Sonyiwanga Abalala
“Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga.”—BAK. 3:13.
1, 2. Lwaki tusaanidde okwekebera tulabe obanga ddala tuli beetegefu okusonyiwa abalala?
BAYIBULI etuyamba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku kibi n’engeri gy’awuliramu nga tukoze ekibi. Era Bayibuli eraga nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa. Mu kitundu ekyayita twalaba ensonga lwaki Yakuwa yasonyiwa Dawudi ne Manase. Bombi baanakuwalira ebibi byabwe, ne beenenya, era ne baamalirira obutaddamu kukola bibi ebyo. Olw’okuba beenenya mu bwesimbu, Yakuwa yabasonyiwa.
2 Ate kiri kitya eri ffe? Naffe tuli beetegefu okusonyiwa abalala? Singa waliwo mu kiseera kya Manase, wandiwulidde otya singa ebintu bye yakola byakosa omu ku b’eŋŋanda zo? Wandisobodde okumusonyiwa? Leero, abantu abasinga obungi bamenyi ba mateeka, bakambwe, era beerowoozaako bokka. Lwaki tusaanidde okuba abeetegefu okusonyiwa abalala? Singa oyisibwa bubi oba singa oyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, kiki ekinaakuyamba obutava mu mbeera, okweyisa nga Yakuwa bw’ayagala weeyise, n’okuba omwetegefu okusonyiwa abalala?
LWAKI TULINA OKUSONYIWA ABALALA?
3-5. (a) Lugero ki Yesu lwe yagera okusobola okuyamba abo abaali bamuwuliriza okukiraba nti kikulu nnyo okusonyiwa abalala? (b) Olugero lwa Yesu oluli mu Matayo 18:21-35 lutuyigiriza ki?
3 Tusaanidde okuba abeetegefu okusonyiwa abo abatusobya, ka babe bakkiriza bannaffe oba nga si bakkiriza bannaffe. Bwe tuba abeetegefu okusonyiwa, kituyamba okuba mu mirembe n’ab’omu maka gaffe, ne mikwano gyaffe, n’abantu abalala. Era kituyamba okuba mu mirembe ne Yakuwa. Ebyawandiikibwa biraga nti tusaanidde okusonyiwa abalala ne bwe baba nga batusobezza emirundi mingi. Okusobola okulaba ensonga lwaki kikulu nnyo okusonyiwa abalala, ka twetegereze olugero lwa Yesu olukwata ku muddu mukama we gwe yali abanja.
4 Omuddu oyo mukama we yali amubanja ssente nnyingi era nga kyandimwetaagisizza okumala ennaku 60,000,000 ng’akola okusobola okusasula ebbanja eryo. Kyokka mukama we yamusonyiwa ebbanja eryo. Naye oluvannyuma lw’okumusonyiwa, omuddu oyo yasanga muddu munne gwe yali abanja ssente entono ennyo. Ssente ze yali amubanja omuntu yali asobola okuzikolera mu nnaku 100 zokka. Muddu munne yamwegayirira okugira ng’amugumiikirizaako, naye omuddu gwe baali basonyiye ebbanja eddene n’agaana okumusonyiwa era n’amusibisa mu kkomera. Ekyo omuddu oyo kye yakola kyanyiiza nnyo mukama we. Mukama we yasunguwala nnyo era n’amugamba nti: “Naawe togwanidde kusaasira muddu munno nga nange bwe nnakusaasira?” Oluvannyuma mukama we ‘yamuwaayo eri abakuumi b’ekkomera okumusiba okutuusa lwe yandimaze okusasula ebbanja lyonna.’—Mat. 18:21-34.
5 Olugero lwa Yesu olwo lutuyigiriza ki? Yesu yakomekkereza olugero olwo ng’agamba nti: “Mu ngeri y’emu, ne Kitange ow’omu ggulu bw’alibakola mmwe buli omu bw’atasonyiwa muganda we okuva ku mutima.” (Mat. 18:35) Ffenna tetutuukiridde era emirundi mingi tusobya Yakuwa. Naye Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa, era oluvannyuma lw’okutusonyiwa atutwala ng’abatannakola kibi kyonna. N’olwekyo, bwe tuba twagala okuba mikwano gya Yakuwa tusaanidde okusonyiwa abalala. Bwe yali abuulira ku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Bwe musonyiwa abantu ensobi zaabwe, ne Kitammwe ali mu ggulu ajja kubasonyiwa; naye bwe mutabasonyiwa, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa nsobi zammwe.”—Mat. 6:14, 15.
6. Lwaki oluusi tekiba kyangu kusonyiwa balala?
6 Oyinza okuba ng’okiraba nti kirungi okusonyiwa abalala naye ng’owulira nti oluusi tekiba kyangu kukikola. Ekyo kiri kityo kubanga omuntu bw’atukola ekintu ekibi oluusi tuyinza okuyisibwa obubi ennyo. Tuyinza okuwulira obusungu, oba okuwulira ng’abaliiriddwamu olukwe. Tuyinza n’okwagala omuntu oyo abonerezebwe oba tuyinza okwagala okwesasuza. Mu butuufu ebiseera ebimu tuyinza okunyiiga ennyo ne tutuuka n’okulowooza nti tetusobola kusonyiwa muntu aba atunyiizizza. Bw’oba nga naawe oluusi bw’otyo bw’owulira, kiki ekinaakuyamba okuba omwetegefu okusonyiwa abalala?
TEGEERA ENSONGA EBA EKULEETEDDE OKUNYIIGA
7, 8. Kiki ekiyinza okukuyamba okusonyiwa abo ababa bakunyiizizza?
7 Oluusi omuntu bw’atuyisa obubi oba bwe tulowooza nti omuntu atuyisizza bubi, tuyinza okunyiiga ennyo. Omuvubuka omu ayogera ku ekyo ekyaliwo bwe yanyiiga ennyo: ‘Nnafuluma mu nnyumba era ne ŋŋamba ab’eka nti nnali sigenda kudda. Nnatambula ne ŋŋenda mu kifo ekisirifu era ekirabika obulungi. Okugenda mu kifo ekyo ne mmalayo akaseera, kyannyamba okukkakkana. Oluvannyuma nnaddayo eka nga nneebuuza ensonga eyali endeetedde okunyiiga ennyo bwe ntyo.’ Ng’ekyokulabirako ekyo bwe kiraga, okwewaayo ekiseera okukkakkana kisobola okukuyamba okwewala okukola ekintu ky’oyinza okwejjusa oluvannyuma.—Zab. 4:4; Nge. 14:29; Yak. 1:19, 20.
8 Ate watya singa osigala ng’oli munyiivu oluvannyuma lw’okwewaayo ekiseera okukkakkana? Gezaako okutegeera ensonga eba ekuleetedde okunyiiga. Kyandiba nti oyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya? Oba kyandiba nti olowooza nti omuntu omulala agenderedde bugenderezi kukulumya? Naye ddala ekyo ky’akoze kibadde kibi nnyo? Singa ofuba okutegeera ensonga eba ekuleetedde okunyiiga, ekyo kijja kukuyamba okutegeera ky’osaanidde okukola okusobola okusanyusa Yakuwa. (Soma Engero 15:28; 17:27.) Okufumiitiriza ku bintu ng’ebyo, kisobola okukuyamba okuba omwetegefu okusonyiwa abalala. Wadde ng’ekyo kiyinza obutaba kyangu, Ekigambo kya Katonda kisobola okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu, ekyo ne kikuyamba okukoppa Yakuwa Katonda omwetegefu okusonyiwa.—Beb. 4:12.
WEEWALE OKUNYIIGA AMANGU
9, 10. (a) Kiki omuntu ky’ayinza okukola nga waliwo amunyiizizza? (b) Okwewala okunyiiga amangu n’okuba omwetegefu okusonyiwa abalala kikuganyula kitya?
9 Waliwo ebintu bingi ebiyinza okutuleetera okunyiiga. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’ovuga emmotoka naye omuntu omulala n’abulako katono okukutomera. Kiki ky’onookola? Ekintu ng’ekyo bwe kibaawo, abantu abamu banyiiga nnyo ne batuuka n’okuvuma oba okukuba omuvuzi w’emmotoka abadde abatomedde. Naye Omukristaayo talina kweyisa bw’atyo.
10 Kiba kya magezi okusooka okulowooza ku bintu ebitali bimu nga tonnabaako ky’okolawo. Kiyinzika okuba nga naawe mu ngeri emu oba endala ovunaanyizibwa olw’ekyo ekibaddewo. Oba kiyinzika okuba ng’oyo abadde akutomedde emmotoka ye efunyeemu obuzibu. Ekyokulabirako ekyo kiraga nti tuyinza okwewala okunyiiga amangu singa tugezaako okutegeera ensonga lwaki ekintu ekibi kibaddewo, singa tukijjukira nti tuyinza okuba nga tetumanyi byonna bizingirwamu, era singa tuba beetegefu okusonyiwa. Tusaanidde okwewala okunyiiga amangu. Omubuulizi 7:9 wagamba nti: “Toyanguyiriza mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky’abasirusiru.” Oluusi tuyinza okulowooza nti omuntu agenderedde bugenderezi kutulumya; naye tusaanidde okukijjukira nti olw’okuba omuntu oyo tatuukiridde, naye akola ensobi. Ebiseera ebisinga tuba tetumanyi nsonga yennyini eba ereetedde omuntu okwogera oba okukola ekintu. N’olwekyo, omuntu bw’akunyiiza, ba mwetegefu okumusonyiwa. Ekyo kijja kukuyamba okuba omusanyufu.—Soma 1 Peetero 4:8.
‘EMIREMBE GYO GIKUDDIRE’
11. Kiki kye tusaanidde okukola, abantu be tubuulira ka babe nga batuyisizza bulungi oba bubi?
11 Oyinza otya okwefuga singa omuntu akuyisa bubi ng’obuulira? Yesu bwe yasindika abayigirizwa be 70 okugenda okubuulira, yabagamba okwagaliza emirembe buli nnyumba gye bandiyingiddemu. Yabagamba nti: “Bwe mubaamu omuntu ayagala emirembe, emirembe gyammwe gijja kuba naye. Naye bw’atabaamu, gijja kubaddira.” (Luk. 10:1, 5, 6) Kitusanyusa nnyo abantu bwe bakkiriza obubaka bwaffe, kubanga tukimanyi nti obubaka bwe tubabuulira bujja kubaganyula. Kyokka oluusi abantu be tuba tubuulira bayinza okutuyisa obubi. Ekyo bwe kibaawo, tusaanidde kukola ki? Yesu yagamba nti emirembe gye tuba tubaagalizza gituddire. Abantu ka babe nga batuyisizza bulungi oba bubi, tusaanidde okusigaza emirembe gyaffe. Singa tunyiiga olw’okuba abo be tuba tugenze okubuulira batuyisizza bubi, tusobola okuggwebwako emirembe.
12. Tuyinza tutya okukolera ku bigambo bya Pawulo ebiri mu Abeefeso 4:31, 32?
12 Tokkiriza kintu kyonna kukumalako mirembe, k’obe ng’obuulira oba ng’oli awantu awalala wonna. Wadde ng’osaanidde okusonyiwa abalala, tolina kubikkirira bintu ebibi bye bakola oba okwefuula ng’atalaba kabi kavudde mu nneeyisa yaabwe embi. Bw’osonyiwa abalala, osaanidde okwewala okusigala ng’obasunguwalidde olw’ebintu ebibi bye baakola. Abantu abamu bamalira ebirowoozo byabwe ku bintu ebibi bye baabakola era ekyo ne kibamalako essanyu. Tokkiriza bintu ng’ebyo kukumalako ssanyu. Tosobola kuba musanyufu singa oba osibye ekiruyi. N’olwekyo, beera mwetegefu okusonyiwa abalala!—Soma Abeefeso 4:31, 32.
WEEYISE MU NGERI ESSANYUSA YAKUWA
13. (a) Omukristaayo ayinza atya ‘okutuuma amanda agaaka’ ku mutwe gw’omulabe we? (b) Bwe tweyisa obulungi nga waliwo atuyisizza obubi biki ebiyinza okuvaamu?
13 Ebiseera ebimu oyinza okukiraba nti osobola okuyamba omuntu aba akuyisizza obubi okwagala okutegeera ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Omutume Pawulo yawandiika nti: “‘Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe eky’okulya; bw’aba alumwa ennyonta muwe eky’okunywa; kubanga bw’okola bw’otyo ojja kutuuma amanda agaaka ku mutwe gwe.’ Tokkirizanga kuwangulwa bubi, naye wangulanga obubi ng’okola ebirungi.” (Bar. 12:20, 21) Bw’ofuba okwoleka ekisa wadde ng’abalala bakuyisizza bubi, kiyinza okubaleetera okukyusa endowooza yaabwe n’okwoleka engeri ennungi. Bw’olaga ekisa omuntu aba akunyiizizza oyinza okumusikiriza okwagala okuyiga Bayibuli. Omuntu k’abe ng’akkirizza okuyiga Bayibuli oba nedda, bw’omuyisa mu ngeri ey’ekisa, omuleetera okulowooza ku nsonga lwaki weeyisizza bulungi.—1 Peet. 2:12; 3:16.
14. Omuntu k’abe nga yakuyisa bubi nnyo, lwaki osaanidde okuba omwetegefu okumusonyiwa?
14 Waliwo abantu be tutasaanidde kukolagana nabo. Mu bano mwe muli abo abaakola ebibi eby’amaanyi, ne bagaana okwenenya, era ne bagobebwa mu kibiina. Omuntu eyagobebwa mu kibiina bw’aba ng’ekintu kye yakola kyakuyisa bubi nnyo, kiyinza okukuzibuwalira okumusonyiwa ne bw’aba nga yeenenyezza mu bwesimbu. Singa ekyo kibaawo, oba weetaaga okusaba ennyo Yakuwa akuyambe okusonyiwa omwonoonyi aba yeenenyezza. Ekyo oba weetaaga okukikola kubanga toyinza kumanyira ddala ekyo ekiri mu mutima gw’omuntu oyo. Yakuwa yekka y’asobola okumanya ekyo ekiri mu mutima gw’omuntu oyo. Akebera emitima gy’abantu era agumiikiriza aboonoonyi. (Zab. 7:9; Nge. 17:3) Eyo y’ensonga lwaki Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi. Mufube okukola ebintu ebirungi mu maaso g’abantu bonna. Mukolenga kyonna kye musobola okutabagana n’abantu bonna. Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye muwe obusungu bwa Katonda omwagaanya: kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Yakuwa.’” (Bar. 12:17-19) Tosaanidde kusalira muntu mulala musango. (Mat. 7:1, 2) Naye osaanidde okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kusala omusango mu ngeri ey’obwenkanya.
15. Kiki ekiyinza okutuyamba okusonyiwa omuntu aba yatuyisa obubi?
15 Bw’oba owulira nga kikuzibuwalira okusonyiwa omuntu aba yakuyisa obubi wadde nga yeenenyezza, kiba kikulu okukijjukira nti omuntu oyo naye tatuukiridde. (Bar. 3:23) Yakuwa asaasira abantu bonna olw’okuba akimanyi nti tebatuukiridde. N’olwekyo, kikulu nnyo okusabira omuntu aba yatuyisa obubi. Bwe tusabira omuntu ng’oyo, kiyinza okutuyamba obutasiba kiruyi. Yesu yakiraga nti tetusaanidde kusibira balala kiruyi ne bwe kiba nti baba batuyisizza bubi. Yagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya.”—Mat. 5:44.
16, 17. Kiki ky’osaanidde okukola singa abakadde basalawo nti omwonoonyi yeenenyezza, era lwaki?
16 Yakuwa akwasizza abakadde mu kibiina obuvunaanyizibwa okusalawo obanga omuntu aba yakola ekibi eky’amaanyi yeenenyezza mu bwesimbu oba nedda. Bwe wabaawo omuntu akoze ekibi eky’amaanyi, abakadde tebasobola kumanya byonna ebizingirwamu nga Yakuwa bw’aba abimanyi. Kyokka bwe baba bakola ku nsonga eyo, bagoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda awamu n’obulagirizi bw’omwoyo gwe omutukuvu. Olw’okuba basaba Yakuwa abawe obulagirizi, ekyo kye basalawo kiba kiraga endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga eyo.—Mat. 18:18.
17 Engeri gye tweyisaamu ng’abakadde baliko kye basazeewo esobola okulaga obanga tuli beesigwa eri Yakuwa. Singa abakadde basalawo nti omwonoonyi yeenenyezza mu bwesimbu, onoomusonyiwa era n’okiraga nti okyamwagala? (2 Kol. 2:5-8) Ekyo kiyinza obutaba kyangu naddala singa ekintu omuntu oyo kye yakola kyakukosa oba nga kyakosa omu ku b’eŋŋanda zo. Naye bw’oba nga weesiga Yakuwa era ng’okkiriza nti awa ekibiina kye obulagirizi, ojja kusonyiwa omwonoonyi aba yeenenyezza.—Nge. 3:5, 6.
18. Okuba omwetegefu okusonyiwa abalala kikuganyula kitya?
18 Omuntu bw’atasonyiwa balala kiyinza okumuviirako okulwala, okumuleetera okwennyamira, era abantu bakisanga nga kizibu okukolagana naye. Kyokka okusonyiwa abalala kivaamu emiganyulo mingi. Kiyamba omuntu okuba omulamu obulungi n’okukolagana obulungi n’abalala. N’ekisinga obukulu, okusonyiwa abalala kisobozesa omuntu okuba n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa.—Soma Abakkolosaayi 3:12-14.