweyongera. Ekyo kyeraliikiriza abayigirizwa ba Yokaana ne bagamba Yokaana nti: “Omusajja . . . gwe wawaako obujulirwa, abatiza, era abantu bonna bagenda gy’ali.” (Yok. 3:26) Yokaana yabaddamu nti: “Oyo alina omugole omukazi ye mugole omusajja. Naye mukwano gw’omugole omusajja bw’ayimirira okumpi n’omugole omusajja n’amuwulira ng’ayogera, asanyuka nnyo. N’olwekyo, essanyu lyange lituukiridde.” (Yok. 3:29) Yokaana teyavuganya na Yesu, era teyakitwala nti omulimu gwe yali akoze tegwali gwa mugaso olw’okuba omulimu Yesu gwe yali akola gwali mukulu okusinga ogugwe. Mu kifo ky’ekyo, Yokaana yasigala nga musanyufu olw’okuba yali asiima enkizo ey’okuba “mukwano gw’omugole omusajja.”
Endowooza ennungi Yokaana gye yalina yamuyamba okusigala nga musanyufu wadde ng’obuweereza bwe tebwali bwangu. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Yokaana yali Munaziri okuva lwe yazaalibwa, yali takkirizibwa kunywa mwenge. (Luk. 1:15) Ng’ayogera ku bulamu bwa Yokaana, Yesu yagamba nti: “Yokaana yajja nga talya era nga tanywa.” Ku luuyi olulala, Yesu n’abayigirizwa be bo tebaalina kukugirwa ng’okwo, era obulamu bwabwe bwali ng’obw’abantu abalala. (Mat. 11:18, 19) Ate era, wadde nga Yokaana teyakola byamagero, yakimanya nti abayigirizwa ba Yesu, nga mw’otwalidde n’abo mu kusooka abaali abayigirizwa be, baaweebwa obuyinza okukola ebyamagero. (Mat. 10:1; Yok. 10:41) Mu kifo ky’okukkiriza ebintu ng’ebyo okumuwugula, Yokaana yasigala ng’akola n’obunyiikivu omulimu Yakuwa gwe yamuwa.
Naffe bwe tuba nga tusiima omulimu gwe tuba tulina mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, kituyamba okusigala nga tuli basanyufu. Terry, ayogeddwako waggulu agamba nti, “Nneemaliranga ku buli mulimu gwonna gwe nnaweebwanga mu kibiina kya Yakuwa.” Bw’alowooza ku kiseera ky’amaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna, agamba nti, “Sirina kye nnejjusa.”
Tusobola okwongera ku ssanyu lye tulina mu buweereza bwaffe eri Yakuwa singa tufumiitiriza ku ekyo ekifuula omulimu gwonna gwe tukola mu buweereza okuba ogw’omuwendo. Ekifuula omulimu gwe tukola okuba ogw’omuwendo kwe kuba nti “tukolera wamu ne Katonda.” (1 Kol. 3:9) Ekintu eky’omuwendo kisigala nga kirabika bulungi singa tuba tukirabirira bulungi. Mu ngeri y’emu, naffe tujja kusigala nga tuli basanyufu singa tusigala nga tukijjukira nti nkizo ya maanyi okukolera awamu ne Katonda. Tujja kwewala okugeraageranya ebyo bye tukola n’ebyo abalala bye bakola. Enkizo ze tulina tetujja kuzitwala nti si za muwendo olw’enkizo abalala ze baba balina.—Bag. 6:4.
KUUMIRA EBIROWOOZO BYO KU BINTU EBY’OMWOYO
Yokaana ayinza okuba nga yali akimanyi nti obuweereza bwe bwali tebugenda kumala kiseera kiwanvu, naye ayinza okuba nga teyakirowoozaako nti bwandikomye mbagirawo. (Yok. 3:30) Mu mwaka gwa 30 E.E., nga waakayita emyezi nga mukaaga nga Yokaana amaze okubatiza Yesu, Kabaka Kerode yasiba Yokaana mu kkomera. Wadde kyali kityo, Yokaana yakola kyonna ky’asobola okweyongera okuwa obujulirwa. (Mak. 6:17-20) Kiki ekyamuyamba okusigala nga musanyufu mu mbeera eyo? Yeeyongera okukuumira ebirowoozo bye ku bintu eby’omwoyo.
Yokaana bwe yali mu kkomera, yafuna amawulire agakwata ku buweereza bwa Yesu obwali bweyongerayongera. (Mat. 11:2; Luk. 7:18) Yokaana yali mukakafu nti Yesu ye Masiya, naye ayinza okuba nga yali yeebuuza engeri Yesu gye yandituukirizzaamu ebyo byonna Ebyawandiikibwa bye biraga nti Masiya yandikoze. Okuva bwe kiri nti Masiya yali wa kuba mufuzi, Yokaana ayinza okuba nga yali yeebuuza obanga Yesu yali anaatera okutandika okufuga? Yesu okutandika okufuga kyandimuviiriddeko okusumululwa mu kkomera? Olw’okuba Yokaana yali ayagala okwongera okumanya ebyo Yesu bye yali agenda okukola, yatuma babiri ku bayigirizwa be okubuuza Yesu nti: “Ye ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira, oba tulindirire mulala?” (Luk. 7:19) Abayigirizwa abo bwe baakomawo gy’ali, ateekwa okuba nga yabawuliriza n’obwegendereza nga bamubuulira nti Yesu yali akola ebyamagero era nti yali abagambye bamugambe nti: “Abazibe b’amaaso balaba, abalema batambula, abagenge bawona ne balongooka, bakiggala bawulira, abafu bazuukizibwa, n’abaavu babuulirwa amawulire amalungi.”—Luk. 7:20-22.
Ebyo abayigirizwa ba Yokaana bye baagamba Yokaana biteekwa okuba nga byamuzzaamu amaanyi. Byakakasa nti Yesu yali atuukiriza obunnabbi obukwata ku Masiya. Wadde nga Yesu teyaggya Yokaana mu kkomera, Yokaana yali akimanyi nti obuweereza bwe bwali bukulu. Wadde ng’embeera gye yalimu teyali nnyangu, yalina ebyali bimuleetera essanyu.
Okufaananako Yokaana, naffe ebirowoozo byaffe bwe tubissa ku bintu eby’omwoyo kijja kutuyamba okugumiikiriza n’okusigala nga tuli basanyufu. (Bak. 1:9-11) Ekyo tusobola okukikola nga tusoma Bayibuli era nga tugifumiitirizaako, ne kituyamba okukijjukiranga nti okufuba kwaffe mu kuweereza Yakuwa si kwa bwereere. (1 Kol. 15:58) Sandra agamba nti: “Okusomayo essuula emu mu Bayibuli buli lunaku kinnyambye okwongera okusemberera Yakuwa. Kinnyamba okumalira ebirowoozo byange ku Yakuwa so si ku nze.” Era tusobola okussa ebirowoozo ku lipoota eziraga ebyo ebikolebwa mu mulimu gw’Obwakabaka mu nsi yonna. Ekyo kituyamba obutamalira birowoozo byaffe ku mbeera ze tulimu wabula ne tubimalira ku ebyo Yakuwa by’akola. Sandra agamba nti: “Programu eya buli mwezi efulumira ku ttivi yaffe etuyambye okwongera okuwulira nga tuli bumu ne baganda baffe mu nsi yonna, era etuyamba okusigala nga tuli basanyufu.”
Mu kiseera ekitono Yokaana kye yamala g’abuulira, yabuulira “ng’alina omwoyo n’amaanyi nga Eriya bye yalina,” era okufaananako Eriya, naye “yali muntu nga ffe.” (Luk. 1:17; Yak. 5:17) Okufaananako Yokaana, singa naffe tusigala nga tusiima ebyo Yakuwa by’atusobozesezza okukola era ne tussa ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omwoyo, tujja kusigala nga tuli basanyufu mu mulimu gw’Obwakabaka, ka tube mu mbeera ki.