Ogoberera “Ekkubo Erisinga Gonna” ery’Okwagala?
“KATONDA kwagala.” Ebigambo bino eby’omutume Yokaana biraga engeri ya Katonda esingayo obukulu. (1 Yok. 4:8) Okwagala Katonda kw’alina kwe kutusobozesa okumusemberera n’okufuna enkolagana ennungi naye. Okwagala kwa Katonda kuno kutuganyula mu ngeri ki endala? Kigambibwa nti: “Bye twagala bye bitufuula kye tuli.” Ekyo kituufu ddala. Naye era kituufu nti engeri zaffe zisinziira ne ku muntu gwe twagala era n’oyo atwagala. Olw’okuba twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, tusobola okwoleka okwagala ng’okwa Katonda mu bulamu bwaffe. (Lub. 1:27) Eno ye nsonga lwaki omutume Yokaana yagamba nti twagala Katonda “kubanga ye yasooka okutwagala.”—1 Yok. 4:19.
Ebigambo Bina Ebitegeeza Okwagala
Okwagala omutume Pawulo yakuyita “ekkubo erisinga gonna.” (1 Kol. 12:31) Lwaki yakuyita bw’atyo? Kwagala kwa ngeri ki Pawulo kwe yali ayogerako? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka twetegereze amakulu g’ekigambo “kwagala.”
Abayonaani ab’edda baalina ebigambo bina ebitegeeza okwagala: stor·geʹ, eʹros, phi·liʹa, ne a·gaʹpe. Ku bigambo bino ebina, a·gaʹpe kye kikozesebwa ku Katonda ayogerwako nti “kwagala.”a Ng’ayogera ku kwagala kuno mu kitabo kye ekiyitibwa New Testament Words, Profesa William Barclay agamba nti: “Agapē kwe kwagala okusibuka mu birowoozo: tekujja buzzi kwokka mu mitima gyaffe; guba musingi gwe tusalawo okutambulizaako obulamu bwaffe. Agapē kwe kwagala omuntu kw’asalawo okuba nakwo.” Ebigambo ebyo biraga nti wadde nga a·gaʹpe kwagala okwesigamiddwa kumisingi gya Baibuli, kubaamu okwoleka enneewulira. Olw’okuba waliyo emisingi emirungi n’emibi, Abakristaayo baba balina okugoberera emisingi emirungi egiri mu Baibuli egyatuweebwa Yakuwa Katonda. Okugeraageranya engeri Baibuli gy’ekozesaamu ekigambo a·gaʹpe n’eyo gy’ekozesaamu ebigambo ebirala ebitegeeza okwagala kijja kutuyamba okutegeera okwagala kwe tusaanidde okwoleka.
Okwagala Okuba Wakati w’Ab’Omu Maka Agamu
Nga kiba kirungi nnyo okuba mu maka agali obumu era agalimu okwagala! Stor·geʹ kye kigambo ky’Oluyonaani ekyateranga okukozesebwa okutegeeza okwagala okuba wakati w’abantu ab’omu mu maka agamu. Abakristaayo bafuba okulaga ab’omu maka gaabwe okwagala. Pawulo yalagula nti mu nnaku ez’oluvannyuma, abantu okutwalira awamu bandibadde “tebaagala ba luganda.”—2 Tim. 3:1, 3.
Kya nnaku nti okwagala okusaanidde okuba mu maka tekukyaliwo ennaku zino. Kiva ku ki abakazi abamu okuggyamu embuto? Kiva ku ki abantu abamu obutafaayo ku bazadde baabwe, naddala nga bakaddiye? Kiva ku ki okuba nti obufumbo bweyongera kusasika? Eky’okuddamu kiri nti, Okwagala kw’ab’oluganda tekukyaliwo.
Ng’oggyeko ekyo, Baibuli egamba nti “omutima mulimba okusinga ebintu byonna.” (Yer. 17:9) Okwagala okuba wakati w’abantu ab’omu maka agamu kuzingiramu omutima gwaffe n’enneewulira zaffe. Kyokka ate Pawulo yakozesa ekigambo a·gaʹpe ng’ayogera ku mukwano omusajja ng’asaanidde okulaga mukazi we. Pawulo yageraageranya okwagala okwo ku kwagala Kristo kw’alina eri ekibiina. (Bef. 5:28, 29) Okwagala kuno kwesigamizibwa ku misingi egyateekebwawo Yakuwa, Oyo eyatandikawo enteekateeka y’obufumbo.
Okwagala okwa nnamaddala kwe tulina eri abo be tubeera nabo mu maka kutukubiriza okufaayo ku bazadde baffe abakaddiye n’okulabirira obulungi abaana baffe. Okwagala okw’engeri eyo era kukubiriza abazadde okukangavvula abaana baabwe bwe kiba kyetaagisa, n’okwewala okubaginya, ekintu ekiyinza okubaviirako okwonooneka.—Bef. 6:1-4.
Okwagala Okuba Wakati w’Omusajja n’Omukazi
Okwagala okuba wakati w’omusajja n’omukazi mu bufumbo kirabo okuva eri Katonda. (Nge. 5:15-17) Kyokka ekigambo eʹros, ekitegeeza okwagala okuba wakati w’omusajja n’omukazi, abawandiisi ba Baibuli tebaakikozesa. Lwaki? Emyaka mingi emabega, magazini eno yagamba bw’eti: “Kirabika nti leero abantu bakola ensobi y’emu ng’eyo Abayonaani ab’edda gye baakola. Baasinzanga katonda ayitibwa Eros, baavunnamanga ku kyoto kye ne bawaayo ssaddaaka . . . . Naye ebyafaayo biraga nti okusinza ng’okwo okwalingamu ebikolwa eby’okwetaba kwavaamu okwonooneka kw’empisa, obugwenyufu, n’okusattulukuka kw’obufumbo. Eyo yandiba nga ye nsonga lwaki ekigambo ekyo abawandiisi ba Baibuli tebaakikozesa.” Tetulina kwagala muntu nga tusinziira ku ndabika ye yokka, wabula tulina okukubirizibwa n’emisingi gya Baibuli. Kati weebuuze, ‘Omukwano gwe ndaga munnange mu bufumbo gwesigamye ku kwagala okwa nnamaddala?’
Mu “kiseera kya kabuvubuka” omuntu w’abeerera ng’ayagala nnyo okwetaba, abavubuka abanywerera ku misingi gya Baibuli bakuuma empisa zaabwe nga nnyonjo. (1 Kol. 7:36; Bak. 3:5) Obufumbo tubutwala ng’ekirabo ekyava eri Yakuwa. Yesu yayogera bw’ati ku bafumbo: “Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga.” (Mat. 19:6) N’olwekyo, tuli bamalirivu okunywerera mu bufumbo bwaffe, ka kibe nti oyo gwe tuli naye mu bufumbo takyatusikiriza. Bwe tufuna ebizibu mu bufumbo, mu kifo ky’okusala amagezi okubuvaamu, ka tufube okwoleka engeri za Katonda tusobole okubufuula obw’essanyu. Okukola tutyo kituviiramu essanyu erya nnamaddala.—Bef. 5:33; Beb. 13:4.
Okwagala Okuba Wakati w’Ab’omukwano
Obulamu tebwandinyumye nga tetulina mikwano! Baibuli egamba nti: “Waliwo ow’omukwano [anywerera ku muntu] okusinga ow’oluganda.” (Nge. 18:24) Yakuwa ayagala tubeere n’emikwano egya namaddala. Kimanyiddwa bulungi nti Dawudi ne Yonasaani baali ba mukwano nnyo. (1 Sam. 18:1) Era Baibuli egamba nti Yesu ‘yali ayagala nnyo’ omutume Yokaana. (Yok. 20:2) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okwagala’ oba ‘omukwano’ kiri phi·liʹa. Okuba n’ow’omukwano mu kibiina si kibi. Kyokka, mu 2 Peetero 1:7 tukubirizibwa nti ku “kwagalana ng’ab’oluganda” (phi·la·del·phiʹa, kiva mu bigambo eby’Oluyonaani bibiri; phiʹlos, ekitegeeza “ow’omukwano” ne a·del·phosʹ, ekitegeeza “ow’oluganda”), twongereko okwagala (a·gaʹpe). Okusobola okuba n’emikwano egiwangaala, tulina okukolera ku kubuulirira kuno. N’olwekyo tusaanidde okwebuuza, ‘Okwagala kwe ndaga mikwano gyange kwesigamye ku misingi gya Baibuli?’
Ekigambo kya Katonda kituyamba obutagwa lubege mu nkolagana yaffe ne mikwano gyaffe. Tetukozesa mitindo ebiri: nga ku mikwano gyaffe tuba ba kisa, ate ku batali mikwano gyaffe ne tuba bakakali. Era twewala okwogera n’abantu mu ngeri eteri ya bwesimbu tusobole okubakolako omukwano. N’ekisinga obukulu, okukolera ku misingi gya Baibuli kituyamba okulonda emikwano emirungi era n’okwewala ‘emikwano emibi egyonoona empisa ennungi.’—1 Kol. 15:33.
Okwagala okw’Enjawulo!
Okwagala okugatta Abakristaayo kwa njawulo nnyo! Omutume Pawulo yawandiika: “Okwagala kwammwe kulemenga kuba kwa bunnanfuusi. . . . Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka.” (Bar. 12:9, 10) Yee, Abakristaayo booleka ‘okwagala (a·gaʹpe) okutaliimu bunnanfuusi.’ Okwagala kuno si kye kintu ekijja obuzzi mu mitima gyaffe, wabula kuva mu kukolera ku misingi gya Baibuli. Kyokka era Pawulo ayogera ku “kwagala kw’ab’oluganda” (phi·la·del·phiʹa) ‘n’okwagalana’ (phi·loʹstor·gos, nga kino kiva mu bigambo phiʹlos ne stor·geʹ). Okusinziira ku mwekenneenya omu, ‘okwagala kw’ab’oluganda’ kuzingiramu “okulaga ekisa, okulaga obusaasizi, n’okuyamba.” Abasinza ba Yakuwa bwe balaga okwagala kuno awamu ne a·gaʹpe, kibayamba okuba n’enkolagana ennungi. (1 Bas. 4:9, 10) Ekigambo kiri ekirala ekyavvuunulwa “okwagalana,” kikozesebwa omulundi gumu gwokka mu Baibuli era nga kitegeeza okuba n’omukwano ogw’amaanyi, nga bwe kiba mu bantu ab’omu maka agamu.
Okwagala okugatta Abakristaayo ab’amazima kutwaliramu okwo okulagibwa ab’omu maka n’ab’emikwano, ng’enkolagana zino zikubirizibwa okwagala okwesigamiziddwa ku misingi gya Baibuli. Ekibiina Ekikristaayo si kya bantu abasisinkana okwesanyusaamu oba okukola ekintu ekirala kyonna, wabula kya bantu abasinza Yakuwa Katonda nga bali bumu ng’amaka. Bakkirizza bannaffe tubayita baganda baffe oba bannyinaffe, era bwe tutyo bwe tubatwala. Tubatwala ng’ab’omu maka gaffe, tubaagala nga mikwano gyaffe, era tugoberera emisingi gya Baibuli mu nkolagana yaffe nabo. Ka ffenna tweyongere okwoleka okwagala okwo okugatta era okwawulawo Abakristaayo ab’amazima.—Yok. 13:35.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekigambo a·gaʹpe oluusi kitegeeza okwagala okubi.—Yok. 3:19; 12:43; 2 Tim. 4:10; 1 Yok. 2:15-17.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 12]
Ggwe okolawo ki okulaba nti oyoleka okwagala okutugatta awamu?