Ensonga Lwaki Tukwata Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
“Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.”—1 KOL. 11:24.
1, 2. Kiki Yesu kye yakola akawungeezi nga Nisaani 14, 33 E.E.? (Laba ekifaananyi waggulu.)
OBUDDE buwungedde era omwezi ogw’eggabogabo gwaka mu Yerusaalemi. Ennaku z’omwezi ziri 14 omwezi gwa Nisaani, omwaka 33 E.E. Yesu n’abatume be bamaze okukwata embaga ey’Okuyitako, nga bajjukira okununulibwa kwa Isiraeri okuva mu buddu e Misiri ebyasa nga 15 emabega. Ng’ali wamu n’abatume be 11 abeesigwa, Yesu atandikawo omukolo omulala ogw’enjawulo, era ng’omukolo ogwo abayigirizwa be ba kugukwatanga buli mwaka okujjukira okufa kwe.a—Mat. 26:1, 2.
2 Yesu bw’amala okusaba, aweereza abatume be omugaati ogutaalimu kizimbulukusa, n’abagamba nti: “Mukwate mulye.” Era akwata ekikopo ky’envinnyo ne yeebaza, era n’agamba nti: “Munyweko mwenna.” (Mat. 26:26, 27) Omugaati n’envinnyo byalina kye bikiikirira, era abatume ba Yesu abeesigwa balina ebintu bingi bye baayiga ekiro ekyo.
3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwaamu mu kitundu kino?
3 Yesu kennyini ye yatandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe. Omukolo ogwo era guyitibwa ‘Eky’Ekiro kya Mukama Waffe.’ (1 Kol. 11:20) Kati oyinza okuba nga weebuuza: Lwaki tusaanidde okujjukira okufa kwa Yesu? Omugaati n’envinnyo bikiikirira ki? Tuyinza tutya okwetegekera omukolo gw’Ekijjukizo? Ani asaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo? Era Abakristaayo bakiraga batya nti essuubi lyabwe balitwala nga lya muwendo nnyo?
ENSONGA LWAKI TUJJUKIRA OKUFA KWA YESU
4. Okufa kwa Yesu kutuganyula kutya?
4 Olw’okuba tuli bazzukulu ba Adamu, ffenna twasikira ekibi n’okufa. (Bar. 5:12) Tewali n’omu ku bantu abatatuukiridde asobola kuwa Katonda kinunulo ku lw’obulamu bwe oba ku lw’obulamu bw’abalala. (Zab. 49:6-9) Kyokka Yesu yawaayo obulamu bwe obutuukiridde ng’ekinunulo ku lwaffe era n’awaayo eri Katonda omuwendo gwa ssaddaaka y’ekinunulo ekyo. Mu kukola ekyo, Yesu yatusobozesa okununulibwa okuva mu kibi n’okufa n’okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.—Bar. 6:23; 1 Kol. 15:21, 22.
5. (a) Kiki ekiraga nti Yakuwa ne Yesu baagala nnyo abantu? (b) Lwaki tusaanidde okubaawo ku mukola gw’okujjukira okufa kwa Yesu?
5 Katonda okuwaayo Omwana we ng’ekinunulo, bukakafu obulaga nti ayagala nnyo abantu. (Yok. 3:16) Yesu okwewaayo n’atufiirira kiraga nti naye atwagala nnyo. Ne bwe yali tannajja ku nsi, Yesu yali ayagala nnyo “abaana b’abantu”! (Nge. 8:30, 31) Olw’okuba tusiima nnyo ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera, tukola kyonna ekisoboka okubaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu. Mu ngeri eyo, tugondera ekiragiro kya Yesu kino: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.”—1 Kol. 11:23-25.
OMUGAATI N’ENVINNYO BIKIIKIRIRA KI?
6. Twanditutte tutya omugaati n’envinnyo ebikozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo?
6 Bwe yali atandikawo omukolo gw’Ekijjukizo, Yesu teyakola ky’amagero n’afuula omugaati omubiri gwe ate envinnyo n’agifuula omusaayi gwe. Bwe yali ayogera ku mugaati yagamba nti: “Guno gukiikirira omubiri gwange.” Ate bwe yali ayogera ku nvinnyo, yagamba nti: “[Eno ekiikirira] ‘omusaayi gwange ogw’endagaano,’ ogugenda okuyiibwa ku lw’abangi.” (Mak. 14:22-24) Kyeyoleka lwatu nti omugaati n’envinnyo bubonero bubonero obulina kye bukiikirira.
7. Omugaati ogukozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo gukiikirira ki?
7 Ku mukolo ogwo ogwali omukulu ennyo ogwaliwo mu mwaka gwa 33 E.E., Yesu yakozesa omugaati ogutali muzimbulukuse ogwali gufiisseewo ku mbaga ey’Okuyitako. (Kuv. 12:8) Mu Byawandiikibwa, ekizimbulukusa oluusi kikiikirira ekibi. (Mat. 16:6, 11, 12; Luk. 12:1) Bwe kityo, omugaati ogutali muzimbulukuse Yesu gwe yakozesa gwali gukiikirira omubiri gwe ogutaalina kibi. (Beb. 7:26) Eyo ye nsonga lwaki omugaati ogutaliimu kizimbulukusa gwe gukozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo.
8. Envinnyo ekozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo ekiikirira ki?
8 Envinnyo Yesu gye yakozesa nga Nisaani 14, 33 E.E., yali ekiikirira omusaayi gwe. Bwe kityo, n’envinnyo ekozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo ekiikirira omusaayi gwa Yesu. Omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa e Ggologoosa, gwayiibwa okusobozesa bangi “okusonyiyibwa ebibi.” (Mat. 26:28; 27:33) Okuva bwe kiri nti omugaati n’envinnyo ebikozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo bikiikirira ssaddaaka ya Yesu ey’omuwendo eyaweebwayo ku lw’abantu abawulize, kikulu nnyo buli omu ku ffe okwetegekera omukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe ogubaawo buli mwaka.
ENGERI GYE TUYINZA OKWETEEKATEEKA
9. (a) Lwaki kikulu okusoma ebyawandiikibwa ebituweebwa okusoma mu kiseera ky’Ekijjukizo? (b) Otwala otya ekinunulo?
9 Bwe tusoma ebyawandiikibwa ebituweebwa okusoma mu kiseera ky’Ekijjukizo ebiba mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku, kituyamba okufumiitiriza ku ebyo ebyaliwo nga Yesu tannattibwa. Ekyo kisobola okutuyamba okuteekateeka emitima gyaffe ng’omukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe tegunnatuuka.b Mwannyinaffe omu yagamba nti: ‘Twesunga nnyo omukolo gw’Ekijjukizo. Buli mwaka omukolo ogwo guba gwa njawulo. Taata bwe yafa, nnayisibwa bubi nnyo. Naye ekyo kyandeetera okwongera okusiima ssaddaaka y’ekinunulo. Nnali mmanyi ebyawandiikibwa byonna ebikwata ku kuzuukira era nga mmanyi okubinnyonnyola! Kyokka oluvannyuma lw’okufa kwa taata, nneeyongera okutegeera amakulu g’ebyawandiikibwa ebyo n’okutwala ekinunulo ng’ekirabo eky’omuwendo ennyo.’ N’olwekyo, bwe tufumiitiriza ku ngeri ssaddaaka ya Yesu gy’ejja okutununula okuva mu kibi n’okufa, kijja kutuyamba okweteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo.
10. Kiki ekirala kye tuyinza okukola okwetegekera omukolo gw’Ekijjukizo?
10 Ate era tusobola okwetegekera omukolo gw’Ekijjukizo nga tugaziya ku buweereza bwaffe, oboolyawo nga tuweereza nga bapayoniya abawagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo. Bwe tuba tuyita abayizi baffe aba Bayibuli n’abantu abalala okujja ku mukolo gw’Ekijjukizo, twogera ku Katonda, ku Mwana we, ne ku mikisa abo abakola Yakuwa by’ayagala gye bajja okufuna. Ekyo kituleetera essanyu lingi.—Zab. 148:12, 13.
11. Mu ngeri ki Abakristaayo abamu mu Kkolinso gye baalyanga ku mugaati ne banywa ne ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo nga tebagwanidde?
11 Nga weetegekera omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe, kikulu okulowooza ku ebyo omutume Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso. (Soma 1 Abakkolinso 11: 27-34.) Pawulo yakiraga nti omuntu yenna alya ku mugaati era n’anywa ku nvinnyo nga tagwanidde aba “azzizza omusango ku mubiri ne ku musaayi gwa Mukama waffe,” Yesu Kristo. N’olwekyo, Omukristaayo eyafukibwako amafuta asaanidde okusooka ‘okwekebera alabe obanga asaanira’ okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo. Singa takola bw’atyo, “[n’alya] era n’anywa aba yeereetako omusango.” Olw’okuba Abakristaayo mu Kkolinso baali beenyigira mu bikola ebibi, bangi ku bo baali ‘banafu, balwadde, era abawerako baali bafudde’ mu by’omwoyo. Kiyinzika okuba nti abamu baalyanga nnyo era ne banywa nnyo ng’omukolo gw’Ekijjukizo tegunnatandika oba nga gugenda mu maaso, ne kiba nti baabanga bakoowu nnyo oba baabanga basumagira ng’omukolo ogwo gugenda mu maaso. Omuntu bwe yalyanga ku mugaati era n’anywa ku nvinnyo ng’ali mu mbeera ng’eyo, teyasiimibwanga mu maaso ga Katonda.
12. (a) Omukolo gw’Ekijjukizo Pawulo yagugeraageranya ku ki, era kulabula ki kwe yawa abo abalya ku mugaati era ne banywa ku nvinnyo? (b) Singa eyafukibwako amafuta akola ekibi eky’amaanyi, kiki ky’asaanidde okukola?
12 Pawulo yageraageranya omukolo gw’Ekijjukizo ku kijjulo, era n’alabula abalya ku mugaati era ne banywa ku nvinnyo, ng’agamba nti: “Temuyinza kunywa ku kikopo kya Yakuwa ne ku kikopo kya dayimooni; Temuyinza kulya ku ‘mmeeza ya Yakuwa’ ne ku mmeeza ya dayimooni.” (1 Kol. 10:16-21) Singa eyafukibwako amafuta akola ekibi eky’amaanyi, asaanidde okutuukirira abakadde bamuyambe. (Soma Yakobo 5:14-16.) Singa omuntu ng’oyo ‘abala ebibala ebiraga nti yeenenyezza,’ bw’alya ku mugaati era n’anywa ne ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo, aba tatyobodde ssaddaaka ya Yesu.—Luk. 3:8.
13. Lwaki kikulu okusaba n’okufumiitiriza ku ssuubi Katonda ly’atuwadde?
13 Nga twetegekera omukolo gw’Ekijjukizo, buli omu ku ffe asaanidde okusaba n’okufumiitiriza ku ssuubi Katonda ly’amuwadde. Kya lwatu nti tewali n’omu ku ffe yandyagadde kulaga nti tassa kitiibwa mu ssaddaaka ya Yesu ng’alya ku mugaati era ng’anywa ku nvinnyo nga tafunye bukakafu bulaga nti Katonda yamufukako amafuta. Kati olwo omuntu ayinza atya okumanya obanga asaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
ANI ASAANIDDE OKULYA KU MUGAATI N’OKUNYWA KU NVINNYO?
14. Kakwate ki akali wakati w’endagaano empya n’okulya ku mugaati era n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
14 Abo abagwanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo bateekwa okuba nga balina obukakafu obw’enkukunala obulaga nti bali mu ndagaano empya. Ng’ayogera ku nvinnyo, Yesu yagamba nti: “Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya ekoleddwa olw’omusaayi gwange.” (1 Kol. 11:25) Ng’ayitira mu nnabbi Yeremiya, Katonda yagamba nti yandikoze endagaano empya, eyandibadde ey’enjawulo ku ndagaano ey’Amateeka gye yakola n’Abaisiraeri. (Soma Yeremiya 31:31-34.) Endagaano empya eri wakati wa Katonda n’Abaisiraeri ab’omwoyo. (Bag. 6:15, 16) Endagaano eyo yatongozebwa okuyitira mu ssaddaaka ya Kristo. (Luk. 22:20) Yesu ye Mutabaganya w’endagaano empya. Abaafukibwako amafuta abeesigwa abali mu ndagaano empya bajja kufugira wamu ne Yesu mu ggulu.—Beb. 8:6; 9:15.
15. Baani abali mu ndagaano ey’Obwakabaka, era nkizo ki gye bajja okufuna singa basigala nga beesigwa?
15 Abo abagwanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo bakimanyi nti bali mu ndagaano ey’Obwakabaka. (Soma Lukka 12:32.) Endagaano eyo eri wakati wa Yesu n’abagoberezi be abaafukibwako amafuta abeesigwa abagabana mu kubonaabona kwe. (Baf. 3:10) Okuva bwe kiri nti bali mu ndagaano ey’Obwakabaka, abaafukibwako amafuta abeesigwa bajja kufugira wamu ne Kristo nga bakabaka mu ggulu emirembe n’emirembe. (Kub. 22:5) Abo be bagwanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe.
16. Mu bufunze, nnyonnyola ebigambo ebiri mu Abaruumi 8:15-17.
16 Abo bokka omwoyo be gwawa obujulirwa nti baana ba Katonda be basaanidde okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo. (Soma Abaruumi 8:15-17.) Weetegereze nti Pawulo yakozesa ekigambo eky’Olulamayiki, “Abba,” ekitegeeza “Ai Kitaffe!” Ekigambo ekyo kyoleka omukwano ogw’amaanyi omwana gw’aba nagwo eri kitaawe n’ekitiibwa eky’amaanyi omwana kyasa mu kitaawe. Ekigambo ekyo kyoleka bulungi enkolagana ey’enjawulo eba wakati w’abaafukibwako amafuta ne Yakuwa oluvannyuma lw’okufuna “omwoyo ogw’okubafuula abaana.” Omwoyo gwa Katonda gubakakasa nti baana ba Katonda. Ekyo tekitegeeza nti baba tebaagala bwagazi kubeera ku nsi. Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakimanyi bulungi nti singa basigala nga beesigwa okutuukira ddala okufa, bajja kufugira wamu ne Yesu nga bakabaka mu ggulu era bakimanyi bulungi nti ‘omutukuvu Yakuwa ye yabafukako amafuta.’ Leero, ku baafukibwako amafuta 144,000, abakyasigaddewo ku nsi batono ddala. (1 Yok. 2:20; Kub. 14:1) Enkolagana gye balina ne Yakuwa ya kulusegere nnyo ne kiba nti boogerera waggulu nti “Abba, Kitaffe!”
ESSUUBI KATONDA LY’AKUWADDE LITWALE NGA LYA MUWENDO
17. Ssuubi ki abaafukibwako amafuta lye balina, era balitwala batya?
17 Bw’oba ng’oli Mukristaayo eyafukibwako amafuta, oteekwa okuba ng’otera okwogera ku ssuubi lyo ng’osaba Katonda. Bayibuli bw’eyogera ku mbaga egenda okubeera mu ggulu, ng’Omugole Omusajja, Yesu Kristo, awasa “omugole omukazi,” owulira ng’ebigambo ebyo bikwata ku ggwe, era nga weesunga ekiseera ebigambo ebyo lwe birituukirira. (2 Kol. 11:2; Yok. 3:27-29; Kub. 21:2, 9-14) Bayibuli bw’eyogera ku kwagala Katonda kw’alina eri abaana be abaafukibwako amafuta, owulira ng’ebigambo ebyo bikwata ku ggwe. Ate era bw’osoma ku bulagirizi Katonda bw’awa abaafukibwako amafuta obuli mu Kigambo kye, omwoyo omutukuvu gukukubiriza okukolera ku bulagirizi obwo n’okugamba mu mutima gwo nti, “Ebigambo ebyo bikwata ku nze.” Bwe kityo, omwoyo gwa Katonda guwa obujulirwa n’omwoyo gwo nti olina essuubi ery’okugenda mu ggulu.
18. ‘Ab’endiga endala’ balina ssuubi ki, era balitwala batya?
18 Ku luuyi olulala, bw’oba ng’oli wa mu ‘kibiina ekinene’ ‘eky’abendiga endala,’ Katonda akuwadde essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. (Kub. 7:9; Yok. 10:16) Tewali kubuusabuusa nti weesunga okubeera mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna, era okufumiitiriza ku mikisa abo abanaaba ku nsi gye banaafuna kikuleetera essanyu lingi. Weesunga okubeera ku nsi ng’oli wamu n’abantu abatuukirivu. Era weesunga nnyo ekiseera ensi yonna lw’eneeba nga tekyalimu njala, bwavu, kubonaabona, kulwala, na kufa. (Zab. 37:10, 11, 29; 67:6; 72:7, 16; Is. 33:24) Ate era weesunga okwaniriza abo abanaazukizibwa nga balina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. (Yok. 5:28, 29) Kya lwatu nti essuubi ery’okubeera ku nsi Katonda ly’akuwadde olitwala nga lya muwendo nnyo! Wadde nga tolya ku mugaati era nga tonywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo, obaawo ku mukolo ogwo osobole okulaga nti osiima ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo.
ONOOBAAWO?
19, 20. (a) Kiki ky’olina okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo? (b) Lwaki osaanidde okubaawo ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe?
19 Osobola okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi oba mu ggulu singa okiraga nti okkiririza mu Yakuwa Katonda, mu Yesu Kristo, ne mu kinunulo. Bw’onoobaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, ojja kufuna akakisa okufumiitiriza ku ssuubi ly’olina ne ku muwendo gwa ssaddaaka ya Yesu. Akawungeezi ku Lwokutaano nga Apuli 3, 2015, obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi bajja kukuŋŋaanira mu Bizimbe by’Obwakabaka oba mu bifo ebirala, okujjukira okufa kwa Yesu. Naawe fuba okubeerawo.
20 Okubeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kijja kukuyamba okwongera okusiima ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Bw’onoowuliriza obulungi emboozi eneeweebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo, kijja kukukubiriza okulaga abalala okwagala ng’obabuulira ebikwata ku Yakuwa ne ku bintu ebirungi ennyo by’agenda okukolera abantu. (Mat. 22:34-40) Kola kyonna ekisoboka okulaba nti obaawo ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe.
a Olunaku lw’Abayudaaya lwatandikanga ng’enjuba egudde ne luggwaako enkeera ng’enjuba egudde.
b Laba Ebyongerezeddwako B12 mu New World Translation.