“Mwake n’Omwoyo”
“Temuba bagayaavu mu bye mukola. Mwake n’omwoyo. Muweereze ng’abaddu ba Yakuwa.”—BAR. 12:11.
1. Lwaki Abaisiraeri baawangayo ssaddaaka z’ensolo n’ebiweebwayo ebirala?
YAKUWA asiima buli kyonna abaweereza be kye beefiiriza okulaga nti bamwagala era nti bamugondera. Mu biseera by’edda Yakuwa yakkirizanga ssaddaaka z’ensolo n’ebiweebwayo ebirala. Ng’Amateeka ga Musa bwe gaali galagira, ssaddaaka ezo zaawebwangayo Abaisiraeri abaagala okusonyiyibwa ebibi byabwe n’okulaga okusiima kwabwe. Mu kibiina Ekikristaayo, Yakuwa tatwetaagisa kuwaayo ssaddaaka za ngeri eyo. Kyokka mu ssuula eya 12 mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo b’e Rooma, omutume Pawulo alaga nti waliwo ssaddaaka ze tulina okuwaayo. Ka tulabe engeri gye tuziwaayo.
Ssaddaaka Ennamu
2. Ng’Abakristaayo, tusaanidde kuba na bulamu bwa ngeri ki, era ekyo kizingiramu ki?
2 Soma Abaruumi 12:1, 2. Mu ssuula ezisooka ez’ebbaluwa ye, Pawulo yalaga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ka babe Bayudaaya oba Ab’amawanga, baali babalibwa okuba abatuukirivu mu maaso ga Katonda lwa kukkiriza, so si lwa bikolwa. (Bar. 1:16; 3:20-24) Mu ssuula 12, Pawulo annyonnyola nti Abakristaayo basaanidde okulaga okusiima nga baba n’obulamu obw’okwefiiriza. Kino okusobola okukikola, tulina okukyusa endowooza yaffe. Olw’ekibi kye twasikira, ffenna tufugibwa ‘etteeka ly’ekibi n’okufa.’ (Bar. 8:2) N’olwekyo, tulina ‘okufuulibwa abaggya mu maanyi agafuga ebirowoozo byaffe’ nga tukyusiza ddala endowooza yaffe. (Bef. 4:23) Okusobola okukola enkyukakyuka ey’amaanyi bw’etyo twetaaga obuyambi bwa Katonda n’omwoyo gwe. Naffe ffennyini tulina okufuba ennyo nga tukozesa “amagezi” gaffe. Kino kitegeeza nti tulina okulwana ennyo tuleme ‘kufaananyizibwa nteekateeka eno ey’ebintu’ ejjudde empisa embi, eby’okwesanyusaamu ebitasaana, n’endowooza embi.—Bef. 2:1-3.
3. Lwaki twenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo?
3 Pawulo era atukubiriza okukozesa “amagezi” gaffe tusobole okumanya “ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” Kiki ekitukubiriza okusoma Baibuli buli lunaku, okufumiitiriza ku bye tusoma, okusaba, okugenda mu nkuŋŋaana, n’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka? Kyo kituufu nti ebintu ebyo abakadde batujjukiza okubikola era ekyo tukisiima nnyo. Naye omwoyo gwa Katonda gwe gutukubiriza okwenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo nga tulaga okwagala kwaffe eri Yakuwa. Ng’oggyeko ekyo, naffe ffennyini tuli bakakafu nti ebintu ng’ebyo Katonda ayagala tubikole. (Zek. 4:6; Bef. 5:10) Kituleetera essanyu lingi era tuba bamativu okukimanya nti bwe tutambulira mu kkubo ly’Ekikristaayo, tuba tusiimibwa mu maaso ga Katonda.
Ebirabo Ebitali Bimu
4, 5. Abakadde basaanidde kukozesa batya ebirabo byabwe?
4 Soma Abaruumi 12:6-8, 11. Pawulo annyonnyola nti “tulina ebirabo eby’enjawulo okusinziira ku kisa eky’ensusso ekyatulagibwa.” Ebimu ku birabo Pawulo by’ayogerako, gamba ng’okubuulirira n’okuwa obulagirizi, okusinga bikwata ku bakadde era bakubirizibwa okubikozesa ‘n’obunyiikivu.’
5 Pawulo agamba nti abalabirizi basaanidde okulaga obunyiikivu bwe bumu mu kuyigiriza ne mu ‘kuweereza’ kwabwe. Ebigambo bya Pawulo biraga nti ‘okuweereza’ kw’ayogerako kwekwo okw’omu kibiina, ng’ekibiina kino gwe “mubiri ogumu.” (Bar. 12:4, 5) Okuweereza okwo kufaananako okwo okwogerwako mu Ebikolwa 6:4, abatume we baagambira nti: “Ffe tujja kwemalira ku kusaba n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda.” Obuweereza ng’obwo buzingiramu ki? Abakadde balina okukozesa ebirabo byabwe okuzimba ab’oluganda mu kibiina. Batuukiriza ‘obuweereza’ obwo nga beesomesa, nga banoonyereza, nga bayigiriza era nga balunda ekisibo basobole okuwa ab’oluganda obulagirizi obuva mu Kigambo kya Katonda. Abalabirizi basaanidde okukozesa ebirabo byabwe okulabirira endiga “n’essanyu.”—Bar. 12:7, 8; 1 Peet. 5:1-3.
6. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira okuli mu Abaruumi 12:11, ekyawandiikibwa okwesigamiziddwa ekitundu kino?
6 Pawulo era agamba nti: “Temuba bagayaavu mu bye mukola. Mwake n’omwoyo. Muweereze ng’abaddu ba Yakuwa.” Bwe tulaba nga tutandise okuddirira mu buweereza bwaffe, tusaanidde okwongera okwesomesa n’okusaba ennyo Yakuwa okutuwa omwoyo gwe gutuyambe okweggyamu obugayaavu. (Luk. 11:9, 13; Kub. 2:4; 3:14, 15, 19) Omwoyo omutukuvu gwayamba Abakristaayo abaasooka okwogera “ku bintu bya Katonda eby’ekitalo.” (Bik. 2:4, 11) Naffe gusobola okutuyamba okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe, ne ‘twaka n’omwoyo.’
Obwetoowaze n’Obuwombeefu
7. Lwaki tusaanidde okuweereza Katonda n’obwetoowaze era n’obuwombeefu?
7 Soma Abaruumi 12:3, 16. Ebirabo bye tulina twabifuna lwa “kisa eky’ensusso” Yakuwa ky’alina. Pawulo agamba nti: “Tetukitwala nti ebisaanyizo bye tulina twabifuna ku lwaffe; byava eri Katonda.” (2 Kol. 3:5) N’olwekyo, tetusaanidde kwegulumiza. Tusaanidde okuba abeetoowaze nga tujjukira nti ebibala bye tufuna mu buweereza biva ku mikisa Katonda gy’atuwa, so si ku busobozi bwaffe. (1 Kol. 3:6, 7) Pawulo ky’ava agamba nti: “Ntegeeza buli omu ku mmwe obuteerowoozaako kisukkiridde.” Kyo kituufu nti okuweereza Yakuwa kitufuula ab’omuwendo era kituleetera essanyu n’obumativu. Naye okuba abawombeefu, oba okukimanya nti obusobozi bwaffe bulina we bukoma, kituyamba obuteetwala nti tuli ba kitalo. Mu kifo ky’ekyo, ka ‘tulowooze mu ngeri eraga nti tulina endowooza ennuŋŋamu.’
8. Twandyewaze tutya ‘okuba ab’amagezi mu maaso gaffe’?
8 Tekiba kya magezi kwewaana olw’ebyo bye tukola mu buweereza kubanga ‘Katonda y’akuza.’ (1 Kol. 3:7) Pawulo agamba nti buli omu mu kibiina Katonda yamuwa ‘okukkiriza’ mu ngeri ye. Mu kifo ky’okwetwala nti tuli ba waggulu, tusaanidde okusiima abalala bye bakola mu buweereza okusinziira ku kukkiriza kwabwe. Pawulo ayongerako nti: “Mulowooze ku balala nga bwe mwerowoozaako.” Mu emu ku bbaluwa ze endala omutume oyo atukubiriza ‘obutakola kintu kyonna mu kuyomba oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo, wabula okukola ebintu byonna mu buwombeefu nga tukitwala nti abalala batusinga.’ (Baf. 2:3) Kitwetaagisa okuba abeetoowaze ennyo okusobola okukiraba nti buli wa luganda mu kibiina alina ky’atusinza. Okuba abeetoowaze kijja kutuyamba okwewala ‘okuba ab’amagezi mu maaso gaffe ffekka.’ Wadde ng’abamu baba n’enkizo z’obuweereza ezeesiimisa, ffenna tusobola okuba abasanyufu bwe ‘tubeera n’endowooza ey’okwetoowaza’ ne tukola emirimu egirabika ng’egya wansi era abasinga gye batalaba.—1 Peet. 5:5.
Obumu Bwaffe mu Kibiina
9. Lwaki Pawulo ageraageranya Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku bitundu by’omubiri?
9 Soma Abaruumi 12:4, 5, 9, 10. Pawulo ageraageranya Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku bitundu by’omubiri olw’okuba baweereza nga bali bumu wansi w’Omutwe gwabwe, Kristo. (Bak. 1:18) Abajjukiza nti ng’omubiri bwe gulina ebitundu ebingi ebikola ebintu eby’enjawulo, nabo ‘wadde nga bangi, bali omubiri gumu mu Kristo.’ Mu ngeri y’emu, Pawulo yakubiriza Abakristaayo b’omu Efeso nti: “Ka tukule mu bintu byonna mu Kristo omutwe gwaffe nga tuyitira mu kwagala. Mu ye, omubiri gwonna gugattibwa wamu era gukolera wamu okuyitira mu buli nnyingo ekola ebintu ebyetaagisa, okusinziira ku ngeri entuufu buli kitundu gye kikolamu, omubiri ne gusobola okukula n’okuzimbibwa mu kwagala.”—Bef. 4:15, 16.
10. ‘Ab’endiga endala’ basaanidde kugondera baani?
10 ‘Ab’endiga endala’ balina kye bayiga mu kyokulabirako kino, wadde bo si kitundu kya mubiri gwa Kristo. (Yok. 10:16) Pawulo agamba nti Yakuwa ‘yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bya Kristo, n’amufuula omutwe gw’ebintu byonna ku lw’obulungi bw’ekibiina.’ (Bef. 1:22) Ab’endiga endala be bamu ku ‘bintu byonna’ Yakuwa bye yassa wansi w’obuyinza bw’Omwana we. Era ab’endiga endala bye bimu ku ‘bintu’ Kristo bye yasigira “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45-47) N’olwekyo, abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi basaanidde okukkiriza Kristo ng’Omutwe gwabwe, n’okugondera omuddu omwesigwa era ow’amagezi n’Akakiiko Akafuzi akamukiikirira, n’okugondera abakadde mu bibiina. (Beb. 13:7, 17) Kino kitumbula obumu mu kibiina.
11. Obumu bwaffe bwesigamye ku ki, era Pawulo yawa magezi ki amalala?
11 Obumu obwo bwesigamye ku kwagala, nga kuno “kwe kunywereza ddala obumu.” (Bak. 3:14) Kino Pawulo akiggumiza mu Abaruumi essuula 12 ng’agamba nti okwagala kwaffe ‘tekulina kubaamu bunnanfuusi,’ era nti tusaanidde ‘okwagalana ng’ab’oluganda.’ Kino kituyamba okuwaŋŋana ekitiibwa. Omutume oyo agamba nti: “Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” Kya lwatu nti tulina okulaga okwagala mu ngeri ennuŋŋamu. Tulina okukola kyonna ekyetaagisa okukuuma ekibiina nga kiyonjo. Ng’awa amagezi ku kwagala, Pawulo agattako nti: “Mukyawe ekibi, munywerere ku kirungi.”
Okusembeza Abagenyi
12. Bwe kituuka ku kugaba, tuyigira ki ku Bakristaayo b’omu Makedoni?
12 Soma Abaruumi 12:13. Okwagala kwe tulina eri ab’oluganda kutukubiriza ‘okugabana bye tulina n’abatukuvu okusinziira ku bwetaavu bwabwe.’ Ka tube nga tuli baavu, ekitono kye tulina tusobola okukigabana n’abalala. Ng’ayogera ku Bakristaayo b’omu Makedoni, Pawulo yagamba nti: “Mu kugezesebwa okw’amaanyi nga babonaabona, baayoleka essanyu lingi n’omwoyo ogw’okugaba wadde nga baali baavu nnyo. Nkakasa nti ekyo baakikola ng’obusobozi bwabwe bwe buli, era kyasukka ku busobozi bwabwe. Kubanga ab’oluganda abo baatusaba ku lwabwe era ne batwegayirira nnyo tubawe akakisa bawe abatukuvu [mu Yuda] ekirabo, mu ngeri eyo babaweerereze wamu n’abalala.” (2 Kol. 8:2-4) Wadde ng’Abakristaayo b’omu Makedoni baali baavu, baalina omutima omugabi. Baagitwala nga nkizo ya maanyi okuyamba baganda baabwe ab’omu Yuda abaali mu bwetaavu.
13. ‘Okusembeza abagenyi’ kitegeeza ki?
13 Ebigambo “musembezenga abagenyi” byavvuunulwa kuva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza okubaako ky’okolawo. Mu The New Jerusalem Bible ebigambo ebyo byavvuunulwa, “munoonye akakisa ak’okusembeza abalala.” Okusembeza abalala kiyinza okuzingiramu okuyita omuntu ku kijjulo, era kino kiba kirungi bwe kikolebwa mu kwagala. Naye waliwo n’ebirala bingi bye tuyinza okukolera ab’oluganda singa tufaayo okulaba engeri y’okubasembezaamu. Ne bwe tuba nga tetulina busobozi bwa kubafumbira kijjulo, bwe tubayita ne tunywa nabo ekikopo kya caayi oba eky’okunywa ekirala kyonna, tuba tubasembezza.
14. (a) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okusembeza abagenyi’ kiva mu bigambo ki? (b) Mu buweereza bw’ennimiro, tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku bagwira?
14 Okwagala okusembeza abalala kisinziira nnyo ku ngeri gye tutunuuliramu ebintu. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okusembeza abagenyi’ kiva mu bigambo bibiri; “okwagala” ne “omugwira.” Tutunuulira tutya abantu abagwira, oba abava mu mawanga amalala? Abakristaayo bwe bafuba okuyiga olulimi lw’abantu abagwira abali mu kitundu kyabwe basobole okubabuulira amawulire amalungi, mu ngeri eyo baba babasembeza. Kya lwatu nti abamu ku ffe tuyinza obutasobola kuyiga lulimi lulala. Naye ffenna tusobola okuyamba mu kubuulira abagwira nga tukozesa akatabo Good News for People of All Nations, akalimu obubaka bwa Baibuli mu nnimi ezitali zimu. Wali oyambye omuntu yenna ng’okozesa akatabo kano?
Okufaayo ku Balala
15. Mu bulamu bwe, Yesu yatuukana atya n’okubuulira okuli mu Abaruumi 12:15?
15 Soma Abaruumi 12:15. Okubuulirira kwa Pawulo okuli mu lunyiriri luno kusobola okuwumbibwako mu bigambo bino: Faayo ku balala. Tulina okufuba okumanya engeri abalala gye bawuliramu, ka babe mu ssanyu oba mu nnaku. Bwe tuba nga twaka n’omwoyo, kyeyoleka nga tusanyukira wamu n’abalala oba nga tunakuwalira wamu nabo. Abayigirizwa ba Kristo 70 bwe baakomawo okuva mu kubuulira nga basanyufu ne bamubuulira ebirungi ebyali bivuddemu, Yesu ‘yajjula essanyu n’omwoyo omutukuvu.’ (Luk. 10:17-21) Yasanyukira wamu nabo. Ate olulala Yesu ‘yakaaba n’abantu abaali bakaaba’ nga mukwano gwe Lazaalo afudde.—Yok. 11:32-35.
16. Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku balala, era kino baani naddala abasaanidde okukikola?
16 Twandyagadde okukoppa Yesu nga tufaayo ku balala. Mukkiriza munnaffe bw’aba mu ssanyu, kiba kirungi ne tusanyukira wamu naye. Mu ngeri y’emu, tusaanidde okunakuwalira awamu ne baganda baffe nga bali mu bizibu. Okutuulako ne bakkiriza bannaffe abali mu nnaku ne tubawuliriza era ne tubalaga obusaasizi kiyinza okubaleetera obuweerero. Oluusi ebizibu byabwe biyinza n’okutuleetera okuyunguka amaziga. (1 Peet. 1:22) Naddala abakadde balina okufuba ennyo okufaayo ku balala nga Pawulo bw’atukubiriza.
17. Biki bye tuyize mu Abaruumi 12, era biki bye tujja okwetegereza mu kitundu ekinaddako?
17 Ennyiriri ze twetegerezza mu Abaruumi essuula 12 zituwadde amagezi agatuyamba mu bulamu bwaffe ng’Abakristaayo, era ne mu nkolagana yaffe n’ab’oluganda. Mu kitundu ekinaddako tujja kwetegereza ennyiriri ezisigaddeyo mu ssuula eno, tulabe engeri gye tusaanidde okutunuuliramu n’okukolaganamu n’abantu abatali Bakristaayo, nga mwe muli abo abatuziyiza n’abatuyigganya.
Okwejjukanya
• Tuyinza tutya okulaga nti ‘twaka n’omwoyo’?
• Lwaki tusaanidde okuweereza Katonda n’obuwombeefu era n’obwetoowaze?
• Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku bakkiriza bannaffe?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]
Lwaki twenyigira mu bintu bino?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Buli omu ku ffe ayinza atya okuyamba abagwira okumanya ebikwata ku Bwakabaka?