“Temuwalananga Muntu Kibi olw’Ekibi”
“Temuwalananga muntu kibi olw’ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna.”—ABARUUMI 12:17.
1. Muze ki oguli ennyo mu bantu?
OMWANA bw’asindika munne, gwe basindise ky’asooka okulowoozako naye kumusindika. Kya nnaku nti omuze guno ogw’okwagala okwesasuza teguli mu baana bokka. N’abantu abakulu bangi bagulina. Bwe wabaawo omuntu abanyiizizza baagala okwesasuza. Kyo kituufu nti abantu abakulu abasinga tebeesasuza butereevu, naye bafunayo engeri endala gye bakikolamu. Oluusi basaasaanya eŋŋambo ezoonoona erinnya ly’oyo eyabanyiiza oba babaako engeri gye bamulemesaamu. Kyonna kye baba basazeewo okukola, bakikola nga balina ekigendererwa kimu kyokka—kwesasuza.
2. (a) Lwaki Abakristaayo ab’amazima bafuba okulaba nti tebeesasuza? (b) Bibuuzo ki n’essuula y’omu Baibuli bye tugenda okwekkaanya?
2 Wadde ng’omuze ogw’okwesasuza guli nnyo mu bantu, Abakristaayo ab’amazima bagwewala. Bafuba okukola ng’omutume Pawulo bwe yakubiriza nti: “Temuwalananga muntu kibi olw’ekibi.” (Abaruumi 12:17) Kiki ekinaatuyamba okutambulira ku mutindo ogwa waggulu ogwo? Okusingira ddala baani be tutasaanidde kwesasuza? Miganyulo ki egiri mu kwewala okwesasuza? Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, ka tulabe ensonga Pawulo kwe yasinziira okwogera bw’atyo era tulabe n’engeri Abaruumi essuula 12 gy’ekiragamu nti okwewala okwesasuza kiba kituufu, kiraga okwagala n’obuwoombeefu. Ka twetegereze ensonga zino emu ku emu.
“Kyenvudde Mbeegayirira”
3, 4. (a) Okutandikira mu Abaruumi essuula 12, kiki Pawulo ky’ayogerako, era ekigambo “kyenvudde,” kirina makulu ki? (b) Abakristaayo b’omu Ruumi bandikwatiddwako batya olw’ekisa ekingi Katonda kyeyabalaga?
3 Okutandikira mu essuula 12, Pawulo ayogera ku nsonga nnya ezikwata ku bulamu bw’Omukristaayo. Ayogera ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, ne bakkiriza bannaffe, n’abatali bakkiriza, era n’ab’obuyinza. Pawulo alaga nti waliwo ensonga enkulu lwaki tulwanyisa emize emibi, omuli n’ogw’okwesasuza, nga agamba nti: ‘Kyenvudde mbeegayirira, ab’oluganda, olw’okusaasira kwa Katonda.’ (Abaruumi 12:1) Weetegereze ekigambo “kyenvudde,” ekitegeeza nti “ensonga kwe nsinzidde.” Mu ngeri endala Pawulo ategeeza nti, ‘olw’ensonga ezo ze njogeddeko, mbeegayirira okukola kye ŋŋenda okubagamba.’ Kiki Pawulo kye yali annyonnyodde Abakristaayo abo ab’omu Ruumi?
4 Mu ssuula 11 ezisooka ez’ebbaluwa ye, Pawulo yannyonnyola omukisa ogw’ekitalo Abayudaaya n’Ab’amawanga gwe baaweebwa, ogw’okufuga ne Kristo mu Bwakabaka bwa Katonda, enkizo Abaisiraeri gye beesubya. (Abaruumi 11:13-36) Baasobola okufuna enkizo eyo “olw’okusaasira kwa Katonda.” Abakristaayo bandikwatiddwako batya olw’ekisa ekingi Katonda kye yali abalaze? Emitima gyabwe gyandijjudde okusiima ne kibaleetera okukola nga Pawulo bw’agamba: “Okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’amagezi.” (Abaruumi 12:1) Naye, Abakristaayo abo baali baakwewaayo batya nga “ssaddaaka” eri Katonda?
5. (a) Omuntu asobola atya okwewaayo nga “ssaddaaka” eri Katonda? (b) Omukristaayo yenna asanidde kutambulira ku musingi ki?
5 Pawulo ayongera okunnyonnyola nti: “Temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.” (Abaruumi 12:2) Mu kifo ky’okugoberera omwoyo gw’ensi eno, baali beetaaga okuba n’endowooza ya Kristo. (1 Abakkolinso 2:16; Abafiripi 2:5) Ku musingi ogwo Abakristaayo ab’amazima bonna, nga naffe mw’otu twalidde, kwe basaanidde okutambulira buli lunaku.
6. Okusinziira ku ebyo Pawulo by’ayogera mu Abaruumi 12:1, 2, kiki ekituyamba okwewala okwesasuza?
6 Tuganyulwa tutya mu ebyo Pawulo by’ayogera mu Abaruumi 12:1, 2? Okufaananako Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta ab’omu Ruumi, naffe tusima nnyo olw’okuba Katonda atulaze ekisa kye mu ngeri nnyingi era nga yeeyongera okukitulaga buli lunaku. Olw’ensonga eyo, tulaga okusiima nga tuweereza Katonda n’amaanyi gaffe gonna, n’obusobozi bwaffe, era ne byonna bye tulina. Okwagala okwo okuviira ddala ku mutima kutuleetera okufuba ennyo okuba n’endowooza ya Kristo, so si ey’ensi eno. Okuba n’endowooza ya Kristo kikyusa engeri gye tuyisaamu abalala—bakkiriza bannaffe n’abantu abalala. (Abaggalatiya 5:25) Ng’ekyokulabirako: bwe tuba n’endowooza ya Kristo kituyamba okwewala okwesasuza.—1 Peetero 2:21-23.
“Ka Okwagala Kwammwe Kuleme Kubaamu Bukuusa”
7. Kwagala kwa ngeri ki okwogerwako mu Abaruumi essuula 12?
7 Twewala okwesasuza olw’okuba kituufu okukikola era kiraga okwagala. Weetegereze ensonga omutume Pawulo gy’awa eyandituleetedde okulaga okwagala. Mu kitabo ky’Abaruumi, Pawulo akozesa ekigambo “okwagala” (mu Luyonaani a·gaʹpe) enfunda eziwera ng’ayogera ku kwagala kwa Katonda n’okwa Kristo. (Abaruumi 5:5, 8; 8:35, 39) Kyokka, mu ssuula 12, Pawulo akozesa a·gaʹpe mu ngeri endala—ng’ayogera ku kwagala omuntu kw’alaga muntu munne. Bw’amala okugamba nti ebirabo by’omwoyo bya njawulo era nti abakkiriza abamu baali babirina, Pawulo ayogera ku ngeri Abakristaayo bonna gye balina okuba nayo. Agamba: “Ka okwagala kwammwe kuleme bubaamu bukuusa.” (Abaruumi 12:4-9, NW) Okwagala abalala kabonero akaawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Makko 12:28-31) Ng’Abakristaayo, Pawulo atukubiriza okulaga okwagala okutaliimu bukuusa.
8. Tuyinza tutya okulaga okwagala okutaliimu bukuusa?
8 Ate era, Pawulo alaga engeri okwagala okutaliimu bukuusa gye kulagibwamu, ng’agamba nti: “Mukyayire ddala obubi, munywerere ku kirungi.” (Abaruumi 12:9, NW) ‘Okukyayira ddala’ ne ‘okunywerera’ bigambo bya maanyi. ‘Okukyayira ddala’ kiyinza okukyusibwa nga, ‘obutayagalira ddala.’ Ebyo ebiva mu bubi si bye tulina obutayagalira ddala byokka wabula n’obubi bwe nnyini. (Zabbuli 97:10) Ekigambo ‘okunywerera’ kiva mu ky’Oluyonaani ekitegeeza “okwekwata.” Omukristaayo alina okwagala okwa nnamaddala yeekwata, oba anywerera, ku kirungi era n’efuuka nkola ye mu bulamu.
9. Kubuulirira ki Pawulo kw’addamu enfunda n’enfunda?
9 Enfunda n’enfunda Pawulo ayogera ku ngeri okwagala gye kusobola okulagibwamu. Agamba: “Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga.” “Temuwalananga muntu kibi olw’ekibi.” “Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa.” “Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw’obulungi.” (Abaruumi 12:14, 17-19, 21) Ebigambo bya Pawulo ebyo biraga bulungi engeri gye tulina okuyisaamu abatali bakkiriza, n’abo abatuyigganya.
“Musabirenga Ababayigganya”
10. Tusabira tutya abatuyigganya?
10 Tusobola tutya okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okugamba nti: “Musabirenga ababayigganya”? (Abaruumi 12:14) Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya.” (Matayo 5:44; Lukka 6:27, 28) N’olwekyo, tusabira abatuyigganya nga twegayirira Yakuwa abayambe okutegeera amazima bwe baba nga batuwakanya mu butamanya. (2 Abakkolinso 4:4) Kyo kituufu nti okusabira abatuyigganya kiyinza okulabika ng’ekitasaana. Kyokka, gye tukoma okuba n’endowooza ya Kristo, gye tukoma okulaga abalabe baffe okwagala. (Lukka 23:34) Kiki ekiyinza okuva mu kulaga okwagala ng’okwo?
11. (a) Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Suteefano? (b) Okusinziira ku byatuuka ku Pawulo, nkyukakyuka ki abamu ku balabe ze bayinza okukola?
11 Suteefano yasabira abamuyigganya, era essaala ye teyagwa butaka. Nga waakayita ekiseera kitono ng’olunaku lwa Pentekoote 33 C.E. luwedde, abalabe b’ekibiina Ekikristaayo baakwata Suteefano, ne bamutwala ebweru wa Yerusaalemi, ne bamukuba amayinja. Nga tannafa, yakaaba n’eddoboozi eddene nti: “Mukama wange, tobabalira kibi kino.” (Ebikolwa 7:58–8:1) Omu ku abo Suteefano be yasabira yali Sawulo, eyaliwo era eyawagira okutemulwa kwa Suteefano. Oluvannyuma, Yesu eyali yazuukizibwa yalabikira Sawulo. Omusajja oyo eyali omulabe oluvannyuma yafuuka omugoberezi wa Kristo era ye mutume Pawulo, eyawandiika ebbaluwa y’Abaruumi. (Ebikolwa 26:12-18) Kirabika nti olw’okusaba kwa Suteefano, Yakuwa yasonyiwa Pawulo olw’okuyigganya abantu be. (1 Timoseewo 1:12-16) Tekyewuunyisa nti Pawulo yakubiriza Abakristaayo nti: “Musabirenga ababayigganya”! Ekyali kimutuuseeko kyamulaga nti abalabe abamu bayinza okufuuka abaweereza ba Katonda. Ne mu kiseera kyaffe, abamu ku baali abalabe bafuuse abakkiriza olw’okuba abaweereza ba Yakuwa bantu ba mirembe.
“Mutabaganenga n’Abantu Bonna”
12. Okubuulirira okuli mu Abaruumi 12:9, 17 kukwatagana kutya?
12 Ng’ayogera ku ngeri abakkiriza n’abatali bakkiriza gye balina okuyisibwamu Pawulo agamba nti: “Temuwalananga muntu kibi olw’ekibi.” Ebigambo ebyo bikwatagana bulungi n’ebyo bye yali ayogedde nti: “Mukyayire ddala obubi.” Ggwe ate omuntu ayinza atya okugamba nti akyayira ddala obubi ng’ate yeesasuza abo ababa bamukoze ekibi? Bw’akola bw’atyo aba talaze ‘kwagala okutaliimu bukuusa.’ Eno ye nsonga lwaki Pawulo agamba nti: “Mukolenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna.” (Abaruumi 12:9, 17, NW) Ebigambo ebyo tusobola tutya okubikolerako?
13. Tusaanidde kweyisa tutya “mu maaso g’abantu bonna”?
13 Emabegako, mu bbaluwa ye eri Abakkolinso, Pawulo yawandiika ku kuyigganyizibwa abatume kwe baayolekagana nakwo. Yagamba: “Twafuuka ekyerolerwa ensi ne bamalayika n’abantu. . . . bwe tuvumibwa, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza; bwe tuwaayirizibwa, twegayirira.” (1 Abakkolinso 4:9-13) Mu ngeri y’emu, Abakristaayo ab’amazima leero batunuulirwa nnyo abantu b’ensi eno. Abantu be tubeeramu bwe balaba ebirungi bye tukola wadde nga ffe tuyisibwa bubi, bayinza okusikirizibwa okuwuliriza amawulire amalungi.—1 Peetero 2:12.
14. Tusaanidde kufuba kyenkana wa okusobola okutabagana n’abalala?
14 Naye, tulina kufuba kyenkana wa okusobola okutabagana n’abalala? Tulina okukola buli kye tusobola. Pawulo agamba baganda be Abakristaayo nti: ‘Oba nga kiyinzika, bwe kiba nga kiri gye muli, mutabaganenga n’abantu bonna.’ (Abaruumi 12:18, NW) Ebigambo “oba nga kiyinzika” ne “bwe kiba kiri gye muli” biraga nti oluusi kiyinza obutasoboka kutabagana n’abalala. Ng’ekyokulabirako, tetuggya kumenya tteeka lya Katonda tusobole okutabagana n’omuntu. (Matayo 10:34-36; Abaebbulaniya 12:14) Wadde kiri kityo, tufuba okutabagana “n’abantu bonna,” naye nga tetumenye misingi mitukuvu.
“Temuwalananga Mwekka Ggwanga”
15. Nsonga ki eri mu Abaruumi 12:19 etugaana okwesasuza?
15 Pawulo awa ensonga endala ennungi lwaki tetusaanidde kwesasuza; kiba kiraga obwetoowaze. Agamba: “Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Mukama.” (Abaruumi 12:19) Omukristaayo bw’agezaako okwesasuza abeera yeetulinkiriza. Yeewa obuvunaanyizibwa okukola ekyo Katonda ky’ateekwa okukola. (Matayo 7:1) Ng’oggyeko ekyo, omuntu okutwalira amateeka mu ngalo kiraga obutakkiririza mu Yakuwa kye yasuubiza nti: “Nze ndisasula.” Ku luuyi olulala, Abakristaayo ab’amazima bakakafu nti Yakuwa ajja ‘kusala omusango mu bwenkanya ku lw’abalonde be.’ (Lukka 18:7, 8, NW; 2 Abasessaloniika 1:6-8) Balaga obwetoowaze ng’eby’okwesasuza babirekera Katonda.—Yeremiya 30:23, 24; Abaruumi 1:18.
16, 17. (a) ‘Okukumira amanda g’omuliro’ ku mutwe gw’omuntu kitegeeza ki? (b) Wali olabye omuntu atali mukkiriza ng’agonda olw’okumukolera ebikolwa ebirungi? Bwe kiba kityo, waayo ekyokulabirako.
16 Okwesasuza kiyinza okwongera omulabe okuba omukakanyavu, so ng’ate okumuyisa obulungi kiyinza okumugonza. Lwaki? Weetegereze ebigambo bya Pawulo eri Abakristaayo b’omu Ruumi. Agamba: “Omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta, munywesenga: kubanga bw’okola bw’otyo, olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.” (Abaruumi 12:20; Engero 25:21, 22) Kino kitegeeza ki?
17 ‘Okukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe’ lulimi lwa kabonero oluva ku ngeri gye baasaanuusangamu ebintu nga ffeeza ne zaabu mu biseera Baibuli we yawandiikirwa. Okubisaanuusa, baateekanga amanda agokya wansi wabyo ne waggulu. Amanda ge baabikumangako waggulu gabyokyanga ne bisaanuuka, era ne byeyawula ku bikyafu ebyabangamu. Mu ngeri y’emu, omulabe bw’omuyisa obulungi kiyinza “okusaanuusa” obukakanyavu bwe n’asobola okujjayo engeri ze ennungi. (2 Bassekabaka 6:14-23) Mu butuufu, bangi mu kibiina Ekikristaayo, ekyasookera ddala okubasikiriza eri okusinza okw’amazima by’ebikolwa ebirungi abaweereza ba Yakuwa bye baabakolera.
Ensonga Lwaki Tetwesasuza
18. Lwaki obuteesasuza kituufu, era kiraga okwagala n’obuwombeefu?
18 Bye tulabye mu bufunze mu Abaruumi essuula 12, biraga ensonga ennungi lwaki ‘tetuwalana muntu kibi olw’ekibi.’ Esooka, kiba kituufu obuteesasuza. Olw’ekisa Katonda ky’atulaze, kiba kituufu era kya magezi okwewa Yakuwa n’okugondera amateeka ge—omuli n’ery’okwagala abalabe baffe. Ey’okubiri, obuteesasuza kiraga okwagala. Bwe twewala okwesasuza ne tutabagana n’abalabe baffe, tuba n’essuubi ery’okuyamba n’abamu ku batuyigganya ennyo okufuuka abasinza ba Yakuwa. Ey’okusatu, okwewala okwesasuza kiraga obwetoowaze. Okwesasuza kiraga okwetulinkiriza kubanga Yakuwa agamba nti: “Nze ndisasula.” Ekigambo kya Katonda era kirabula nti: “Amalala lwe gajja, lwe wajja n’ensonyi: naye amagezi gaba n’abeetoowaza.” (Engero 11:2) Bwe tuleka Katonda okuwoolera eggwanga kiba kiraga nti tuli bawombeefu.
19. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekinaddako?
19 Ng’alaga bwe tusaanidde okuyisa abalala, Pawulo awumbawumbako okubuulirira kwe ng’agamba Abakristaayo nti: “Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw’obulungi.” (Abaruumi 12:21) Bubi ki bwe twolekaganye nabwo leero? Tuyinza tutya okubuwangula? Ebibuuzo bino n’ebirala bijja kuddibwamu mu kitundu ekinaddako.
Osobola Okunnyonnyola?
• Kubuulirira ki okusangibwa ennyo mu Abaruumi essuula 12?
• Kiki ekinaatuyamba obuteesasuza?
• Ffe n’abalala tuganyulwa tutya bwe ‘tutawalana muntu kibi olw’ekibi’?
[Akasanduuko akali ku lupapula 24]
Abaruumi essuula 12 eraga enkolagana y’Omukristaayo ne
• Yakuwa
• Bakkiriza Banne
• Abatali Bakkiriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Kiki kye tuyigira ku muyigirizwa Suteefano?