-
“Ajjuza Emitima” GyaffeOmunaala gw’Omukuumi—2013 | Jjulaayi 1
-
-
SEMBERERA KATONDA
“Ajjuza Emitima” Gyaffe
Ddala Katonda atufaako, oba teyeefiirayo bw’alaba nga tubonaabona? Engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekyo ezzaamu amaanyi. Mu butuufu, Katonda atufaako era ayagala tunyumirwe obulamu. Buli lunaku, abantu abatakola by’ayagala nabo baganyulwa mu birungi by’akola. Lowooza ku bigambo by’omutume Pawulo bino.—Soma Ebikolwa 14:16, 17.
Bwe yali ayogera eri abantu b’omu kibuga Lusitula abaali batasinza Katonda ow’amazima, Pawulo yagamba nti: “Mu biseera ebyayita [Katonda] yaleka amawanga gonna okutambulira mu makubo gaago, wadde nga yeewaako obujulirwa olw’ebintu ebirungi bye yakola, ng’abawa enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby’okubaliramu emmere, ng’abawa emmere mu bungi era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.”
Abantu b’omu Lusitula bateekwa okuba nga baategeera bulungi ebigambo ebyo kubanga baali balimi, ng’ettaka lyabwe ggimu, era nga bafuna enkuba mu bungi. Naye Pawulo yabajjukiza nti Katonda ye yali abawa enkuba era ye yabazanga ebirime byabwe. N’olwekyo, buli lwe baakungulanga ebirime mu bungi era ne balya emmere ewooma, baabanga baganyulwa mu birungi Yakuwa by’akola.
Ebyo Pawulo bye yagamba abantu b’omu Lusitula birina kye bituyigiriza ku Yakuwa Katonda.
-
-
“Ajjuza Emitima” GyaffeOmunaala gw’Omukuumi—2013 | Jjulaayi 1
-
-
Yakuwa ayagala tumumanye. Omutume Pawulo yagamba nti Yakuwa “yeewaako obujulirwa.” Ekitabo ekijuliziddwa waggulu kiraga nti ebigambo ebyo biyinza okuvvuunulwa nti, “alaze bulungi abantu ekyo kyennyini ky’ali.” Ebitonde bya Katonda biraga “engeri ze ezitalabika,” gamba nga, obulungi bwe, amagezi ge, amaanyi ge, n’okwagala kwe. (Abaruumi 1:20) Ate era Yakuwa atubuulira ebimukwatako okuyitira mu Bayibuli. (2 Timoseewo 3:16, 17) Ekyo kiraga bulungi nti ayagala tumumanye.
Buli lunaku, abantu abatakola Katonda by’ayagala nabo baganyulwa mu birungi by’akola
Yakuwa ayagala tubeere basanyufu. Omutume Pawulo yagamba nti Yakuwa ‘atuwa emmere mu bungi era ajjuza emitima gyaffe essanyu.’ N’abantu abatakola Yakuwa by’ayagala bafuna emmere mu bungi era baba basanyufu. Naye, Yakuwa ayagala tufune essanyu erya nnamaddala. Okusobola okulifuna tulina okuyiga amazima agamukwatako era ne tukolera ku ebyo bye tuba tuyize.—Zabbuli 144:15; Matayo 5:3.
Buli lunaku, ffenna tuganyulwa mu birungi Yakuwa by’akola. N’olwekyo, tukukubiriza okweyongera okuyiga engeri gy’oyinza okulagamu nti osiima Katonda ‘akuwa emmere mu bungi era ajjuza omutima gwo essanyu.’
-