Sigala ng’Otunula ng’Abatume bwe Baakola
“Mutunule nange.”—MAT. 26:38.
KIKI KY’OYIGIRA KU BATUME BWE KITUUKA KU:
Kusigala ng’otunula okusobola okumanya wa gy’olina okubuulira?
Kuba obulindaala ku bikwata ku kusaba?
Kuwa obujulirwa mu bujjuvu wadde ng’olina ebizibu?
1-3. Nsobi ki abatume gye baakola mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe, era kiki ekiraga nti baayigira ku nsobi yaabwe?
LOWOOZA ku ekyo ekyaliwo mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe. Yesu yagenda mu nnimiro y’e Gesusemane, esangibwa ebuvanjuba wa Yerusaalemi. Yagenda wamu n’abatume be abeesigwa. Olw’okuba yalina ebimweraliikiriza bingi, Yesu yali ayagala okufuna ekifo awatali bantu asobole okusaba.—Mat. 26:36; Yok. 18:1, 2.
2 Bwe baatuuka mu nnimiro eyo, Yesu awamu n’abatume abasatu—Peetero, Yakobo, ne Yokaana—baaleka abatume abalala ne beeyongerako mu maaso. Yesu yagamba abatume abo abasatu nti: “Musigale wano, mutunule nange,” ye ne yeeyongerako katono mu maaso n’atandika okusaba. Bwe yakomawo, yasanga mikwano gye abo beebase. Yaddamu n’abagamba nti: “Mutunule.” Kyokka, baddamu okwebaka emirundi emirala ebiri! Mu kiro ekyo, abatume be bonna baalemererwa okusigala nga batunula mu by’omwoyo. Batuuka n’okwabulira Yesu ne badduka!—Mat. 26:38, 41, 56.
3 Tewali kubuusabuusa nti abatume baawulira bubi olw’okulemererwa okusigala nga batunula. Abasajja abo abeesigwa baayigira ku nsobi yaabwe eyo. Ekitabo ky’Ebikolwa kiraga nti baateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’okusigala nga batunula. Ekyokulabirako kyabwe ekirungi kiteekwa okuba nga kyakubiriza Bakristaayo bannaabwe okukola kye kimu. Leero, n’okusinga bwe kyali kibadde, twetaaga okusigala nga tutunula. (Mat. 24:42) Kati ka tulabe ebintu bisatu bye tuyigira ku batume okuva mu kitabo ky’Ebikolwa bwe kituuka ku kusigala nga tutunula.
BAASIGALA BATUNULA OKUSOBOLA OKUMANYA WA GYE BAALINA OKUBUULIRA
4, 5. Omwoyo omutukuvu gwawa gutya Pawulo ne banne obulagirizi?
4 Ekintu ekisooka kye tuyigira ku batume kiri nti, baasigala batunula okusobola okumanya wa gye baalina okubuulira. Bayibuli eraga engeri Yesu gye yakozesaamu omwoyo omutukuvu, Yakuwa gwe yali amuwadde, okuwa omutume Pawulo ne banne obulagirizi bwe baali ku lugendo lwabwe olw’obuminsani. (Bik. 2:33) Ka tusome ku ebyo ebyaliwo ku lugendo lwabwe olwo.—Soma Ebikolwa 16:6-10.
5 Pawulo, Siira, ne Timoseewo baali bavudde mu kibuga Lusitula ekiri mu bukiikaddyo bwa Ggalatiya. Oluvannyuma lw’ennaku ntono, baatuuka ku luguudo lwa Rooma olugenda mu bitundu bya Asiya omwali abantu abangi. Baayagala okukwata oluguudo olwo okugenda mu bibuga ebyalimu abantu abangi abaali baagala okuyiga ebikwata ku Kristo. Naye waliwo ekyabalemesa okugendayo. Olunyiriri 6 lugamba nti: “Ne bayita mu Fulugiya ne mu kitundu ky’e Ggalatiya kubanga omwoyo omutukuvu gwabagaana okubuulira ekigambo mu ssaza ly’e Asiya.” Bayibuli tetubuulira ngeri omwoyo omutukuvu gye gwabagaanamu, naye ekituufu kiri nti gwabagaana okubuulira mu bitundu bya Asiya. Pawulo ne banne baakitegeera nti omwoyo okubagaana okubuulira mu bitundu ebyo kyali kitegeeza nti Yesu yali ayagala bagende mu kitundu ekirala gye baba babuulira.
6, 7. (a) Kiki ekyaliwo Pawulo ne banne bwe baali banaatera okutuuka e Bisuniya? (b) Kiki abayigirizwa kye baasalawo okukola, era biki ebyavaamu?
6 Pawulo ne banne baagenda wa? Olunyiriri 7 lugamba nti: “Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda mu Bisuniya, naye omwoyo gwa Yesu ne gutabakkiriza kugendayo.” Omwoyo bwe gwabagaana okubuulira mu Asiya, Pawulo ne banne baasalawo okugenda okubuulira mu bibuga bya Bisuniya. Naye bwe baali banaatera okutuuka e Bisuniya, Yesu era yakozesa omwoyo omutukuvu okubagaana okubuulirayo. Mu kiseera ekyo, abasajja abo bateekwa okuba nga baali basobeddwa. Baali bamanyi obubaka obw’okubuulira n’engeri y’okububuuliramu, naye nga tebamanyi wa gye baalina kububuulira. Tuyinza okugamba nti: Baakonkona ku luggi oluyingira mu Asiya—naye nga tewali abaggulira. Baakonkona ku luggi oluyingira mu Bisuniya—era ne wabulawo abaggulira. Ababuulizi abo abanyiikivu baalekera awo okukonkona? N’akatono!
7 Mu kiseera ekyo abasajja abo baasalawo okukola ekintu ekitali kya bulijjo. Olunyiriri 8 lugamba nti: “Awo ne bayita mu Musiya ne batuuka mu Tulowa.” Bwe kityo, abasajja abo baakyusa ne batambula mayiro 350 nga boolekera oluuyi olw’ebugwanjuba okutuusa lwe baatuuka ku mwalo gw’e Tulowa, omwalo abantu kwe baayitanga okugenda e Makedoni. Bwe baatuuka e Tulowa, omulundi ogw’okusatu Pawulo ne banne baakonkona ku luggi naye ku luno ne lubaggulirwawo! Olunyiriri 9 lutubuulira ekyaddirira: “Ekiro Pawulo n’afuna okwolesebwa: n’alaba omusajja ow’e Makedoni ng’ayimiridde era ng’amwegayirira nti: ‘Jjangu e Makedoni otuyambe.’” Kya ddaaki, Pawulo yategeera wa gye yalina okubuulira. Amangu ago ye ne banne baasitukiramu ne bagenda e Makedoni.
8, 9. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo ku lugendo lwa Pawulo?
8 Ebyo bye tulabye bituyigiriza ki? Kyetegereze nti Pawulo yamala kutandika lugendo lwe okugenda mu Asiya omwoyo gwa Katonda ne gulyoka gutandika okumuwa obulagirizi. Era Pawulo yamala kuba ng’anaatera okutuuka e Bisuniya Yesu n’alyoka amuwa obulagirizi obulala. Ate era, Pawulo yamala kutuuka ku mwalo gw’e Tulowa Yesu n’alyoka amulagira okugenda e Makedoni. Ng’Omutwe gw’ekibiina, naffe Yesu asobola okutuwa obulagirizi nga bwe yawa Pawulo obulagirizi. (Bak. 1:18) Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’obadde olowooza ku ky’okuweereza nga payoniya oba ku ky’okugenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako. Naye Yesu okusobola okukuwa obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwa Katonda, olina okusooka okubaako ne ky’okolawo. Lowooza ku kino: Omuvuzi w’emmotoka okusobola okuweta emmotoka ye ku luuyi lwonna lw’aba ayagala, emmotoka erina okuba ng’etambula. Mu ngeri y’emu, Yesu okusobola okutuwa obulagirizi mu buweereza bwaffe, tulina okuba nga tulina kye tukolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe.
9 Ate kiri kitya singa okufuba kwo tekuvaamu bibala mangu ago? Wandibivuddeko, ng’olowooza nti omwoyo gwa Katonda tegukuwa bulagirizi? Kikulu okukijjukira nti ne Pawulo mu kusooka ebintu tebyamugendera nga bwe yali asuubira. Wadde kyali kityo, teyalekera awo kunoonya wadde okukonkona okutuusa oluggi lwe lwamuggulirwawo. Mu ngeri y’emu, naawe bw’oneeyongera okunoonya “oluggi olunene olw’okukola emirimu,” ojja kufuna emikisa mingi.—1 Kol. 16:9.
BAALI BULINDAALA KU BIKWATA KU KUSABA
10. Kiki ekiraga nti twetaaga okunyiikirira okusaba bwe tuba ab’okusigala nga tutunula?
10 Kati lowooza ku kintu eky’okubiri kye tusobola okuyigira ku baganda baffe Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, bwe kituuka ku kusigala nga tutunula: Baali bulindaala ku bikwata ku kusaba. (1 Peet. 4:7) Twetaaga okunyiikirira okusaba bwe tuba ab’okusigala nga tutunula. Kijjukire nti bwe yali mu nnimiro y’e Gesusemane ng’anaatera okukwatibwa, Yesu yagamba abatume be abasatu abaali naye nti: “Mutunule, musabe.”—Mat. 26:41.
11, 12. Lwaki Kerode yayigganya Abakristaayo, omwali ne Peetero, era yabayigganya atya?
11 Peetero, eyaliwo nga Yesu ayogera ebigambo ebyo, oluvannyuma alina embeera gye yayitamu eyamuleetera okwongera okulaba obukulu bw’okusaba. (Soma Ebikolwa 12:1-6.) Ennyiriri ezisooka mu Ebikolwa essuula 12, ziraga nti Kerode yatandika okuyigganya Abakristaayo olw’okwagala okusanyusa Abayudaaya. Kirabika yali akimanyi nti Yakobo yali mutume era nga yatambulanga ne Yesu. Kerode yasalawo okutta Yakobo “n’ekitala.” (Olunyiriri 2) Bwe kityo, ekibiina kyafiirwa omutume eyali omwagalwa ennyo. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyagezesa nnyo okukkiriza kw’ab’oluganda abo!
12 Kiki Kerode kye yaddako okukola? Olunyiriri 3 lugamba nti: “Bwe yalaba ng’ekyo kisanyusizza Abayudaaya, n’akwata ne Peetero.” Naye emabegako waliwo abatume abaali bavudde mu makomera mu ngeri ey’ekyamagero, era nga Peetero yali omu ku bo. (Bik. 5:17-20) Ekyo Kerode ayinza okuba nga yali akimanyi. Yakola kyonna ekisoboka okulaba nti Peetero tatoloka. Yamukwasa “ebibinja by’abasirikale bina okumukuuma mu mpalo, nga buli kimu kirimu abasirikale bana. Yali ayagala kumuleeta eri abantu oluvannyuma lw’embaga ey’okuyitako.” (Olunyiriri 4) Kirowoozeeko! Kerode yali alagidde Peetero asibibwe enjegere wakati w’abasirikale 2, ng’ateekeddwako abasirikale 16 okumukuuma emisana n’ekiro mu mpalo okukakasa nti Peetero tatoloka. Kerode yali ayagala okumutwala eri abantu oluvannyuma lw’Embaga y’Okuyitako, amutte asobole okusanyusa abantu. Mu mbeera ng’eyo enzibu ennyo, kiki ab’oluganda kye baakola?
13, 14. (a) Kiki ab’oluganda mu kibiina kye baakola nga Peetero asibiddwa? (b) Bwe kituuka ku kusaba, kiki kye tuyigira ku b’oluganda abo?
13 Ab’oluganda mu kibiina baali bamanyi eky’okukola. Olunyiriri 5 lugamba nti: “Peetero n’akuumirwa mu kkomera; ekibiina ne kinyiikira okumusabira eri Katonda.” Yee, ab’oluganda baanyiikirira okusabira Peetero, era essaala zaabwe zaali ziviira ddala ku mutima. Okufa kwa Yakobo kwali tekumazeemu ba luganda abo maanyi; wadde okubaleetera okuwulira nti Katonda yali tawulira kusaba kwabwe. Mu kifo ky’ekyo, baali bakimanyi nti Yakuwa atwala okusaba kw’abaweereza be abeesigwa nga kwa muwendo nnyo. Okusaba ng’okwo bwe kuba nga kutuukagana n’ebyo by’ayagala, akuwulira.—Beb. 13:18, 19; Yak. 5:16.
14 Ekyo ab’oluganda abo kye baakola kituyigiriza ki? Bwe tuba twagala okusigala nga tutunula tetusaanidde kukoma ku kwesabira ffekka, naye era tusaanidde n’okusabira baganda baffe ne bannyinnaffe. (Bef. 6:18) Olinayo ab’oluganda b’omanyi aboolekagana n’ebizibu? Abamu bayinza okuba nga bayigganyizibwa, nga bali mu nsi omulimu gwaffe gye guwereddwa, oba nga bagwiriddwako obutyabaga. Lwaki ab’oluganda abo tobateeka mu ssaala zo? Oyinza n’okuba ng’olinayo ab’oluganda b’omanyi aboolekagana n’ebizibu abalala bye bayinza okuba nga tebamanyi. Bayinza okuba nga balina ebizibu mu maka gaabwe, nga baweddemu amaanyi, oba nga balwadde. Lwaki tolowooza ku b’oluganda abamu b’oyinza okusabira ng’oyogera ne Yakuwa, oyo “Awulira okusaba”?—Zab. 65:2.
15, 16. (a) Malayika wa Yakuwa yanunula atya Peetero okuva mu kkomera. (Laba ekifaananyi wammanga.) (b) Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu Peetero kinyweza kitya okukkiriza kwaffe?
15 Kiki ekyatuuka ku Peetero? Mu kiro ekyasembayo ng’enkeera lw’alina okuleetebwa eri abantu, Peetero bwe yali yeebase ng’asibiddwa wakati w’abasirikale babiri, waliwo ekintu ekyewuunyisa ekyaliwo. (Soma Ebikolwa 12:7-11.) Lowooza ku ekyo ekyaliwo: Ekitangaala eky’amaanyi kyayaka mu kkomera. Malayika yayimirira kumpi ne Peetero, ng’abakuumi tebamulaba, n’amuzuukusa. Enjegere ezaali ku mikono gye zaavaako ne zigwa! Malayika yalagira Peetero okumugoberera, n’amuyisa ku bakuumi abasooka n’ab’okubiri, ne batuuka ku luggi olw’ekyuma ne lweggulawo “lwokka.” Bwe baamala okufuluma ekkomera, malayika yamuleka. Peetero yali takyali musibe!
16 Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge ag’ekitalo okununula abaweereza be, kinyweza okukkiriza kwaffe. Kya lwatu nti tetusuubira Yakuwa kutununula mu ngeri ya kyamagero leero. Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti akozesa amaanyi ge okuyamba abantu be leero. (2 Byom. 16:9) Akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba okwaŋŋanga ekizibu kyonna kye tuba tufunye. (2 Kol. 4:7; 2 Peet. 2:9) Era mu kiseera ekitali kya wala Yakuwa ajja kuwa Omwana we amaanyi okuzuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu abalinga abasibiddwa mu kufa. (Yok. 5:28, 29) Okukkiriza kwe tulina mu bisuubizo bya Katonda kutuyamba okuba abavumu nga twolekagana n’ebizibu leero.
BAAWA OBUJULIRWA MU BUJJUVU WADDE NGA BAAFUNA EBIZIBU BINGI
17. Pawulo yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kunyiikirira omulimu gw’okubuulira?
17 Ekintu eky’okusatu kye tuyigira ku batume bwe tuba ab’okusigala nga tutunula kiri nti: Beeyongera okuwa obujulirwa mu bujjuvu wadde nga baafuna ebizibu bingi. Bwe tuba ab’okusigala nga tutunula, tulina okunyiikirira omulimu gw’okubuulira. Omutume Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Yabuulira n’obunyiikivu, yatambula eŋŋendo empanvu, era yatandikawo ebibiina bingi. Wadde nga yafuna ebizibu bingi, teyaddirira mu mulimu gwa kubuulira.—2 Kol. 11:23-29.
18. Pawulo yeeyongera atya okuwa obujulirwa ng’asibiddwa mu kkomera e Rooma?
18 Pawulo asembayo okwogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa mu essuula 28. Pawulo yatuuka e Rooma, gye yali agenda okuwozesebwa omufuzi wa Rooma Nero. Yasibibwa mu kkomera, oboolyawo nga n’enjegere ze baali bamusibisizza zisibiddwa ku musirikale. Naye ekyo tekyaleetera mutume oyo omunyiikivu kusirika! Pawulo yeeyongera okukozesa buli kakisa ke yafunanga okuwa obujulirwa. (Soma Ebikolwa 28:17, 23, 24.) Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Pawulo yayita abakulu b’Abayudaaya n’abawa obujulirwa. Abayudaaya baalonda olunaku olulala okuddamu okumusisinkana, era ku olwo yabawa obujulirwa obusingako. Olunyiriri 23 lugamba nti: “[Abayudaaya ab’omu kitundu ekyo] ne bateekateeka olunaku olw’okusisinkana naye, ne bajja bangi mu kifo we yali asula. N’abannyonnyola ensonga ng’abawa obujulirwa obukwata ku bwakabaka bwa Katonda, era n’abasendasenda okukkiriza Yesu ng’akozesa Amateeka ga Musa n’ebitabo bya Bannabbi, okuva ku makya okutuukira ddala akawungeezi.”
19, 20. (a) Lwaki Pawulo yasobola bulungi okuwa obujulirwa? (b) Wadde ng’abantu abamu tebakkiriza mawulire malungi, kiki Pawulo kye yakola?
19 Lwaki Pawulo yasobola bulungi okuwa obujulirwa? Olunyiriri 23 lulaga ensonga eziwerako. (1) Essira yalissa ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku Yesu Kristo. (2) Yafubanga okusikiriza abo ababanga bamuwuliriza ‘ng’abasendasenda.’ (3) Yakubaganyanga ebirowoozo n’abantu ng’akozesa Ebyawandiikibwa. (4) Yayoleka omwoyo ogw’okwefiiriza, ng’awa obujulirwa “okuva ku makya okutuukira ddala akawungeezi.” Wadde nga Pawulo yawa obujulirwa obw’amaanyi, abantu abamu baagaana obubaka bwe. Olunyiriri 24 lugamba nti: “Abamu ne batandika okukkiriza ebyayogerwa; abalala ne batabikkiriza.” N’ekyavaamu abantu baalemererwa okukkiriziganya, ne baawukana.
20 Pawulo yaggwaamu amaanyi olw’okuba abantu abamu baagaana okukkiriza amawulire amalungi? N’akatono! Ebikolwa 28:30, 31 wagamba nti: “N’amala emyaka ebiri mu nnyumba gye yapangisa, n’ayanirizanga n’essanyu abo abajjanga gy’ali, n’ababuulira ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, era n’abayigiriza ebintu ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo, ng’ayogera n’obuvumu awatali kuziyizibwa.” Ekitabo ky’Ebikolwa kikomekkereza n’ebigambo ebyo ebizzaamu ennyo amaanyi.
21. Bwe tuba nga tetukyasobola kuva waka, ekyokulabirako kya Pawulo kituyigiriza ki?
21 Ekyokulabirako kya Pawulo kituyigiriza ki? Bwe yali ng’asibiddwa mu nnyumba, Pawulo yali takyasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba. Naye ekyo teyakikkiriza kumumalamu maanyi, wabula yeeyongera okuwa obujulirwa abo bonna abaamukyaliranga. Mu ngeri y’emu, abantu ba Katonda bangi leero basigala nga basanyufu era beeyongera okubuulira ne bwe baba nga basibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe. Abamu ku baganda baffe ne bannyinnaffe tebasobola kuva waka. Abalala bali mu bifo awakuumirwa bannamukadde oba mu malwaliro. Ab’oluganda ng’abo bafuba okubuulira abo ababakyalira, abasawo, abakozi, n’abantu abalala. Baba n’ekiruubirirwa eky’okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku Bwakabaka bwa Katonda. Nga tusiima nnyo ekyokulabirako ekirungi baganda baffe ne bannyinnaffe abo kye bateekawo!
22. (a) Kitabo ki ekituyamba okuganyulwa mu kitabo kya Bayibuli eky’Ebikolwa? (Laba akasanduuko waggulu.) (b) Kiki ky’omaliridde okukola nga bw’olindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu embi?
22 Tewali kubuusabuusa nti waliwo ebintu bingi bye tuyigira ku batume awamu n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka aboogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa bwe kituuka ku kusigala nga tutunula. Nga bwe tulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, ka tube bamalirivu okukoppa Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka nga tunyiikirira okuwa obujulirwa n’obuvumu. Leero, tewali kintu kyonna kisinga nkizo gye tulina ‘ey’okuwa obujulirwa’ ku Bwakabaka bwa Katonda!—Bik. 28:23.
[Akasanduuko akali ku lupapula 13]
“EKITABO KY’EBIKOLWA KATI KYA MAKULU NNYO GYE NDI”
Oluvannyuma lw’okusoma ekitabo “Bearing Thorough Witness” About God’s Kingdom, omulabirizi omu atambula yagamba nti: “Ekitabo ky’Ebikolwa kati kya makulu nnyo gye ndi.” Yali asomye ekitabo ky’Ebikolwa emirundi egiwera naye oluvannyuma lw’okusoma ekitabo ekyo ekipya, yawulira nga kati asobola okuganyulwa ekisingako mu kusoma ekitabo ky’Ebikolwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Malayika yakulembera Peetero n’amuyisa mu mulyango ogwaliko oluggi olw’ekyuma