ESSUULA 127
Awozesebwa ab’Olukiiko Olukulu, era Atwalibwa eri Piraato
MATAYO 27:1-11 MAKKO 15:1 LUKKA 22:66–23:3 YOKAANA 18:28-35
AB’OLUKIIKO OLUKULU BAMUWOZESA KU MAKYA
YUDA ISUKALYOTI AGEZAAKO OKWETUGA
YESU ATWALIBWA ERI PIRAATO AVUNAANIBWE
Peetero amaze okwegaana Yesu omulundi ogw’okusatu era obudde bunaatera okukya. Ab’Olukiiko Olukulu bamaze okuwozesa Yesu mu bukyamu era bagenze. Ku Lwokutaano ku makya baddamu okukuŋŋaana bawozese Yesu basobole okubikkirira kye baakoze ekiro. Yesu aleetebwa mu maaso gaabwe.
Baddamu okubuuza Yesu nti: “Bw’oba nga ggwe Kristo, tubuulire.” Yesu abaddamu nti: “Ne bwe nnaababuulira, temujja kukikkiriza. Era ne bwe nnaababuuza, temujja kunziramu.” Kyokka nga muvumu, Yesu akiraga nti obunnabbi obuli mu Danyeri 7:13 bukwata ku ye. Agamba nti: “Okuva leero, Omwana w’omuntu ajja kutuula ku mukono gwa Katonda ogw’amaanyi ogwa ddyo.”—Lukka 22:67-69; Matayo 26:63.
Bongera okumubuuza nti: “Ky’ogamba oli Mwana wa Katonda?” Yesu abaddamu nti: “Mmwe kennyini mmwe mukyogedde.” Bagamba nti Yesu avvodde era nti agwanidde okufa. Beebuuza nti: “Twetaaga obujulizi obulala?” (Lukka 22:70, 71; Makko 14:64) N’olwekyo basiba Yesu ne bamutwala eri Pontiyo Piraato, Gavana Omuruumi.
Kirabika Yuda Isukalyoti alaba Yesu ng’atwalibwa eri Piraato. Yuda bw’akitegeera nti Yesu asingisiddwa omusango, anyolwa era n’atandika okwejjusa. Kyokka mu kifo ky’okwenenya mu maaso ga Katonda, azzaayo ebitundu bya ffeeza 30 eri bakabona abakulu era abagamba nti: “Nnayonoona bwe nnalyamu olukwe omusaayi omutuukirivu.” Nga tebamulumirirwa n’akamu, bamuddamu nti: “Ekyo kizibu kyo; ffe tekitukwatako!”—Matayo 27:4.
Yuda asuula mu yeekaalu ebitundu bya ffeeza 30 ebyamuweebwa era ayongera ku bibi bye ng’agezaako okwetta. Kirabika Yuda bw’aba agezaako okwetuga, ettabi kw’asibye omuguwa limenyeka. Agwa ku njazi n’ayabikamu wakati.—Ebikolwa 1:17, 18.
Bukyali budde bwa ku makya Yesu we bamutwalira mu lubiri lwa Pontiyo Piraato. Naye Abayudaaya abamutwalayo bagaana okuyingira mu lubiri. Balowooza nti okuyingira ewa munnaggwanga kijja kubafuula abatali balongoofu. Era bakimanyi nti ekyo kijja kubaviirako obutalya kijjulo eky’oku Nisaani 15, olunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, era nga nalwo lutwalibwa ng’ekiseera eky’embaga ey’Okuyitako.
Piraato afuluma n’ababuuza nti: “Omusajja ono mumuvunaana ki?” Baddamu nti: “Singa omusajja oyo tabadde mumenyi wa mateeka, tetwandimuleese gy’oli.” Piraato akiraba nti bagezaako okumupikiriza, era agamba nti: “Mmwe mumutwale mumusalire omusango ng’amateeka gammwe bwe galagira.” Abayudaaya bakiraga nti baagala Yesu attibwe nga bagamba nti: “Amateeka tegatukkiriza kutta muntu yenna.”—Yokaana 18:29-31.
Bakimanyi nti singa batta Yesu ku lunaku lw’embaga ey’Okuyitako, abantu bayinza okwekalakaasa. Naye Abaruumi bo balina obuyinza okukikola. N’olwekyo singa baleetera Abaruumi okutta Yesu nga bamuvunaana okumenya amateeka g’Abaruumi, Abayudaaya abo tebajja kuvunaanibwa bantu.
Abakulembeze b’eddiini abo tebabuulira Piraato nti Yesu bamuvunaana gwa buvvoozi. Wabula bamusibako emisango emirala nga bagamba nti: “Omusajja ono twamusanga [1] ng’ajeemesa eggwanga lyaffe, [2] ng’agaana abantu okuwa Kayisaali omusolo, era [3] ng’agamba nti ye kennyini ye Kristo kabaka.”—Lukka 23:2.
Ng’oyo akiikirira Rooma, kirabika Piraato yeekangamu bw’awulira nti Yesu yeeyita kabaka. Bwe kityo Piraato addayo mu lubiri n’ayita Yesu era n’amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Mu ngeri endala alinga amubuuza nti, ‘Osazeewo okumenya amateeka g’Abaruumi nga weeyita kabaka, ekiraga nti ojeemedde Kayisaali?’ Oboolyawo nga Yesu ayagala okumanya ebyo Piraato by’amuwuliddeko, amugamba nti: “Ekyo okimbuuza ku bubwo oba abalala be bakubuulidde ebinkwatako?”—Yokaana 18:33, 34.
Piraato alaga nti alinga atamanyi bikwata ku Yesu naye ate ng’ayagala okubimanya. Agamba nti: “Nze ndi Muyudaaya?” Agattako nti: “Abantu b’eggwanga lyo ne bakabona abakulu be bakuleese gye ndi. Wakoze ki?”—Yokaaana 18:35.
Yesu teyeewala kwogera ku nsonga enkulu ekwata ku bufuzi, era engeri gy’addamu yeewuunyisa nnyo Gavana Piraato.