-
Siguukulula Buli Ndowooza Ewakanya Okumanya Okukwata ku Katonda!Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma)—2019 | Jjuuni
-
-
1. Kulabula ki Pawulo kwe yawa Abakristaayo abaafukibwako amafuta?
OMUTUME PAWULO yagamba nti: “Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno.” (Bar. 12:2) Okulabula okwo Pawulo yakuwa Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Lwaki yabawa okulabula okwo okw’amaanyi ng’ate baali baamala dda okwewaayo eri Katonda era nga baafukibwako omwoyo omutukuvu?—Bar. 1:7.
2-3. Sitaani agezaako atya okutuggya ku Yakuwa, naye tuyinza tutya okweggyamu “ebintu ebyasimba amakanda” mu birowoozo byaffe?
2 Pawulo yakiraba nti Abakristaayo abamu baali batwaliriziddwa endowooza enkyamu n’obufirosoofo eby’ensi ya Sitaani. (Bef. 4:17-19) Ekyo naffe kisobola okututuukako. Sitaani, katonda w’enteekateeka eno, akozesa obukodyo obutali bumu ng’ayagala okutuggya ku Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba twagala nnyo ettutumu n’ekitiibwa, ayinza okukozesa ebintu ebyo okutuggya ku Yakuwa. Ayinza n’okukozesa ebintu bye twayigira awaka, obuyigirize bwaffe, n’abantu abatwetoolodde okutuleetera okulowooza nga bw’ayagala.
-
-
Siguukulula Buli Ndowooza Ewakanya Okumanya Okukwata ku Katonda!Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma)—2019 | Jjuuni
-
-
‘MUFUNE ENDOWOOZA EMPYA’
4. Nkyukakyuka ki bangi ku ffe ze twalina okukola nga tuyize amazima agali mu Bayibuli?
4 Lowooza ku nkyukakyuka ze walina okukola bwe wayiga Bayibuli ky’eyigiriza era n’osalawo okuweereza Yakuwa. Bangi ku ffe twalina okulekayo ebintu ebibi bye twali tukola. (1 Kol. 6:9-11) Tusiima nnyo Yakuwa olw’okutuyamba okulekayo ebintu ebyo ebibi.
5. Bintu ki ebibiri ebyogerwako mu Abaruumi 12:2, bye tusaanidde okukola?
5 Kyokka tetusaanidde kweyibaala. Wadde nga twalekera awo okukola ebibi eby’amaanyi bye twakolanga nga tetunnaba kubatizibwa, twetaaga okweyongera okufuba okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okuddamu okukola ebibi bye twaleka edda. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Pawulo yagamba nti: “Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno, naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya.” (Bar. 12:2) N’olwekyo twetaaga okukola ebintu bibiri. Ekisooka, tulina ‘okulekera awo okutwalirizibwa’ ensi eno. Eky’okubiri, tulina ‘okukyusibwa’ ne tufuna endowooza empya.
6. Kiki kye tuyigira mu bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 12:43-45?
6 Okukyusibwa Pawulo kwe yayogerako, kusingawo ku kukyusa endabika yaffe ey’okungulu. Tulina okukyukira ddala munda ne kungulu. (Laba akasanduuko “Wakyuka oba Weefuula Bwefuuzi?”) Tulina okukyusiza ddala endowooza yaffe, enneewulira yaffe, n’ebintu bye twagala ne bye twegomba. N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: ‘Enkyukakyuka ze nnakola okufuuka Omukristaayo za kungulu oba ziviira ddala ku mutima?’ Mu Matayo 12:43-45 (Soma), Yesu yalaga ekyo kye tusaanidde okukola. Ebigambo bya Yesu ebyo bituyigiriza ekintu kino ekikulu: Tekimala kweggyamu birowoozo bibi; bwe tumala okuggya mu mitima gyaffe ebirowoozo ebibi, tulina okugijjuza endowooza ya Katonda.
-