Lwaki Tusaanidde Okukuŋŋaananga Awamu Okusinza?
‘Ne beeyongera okubeeranga awamu.’—BIK. 2:42.
1-3. (a) Abakristaayo bakiraze batya nti bakitwala nga kikulu nnyo okukuŋŋaananga awamu? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
MWANNYINAFFE Corinna bwe yali nga wa myaka 17, maama we baamukwata ne bamutwala mu nkambi y’abasibe. Oluvannyuma Corinna naye yakwatibwa n’atwalibwa mu Siberia, ekitundu ekyali ewala ennyo okuva ewaabwe. Baamuwa emirimu egy’amaanyi ku faamu era yayisibwanga ng’omuddu. Oluusi baamukozesanga emirimu ebweru mu butiti nga talina ngoye zimala kumubugumya. Wadde nga yali ayolekagana n’embeera eyo enzibu ennyo, Corinna ne muganda we baakolanga kyonna ekisoboka okugendanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina.
2 Corinna agamba nti: “Twavanga ku faamu akawungeezi ne tutambula mayiro 15 okugenda awasimba eggaali y’omukka. Eggaali y’omukka yasimbulanga ku ssaawa munaana ogw’ekiro, era kyagitwaliranga essaawa mukaaga okututuusa we twali tuviiramu. Bwe twavangamu twatambulanga mayiro endala mukaaga okutuuka we twakuŋŋaaniranga.” Olugendo olwo lwabamenyeranga bwereere? Nedda. Corinna agamba nti: “Bwe twabanga mu nkuŋŋaana, twasomanga magazini y’Omunaala gw’Omukuumi era ne tuyimba ennyimba z’Obwakabaka. Enkuŋŋaana ezo zaatuzzangamu nnyo amaanyi era zaanywezanga okukkiriza kwaffe.” Wadde nga Corinna ne munne baamalanga ennaku ssatu nga tebaliiwo, eyali akulira faamu gye baakolangako teyakimanyanga nti tebaliiwo.
3 Okuva edda n’edda, abaweereza ba Yakuwa babaddenga bakitwala nga kikulu okukuŋŋaana awamu. Amangu ddala ng’ekibiina Ekikristaayo kyakatandikibwawo, abagoberezi ba Yesu baatandikirawo okukuŋŋaananga awamu. (Bik. 2:42) Naawe oyinza okuba ng’oyagala nnyo okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Wadde kiri kityo, Abakristaayo bonna boolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Emirimu gye tukola okweyimirizaawo, eby’okukola ebingi, oba obukoowu biyinza okukifuula ekizibu gye tuli okubeerawo mu nkuŋŋaana. Wadde nga twolekagana n’okusoomooza ng’okwo, kiki ekinaatuyamba okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa?[1] Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli n’abalala okulaba obukulu bw’okubeerangawo mu nkuŋŋaana? Mu kitundu kino, tugenda kulaba ensonga munaana lwaki twandikuŋŋaanyenga wamu okusinza. Ensonga ezo tugenda kuziteeka mu biti bino ebisatu: engeri okubaawo mu nkuŋŋaana gye kikuganyulamu, engeri gye kikwata ku balala, n’engeri gye kikwata ku Yakuwa.[2]
ENGERI GYE KIKUGANYULAMU
4. Okukuŋŋaana awamu kituyamba kitya okuyiga ebikwata ku Yakuwa?
4 Mu nkuŋŋaana tuyigirizibwa. Mu buli lukuŋŋaana lwe tufuna, tuyiga ebikwata ku Yakuwa, Katonda waffe. Ng’ekyokulabirako, emabegako awo, okumala emyaka ng’ebiri, ebibiina ebisinga obungi byasoma akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa mu lukuŋŋaana lw’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina. Okwekenneenya engeri za Yakuwa n’okuwulira ebyo bakkiriza banno bye baddangamu, tebyakuyamba okweyongera okwagala Kitaawo ow’omu ggulu? Ate era tweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda okuyitira mu mboozi eziweebwa, ebyokulabirako, n’ebyawandiikibwa bye tusoma mu nkuŋŋaana. (Nek. 8:8) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bintu eby’omuwendo bye tuyiga nga tusoma essuula ezituweebwa okusoma buli wiiki era nga tuwuliriza ebikulu baganda baffe bye banokolayo!
5. Enkuŋŋaana z’ekibiina zikuyambye zitya okukolera ku ebyo by’oyiga mu Bayibuli n’okulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu?
5 Enkuŋŋaana zaffe zituyamba okulaba engeri gye tuyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwaffe. (1 Bas. 4:9, 10) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Waliwo ekitundu mu Omunaala gw’Omukuumi ekyakuyamba okulowooza ku biruubirirwa byo, okusonyiwa mukkiriza munno, oba okwongera okulongoosa mu ssaala zo? Olukuŋŋaana lwe tufuna wakati mu wiiki lututendeka mu mulimu gw’okubuulira. Mu lukuŋŋaana olwo tuyiga engeri y’okubuuliramu amawulire amalungi n’engeri y’okuyigirizaamu abalala ebyo ebiri mu Bayibuli.—Mat. 28:19, 20.
6. Enkuŋŋaana zaffe zituzzaamu zitya amaanyi?
6 Mu nkuŋŋaana tuzzibwamu amaanyi. Ensi ya Sitaani eno eyagala okunafuya okukkiriza kwaffe era esobola okutuleetera okuwulira nga tuweddemu amaanyi. Naye zo enkuŋŋaana z’ekibiina zinyweza okukkiriza kwaffe era zituzzaamu amaanyi. (Soma Ebikolwa 15:30-32.) Emirundi mingi mu nkuŋŋaana zaffe twekenneenya okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Bayibuli. Ekyo kituyamba okwongera okuba abakakafu nti n’ebintu ebirala Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira. Kya lwatu nti abo ababa n’ebitundu mu maaso si be bokka abatuzzaamu amaanyi nga tuzze mu nkuŋŋaana. Ne bakkiriza bannaffe abalala nabo batuzzaamu amaanyi nga babaako bye baddamu era nga bayimba okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwabwe. (1 Kol. 14:26) Ate era bwe tunyumyako ne bakkiriza bannaffe ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, tukiraba nti batufaako era tuzzibwamu nnyo amaanyi.—1 Kol. 16:17, 18.
7. Lwaki kikulu okubaawo mu nkuŋŋaana?
7 Enkuŋŋaana zitusobozesa okufuna obuyambi bw’omwoyo omutukuvu. Yesu yagamba nti: “Oyo alina okutu awulire omwoyo kye gugamba ebibiina.” (Kub. 2:7) Yesu akulembera ekibiina Ekikristaayo ng’akozesa omwoyo omutukuvu. Twetaaga omwoyo omutukuvu okusobola okuziyiza ebikemo, okweyongera okubuulira n’obuvumu, n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Tetwandifubye okukozesa ebintu byonna Yakuwa by’atuwadde, nga muno mwe muli n’enkuŋŋaana z’ekibiina, okufuna omwoyo omutukuvu?
ENGERI GYE KIKWATA KU BALALA
8. Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, ne tubaako bye tuddamu, era ne twenyigira mu kuyimba kiganyula kitya bakkiriza bannaffe? (Laba n’akasanduuko “Bulijjo Avaawo ng’Awulira Bulungiko.”)
8 Enkuŋŋaana zituwa akakisa okulaga bakkiriza bannaffe nti tubaagala. Lowooza ku bimu ku bizibu bakkiriza banno mu kibiina bye boolekagana nabyo. Tekyewuunyisa nti omutume Pawulo yagamba nti: “Ka buli omu ku ffe afeeyo ku munne”! Oluvannyuma Pawulo yakiraga nti tusobola okufaayo ku bannaffe nga “tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu.” (Beb. 10:24, 25; obugambo obuli wansi.) Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana kiba kiraga nti twagala okubeera awamu ne bakkiriza bannaffe, twagala okwogera nabo, era nti tubafaako. Okugatta ku ekyo, bwe tubaako bye tuddamu era ne tuyimba okuviira ddala ku mutima kizzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi.—Bak. 3:16.
9, 10. (a) Ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 10:16 biraga bitya nti kikulu okubaawo mu nkuŋŋaana? (b) Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, kiganyula kitya bakkiriza bannaffe abayigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe abataweereza Yakuwa?
9 Enkuŋŋaana zitugatta wamu ne bakkiriza bannaffe. (Soma Yokaana 10:16.) Yesu yeegeraageranya ku musumba, ate abagoberezi be n’abageraageranya ku kisibo. Lowooza ku kino: Singa endiga bbiri ziri ku kasozi akamu, ng’endiga endala bbiri ziri mu kiwonvu, ate ng’endiga endala emu eri mu kifo kirala erya muddo, endiga ezo ettaano tuyinza okuziyita ekisibo? Nedda. Endiga okusobola okubeera ekisibo, zirina okuba nga ziri wamu nga zirabirirwa omusumba waazo. Mu ngeri y’emu, tetusobola kugoberera Musumba waffe singa tweyawula ku bakkiriza bannaffe mu bugenderevu. Okusobola okubeera ‘mu kisibo kimu wansi w’omusumba omu,’ tulina okukuŋŋaananga awamu ne bakkiriza bannaffe.
10 Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, tuyamba mu kunyweza oluganda olw’eby’omwoyo lwe tulina. (Zab. 133:1) Abamu ku bakkiriza bannaffe baakyayibwa bazadde baabwe ne baganda baabwe. Wadde kiri kityo, Yesu yasuubiza okubawa ab’eŋŋanda ab’eby’omwoyo abandibadde babalaga okwagala era abandibadde babafaako. (Mak. 10:29, 30) Bw’obeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa, oyinza okubeera taata, maama, mwannyina, oba muganda w’omu ku bakkiriza bannaffe ng’abo! Ekyo tekyanditukubirizza okukola kyonna ekisoboka okubeerangawo mu nkuŋŋaana zonna?
ENGERI GYE KIKWATA KU YAKUWA
11. Okubaawo mu nkuŋŋaana kituyamba kitya okuwa Yakuwa ekyo ky’agwanidde okuweebwa?
11 Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, tuwa Yakuwa ky’agwanidde okuweebwa. Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi waffe, agwanidde okutenderezebwa, okuweebwa ekitiibwa, n’okwebazibwa. (Soma Okubikkulirwa 7:12.) Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana ne tusaba Yakuwa, ne tumuyimbira, era ne tumwogerako, tuba tumuwa ekyo ky’agwanidde okuweebwa, nga kuno kwe kumusinza. Tugitwala nga nkizo ya maanyi okuwa Yakuwa ekitiibwa, kubanga atukoledde ebirungi bingi.
12. Yakuwa awulira atya bw’alaba nga tugondera ekiragiro kye yatuwa eky’obutayosa nkuŋŋaana?
12 Ate era tusaanide okugondera Yakuwa. Yakuwa yatulagira obutayosa kubangawo mu nkuŋŋaana, naddala mu kiseera kino eky’enkomerero. Bwe tugondera ekiragiro ekyo n’omutima gwaffe gwonna, kisanyusa nnyo Yakuwa. (1 Yok. 3:22) Yakuwa alaba engeri gye tufubamu okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa era asiima.—Beb. 6:10.
13, 14. Enkuŋŋaana zaffe zituyamba zitya okusemberera Yakuwa ne Yesu?
13 Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana kiba kiraga nti twagala okusemberera Yakuwa n’Omwana we. Mu nkuŋŋaana zaffe, Omuyigiriza waffe Asingiridde atuwa obulagirizi okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli. (Is. 30:20, 21) N’abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa abajja mu nkuŋŋaana zaffe basobola okutwogerako nga bagamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.” (1 Kol. 14:23-25) Bwe tuba mu nkuŋŋaana, Yakuwa atuwa obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu era bye tuyiga biba biva gy’ali. Tuyinza okugamba nti bwe tuba mu nkuŋŋaana, tuwulira eddoboozi lya Yakuwa era tukiraba nti atufaako. Ekyo kituyamba okwongera okumusemberera.
14 Yesu yagamba nti: “Abantu babiri oba basatu bwe bakuŋŋaana mu linnya lyange, mbeera wakati mu bo.” (Mat. 18:20) Ebigambo bya Yesu ebyo bikwata ne ku nkuŋŋaana zaffe. Ng’Omutwe gw’ekibiina, Kristo “atambulira wakati” mu bibiina by’abantu ba Katonda. (Kub. 1:20–2:1) Kirowoozeeko! Bwe tuba mu nkuŋŋaana, Yakuwa ne Yesu baba wamu naffe nga batuzzaamu amaanyi. Olowooza Yakuwa awulira atya bw’alaba nga tufuba okumusemberera awamu n’Omwana we?
15. Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, kiraga kitya nti twagala okugondera Katonda?
15 Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, kiraga nti tuwagira obufuzi bwa Katonda. Wadde nga Yakuwa atulagira okubaawo mu nkuŋŋaana, tatukaka kubaawo. (Is. 43:23) N’olwekyo, kiri eri ffe okukiraga nti ddala twagala nnyo Yakuwa era nti tuwagira obufuzi bwe. (Bar. 6:17) Ng’ekyokulabirako, mukama waffe ku mulimu ayinza okutugamba twose enkuŋŋaana ezimu tusobole okuba ku mulimu. Ab’obuyinza bayinza okutuweesa engassi, okututiisatiisa nti bajja kutusiba, oba okutuwa ekibonerezo ekisingawo singa tweyongera okukuŋŋaana awamu okusinza Yakuwa. Oba tuyinza okwagala okugenda okwesanyusaamu mu kiseera enkuŋŋaana we zibeererawo. Mu mbeera ezo zonna tuba tulina okusalawo ani gwe tunaaweereza? (Bik. 5:29) Bwe tusalawo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, tusanyusa omutima gwe.—Nge. 27:11.
WEEYONGERE OKUBANGAWO MU NKUŊŊAANA
16, 17. (a) Abakristaayo abaasooka baakiraga batya nti enkuŋŋaana baali bazitwala nga nkulu? (b) Ow’oluganda George Gangas yatwalanga atya enkuŋŋaana?
16 Oluvannyuma lw’Abakristaayo okukuŋŋaana awamu ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., beeyongera okukuŋŋaananga awamu obutayosa. Bayibuli egamba nti: “Beeyongeranga okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga, n’okubeeranga awamu.” (Bik. 2:42) Abakristaayo abo tebaalekayo kukuŋŋaananga wamu ne mu kiseera nga bayigganyizibwa gavumenti ya Rooma n’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya. Wadde nga tekyali kyangu kukuŋŋaananga wamu mu kiseera ekyo, beeyongera okukuŋŋaananga awamu.
17 Waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi ab’omu kiseera kyaffe abakiraze nti okubeerawo mu nkuŋŋaana bakitwala nga kikulu nnyo. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda George Gangas, eyaweerezaako ku Kakiiko Akafuzi okumala emyaka egisukka mu 22, yagamba nti: “Okukuŋŋaana awamu n’ab’oluganda kye kimu ku bintu ebisingayo okundeetera essanyu era ebinzizaamu amaanyi. Bwe kiba kisoboka, mba njagala mbeere omu ku abo abasooka ku Kizimbe ky’Obwakabaka era mbe omu ku abo abasembayo okuvaawo. Nsanyuka nnyo okunyumyako n’abantu ba Katonda. Bwe mbeera mu bantu ba Katonda mpulirira ddala nga ndi wamu ne baganda bange, mu lusuku olw’eby’omwoyo.” Agattako nti: “Njagala nnyo okubeerangawo mu nkuŋŋaana.”
18. Otwala otya enkuŋŋaana z’ekibiina, era kiki ky’omaliridde okukola?
18 Naawe oyagala nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina? Bwe kiba kityo, kola kyonna ekisoboka okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Bw’onookola bw’otyo, ojja kukiraga nti okkiriziganya n’ebigambo bya Kabaka Dawudi eyagamba nti: “Yakuwa, njagala nnyo ennyumba mw’obeera.”—Zab. 26:8.
^ [1] (akatundu 3) Abamu ku bakkiriza bannaffe tebasobola kubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa olw’embeera eziteebeereka, gamba ng’obulwadde obw’amaanyi. Basaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ategeera embeera yaabwe era nti asiima ebyo byonna bye basobola okukola okumuweereza. Abakadde basobola okuyamba bakkiriza bannaffe ng’abo okuganyulwa mu ebyo ebiba mu nkuŋŋaana, oboolyawo nga bakola enteekateeka okubayunga ku ssimu oba nga bakwata ku butambi ebyo ebiba mu nkuŋŋaana.
^ [2] (akatundu 3) Laba akasanduuko “Ensonga Lwaki Tusaanidde Okubaawo mu Nkuŋŋaana.”