Okubuulira Amawulire Amalungi nga Tulina Okukkiriza Okunywevu
1 Mu matandika g’ekyasa ekyasooka, Yesu Kristo yatuma abayigirizwa be okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era ‘n’okufuula abantu mu mawanga gonna abayigirizwa.’ (Mat. 24:14; 28:19, 20) Abajulirwa ba Yakuwa ekiragiro kino bakitutte nga kikulu, ne kiba nti ku nkomerero y’ekyasa ekya 20, oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo lugaziye era nga kati lulimu abayigirizwa abasukka 5,900,000 mu nsi 234. Nga ttendo lya maanyi nnyo erigenda eri Kitaffe ow’omu ggulu!
2 Kati tuyingidde ekyasa ekya 21. Mu ngeri enneekusifu, Omulabe waffe agezaako okulemesa omulimu gwaffe omukulu ogw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abayigirizwa. Akozesa okunyigiriza kw’embeera zino ez’ebintu okugezaako okuwugula ebirowoozo byaffe, okutwala ebiseera byaffe, era n’okutuleetera okumalira amaanyi gaffe ku bintu ebirala ebitali bikulu. Mu kifo ky’okuleka embeera zino okutusalirawo ekikulu mu bulamu, tukakasa ekisinga obukulu okuva mu Kigambo kya Katonda—okukola Yakuwa by’ayagala. (Bar. 12:2) Ekyo kitegeeza okugondera okukubirizibwa okuli mu Byawandiikibwa ‘okw’okubuulira ekigambo mu kiseera ekirungi ne mu kiseera ekizibu era n’okutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu.’—2 Tim. 4:2, 5.
3 Kulaakulanya Okukkiriza Okunywevu: Abakristaayo beetaaga ‘okubeera nga tebalina kibabulako era nga balina okukkiriza okunywevu mu Katonda by’ayagala byonna.’ (Bak. 4:12, NW) Ebigambo “okukkiriza okunywevu” binnyonnyolwa nga “endowooza ennywevu oba enzikiriza ey’amaanyi; embeera ey’okubeera omukakafu.” Ng’Abakristaayo tuteekwa okubeera abakakafu nti Ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi kikakafu era nti kati tuli wala nnyo mu kiseera eky’enkomerero. Tuteekwa okubeera n’okukkiriza okunywevu ng’okw’omutume Pawulo, eyagamba nti amawulire amalungi “ge maanyi ga Katonda olw’okulokoka eri buli akkiriza.”—Bar. 1:16.
4 Omulyolyomi akozesa abantu ababi n’abakuusa, bo bennyini abalimbiddwa, okutwaliriza era n’okubuzaabuza abalala. (2 Tim. 3:13) Okuva bwe twalabulwa ku ekyo, tubaako kye tukola okunyweza okukkiriza kwaffe nti tuli mu mazima. Mu kifo ky’okuleka ebyeraliikiriza mu bulamu okukendeeza obunyiikivu bwaffe, tweyongera kukulembeza bigendererwa by’Obwakabaka. (Mat. 6:33, 34) Era tetwagala kubuusa maaso obukulu bw’ebiseera bye tulimu, oboolyawo nga tulowooza nti enkomerero y’embeera zino ekyali wala nnyo. Esembera mangu nnyo. (1 Peet. 4:7) Wadde nga tuyinza okuwulira nti okubunyisa amawulire amalungi kuvaamu ebibala bitono mu nsi ezimu bw’ogeraageranya n’obujulirwa obuweereddwayo, omulimu gw’okulabula guteekwa okweyongera mu maaso.—Ez. 33:7-9.
5 Ebibuuzo ebikulu mu kiseera kino biri nti: ‘Omulimu Yesu gwe yatuwa ogw’okufuula abayigirizwa ngutwala nga mukulu? Bwe mba mbuulira amawulire amalungi, njoleka okukkiriza okw’amaanyi nti Obwakabaka bwa ddala? Ndi mumalirivu okukola kyonna kye nsobola mu buweereza buno obw’okuwonya obulamu?’ Nga tukitegedde nti tuli wala nnyo mu biseera eby’enkomerero, tuteekwa okufaayo ku bitukwatako ffe ffenyini era ne ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira n’okuyigiriza. Bwe tukola bwe tutyo tujja kulokolebwa ffe ffennyini era n’abo abatuwuliriza. (1 Tim. 4:16, NW) Tuyinza tutya ffenna okunyweza okukkiriza kwaffe ng’abaweereza?
6 Koppa Abasessaloniika: Omutume Pawulo, bwe yajjukira omulimu ogw’amaanyi ogwakolebwa ab’oluganda mu Ssessaloniika, yabagamba: “Amawulire amalungi ge tubuulira tegajja gye muli mu bigambo bugambo naye era mu maanyi n’omwoyo omutukuvu era n’okukkiriza okunywevu, nga bwe mumanyi kye twafuuka gye muli ku lwammwe; era mwatukoppa ffe ne Mukama waffe, olw’okuba mwakkiriza ekigambo n’essanyu ery’omwoyo omutukuvu mu kubonaabona okungi.” (1 Bas. 1:5, 6, NW) Yee, Pawulo yatendereza ekibiina ky’Abasessaloniika olw’okuba baabuuliranga n’obunyiikivu era n’okukkiriza okw’amaanyi wadde nga baali mu kubonaabona kungi. Kiki ekyabasobozesa okukola kino? Okusingira ddala, obunyiikivu n’okukkiriza okw’amaanyi bye baalaba mu mutume Pawulo ne bakozi banne birina kye byabakolako. Mu ngeri ki?
7 Obulamu bwa Pawulo ne banne be yatambulanga nabo bwayoleka nti baalina omwoyo gwa Katonda era nti baali bakkiririza ddala mu bye babuulira. Nga tebannajja mu Ssessaloniika, Pawulo ne Siira baali bayisiddwa bubi nnyo mu Firipi. Awatali kuwozesebwa, baakubibwa, baggalirwa mu kkomera, era ne bateekebwa mu nvuba. Kyokka, ekigezo kino ekyabatuukako tekyakendeeza bunyiikivu bwabwe obw’okubuulira amawulire amalungi. Katonda yabasobozesa okusumululwa, ne kiviirako omukuumi w’ekkomera okukyuka awamu n’ab’omu nnyumba ye, ne kisobozesa ab’oluganda bano okweyongera mu maaso mu buweereza bwabwe.—Ebikolwa 16:19-34.
8 Mu maanyi g’omwoyo gwa Katonda, Pawulo yajja mu Ssessaloniika. Eyo yakola okusobola okufuna bye yeetaaga era ne yeemalira ku kuyigiriza Abasessaloniika amazima. Yabuuliranga amawulire amalungi buli lwe yafunanga akakisa konna. (1 Bas. 2:9) Okubuulira kwa Pawulo ng’alina okukkiriza okw’amaanyi kwakola kinene nnyo ku bantu b’omu kitundu ekyo era abamu ku bo ne balekayo okusinza ebifaananyi era ne bafuuka abaweereza ba Katonda ow’amazima, Yakuwa.—1 Bas. 1:8-10.
9 Okuyigganyizibwa tekwaziyiza abakkiriza abappya okubuulira amawulire amalungi. Nga bakubirizibwa okukkiriza kwabwe okuppya era nga bakakafu ddala nti bajja kufuna emikisa egy’olubeerera, Abasessaloniika baalangirira amazima ge baali bakkiriza n’essanyu. Ekibiina ekyo kyabuulira nnyo ne kiba nti okukkiriza kwabwe n’obunyiikivu bwabwe byabuna mu bitundu ebirala ebya Makedoni era n’okutuukira ddala mu Akaya. N’olwekyo, Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ye esooka eri Abasessaloniika, ebikolwa byabwe ebirungi byali bimanyiddwa nnyo. (1 Bas. 1:7) Nga kyakulabirako kirungi nnyo!
10 Okukubirizibwa Okwagala Katonda n’Abantu: Ffe okufaananako Abasessaloniika, tuyinza tutya okwoleka okukkiriza okunywevu nga tubuulira amawulire amalungi leero? Pawulo yabawandiikako bw’ati: “Tujjukira bulijjo omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala.” (1 Bas. 1:3, italiki zaffe.) Kya lwatu nti baalina okwagala kwa maanyi okuviira ddala ku mutima eri Yakuwa Katonda n’eri abantu be baabuuliranga. Okwagala kuno kwe kumu kwe kwakubiriza Pawulo ne banne okuwa Abasessaloniika “si mawulire malungi gokka aga Katonda, naye era n’emmeeme [zaabwe] zennyini.”—1 Bas. 2:8, NW.
11 Mu ngeri y’emu leero, okwagala okungi kwe tulina eri Yakuwa ne bantu bannaffe kutuleetera okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira Katonda gw’atuwadde. N’okwagala okulinga okwo, tukitegeera nti buvunaanyizibwa bwaffe obwatuweebwa Katonda okubunyisa amawulire amalungi. Nga tufumiitiriza ku ebyo byonna Yakuwa by’atukoledde mu kutulaga “obulamu obwa nnamaddala,” tukubirizibwa okubuulira abalala amazima ag’ekitalo ge tukkiriza n’omutima gwaffe gwonna.—1 Tim. 6:19, NW.
12 Nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, okwagala kwaffe eri Yakuwa n’abantu kuteekwa okweyongera okukula. Bwe kweyongera, tujja kukubirizibwa okwongera ku biseera bye tumala mu buweereza obw’oku nnyumba ku nnyumba era n’okweyambisa engeri endala zonna ez’okubuulira ze tuyinza okwenyigiramu. Tujja kweyambisa emikisa egibaawo okubuulira embagirawo ab’eŋŋanda, baliraanwa, n’abantu abalala be tukolagana nabo. Wadde ng’abantu abasinga obungi bayinza okugaana amawulire amalungi ge tubuulira era nga n’abamu bajja kugezaako okuziyiza okulangirirwa kw’Obwakabaka, tufuna essanyu munda yaffe. Lwaki? Kubanga tumanyi nti tukoze ekisingayo obulungi kye tusobola okubuulira Obwakabaka n’okuyamba abantu okufuna obulokozi. Era Yakuwa ajja kuwa emikisa okufuba kwaffe okuzuula abantu ab’omutima omwesigwa. Ne bwe tuba nga tunyigirizibwa nnyo mu bulamu era nga Setaani anoonya okutumalako essanyu, tusobola okukuuma okukkiriza kwaffe okunywevu era n’obunyiikivu bwaffe mu kubuulira abalala. Ffenna bwe tutuukiriza ekitundu kyaffe, kino kivaamu ebibiina ebinywevu era ebinyiikivu ebifaananako eky’e Ssessaloniika.
13 Tolekulira ng’Ogezesebwa: Okukkiriza okunywevu era kwetaagisa nga twolekaganye n’okugezesebwa okutali kumu. (1 Peet. 1:6, 7) Yesu yategeeza abayigirizwa be nti mu kumugoberera, ‘bandikyayiddwa amawanga gonna.’ (Mat. 24:9) Kino kyatuuka ku Pawulo ne Siira nga bali e Firipi. Ebiri mu Ebikolwa by’Abatume essuula 16 biraga nti Pawulo ne Siira baateekebwa mu kkomera ery’omunda era ne basibibwa mu nvuba. Okutwalira awamu, ekkomera ekkulu lyali lizimbiddwa mu ngeri ya kisaakaate nga lirimu obusenge obusobola okutuukamu ekitangaala n’empewo. Kyokka, lyo ekkomera ery’omunda teryatuukangamu kitangaala era nga n’empewo ntono. Pawulo ne Siira baalina okwolekagana n’ekizikiza, ebbugumu, era n’ekivundu ebyali mu kifo ekyo ekibi mwe baali basibiddwa. Osobola okuteeberezamu obulumi bwe baali bawulira nga basibiddwa mu nvuba okumala essaawa nnyingi ng’emigongo gyabwe gisalisesalise era nga gitiiriika omusaayi olw’okukubibwa embooko?
14 Wadde baafuna ebigezo bino, Pawulo ne Siira baasigala nga beesigwa. Baayoleka okukkiriza okw’amaanyi okuviira ddala ku mitima gyabwe, okwabanyweza okuweereza Yakuwa nga bagezesebwa. Okukkiriza kwabwe okunywevu kulagibwa mu lunyiriri 25 olw’essuula 16, awagamba nti Pawulo ne Siira baali ‘basaba era nga bayimbira Katonda.’ Mu butuufu, wadde baali mu kkomera ery’omunda, baali bakakafu nnyo nti basiimibwa Katonda ne kiba nti baayimba mu ddoboozi erya waggulu eryawulirwa n’abasibe abalala! Tuteekwa okubeera n’okukkiriza okunywevu kwe kumu leero nga twolekaganye n’okugezesebwa eri okukkiriza kwaffe.
15 Ebigezo Omulyolyomi by’atuleetera bingi nnyo. Eri abamu kiyinza okubeera okuyigganyizibwa okuva eri ab’omu maka. Baganda baffe bangi boolekaganye n’okusoomooza okukwatagana n’amateeka. Wayinza okubaawo okuziyiza okuva eri bakyewaggula. Waliwo ebizibu by’ebyenfuna era n’okusoomooza okukwata ku kweyimirizaawo. Abavubuka boolekagana n’okupikirizibwa ku ssomero. Tuyinza tutya okwolekagana n’ebigezo bino ne tutuuka ku buwanguzi? Kiki ekyetaagibwa okusobola okwoleka okukkiriza okunywevu?
16 Ekisooka era ekisinga obukulu, twetaaga okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Pawulo ne Siira bwe baali mu kkomera ery’omunda, tebaakozesa biseera ebyo kwemulugunya olw’embeera yaabwe oba okwesaasira. Amangu ago baasaba Katonda era ne bamuyimbira ennyimba ezitendereza. Lwaki? Olw’okuba baalina enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaabwe ow’omu ggulu. Baakitegeera nti baali babonaabona olw’obutuukirivu era nti obulokozi bwabwe bwali bwesigamye ku Yakuwa.—Zab. 3:8.
17 Bwe twolekagana n’ebigezo leero, naffe tuteekwa okwesiga Yakuwa. Pawulo atukubiriza nga Abakristaayo ‘okutegeeza Katonda bye twagala. N’emirembe gya Katonda egisinga okutegeerwa kwonna, gikuumenga emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe.’ (Baf. 4:6, 7) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Yakuwa tajja kutuleka kwaŋŋanga bigezo ffekka! (Is. 41:10) Abeera naffe bulijjo kasita tumuweereza n’okukkiriza okwa nnamaddala.—Zab. 46:7.
18 Ekirala ekikulu ekituyamba okwoleka okukkiriza okunywevu kwe kubeera abanyiikivu mu buweereza bwaYakuwa. (1 Kol. 15:58) Pawulo ne Siira baasuulibwa mu kkomera olw’okuba baali babuulira amawulire amalungi. Baalekera awo okubuulira olw’ebigezo ebyo? Nedda, beeyongera kubuulira ne bwe baali mu kkomera, ate oluvannyuma lw’okuteebwa, baagenda e Ssessaloniika ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya ‘okukubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa.’ (Bik. 17:1-3, NW) Bwe tuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa era nga tuli bamativu nti tulina amazima, tewali ‘kiritwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.’—Bar. 8:35-39.
19 Ebyokulabirako mu Kiseera Kyaffe eby’Okukkiriza Okunywevu: Waliwo ebyokulabirako bingi ebirungi ennyo mu kiseera kyaffe eby’abo, okufaananako Pawulo ne Siira, abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Mwannyinaffe omu eyawonawo mu nkambi y’e Auschwitz ayogera ku kukkiriza okutajjulukuka era okunywevu okwayolesebwa ab’oluganda ne bannyinaffe abaaliyo. Agamba: “Lumu bwe baali batubuuza ebibuuzo, omukungu omu yajja gye ndi ng’afunyizza ebikonde. ‘Tunaabakola ki bantu mmwe?’ bw’atyo bwe yagamba. ‘Bwe tubakwata, temufaayo. Bwe tubasindika mu kkomera, temufaayo n’akamu. Bwe tubasindika mu nkambi z’abasibe, tekibeeraliikiriza. Bwe tubasalira ekibonerezo eky’okuttibwa, muyimirira awo nga temwefiirayo. Tunaabakola ki mmwe?’” Nga kinyweza nnyo okukkiriza okulaba okukkiriza baganda baffe kwe baalina mu mbeera enzibu ennyo bwe zityo! Beesiga Yakuwa okubayamba okugumiikiriza.
20 Mazima ddala, tujjukira okukkiriza okunywevu baganda baffe bangi kwe boolese nga boolekaganye n’obukyayi mu mawanga obubaddewo mu myaka egyakayita. Wadde beesanga mu mbeera ez’akabi ennyo, ab’oluganda ab’obuvunaanyizibwa bafaayo okulaba nti baganda baabwe ne bannyinaabwe baliisibwa mu by’omwoyo. Bonna beeyongera okubeera abeesigwa nga balina okukkiriza okunywevu nti ‘tewali kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana nabo ekirituuka ku buwanguzi.’—Is. 54:17.
21 Bangi ku baganda baffe ne bannyinaffe abalina bannaabwe mu bufumbo abatali bakkiriza nabo boolese okukkiriza okw’amaanyi n’obugumiikiriza. Ow’oluganda omu mu Guadeloupe yaziyizibwa nnyo mukyala we ataali mukkiriza. Okusobola okumumalamu amaanyi n’okumulemesa okugenda mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, teyamuteekerateekeranga mmere wadde okumwoleza, oba okumugololera, oba okuddaabiriza engoye ze. Okumala ebbanga ddene, teyayogeranga naye. Naye olw’okwoleka okukkiriza okunywevu okuviira ddala mu mutima gwe ng’aweereza Yakuwa era n’okumusaba obuyambi, ow’oluganda ono yasobola okubigumira byonna. Kumala bbanga ki? Okumala emyaka 20—awo mukyala we n’akyusaamu. Mu nkomerero, yasanyuka nnyo mukyala we bwe yakkiriza essuubi ly’Obwakabaka bwa Katonda.
22 Eky’enkomerero, tetuteekwa kwerabira okukkiriza okunywevu okwa baganda baffe ne bannyinaffe abato abagenda ku ssomero buli lunaku era ne boolekagana n’okupikirizibwa okuva eri bannaabwe n’okusoomooza okulala. Ku bikwata ku kupikirizibwa kwe yafunanga ku ssomero, Omujulirwa omu omuto yagamba: “Bw’obeera ku ssomero, buli omu aba akukubiriza okubeera omujeemu. Abaana ku ssomero bakussaamu ekitiibwa bw’okolayo ekintu ekyekuusa ku bujeemu.” Abavubuka baffe nga boolekaganye n’okunyigirizibwa kwa maanyi nnyo! Abamu katono boonoone enkolagana yaabwe ne Yakuwa olw’okwekkiriranya eri okunyigirizibwa. Malirira mu birowoozo byo ne mutima gwo okuziyiza okukemebwa.
23 Abavubuka baffe bangi bakola bulungi mu kukuuma obugolokofu bwabwe nga bagezesebwa. Ekyokulabirako kimu kye kya mwannyinaffe abeera mu Bufalansa. Lumu oluvannyuma lw’eky’emisana, abalenzi abamu baagezaako okumuwaliriza abanywegere, naye yasaba era n’abaziyiza nnyo, awo abalenzi ne bamuvaako. Oluvannyuma, omu ku bo yakomawo n’amugamba nti obuvumu bwe yalaga bw’amuwuniikiriza. Mwannyinaffe yasobola okumubuulira ku Bwakabaka, n’amunnyonnyola emitindo egya waggulu Yakuwa gy’ateerawobonna abaagala okufuna emikisa gyabwo. Mu lusoma olw’omwaka ogwo, era yannyonnyola enzikiriza ye eri ekibiina kyonna.
24 Nga tulina nkizo ya muwendo nnyo okubalirwa mu abo Yakuwa b’akozesa okwogera n’okukkiriza okunywevu by’ayagala! (Bak. 4:12) Ate era, tulina omukisa ogw’ekitalo okwoleka obugolokofu bwaffe nga tulumbibwa Omulabe waffe alinga empologoma, Setaani Omulyolyomi. (1 Peet. 5:8, 9) Tetwerabiranga nti Yakuwa akozesa obubaka bw’Obwakabaka okutuleetera obulokozi ffe ababubuulira n’eri abo abawuliriza. Okusalawo kwe tukola era n’engeri gye tweyisaamu buli lunaku ka birage nti tukulembeza Obwakabaka. Ka tweyongere okubuulira amawulire amalungi n’okukkiriza okunywevu!