Owa Abalala Ekitiibwa?
“Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.”—BAR. 12:10, NW.
1. Kintu ki ekitakyaliwo mu bitundu bingi eby’ensi?
MU BITUNDU by’ensi ebimu, abaana tebeesimba ku bantu bakulu nga boogera nabo. Bwe kityo bafukamira okulaga nti babawa ekitiibwa. Era mu bitundu ebyo, si kya mpisa abaana okukuba abantu abakulu amabega. Wadde ng’okuwa ekitiibwa kiragibwa mu ngeri ya njawulo mu bitundu ebitali bimu, kitujjukiza Amateeka ga Musa. Erimu ku go lyali ligamba: “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde.” (Leev. 19:32) Kya nnaku nti mu bitundu bingi abantu tebakyawa bannaabwe kitiibwa. Mu butuufu, bwe kityo bwe kiri buli wamu.
2. Ekigambo kya Katonda kitulagira kuwa baani ekitiibwa?
2 Ekigambo kya Katonda kiraga nti okuwa abalala ekitiibwa kintu kikulu nnyo. Kitukubiriza okuwa Yakuwa ne Yesu ekitiibwa. (Yok. 5:23) Era kitulagira okussa ekitiibwa mu bantu be tubeera nabo awaka, mu bakkiriza bannaffe, ne mu balala abali ebweru w’ekibiina. (Bar. 12:10; Bef. 6:1, 2; 1 Peet. 2:17) Tuyinza tutya okulaga nti tuwa Yakuwa ekitiibwa? Tuyinza tutya okuwa Bakristaayo bannaffe ekitiibwa? Ka twetegereze ebibuuzo bino wamu n’ebirala ebyekuusa ku nsonga eno.
Ssa Ekitiibwa mu Yakuwa n’Erinnya Lye
3. Ngeri ki enkulu gye tuyinza okuwaamu Yakuwa ekitiibwa?
3 Engeri emu enkulu gye tuwaamu Yakuwa ekitiibwa kwe kussa ekitiibwa mu linnya lye. Gw’ate oba tuli ‘bantu abayitibwa erinnya lye.’ (Bik. 15:14) Ddala nkizo ya maanyi okuyitibwa erinnya lya Katonda omuyinza w’ebintu byonna, Yakuwa. Nnabbi Mikka yagamba nti: “Amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya [Yakuwa] Katonda waffe emirembe n’emirembe.” (Mi. 4:5) ‘Tutambulira mu linnya lya Yakuwa’ bwe tweyisa mu ngeri emuweesa ekitiibwa awamu n’erinnya lye. Nga Pawulo bwe yajjukiza Abakristaayo b’omu Ruumi, enneeyisa yaffe bw’eba tetuukana n’amawulire amalungi ge tubuulira, tuba tuleetedde erinnya lya Katonda ‘okuvvoolebwa.’—Bar. 2:21-24.
4. Otwala otya enkizo ey’okuwa obujulirwa ku Yakuwa?
4 Era tuwa Yakuwa ekitiibwa bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Mu biseera eby’edda, Yakuwa yawa ab’omu ggwanga lya Isiraeri omukisa okuba abajulirwa be, naye baalemwa okugukozesa. (Is. 43:1-12) Emirundi mingi baajeemera Yakuwa era ne “banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.” (Zab. 78:40, 41) N’ekyavaamu, eggwanga eryo lyafiirwa enkolagana yaalyo ne Yakuwa. Kyokka, leero tuli basanyufu okuba nti tulina enkizo ey’okuwa obujulirwa ku Yakuwa n’okumanyisa erinnya lye. Tukikola olw’okuba tumwagala era twagala erinnya lye litukuzibwe. Tuyinza tutya okulekayo okubuulira nga tumanyi bulungi amazima agakwata ku Kitaffe ow’omu ggulu n’ebigendererwa bye? Tukkiriziganya n’omutume Pawulo eyagamba nti: “Nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.”—1 Kol. 9:16.
5. Okukkiririza mu Yakuwa kikwatagana kitya n’okumuwa ekitiibwa?
5 Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba: ‘Abo abamanyi erinnya lyo banaakwesiganga, kubanga ggwe, ai Yakuwa, tojja kuleka abo abakunoonya.’ (Zab. 9:10) Bwe tuba tumanyi bulungi Yakuwa era nga tussa ekitiibwa mu linnya lye olw’amakulu agalirimu, tujja kumwesiga ng’abaweereza be ab’edda bwe baakola. N’olwekyo, okwesiga Yakuwa n’okumukkiririzaamu ye ngeri endala gye tulagamu nti tumuwa ekitiibwa. Weetegereze engeri Ekigambo kya Katonda gye kikwataganyamu okwesiga Yakuwa n’okumussaamu ekitiibwa. Abaisiraeri ab’edda bwe baagaana okumwesiga, Yakuwa yabuuza Musa nti: ‘Abantu bano balituusa wa okunnyooma, era balituusa wa obutanzikiriza olw’obubonero bwonna bwe nnakolera mu bo?’ (Kubal. 14:11) Naye bwe twesiga Yakuwa okutukuuma n’okutuyamba, naddala nga twolekaganye n’ebizibu, tuba tumuwa ekitiibwa.
6. Kiki ekituleetera okuwa Yakuwa ekitiibwa?
6 Yesu yagamba nti okuwa Yakuwa ekitiibwa kiva munda mu mutima. Ng’agamba abo abaali basinza mu ngeri eteri ya bwesimbu, Yesu yajuliza ebigambo bya Yakuwa n’agamba nti: “Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; naye omutima gwabwe gundi wala.” (Mat. 15:8) Okuwa Yakuwa ekitiibwa kirina kuva mu kwagala okuviira ddala ku mutima. (1 Yok. 5:3) Era kikulu okujjukira Yakuwa kye yasuubiza nti: ‘Abo abanzisaamu ekitiibwa be nnassangamu ekitiibwa.’−1 Sam. 2:30.
Abatwala Obukulembeze Bawa Abalala Ekitiibwa
7. (a) Lwaki ab’oluganda abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina basaanidde okuwa abo be batwala ekitiibwa? (b) Pawulo yawa atya bakkiriza banne ekitiibwa?
7 Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne nti: “Mu kuwa abalala ekitiibwa mwe muba musooka.” (Bar. 12:10, NW) Ab’oluganda abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina basaanidde okussaawo ekyokulabirako, nga be ‘basooka’ okuwa ekitiibwa abo be batwala. Ku nsonga eno, abo abalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi basaanidde okugoberera ekyokulabirako kya Pawulo. (Soma 1 Abasessaloniika 2:7, 8.) Ab’oluganda abaali mu bibiina Pawulo bye yakyaliranga baali bakimanyi nti tasobola kubagamba kukola kintu, nga ye si mwetegefu kukikola. Pawulo yawa bakkiriza banne ekitiibwa, era nabo baakimuwa. Bwe yabagamba nti: ‘Mbeegayirira munkoppe,’ bangi baamuwuliriza olw’okuba yali abateereddewo ekyokulabirako ekirungi.—1 Kol. 4:16, NW.
8. (a) Yesu yalaga atya nti awa abayigirizwa be ekitiibwa? (b) Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu?
8 Engeri endala ow’oluganda alina obuvunaanyizibwa gy’ayinza okuwaamu b’atwala ekitiibwa kwe kubawa ensonga ng’alina ky’abagamba okukola oba ng’alina obulagirizi bw’abawa. Bw’akola bw’atyo, aba akoppye Yesu. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yagamba abayigirizwa basabe abakozi beeyongere obungi mu makungula, yabawa ensonga lwaki kyali kyetaagisa. Yagamba: ‘Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale musabe Omwami ow’amakungula asindike abakozi mu makungula ge.’ (Mat. 9:37, 38) Era bwe yagamba abayigirizwa be ‘batunulenga,’ n’ensonga yagibawa. Yagamba: ‘Kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’ajjirako.’ (Mat. 24:42) Emirundi mingi Yesu bwe yagambanga abayigirizwa be kye balina okukola, yabawanga n’ensonga lwaki baalina okukikola. Mu ngeri eyo, yalaga nti abawa ekitiibwa. Ng’ekyo kyakulabirako kirungi eri abakadde mu kibiina!
Ssa Ekitiibwa mu Batwala Obukulembeze mu Kibiina kya Yakuwa
9. Okussa ekitiibwa mu kibiina Ekikristaayo wamu n’abo abakikulembera kiraga ki? Nnyonnyola.
9 Okuwa Yakuwa ekitiibwa kitwaliramu okussa ekitiibwa mu kibiina Ekikristaayo wamu n’abo abakikulembera. Bwe tukolera ku bulagirizi bw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi, tuba tussa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa. Mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka, omutume Yokaana yavumirira abo abaali batassa kitiibwa mu ba luganda abaali batwala obukulembeze. (Soma 3 Yokaana 9-11.) Ebigambo bya Yokaana biraga nti abakadde abamu baali tebaweebwa kitiibwa, era nga bye bayigiriza n’obulagirizi bwe bawa biyisibwamu amaaso. Naye, Abakristaayo abasinga bwe batyo si bwe baakolanga. Mu kiseera ky’abatume, ab’oluganda bonna okutwalira awamu bassanga ekitiibwa mu batwala obukulembeze.—Baf. 2:12.
10, 11. Okusinziira ku Byawandiikibwa, lwaki kyetaagisa abamu okuba n’obuyinza mu kibiina Ekikristaayo.
10 Abamu bagamba nti olw’okuba Yesu yagamba abayigirizwa be nti “mwenna muli ba luganda,” tewali alina kuba na buyinza ku banne mu kibiina Ekikristaayo. (Mat. 23:8) Kyokka, Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’eby’Oluyonaani biraga nti waliwo abasajja bangi Katonda be yawa obuyinza okukulembera abalala. Ebyafaayo by’abasajja ab’edda, eby’abalamuzi, n’ebya bakabaka mu ggwanga lya Isiraeri biraga bulungi nti waliwo abasajja Yakuwa mwe yayitiranga okuwa obulagirizi. Abo abaagaananga okuwa abasajja abo ekitiibwa, Yakuwa yababonerezanga.—2 Bassek. 1:2-17; 2:19, 23, 24.
11 Ne mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo baali bakimanyi bulungi nti abatume baalina obuyinza mu kibiina. (Bik. 2:42) Ng’ekyokulabirako, Pawulo yawanga ab’oluganda obulagirizi. (1 Kol. 16:1; 1 Bas. 4:2) Era naye kennyini yawulirizanga abo abaamulinako obuyinza. (Bik. 15:22; Bag. 2:9, 10) Awatali kubuusabuusa, Pawulo yalina endowooza ennuŋŋamu ku balina obuyinza mu kibiina Ekikristaayo.
12. Bwe kituuka ku buyinza, bintu ki ebibiri bye tuyiga okuva mu Baibuli?
12 Ekyo kituyigiriza ebintu bibiri. Ekisooka, kya mu Byawandiikibwa okuba nti ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ ng’ayitira mu Kakiiko Akafuzi, alonda abakadde, ng’abamu balina obuyinza ku bakadde abalala. (Mat. 24:45-47; 1 Peet. 5:1-3) Ekyokubiri, ffenna wamu, nga mw’otwalidde n’abakadde, tusaanidde okussa ekitiibwa mu abo abatulinako obuyinza. Kati, tuyinza kukola ki okulaga nti tussa ekitiibwa mu abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina Ekikristaayo?
Okuwa Abalabirizi Abatambula Ekitiibwa
13. Tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu balabirizi abakiikirira ekibiina Ekikristaayo leero?
13 Pawulo yagamba nti: “Ab’oluganda, kaakano tubasaba okussa ekitiibwa mu abo abakola ennyo mu mmwe era abatwala obukulembeze mu Mukama waffe era abababuulirira; mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwe bakola. Buli muntu abeere wa mirembe eri munne.” (1 Bas. 5:12, 13, NW) Awatali kubuusabuusa, abalabirizi abatambula be bamu ku “abo abakola ennyo.” N’olwekyo, ka ‘tubasseemu nnyo ekitiibwa.’ Engeri emu gye tukikolamu kwe kukolera ku bulagirizi bwe batuwa. Abalabirizi ng’abo bwe batutuusaako obulagirizi obuva eri omuddu omwesigwa era ow’amagezi, “amagezi agava waggulu” gajja kutukubiriza okuba ‘abawulize.’—Yak. 3:17.
14. Ab’oluganda mu kibiina bayinza batya okulaga nti bassa ekitiibwa mu balabirizi abatambula, era ekyo kivaamu ki?
14 Ate kiri kitya singa tulagirwa okukola ebintu mu ngeri gye tutamanyidde? Kiraga okuwa ekitiibwa bwe tugondera obulagirizi obutuweereddwa, nga twewala okugamba nti, “Ffe wano ebintu tetubikola bwe tutyo,” oba nti, “Ekyo kikola mu bibiina birala naye si mu kyaffe.” Kiba kirungi ne tufuba okulaga obuwulize. Okukijjukira nti kino kibiina kya Yakuwa era nti Yesu gwe Mutwe gwakyo, kijja kutuyamba okugoberera obulagirizi obutuweebwa. Ab’oluganda mu kibiina bwe bakolera ku bulagirizi obuvudde eri omulabirizi atambula, kiba kiraga nti bamussaamu ekitiibwa. Omutume Pawulo yasiima ab’oluganda mu Kkolinso olw’okugondera obulagirizi obwabaweebwa Tito, omukadde eyali abakyalidde. (2 Kol. 7:13-16) Mu ngeri y’emu, naffe bwe tukolera ku bulagirizi obutuweebwa abalabirizi abatambula, kituyamba okuba abasanyufu mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira.—Soma 2 Abakkolinso 13:11.
“Mussengamu Ekitiibwa Abantu Bonna”
15. Tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe?
15 Pawulo yawandiika nti: “Tonenyanga [musajja] mukadde [na bukambwe], naye omubuuliriranga nga kitaawo; abavubuka ng’ab’oluganda: abakazi abakadde nga nnyoko; abato nga bannyoko mu bulongoofu bwonna. Obawenga ekitiibwa bannamwandu ababa bannamwandu ddala.” (1 Tim. 5:1-3) Yee, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okuwa ekitiibwa buli omu mu kibiina Ekikristaayo. Ate kiri kitya ng’ofunye obutategeeragana ne Mukristaayo munno? Ekyo kinaakugaana okumuwa ekitiibwa? Oba onooba mwetegefu okwoleka endowooza ennuŋŋamu n’otunuulira engeri ennungi omuweereza wa Katonda oyo z’alina? Abo abalina obuyinza basaanidde okufuba okuwa baganda baabwe ekitiibwa—nga ‘tebeefuula baami eri ekisibo.’ (1 Peet. 5:3) Mu butuufu, mu kibiina Ekikristaayo, ekimanyiddwa olw’okwagala okwa nnamaddala okuli mu abo abakirimu, tufuna emikisa mingi okuwa abalala ekitiibwa.—Soma Yokaana 13:34, 35.
16, 17. (a) Lwaki kikulu okussa ekitiibwa mu bantu be tubuulira era n’abo abatuyigganya? (b) Tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu ‘bantu bonna’?
16 Kya lwatu nti ab’omu kibiina Ekikristaayo si be bokka be tusaanidde okuwa ekitiibwa. Pawulo yagamba Abakristaayo ab’omu kiseera kye nti: “Bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Bag. 6:10) Kituufu nti kiyinza obutaba kyangu kutambulira ku musingi ogwo nga waliwo mukozi munnaffe oba muyizi munnaffe atuyisizza obubi. Mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi okujjukira ebigambo bino: “Tokwatibwa busungu olw’abo abakola obubi.” (Zab. 37:1, NW) Bwe tukolera ku kubuulirira okwo kituyamba okuwa n’abo abatuyigganya ekitiibwa. Mu ngeri y’emu, bwe tuba tubuulira, okuba abawombeefu kituyamba okwanukula abantu bonna mu ‘bukkakkamu era nga tubassaamu ekitiibwa.’ (1 Peet. 3:15, NW) N’engeri gye twambalamu esobola okulaga obanga abo be tubuulira tubawa ekitiibwa.
17 Mu butuufu, ka tube nga tuli na bakkiriza bannaffe oba abo abali ebweru w’ekibiina, tulina okufuba okukolera ku kubuulirira kuno: “Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab’oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka.”—1 Peet. 2:17.
Wandizzeemu Otya?
Osobola otya okussa ekitiibwa mu:
• Yakuwa?
• Bakadde mu kibiina ne mu balabirizi abatambula?
• B’oluganda bonna mu kibiina?
• Bantu be tubuulira?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka bassanga ekitiibwa mu kakiiko akafuzi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Abakadde mu bibiina bassa ekitiibwa mu balabirizi abatambula, abalondebwa Akakiiko Akafuzi