Okyajjukira?
Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
Ndowooza ki ab’oluganda, gamba ng’abalabirizi abakyalira ebibiina n’abakadde, gye basaanidde okuba nayo nga bafunye obulagirizi okuva mu kibiina kya Yakuwa?
Basaanidde okwanguwa okubukolerako. Basaanidde okwebuuza: ‘Nfuba okuyamba ab’oluganda okunywera mu by’omwoyo? Nyanguwa okukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa?’—w16.11, lup. 11.
Abakristaayo ab’amazima baatwalibwa ddi mu buwambe mu Babulooni Ekinene?
Kino kyaliwo nga wayise ekiseera kitono ng’abatume bamaze okufa. Mu kiseera ekyo, mu kibiina wajjawo abantu abeetwala okuba aba waggulu ku balala. Ekkereziya ne bannabyabufuzi baatandika okutumbula Obukristaayo obw’obulimba era ne bafuba okusirisa Abakristaayo ab’amazima abaalinga eŋŋaano. Naye omwaka gwa 1914 bwe gwali gunaatera okutuuka, abaafukibwako amafuta baatandika okwekutula ku madiini ag’obulimba.—w16.11, lup. 23-25.
Lwaki omulimu Lefèvre d’Étaples gwe yakola gwali mukulu nnyo?
Mu myaka gya 1520, Lefèvre yavvuunula Bayibuli mu Lufalansa ng’ayagala okuyamba abantu aba bulijjo okugisoma. Engeri gye yannyonnyolamu Ebyawandiikibwa yayamba nnyo Martin Luther, William Tyndale, ne John Calvin.—wp16.6, lup. 10-12.
Njawulo ki eriwo wakati ‘w’okulowooza eby’omubiri n’okulowooza eby’omwoyo’? (Bar. 8:6)
Omuntu alowooza eby’omubiri ebirowoozo bye abimalira ku bintu omubiri bye gwegomba, era buli kiseera ebintu ebyo by’aba ayogerako era by’atwala ng’ebikulu. Ate ye omuntu alowooza eby’omwoyo ebirowoozo bye abimalira ku Katonda n’ebyo by’ayagala; Omukristaayo ng’oyo akulemberwa omwoyo omutukuvu. Okulowooza eby’omubiri kivaamu okufa ate okulowooza eby’omwoyo kivaamu obulamu n’emirembe.—w16.12, lup. 15-17.
Biki ebiyinza okukuyamba okukendeeza ku kweraliikirira?
Manya ebisinga obukulu, tosuubira bitasoboka, funangayo akadde buli lunaku okubeerako awo nga tewali kikutaataaganya, weetegereze ebitonde bya Yakuwa, oluusi saagamuko, fubanga okukola dduyiro, era wummula ekimala.—w16.12, lup. 22-23.
Bayibuli bw’egamba nti, “Enoka yatwalibwa aleme okulaba okufa,” eba etegeeza ki? (Beb. 11:5)
Kirabika Katonda yaggya mpolampola obulamu mu Enoka, Enoka n’atakimanya nti yali afa.—wp17.1, lup. 12-13.
Lwaki kikulu okuba abeetoowaze?
Omuntu omwetoowaze aba amanyi obusobozi bwe we bukoma. Tulina okulowooza ku ngeri enneeyisa yaffe gy’eyinza okukwata ku balala era tetusaanidde kwetwala ng’ab’ekitalo.—w17.01, lup. 18.
Kiki ekiraga nti Katonda yawa obulagirizi ab’oluganda abaali ku kakiiko akafuzi mu kyasa ekyasooka nga bw’awa abo abali ku Kakiiko Akafuzi leero obulagirizi?
Omwoyo omutukuvu gwabayamba okutegeera amazima agali mu Byawandiikibwa. Nga bayambibwako bamalayika, baasobola okulabirira omulimu gw’okubuulira. Era baawanga abalala obulagirizi nga basinziira ku Kigambo kya Katonda. Bwe kityo bwe kiri ne leero.—w17.02, lup. 26-28.
Lwaki ekinunulo tukitwala nga kya muwendo nnyo?
Waliwo ensonga nnya: Oyo eyakituwa, lwaki yakituwa, okwefiiriza okwali kuzingiramu, n’obwetaavu bwe kyakolako. Tusaanidde okufumiitiriza ku nsonga ezo.—wp17.2, lup. 4-6.
Omukristaayo asobola okukyusa mu ekyo ky’aba yasalawo?
Tusaanidde okutuukiriza ebyo bye tuba tweyama. Naye oluusi kiba kya magezi okukyusaamu mu ekyo kye tuba twasalawo. Abantu b’omu Nineeve bwe beenenya, Yakuwa yakyusa mu ekyo kye yali asazeewo. Oluusi naffe kiyinza okutwetaagisa okukyusa mu ekyo kye tuba twasalawo, gamba singa embeera eba ekyuse.—w17.03, lup. 16-17.
Lwaki tusaanidde okwewala olugambo?
Okulaalaasa ebigambo kyongera bwongezi kwonoona mbeera. Ka tube nga kye twogera kituufu oba kikyamu okulaalaasa ebigambo tekivaamu kalungi konna.—w17.04, lup. 21.