Olina Omwoyo Ogutafa?
OMUTUME Pawulo yawandiika: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuuli[ri]ra okuli mu butuukirivu.” (2 Timoseewo 3:16) Yee, Baibuli kitabo eky’amazima, ekiva eri Yakuwa, Katonda ow’amazima.—Zabbuli 83:18.
Okuva Yakuwa bw’ali Omutonzi wa buli kintu nga mw’otwalidde n’abantu, amanyidde ddala ekitutuukako bwe tufa. (Abaebbulaniya 3:4; Okubikkulirwa 4:11) Era mu Baibuli, Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, atuwadde eby’okuddamu ebimatiza ebikwata ku bulamu oluvannyuma lw’okufa.
Omwoyo Kye Ki?
Mu Baibuli, ebigambo ebivvuunulwa “omwoyo” bitegeeza “omukka.” Naye kino kisingawo ku kussa obussa omukka. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi wa Baibuli Yakobo, agamba: “Omubiri ogutalina mwoyo guba gufudde.” (Yakobo 2:26, NW) N’olwekyo, omwoyo gwe guwa omubiri obulamu.
Amaanyi gano ag’obulamu tegayinza kuba mukka ogussibwa oba empewo eyita obuyisi mu mawuggwe. Lwaki? Kubanga okusinziira ku kitabo The World Book Encyclopedia, oluvannyuma lw’okulekera awo okussa, obulamu busigala mu butoffaali bw’omubiri okumala akabanga katono oba “okumala eddakiika eziwerako.” N’olw’ensonga eyo, okufuba okuzza omuntu azirise engulu kuyinza okuvaamu ebibala. Naye singa amaanyi g’obulamu gaggwaamu mu butoffaali bw’omubiri, okufuba kwonna okuzzaawo obulamu kugwa butaka. Omukka ka gube nga gwenkana wa, tegusobola wadde okuzza obulamu mu katoffaali akamu. N’olwekyo, omwoyo ge maanyi g’obulamu agakola agatalabika, agasobozesa obutoffaali bw’omubiri era n’omuntu kennyini okuba omulamu. Amaanyi gano ag’obulamu gawanirirwa okussa omukka.—Yobu 34:14, 15.
Omwoyo ogwo gukola mu bantu bokka? Baibuli etuyamba okutuuka ku kusalawo okutuufu ku nsonga eno. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba nti abantu n’ensolo, ‘byonna birina omwoyo gwe gumu.’ Awo n’alyoka abuuza: “Ani amanyi omwoyo gw’abantu oba nga gulinnya mu ggulu, n’omwoyo gw’ensolo oba gukka wansi mu ttaka?” (Omubuulizi 3:19-21) Bwe kityo, ensolo n’abantu byogerwako ng’ebirina omwoyo. Ekyo kisoboka kitya?
Omwoyo, oba amaanyi g’obulamu, biyinza okugeraageranyizibwa ku masannyalaze agayita mu kyuma. Amasannyalaze gano agatalabika gayinza okweyambisibwa okukola ebintu ebitali bimu okusinziira ku kintu kye gawa amaanyi. Ng’ekyokulabirako, gayinza okusobozesa woveni okufumba, kompyuta okukola ku biwandiiko n’okubalirira, ate ttivi ne gagisobozesa okulaga ebifaananyi n’okufulumya amaloboozi. Kyokka, amasannyalaze tegafuna ngeri za kyuma ekyo kye gawa amaanyi. Gasigala nga maanyi bwanyi. Mu ngeri y’emu, amaanyi g’obulamu agakola tegafuna ngeri za kitonde kye gawa amaanyi. Tegalina ngeri za buntu, n’obusobozi obw’okulowooza. Bonna abantu n’ensolo “balina omwoyo gwe gumu.” (Omubuulizi 3:19, NW) N’olw’ensonga eyo, omuntu bw’afa, omwoyo gwe tegweyongera kubeerawo mu kifo ekirala ng’ekitonde eky’omwoyo.
Kati olwo, abafu bali mu mbeera ki? Era kiki ekituuka ku mwoyo omuntu bw’afa?
“Mu Nfuufu mw’Olidda”
Omuntu eyasooka, Adamu, bwe yajeemera etteeka lya Katonda mu bugenderevu, Yakuwa yamugamba: “Mu ntuuyo ez’omu maaso go mw’onooliiranga emmere, okutuusa lw’olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:19) Adamu yali ludda wa nga Yakuwa tannamutonda okuva mu nfuufu? Teyalina we yali! Teyaliiwo. N’olwekyo, Yakuwa Katonda bwe yagamba nti Adamu ‘alidda mu ttaka,’ yali ategeeza nti Adamu yandifudde n’afuuka ng’ettaka. Adamu teyandigenze mu ttwale ery’emyoyo. Bwe yandifudde, Adamu yandizzeemu obutabeerawo nate. Ekibonerezo kye yasalirwa kyali kufa oba obutaba na bulamu, so si okutwalibwa mu kifo ekirala.—Abaruumi 6:23.
Ate kiri kitya eri abalala abafudde? Embeera y’abafu eragibwa kaati mu Omubuulizi 9:5, 10, we tusoma: “Abafu tebaliiko kye bamanyi . . . Tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe.” N’olwekyo, okufa mbeera ey’obutabeerawo. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika nti omuntu bw’afa, “omukka [“omwoyo,” NW] gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.”—Zabbuli 146:4.
Kya lwatu, abafu si balamu. Tebamanyi kintu kyonna. Tebasobola kukulaba, okukuwulira, oba okwogera naawe. Tebasobola kukuyamba oba okukulumya. N’olwekyo, teweetaaga kutya bafu. Naye kibaawo kitya nti omwoyo ‘guva’ mu muntu ng’afudde?
Omwoyo “Gudda eri Katonda”
Baibuli egamba nti omuntu bw’afa, “omwoyo . . . gudda eri Katonda eyagugaba.” (Omubuulizi 12:7) Kino kitegeeza nti omwoyo guyita mu bbanga ne gugenda mu maaso ga Katonda? N’akatono! Engeri Baibuli gy’ekozesaamu ekigambo ‘okudda,’ teyeetaaza kuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri abataali beesigwa baagambibwa: “Mudde gye ndi, nange [n]nadda gye muli, bw’ayogera Mukama w’eggye.” (Malaki 3:7) Abaisiraeri ‘okudda’ eri Yakuwa kwategeeza okukyuka okuva ku kkubo ekkyamu bakwate ekkubo lya Katonda ery’obutuukirivu. Era Yakuwa ‘okudda’ eri Abaisiraeri kyategeeza okuddamu okufaayo ku bantu be. Mu ngeri zombi, ‘okudda’ kyatwaliramu endowooza, so si okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala.
Mu ngeri y’emu, omwoyo bwe “gudda” eri Katonda ng’omuntu afudde, teguva ku nsi ne gugenda mu ggulu. Amaanyi ag’obulamu bwe gava mu muntu, Katonda yekka y’asobola okugamuzzaamu. N’olwekyo, omwoyo “gudda eri Katonda” mu ngeri nti essuubi lyonna ery’omuntu oyo okuba omulamu mu biseera eby’omu maaso, lyesigamye ku Katonda yekka.
Ng’ekyokulabirako, weetegereze Ebyawandiikibwa kye byogera ku kufa kwa Yesu Kristo. Omuwandiisi w’enjiri Lukka attottola: “Yesu n’ayogera n’eddoboozi ddene, n’agamba nti Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamala okwogera ekyo, n’awaayo obulamu.” (Lukka 23:46) Ng’omwoyo gwa Yesu gumuvaamu, tekyali nti ye kennyini yali alinnya mu ggulu. Yesu teyazuukizibwa kuva mu bafu okutuusa nga wayiseewo ennaku ssatu. Era wayitawo ennaku endala 40 n’alyoka alinnya mu ggulu. (Ebikolwa 1:3, 9) Kyokka, mu kiseera eky’okufa kwe, Yesu yawaayo omwoyo gwe mu mikono gya Kitaawe, nga yeesiga Yakuwa okumukomyawo mu bulamu.
Yee, Katonda asobola okukomyawo omuntu mu bulamu. (Zabbuli 104:30) Nga kino kiggulawo emikisa egy’ekitalo!
Essuubi Ekkakafu
Baibuli egamba: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana ezijjukirwa lwe baliwulira eddoboozi [lya Yesu], ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29, NW) Yee, Yesu Kristo yasuubiza nti abo bonna Yakuwa bajjukira bajja kuzuukizibwa, oba okukomezebwawo mu bulamu. Mu bo mujja kubaamu abo abaweerezza Yakuwa mu bwesigwa. Naye, obukadde n’obukadde bw’abantu abalala bafudde nga tebannalaga nti bandigondedde emisingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Kiyinzika okuba nga tebaamanya Yakuwa ky’abeetaagisa oba nga tebaafuna kiseera kimala okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Abantu abalinga abo nabo Katonda abajjukira era bajja kuzuukizibwa. Baibuli egamba: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”—Ebikolwa 24:15.
Leero, ensi ejjuddemu obukyayi n’obunyoolagano, ettemu n’okuyiwa omusaayi, okwonoonebwa kw’empewo era n’endwadde. N’olwekyo, singa abafu baba baakuzuukizibwa mu nsi efaanana bw’etyo, awatali kubuusabuusa essanyu eryandizzeewo lyandibadde ly’akaseera katono. Naye, Omutonzi asuubizza nti mangu ajja kukomya embeera y’ebintu eno eri wansi wa Setaani Omulyolyomi. (Engero 2:21, 22; Danyeri 2:44; 1 Yokaana 5:19) Enteekateeka ey’olulyo lw’abantu abatuukirivu, oba “ensi empya” ejja kubaawo ddala.—2 Peetero 3:13.
Mu kiseera ekyo “n’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) N’ennaku ereetebwawo okufa ejja kuggwaawo, kubanga Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.” (Okubikkulirwa 21:4) Nga ssuubi lya kitalo eri abo ‘abajjukirwa”!
Yakuwa bw’anaaba aggyawo obubi okuva mu nsi, tajja kuzikiriza batuukirivu ng’azikiriza ababi. (Zabbuli 37:10, 11; 145:20) Mu butuufu, “ekibiina [e]kinene” eky’abantu okuva “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi” bajja kuwonawo ku ‘kibonyoobonyo ekinene,’ ekinaazikiriza ensi eno embi. (Okubikkulirwa 7:9-14) N’olwekyo, ekibiina ekinene kijja kubaawo okwaniriza abanaazuukizibwa.
Weesunga okulaba abaagalwa bo nate? Wandyagadde okuba omulamu emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku nsi? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda n’ebigendererwa bye. (Yokaana 17:3) Kwagala kwa Yakuwa “abantu aba buli kika okulokolebwa n’okutuuka ku kumanya okutuufu okw’amazima.”—1 Timoseewo 2:3, 4, NW.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
“Oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Omwoyo guyinza okugeraageranyizibwa ku masannyalaze
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Okuzuukira kujja kuleeta essanyu ery’olubeerera