“Nsanyukira Nnyo Okujjukizibwa Kwo”
“Byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza.”—ABARUUMI 15:4.
1. Yakuwa atujjukiza atya, era lwaki twetaaga okujjukizibwanga?
YAKUWA ajjukiza abantu be enfunda n’enfunda asobole okubayamba okugumira ebizibu bye boolekagana nabyo mu biseera bino ebizibu. Oluusi, okujjukizibwa okwo bakufuna nga beesomesa Baibuli oba okuyitira mu mboozi n’ebyo abalala bye baddamu mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Bingi ku ebyo bye tusoma oba bye tuwulira mu nkuŋŋaana ezo, tebiba bippya gye tuli. Ebimu ku byo tuba twabiwulirako dda. Okuva bwe kiri nti tutera okwerabira, twetaaga okujjukizibwa buli kiseera ebigendererwa bya Yakuwa, amateeka ge n’ebiragiro bye. N’olw’ensonga eyo, tusaanidde okusiima ebyo Yakuwa by’atujjukiza. Bituyamba obuteerabira ensonga ezaatuviirako okwagala okutambulira mu bulamu obw’okutya Katonda. N’olwekyo, omuwandiisi wa Zabbuli yayogera bw’ati eri Yakuwa: “Nsanyukira nnyo okujjukizibwa kwo.”—Zabbuli 119:24, NW.
2, 3. (a) Lwaki Yakuwa yawandiisa mu Baibuli ebikwata ku bulamu bw’abantu abamu? (b) Baani aboogerwako mu Baibuli be tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
2 Wadde ng’Ekigambo kya Katonda kyawandiikibwa ebyasa bingi emabega, kikyali kya maanyi nnyo. (Abaebbulaniya 4:12) Kitubuulira ebintu ebyatuuka ku bantu aboogerwako mu Baibuli. Wadde ng’obuwangwa n’endowooza abantu ze baalina mu biseera eby’edda bikyuse nnyo, ebizibu bye twolekagana nabyo bifaanagana n’eby’abantu aboogerwako mu biseera ebyo. Ebintu bingi ebyawandiikibwa mu Baibuli okutuganyula byogera ku bantu abaali baagala Yakuwa era abaasigala nga beesigwa gy’ali wadde nga baali mu mbeera enzibu. Ebyawandiikibwa ebirala byogera ku bikolwa Katonda by’akyawa. Yakuwa yawandiisa mu Baibuli ebintu ebyo byonna, kwe kugamba, ebintu ebirungi n’ebibi, asobole okubaako ebintu ebikulu by’atuyigiriza. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira olw’okugumiikiriza n’olw’okusanyusa kw’ebyawandiikibwa.”—Abaruumi 15:4.
3 Ka twekenneenyeyo ebintu bisatu ebyaliwo era ebyogerwako mu Baibuli: ebyo ebyaliwo wakati wa Dawudi ne Sawulo, ebikwata ku Ananiya ne Safira, era ne Yusufu ne mukyala Potifali. Buli kimu ku bino kirina kye kituyigiriza.
Okunywerera ku Nteekateeka za Katonda
4, 5. (a) Mbeera ki eyaliwo wakati wa Kabaka Sawulo ne Dawudi? (b) Dawudi yakola ki nga Sawulo amuyigganya?
4 Kabaka Sawulo teyali mwesigwa eri Yakuwa era ekyo kyamuviirako okuba nga takyasaanira kufuga bantu be. N’olwekyo, Katonda yamugaana era n’alagira nnabbi Samwiri okufuka amafuta ku Dawudi eyali ow’okuba kabaka wa Isiraeri mu biseera eby’omu maaso. Dawudi bwe yeeraga okuba omulwanyi omuzira era abantu ne bamutendereza, Sawulo yatandika okumutwala ng’omulabe we. Emirundi mingi, Sawulo yagezaako okutta Dawudi. Kyokka, emirundi egyo gyonna, Dawudi yasumatuka okuttibwa kubanga Yakuwa yali naye.—1 Samwiri 18:6-12, 25; 19:10, 11.
5 Okumala emyaka mingi, Dawudi yawalirizibwa okudduka n’okwekweka olw’okuba obulamu bwe bwali mu kabi. Bwe yafuna akakisa okutta Sawulo, abo be yali nabo baamukubiriza okumutta nga bagamba nti, Yakuwa amugabudde mu mukono gwe. Kyokka, Dawudi yagaana. Ekyamugaana okumutta kwe kuba nti yali yeesiga Yakuwa era ng’assa ekitiibwa mu kifo Sawulo kye yalina nga kabaka Katonda gwe yali afuseeko amafuta okufuga abantu be. Yakuwa ye yali alonze Sawulo okuba kabaka wa Isiraeri, si bwe kyali? N’olwekyo, Yakuwa ye yandimuggye ku bufuzi bwe yandirabye nga kyetaagisa. Dawudi yakitegeera nti obwo tebwali buvunaanyizibwa bwe. Oluvannyuma lw’okukola kyonna kye yali asobola okukkakkanya obusungu bwa Sawulo, Dawudi yagamba nti: “Mukama ye alimutta; oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo n’azikirira. Mukama akiddize eri nze okugolola omukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta.”—1 Samwiri 24:3-15; 26:7-20.
6. Lwaki kikulu okwekenneenya ebyo ebyaliwo wakati wa Dawudi ne Sawulo?
6 Ekyo ekyaliwo wakati wa Sawulo ne Dawudi tulina kye tukiyigirako. Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki ebizibu ebimu bibaawo mu kibiina Ekikristaayo? Kiyinzika okuba nti waliwo omuntu eyeeyisa mu ngeri etasaanira. By’akola biyinza okuba nga tebigwa mu ttuluba lya bibi eby’amaanyi, naye nga bikuyisa bubi. Wandikoze ki? Olw’okuba omuntu oyo Mukristaayo muno ate nga naawe oyagala okulaga obwesigwa obwo eri Yakuwa, oyinza okusalawo okwogerako naye mu ngeri ey’ekisa, ng’olina ekigendererwa eky’okutereeza ensonga. Ate kiba kitya singa ekizibu kyeyongera bweyongezi mu maaso? Oluvannyuma lw’okukola kyonna ky’osobola, ensonga oyinza okuzireka mu mikono gya Yakuwa. Ekyo kyennyini Dawudi kye yakola.
7. Okufaananako Dawudi, kiki kye twandikoze bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya oba nga tusosolwa?
7 Oyinza okuba ng’oyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya oba ng’ososolwa olw’eddiini yo. Oboolyawo mu kiseera kino tolina ky’oyinza kukolawo okusobola okuvvuunuka ekizibu ekyo. Embeera ng’eyo eyinza okubeera enzibu ennyo okugumiikiriza, naye ekyo Dawudi kye yakola ng’ayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya kirina kye kituyigiriza. Zabbuli Dawudi ze yawandiika tezoogera ku ngeri gye yasabamu Katonda amuwonye kyokka, naye era zoogera ne ku bwesige bwe yalina mu Yakuwa era n’okwagala kwe yalina okw’okugulumiza erinnya lya Katonda. (Zabbuli 18:1-6, 25-27, 30-32, 48-50; 57:1-11) Dawudi yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa wadde nga Sawulo yeeyongera okumuyisa obubi okumala emyaka mingi. Naffe twandisigadde nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’ekibiina kye wadde nga tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya era abantu ka babe nga beeyisa batya. Twandibadde bakakafu nti Yakuwa amanyi bulungi embeera gye tulimu.—Zabbuli 86:2.
8. Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu Mozambique baakola ki, obwesigwa bwabwe eri Yakuwa bwe bwagezesebwa?
8 Abakristaayo ab’omu Mozambique baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kiseera kyaffe, eky’okuba omwesigwa eri Yakuwa mu biseera ebizibu. Mu 1984 ebyalo byabwe byalumbibwanga ekibiina ky’abayeekera. Abayeekera abo babbanga ebintu, baayokyanga amayumba era ne batta n’abantu. Kyalabika nti Abakristaayo abo tebalina kintu kyonna kye baali bayinza kukola kwerwanako. Abatuuze b’omu kitundu ekyo baakakibwa okuyingira amaggye g’abayeekera oba okubawagira mu ngeri endala yonna. Abajulirwa ba Yakuwa baagaana okukola ekyo olw’okuba kyali kikontana n’emisingi egy’Ekikristaayo, era ekyo kyanyiiza nnyo abaserikale abo. Wadde ng’Abajulirwa abawerera ddala 30 battibwa mu kiseera ekyo ekizibu, abantu ba Katonda baasigala nga beesigwa gy’ali.a Okufaananako Dawudi, nabo baagumiikiriza mu mbeera eyo enzibu era oluvannyuma baatuuka ku buwanguzi.
Okujjukizibwa Okulimu Okulabula
9, 10. (a) Tuyinza tutya okuganyulwa mu byokulabirako by’abantu abamu aboogerwako mu Baibuli? (b) Kikyamu ki Ananiya ne Safira kye baakola?
9 Empisa embi ze tusaanidde okwewala zirabikira ku bantu abamu aboogerwako mu Byawandiikibwa. Mazima ddala Baibuli eyogera ku bantu bangi nga mw’otwalidde n’abaweereza ba Katonda abaakola ebintu ebibi era ng’ebyabaviiramu tebyali birungi. (1 Abakkolinso 10:11) Abamu ku bo ye Ananiya ne Safira, abafumbo abaali mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka ekyali mu Yerusaalemi.
10 Oluvannyuma lwa Pentekoote 33 C.E., wajjawo obwetaavu obw’okuyamba abappya abaali basigadde mu Yerusaalemi basole okuyigirizibwa abatume. Abamu ku abo abaali mu kibiina ekyo baatunda ebintu byabwe okusobola okuyamba abo abaali mu bwetaavu. (Ebikolwa 2:41-45) Ananiya ne Safira baatunda ennimiro yaabwe kyokka ne baleetako kitundu butundu ekya ssente ze baali bafunye ne baziwa abatume era ne baagamba nti ezo ze ssente zonna ze baali bafunye mu nnimiro yaabwe. Ananiya ne Safira baali ba ddembe okuwaayo kyonna kye baali basobola, naye ekiruubirirwa kyabwe kyali kibi era tebaali beesigwa. Baayagala okulabika ng’abantu abalungi eri abatume era n’okulabika ng’abakoze eky’amaanyi ennyo. Ng’aluŋŋamiziddwa omwoyo omutukuvu, omutume Peetero yayanika obutali bwesigwa n’obunnanfuusi bwabwe era Yakuwa yabattirawo.—Ebikolwa 5:1-10.
11, 12. (a) Waayo ebyokulabirako ebimu okuva mu Baibuli ebiraga nti kikulu okuba abeesigwa? (b) Miganyulo ki gye tufuna bwe tubeera abeesigwa?
11 Singa tukemebwa okwogera eby’obulimba nga twagala okuwa ekifaananyi nti tuli bantu balungi, kyandibadde kirungi ne tujjukira ebyo ebyatuuka ku Ananiya ne Safira. Tuyinza okulimba bantu bannaffe naye tetuyinza kulimba Yakuwa. (Abaebbulaniya 4:13) Ebyawandiikibwa bitukubiriza entakera okubeera abeesigwa nga tukolagana n’abalala, kubanga abalimba bajja kuzikirizibwa. (Engero 14:2; Okubikkulirwa 21:8; 22:15) Ensonga lwaki tulina okuba abeesigwa kwe kuba nti oyo atumbula obulimba ye Setaani Omulyolyomi.—Yokaana 8:44.
12 Bwe tubeera abeesigwa tufuna emiganyulo mingi. Egimu ku gyo kwe kubeera n’omuntu ow’omunda omulungi era n’abalala okutwesiga. Emirundi mingi Abakristaayo bafunye emirimu oba bawangaalidde ku mirimu gyabwe olw’okubeera abeesigwa. Kyokka omuganyulo ogusingiridde kwe kuba nti, bwe tuba abeesigwa tuba mikwano gya Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.—Zabbuli 15:1, 2.
Okukuuma Empisa Ennongoofu
13. Yusufu yeesanga ng’ali mu mbeera ki, era kiki kye yakola?
13 Yusufu mutabani wa Yakobo yatundibwa mu buddu ng’aweza emyaka 17 egy’obukulu. Oluvannyuma yatwalibwa mu nnyumba ya Potifali, omukulu w’abambowa Omumisiri, era mukazi w’omumbowa oyo yamwegwanyiza. Yayagala okwetaba ne Yusufu, omuvubuka eyali alabika obulungi, era buli lunaku yamwetayirira ng’amugamba nti: “Sula nange.” Yusufu yali wala nnyo n’abantu ab’omu maka ge era nga tewaaliyo muntu yenna amumanyi. Yali asobola okwetaba n’omukazi oyo ne watabaawo muntu yenna akimanya. Kyokka mukyala Potifali bwe yagezaako okumukwata, Yusufu yamwesimatulako n’adduka.—Olubereberye 37:2, 18-28; 39:1-12.
14, 15. (a) Lwaki ebyo ebyatuuka ku Yusufu bya muganyulo nnyo gye tuli? (b) Lwaki omukyala omu Omukristaayo yasiima nnyo okujjukizibwa kwa Katonda?
14 Yusufu yakulira mu maka agatya Katonda, era yali akimanyi nti kikyamu omusajja n’omukazi okwetaba nga si bafumbo. Yagamba nti: “Nyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n’okusobya ku Katonda?” Kiyinzika okuba nti ekyamuleetera okugaana okwenyigira mu kikolwa ekyo kwe kuba nti yali amanyi omutindo Katonda gwe yateerawo abantu mu lusuku Adeni, ogw’okuwasa oba okufumbirwa omuntu omu yekka. (Olubereberye 2:24) Abantu ba Katonda leero basobola okuganyulwa singa bafumiitiriza ku ekyo Yusufu kye yakola ng’ayolekaganye n’embeera eyo. Mu nsi ezimu, abantu bakitwala nti si kikyamu okwetaba nga tebannaba kufumbiriganwa era ekyo kiviirako abavubuka abagaana okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu okusekererwa bannaabwe. Era kya bulijjo abantu abakulu okwenyigira mu bwenzi. N’olwekyo, ebyo Yusufu bye yayitamu bya muganyulo nnyo gye tuli mu kiseera kino. Katonda akyakitwala nti kibi okwenyigira mu bwenzi n’obukaba. (Abaebbulaniya 13:4) Bangi abaali beenyigiddeko mu bikolwa eby’obwenzi bagamba nti si kirungi kubyenyigiramu. Ebimu ku bintu ebibi ebiyinza okuvaamu bwe butaweebwa kitiibwa, okulumizibwa omuntu wo ow’omunda, obuggya, okufuna olubuto lw’oteeyagalidde, n’endwadde ez’obukaba. Ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, omuntu ayenda aba “akola ekibi ku mubiri gwe ye.”—1 Abakkolinso 5:9-12; 6: 18; Engero 6: 23-29, 32.
15 Jenny,b Omujulirwa wa Yakuwa ali obwannamunigina, asiima nnyo okujjukizibwa okuva eri Katonda. Ku mulimu gy’akolera, mukozi munne afaanana obulungi yamwegwanyiza. Bwe yalaba nga Jenny tamufaako, yeeyongera okwoleka ebikolwa ebiraga nti amwegwanyiza. Jenny agamba nti “Nnafuba nnyo okukuuma empisa ennongoofu kubanga kyangu nnyo okwekkiriranya singa omuntu bwe mutafaananya butonde alaga nti akufaako.” Kyokka, yakitegeera nti omusajja oyo yali ayagala kwetaba bwetabi naye nga bwe yali yeetabye n’abakazi abalala. Bwe yawulira ng’atandise okutendewererwa, yasaba Yakuwa amuyambe okusigala nga mwesigwa gy’ali. Jenny yakisanga nti ebintu bye yayiga ng’anoonyereza mu Baibuli ne mu bitabo ebiginnyonnyola byamuyamba okwongera okuguma n’okwekuuma. Ebimu ku byo ebyannyamba, byebyo ebikwata ku Yusufu ne mukyala Potifali. Agamba: “Bwe nkijukira nti njagala nnyo Yakuwa, mba sitya nti nja kukola ekibi eky’amaanyi mu maaso ge.”
Kolera ku Kujjukizibwa kwa Yakuwa!
16. Tuganyulwa tutya bwe tusoma era ne tufumiitiriza ku bulamu bw’abantu aboogerwako mu Baibuli?
16 Ffenna tuyinza okwongera okusiima emitindo gya Yakuwa singa tufuba okumanya ensonga lwaki ebintu ebimu yabiwandiisa mu Baibuli. Kiki kye biyigiriza? Ngeri ki era na ndowooza ki ez’abantu aboogerwako mu Baibuli ze tusaanidde okukoppa oba okwewala? Abantu bangi nnyo boogerwako mu Kigambo kya Katonda. Abo bonna abaagala okuyigirizibwa Katonda bandiganyuddwa singa bafuna amagezi agayinza okubasobozesa okufuna obulamu, era waliwo ne bye basobola okuyigira ku byokulabirako by’abantu Yakuwa be yawandiisa mu Baibuli. Magazini eno ebaddengamu ebitundu ebyogera ku bantu ng’abo era nga bye baakola birina kye bituyigiriza. Lwaki towaayo ebiseera n’obasomako?
17. Otwala otya okujjukizibwa kwa Yakuwa, era lwaki?
17 Nga tuli basanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa afaayo ku abo abafuba okukola by’ayagala! Okufaananako abasajja n’abakazi aboogerwako mu Baibuli, naffe tetutuukiridde. Wadde kiri kityo, tuganyulwa nnyo bwe tusoma ku ebyo ebibakwatako. Bwe tukolera ku ebyo Yakuwa by’atujjukiza, tusobola okwewala okuggwa mu nsobi ez’amaanyi era tuyinza okukoppa ebyokulabirako by’abo abaatambulira mu bugolokofu. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okwogera ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Balina omukisa abo abeekuuma ebyo Yakuwa by’abajjukiza, abamunoonya n’omutima gwonna. Emmeeme yange yakwatanga bye wanzijjukiza; era mbyagala kitalo.”—Zabbuli 119:2, 167, NW.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba akatabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses aka 1996, empapula 160-2.
b Erinnya likyusiddwa.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki kye tusobola okuyigira ku ndowooza Dawudi gye yalina ku Sawulo?
• Ebyo ebikwata ku Ananiya ne Safira bituyigiriza ki?
• Lwaki ebyo ebikwata ku Yusufu bya muganyulo nnyo gye tuli leero?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Lwaki Dawudi teyakkiriza Sawulo attibwe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Kiki kye tuyigira ku Ananiya ne Safira?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Kiki ekyayamba Yusufu obuteenyigira mu bukaba?