Ebbanja Lye Tulina eri Abantu
1 Omutume Pawulo yawulira ng’avunaanyizibwa okubuulira abalala. Yali amanyi nti Yakuwa yakola enteekateeka abantu aba buli kika basobole okulokolebwa okuyitira mu musaayi gw’Omwana We ogw’omuwendo. (1 Tim. 2:3-6) N’olwekyo, Pawulo yagamba: “Abayonaani era ne bannaggwanga, ab’amagezi era n’abasirusiru, bammanja.” Yayagala nnyo era n’anyiikira okusasula ebbanja eryo ng’ababuulira amawulire amalungi.—Bar. 1:14, 15.
2 Okufaananako Pawulo, Abakristaayo ab’amazima leero bakozesa buli kakisa ke bafuna okubuulira baliraanwa baabwe amawulire amalungi. Okuva “ekibonyoobonyo ekinene” bwe kiri okumpi okutuuka, twetaaga okunoonya ab’emitima emyesigwa mu bwangu ddala. Ka okwagala okwa nnamaddala eri abantu kutukubirize okunyiikirira omulimu guno oguwonya obulamu.—Mat. 24:21; Ez. 33:8.
3 Okusasula Ebbanja Lyaffe: Engeri enkulu etusobozesa okutuuka ku bantu, kwe kubuulira nnyumba ku nnyumba. Mu bitundu abantu abasinga obungi gye batasiiba waka, twandiwandiise endagiriro zaabwe era ne tuddayo mu biseera ebirala. Mu ngeri eyo tusobola okutuuka ku bantu bangi. (1 Kol. 10:33) Era tusobola okutuukirira abantu nga tubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi, ku nguudo, mu paaka, mu bifo emmotoka we zisimba oba okukozesa essimu. Tuyinza okwebuuza, ‘Nfuba okukozesa engeri zino zonna okutuusa ku bantu obubaka obw’obulamu?’—Mat. 10:11.
4 Payoniya omu yawulira ng’avunaanyizibwa okutuukirira abantu bonna ab’omu kitundu kye. Mu kitundu ekyo mwalingamu ennyumba emu eyabanga enzigale era nga tewaba muntu. Kyokka, olunaku lumu, payoniya ono bwe yali nga tali mu buweereza bw’ennimiro, yasanga emmotoka mu luggya lw’ennyumba eyo. Ng’akozesa akakisa kano, yagenda n’akuba akade. Omwami yamuggulira ne bakubaganya ebirowoozo era n’ekyavaamu, mwannyinaffe awamu n’omwami we baamukyalira enfunda n’enfunda. Oluvannyuma omwami ono yakkiriza okuyigirizibwa Baibuli era kati waluganda omubatize. Musanyufu olw’okuba mwannyinaffe yawulira ng’avunaanyizibwa okubuulira abalala.
5 Olw’okuba enkomerero eneetera okutuuka, tufube okusasula ebbanja lye tulina eri abantu nga tunyiikira okubuulira.—2 Kol. 6:1, 2.