Funa Essanyu Eriva mu Kugaba
“BBAASI esobola okugenda, naye omusajja oyo Omukyayina asigale.” Ebigambo ebyo omukyala ayitibwa Alexandra yabiwulira ng’ali mu bbaasi ku nsalo, ng’abasaabaze balagayo ebiwandiiko ebibakkiriza okuyingira mu nsi bbaasi eyo gye yali egenda. Alexandra yafuluma alabe ekigenda mu maaso. Yasanga omusajja Omukyayina agezaako okwennyonnyolako eri omusirikale, naye ng’omusirikale tategeera by’ayogera kubanga Omukyayina yali tamanyi bulungi Lusipeyini. Olw’okuba Alexandra yali mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekikozesa Olukyayina, yavvuunulira omusirikale ebyo Omukyayina bye yali agamba.
Omusajja Omukyayina yali agamba nti yalina obutuuze mu nsi eyo, naye baali bamubbyeko ebiwandiiko bye ne ssente ze zonna. Mu kusooka omusirikale teyakkiriza musajja oyo bye yali agamba, era okumukkiriza okugenda yasooka kumusasuza ddoola 20 olw’obutaba na biwandiiko. Olw’okuba teyalina ssente ezo, Alexandra yazimuwola. Omusajja yasiima nnyo, era n’agamba Alexandra nti yali ajja kumuddizzaawo ssente ezisukka mu ddoola 20 ze yali amuwoze. Alexandra yamugamba nti yali tayagala magoba, era nti ekyo kye yali amukoledde kye yali agwanidde okukola. Yawa omusajja oyo ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli era n’amukubiriza okunoonya Abajulirwa ba Yakuwa bamuyigirize Bayibuli.
Alexandra yakola bulungi okuyamba omuntu gwe yali tamanyi. Abantu bangi okuva mu madiini gonna, n’abantu abamu abatalina ddiini, nabo basobola okukola bwe batyo. Naawe ekyo osobola okukikola? Kirungi okwebuuza ekibuuzo ekyo kubanga Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Ebikolwa 20:35) Ne bannasayansi bakizudde nti abantu abayamba abalala baganyulwa nnyo. Ka tulabe engeri gye baganyulwa.
OMUNTU “AGABA N’ESSANYU”
Waliwo akakwate ka maanyi wakati w’okugaba n’okufuna essanyu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” Yali ayogera ku Bakristaayo abaali bawaddeyo obuyambi okudduukirira bannaabwe abaali mu buzibu. (2 Abakkolinso 8:4; 9:7) Pawulo yali tategeeza nti baawaayo obuyambi olw’okuba baali bantu basanyufu, wabula nti baafuna essanyu olw’okuba baayamba abalala.
Okunoonyereza okumu kwalaga nti omuntu bw’akolera omuntu omulala ekirungi, ‘ekitundu ky’obwongo bwe ekireetera omuntu okusanyuka kicamuka, omuntu oyo muli n’awulira nga musanyufu.’ Okunoonyereza okulala kwalaga nti ‘omuntu bw’awa omuntu omulala ssente kimuleetera essanyu okusinga bwe kyandibadde nga ssente ezo azikozesezza ku bibye.’
Oyinza okuba ng’olowooza nti tolina busobozi kuyamba muntu yenna, naye ekituufu kiri nti buli muntu asobola okufuna essanyu eriva mu kugaba. Obungi bw’ebintu by’ogaba si kye kikulu, wabula ekigendererwa ky’oba nakyo. Waliwo Omujulirwa wa Yakuwa eyaweereza abakuba akatabo kano ssente nga kuliko obubaka obugamba nti: “Okumala emyaka mingi mbadde mpaayo obusente butonotono ku Kingdom Hall.” Yagattako nti: “Yakuwa Katonda ampadde bingi nnyo okusinga nze bye mpaayo. . . . Mwebale kukkiriza kirabo kino kye mpaddeyo. Kindeetedde essanyu lingi.”
Ssente si kye kintu kyokka kye tusobola okuwa abalala. Waliwo n’ebirala bye tusobola okubawa.
OKUGABA KWA MUGASO ERI OBULAMU BWO
Bayibuli egamba nti: “Omuntu bw’abeera ow’ekisa kimuganyula,naye omuntu omukambwe yeereetera emitawaana.” (Engero 11:17) Abantu ab’ekisa baba bagabi era bakozesa ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, n’ebintu ebirala, okuyamba abalala. Okugaba okw’engeri eyo kubaganyula mu ngeri ezitali zimu.
Okunoonyereza kulaga nti abantu abayamba abalala tebatera kulwalalwala era tebatera kuba bennyamivu. Okutwalira awamu, abantu abo baba balamu bulungi. N’abantu abalina obulwadde obutawona, gamba nga siriimu, bwe baba bagabi, embeera y’obulamu bwabwe teba mbi nnyo. Ate era kizuuliddwa nti abantu abaagala okuva ku mwenge bwe baba n’omutima omugabi, kibanguyira okuguvaako.
Ekyo kiri kityo kubanga ‘okuba ow’ekisa n’okuyamba abalala biyamba omuntu obutennyamira.’ Ate era, okugaba kuyamba omuntu obuteeraliikira nnyo, era kukkakkanya obulwadde bwa puleesa. N’abantu ababa bafiiriddwa abaagalwa baabwe baguma mangu bwe bayamba abalala.
Awatali kubuusabuusa, okugaba kwa mugaso eri obulamu bw’omuntu.
BW’OGABIRA ABALALA NABO BAFUNA OMWOYO OMUGABI
Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mugabenga, nammwe abantu balibagabira. Balibayiira mu bikondoolo byammwe ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, era ekijjudde ne kibooga. Kubanga ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nabo kye balikozesa okubapimira.” (Lukka 6:38) Bw’oba omugabi, abantu b’owa basiima era ekyo kisobola okubaleetera nabo okuba abagabi. Okugaba kunyweza enkolagana ebaawo wakati w’abantu.
Abanoonyereza ku nkolagana wakati w’abantu bagamba nti abantu abagabi baleetera abalala nabo okukola kye kimu. Mu butuufu, “n’okusoma obusomi ku bantu abagabi kireetera abantu okuba ab’ekisa n’okuba abagabi.” Okunoonyereza era kulaga nti omuntu omu ayinza okuleetera abantu abalala bangi okukola ekintu wadde ng’abamu ku bantu abo aba tabamanyi era nga tabalabangako.” Omuntu omu bw’aba n’omwoyo omugabi, abantu bangi mu kitundu gy’abeera bayinza okumukoppa. Tewandyagadde kubeera mu kitundu ekirimu abantu ng’abo? Mu butuufu, singa abantu bangi balina omwoyo omugabi, embeera mu nsi yandibadde nnungi okusinga bw’eri kati.
Waliwo ekyaliwo mu ssaza lya Florida mu Amerika ekiraga ebimu ku birungi ebiva mu kuyamba abalala. Oluvannyuma lw’omuyaga ogw’amaanyi okwonoona ebintu mu kitundu ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa abawerako beewaayo okuyamba bannaabwe. Bwe baali bakyali awo nga balinda eby’okukozesa ku nnyumba gye baali bagenda okuddaabiriza, baalaba ng’olukomera lw’ennyumba emu ku muliraano nalwo lwetaaga okuddaabiriza, era ne baluddaabiriza. Nnannyini nnyumba eyo yawandiika ebbaluwa ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa ng’agamba nti: “Nnasiimye nnyo! Sirabanga ku bantu ba kisa nga bano.” Omwami oyo yagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa bakola omulimu gwa ttendo, era n’awaayo ssente okuwagira omulimu gwabwe.
KOPPA OYO ASINGAYO OKUBA OMUGABI
Okunoonyereza bannasayansi kwe baakola kwalaga nti “kirabika kya mu butonde abantu okwagala okuyamba abalala.” Okunoonyereza okwo era kwalaga nti n’abaana abatannatandika kwogera booleka omwoyo ogwo omugabi.” Bayibuli etubuulira ensonga lwaki kiri bwe kityo. Egamba nti twatondebwa mu “kifaananyi kya Katonda,” ekitegeeza nti tusobola okukoppa Katonda ne tukolera abalala ebirungi.—Olubereberye 1:27.
Yakuwa Katonda mugabi. Atuwadde obulamu ne byonna bye twetaaga okusobola okuba abasanyufu. (Ebikolwa 14:17; 17:26-28) Bwe tusoma Bayibuli tusobola okumanya ebimukwatako era n’ebirungi by’ajja okutukolera mu biseera eby’omu maaso. Bayibuli era eraga nti Katonda alina ky’akozeewo okutusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.a (1 Yokaana 4:9, 10) Olw’okuba Yakuwa Katonda y’asingayo okuba omugabi ate nga twatondebwa mu kifaananyi kye, tekyewuunyisa nti bwe tumukoppa tufuna essanyu. Ate era bwe tuba abagabi kimusanyusa nnyo.—Abebbulaniya 13:16.
Ojjukira Alexandra gwe twogeddeko ku ntandikwa y’ekitundu kino eyayamba omuntu gwe yali tamanyi? Biki ebyavaamu? Wadde ng’omu ku basaabaze abaali naye mu bbaasi yamugamba nti ssente ze zaali zifiiridde bwereere, bwe baatuuka mu kibuga gye baali bagenda, mikwano gy’omusajja Omukyayina gyamuddiza ssente ze. Ate era omusajja oyo yakola nga Alexandra bwe yali amugambye n’atandika okuyiga Bayibuli. Nga wayise emyezi essatu, Alexandra yasisinkana omusajja oyo ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu Peru mu lulimi Olukyayina, era yasanyuka nnyo. Okulaga nti yali asiimye nnyo Alexandra bye yali amukoledde, omusajja oyo yatwala Alexandra ne banne be yali agenze nabo ku lukuŋŋaana olwo mu wooteeri ye, n’abagabula ekijjulo.
Okuyamba abalala kireeta essanyu lingi, nnaddala singa oyo gwe tuyambye ayiga ebikwata ku Yakuwa Katonda, omugabi wa buli kirabo ekirungi! (Yakobo 1:17) Naawe ofuna ku ssanyu eriva mu kugaba?
a Okumanya ebisingawo, laba akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Oyinza n’okukafuna ku www.jw.org/lg. Genda ku EBITABO > EBITABO N’OBUTABO.