EKITUNDU EKY’OKUSOMA 10
Osobola ‘Okweyambulako Omuntu ow’Edda’
“Mweyambuleko omuntu ow’edda n’ebikolwa bye.”—BAK. 3:9.
OLUYIMBA 29 Okutuukana n’Erinnya Lyaffe
OMULAMWAa
1. Obulamu bwo bwali butya bwe wali tonnatandika kuyiga Bayibuli?
WALI mu bulamu bwa ngeri ki Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali tebannatandika kukuyigiriza Bayibuli? Bangi ku ffe tetwagala na kulowooza ku bulamu bwe twalimu emabega. Endowooza yaffe n’engeri gye twali tweyisaamu yali etuukana n’emitindo gy’ensi. Mu butuufu, ‘twali tetulina ssuubi era nga tetulina Katonda mu nsi.’ (Bef. 2:12) Naye bwe twatandika okuyiga Bayibuli, obulamu bwaffe bwakyuka!
2. Kiki kye wazuula bwe watandika okuyiga Bayibuli?
2 Bwe watandika okuyiga Bayibuli, wakizuula nti olina Kitaawo ow’omu ggulu akwagala ennyo. Wayiga nti okusobola okusanyusa Yakuwa n’okufuuka omu ku baweereza be, walina okukyusa engeri gye weeyisaamu n’endowooza yo. Ate era walina okuyiga okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa.—Bef. 5:3-5.
3. Okusinziira ku Abakkolosaayi 3:9, 10, kiki Yakuwa ky’ayagala tukole, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi waffe era ye Kitaffe ow’omu ggulu, alina obuyinza okusalawo engeri ab’omu maka ge gye basaanidde okweyisaamu. Nga tetunnabatizibwa, ayagala tufube ‘okweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye.’b (Soma Abakkolosaayi 3:9, 10.) Ekitundu kino kigenda kuyamba abo abaagala okubatizibwa okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebisatu: (1) “Omuntu ow’edda” kye ki? (2) Lwaki Yakuwa ayagala tumweyambuleko? (3) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Ate abo abaamala okubatizibwa ekitundu kino kigenda kubayamba okwewala okweyisa n’okulowooza nga bwe baalowoozanga edda nga tebanneeyambulako muntu ow’edda.
“OMUNTU OW’EDDA” KYE KI?
4. Oyo alina “omuntu ow’edda” yeeyisa atya?
4 Oyo alina “omuntu ow’edda,” aba agoberera okwegomba kw’omubiri gwe, era aba n’endowooza y’ensi ku bintu ebitali bimu. Ayinza okuba nga yeerowoozaako yekka, ng’anyiiga mangu, nga teyeebaza, era nga wa malala. Ayinza okuba ng’alaba ebifaananyi eby’obuseegu, era n’ebintu ebirala ebirimu ebikolwa eby’obugwenyufu oba eby’obukambwe. Kyo kituufu nti omuntu oyo ayinza okuba ng’alina engeri ennungi z’ayoleka, era ng’omuntu we ow’omunda amulumiriza olw’ebintu ebibi by’ayogera oba by’akola. Naye taba mumalirivu kukyusa nneeyisa ye n’endowooza ye.—Bag. 5:19-21; 2 Tim. 3:2-5.
5. Tusobola okwewalira ddala okuba n’endowooza embi mu mutima gwaffe? Nnyonnyola. (Ebikolwa 3:19)
5 Olw’okuba ffenna tetutuukiridde tewali n’omu ku ffe ayinza kwewalira ddala kuba na ndowooza mbi oba na kwegomba kubi mu mutima gwe. Oluusi tuyinza okukola ekintu oba okwogera ekintu oluvannyuma ne tukyejjusa. (Yer. 17:9; Yak. 3:2) Naye bwe tweyambulako omuntu ow’edda, tuba tetukyafugibwa kwegomba kw’omubiri. Tufuuka bantu ba njawulo.—Is. 55:7; soma Ebikolwa 3:19.
6. Lwaki Yakuwa ayagala tweggyemu endowooza enkyamu era twewale okukola ebintu ebibi?
6 Yakuwa ayagala tweggiremu ddala endowooza embi era twewale okukola ebintu ebibi, olw’okuba atwagala nnyo era ayagala tunyumirwe obulamu. (Is. 48:17, 18) Akimanyi nti abo abakola ebintu ebibi beereetako obulumi bungi, era balumya n’abalala. Kimuyisa bubi okulaba nga twereeseeko obulumi era nga tulumizza n’abalala.
7. Okusinziira ku Abaruumi 12:1, 2, kiki buli omu ku ffe ky’alina okusalawo?
7 Abamu ku mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe mu kusooka bayinza okutusekerera nga tufuba okukyusa enneeyisa yaffe. (1 Peet. 4:3, 4) Bayinza okutugamba nti tulina eddembe okukola buli kimu kye twagala, era nti tetusaanidde kukkiriza balala kutusalirawo kya kukola. Naye abo abagaana okukolera ku mitindo gya Yakuwa tebalina ddembe lya nnamaddala. Mu butuufu, baleka ensi efugibwa Sitaani okubasalirawo eky’okukola. (Soma Abaruumi 12:1, 2.) Buli omu ku ffe alina okusalawo obanga anaasigaza omuntu ow’edda afugibwa ekibi, era atuukana n’ensi ya Sitaani, oba anakkiriza Yakuwa okukyusa endowooza ye asobole okuba omuntu omulungi.—Is. 64:8.
OYINZA OTYA ‘OKWEYAMBULAKO’ OMUNTU OW’EDDA?
8. Buyambi ki Yakuwa bw’atuwa okusobola okweggyamu endowooza embi n’okulekayo emize emibi?
8 Yakuwa akimanyi nti kitwetaagisa ekiseera n’okufuba okusobola okweggyamu endowooza embi, n’okulekera awo okukola ebintu ebibi. (Zab. 103:13, 14) Kyokka okuyitira mu Kigambo kye, omwoyo gwe omutukuvu, n’ekibiina kye, Yakuwa atuwa amagezi, atuwa amaanyi, era atuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Oyinza okuba nga naawe olina enkyukakyuka z’akuyambye okukola. Kati ka tulabe ebimu ku bintu by’osobola okukola okusobola okweyongera okweyambulako omuntu ow’edda, osobole okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa.
9. Ekigambo kya Katonda kiyinza kukuyamba kitya?
9 Kozesa Bayibuli okwekebera. Ekigambo kya Katonda kiringa endabirwamu. Kisobola okukuyamba okwekebera n’omanya obanga endowooza yo, enjogera yo, n’enneeyisa yo, bisanyusa Yakuwa. (Yak. 1:22-25) Oyo akusomesa Bayibuli n’Abakristaayo abalala abakulu mu by’omwoyo basobola okukuyamba. Ng’ekyokulabirako, basobola okukozesa Ebyawandiikibwa okukuyamba okumanya ebintu by’okola obulungi n’obunafu bw’olina. Basobola okukuyigiriza engeri gy’osobola okuzuulamu emisingi gya Bayibuli egisobola okukuyamba okuvvuunuka emize emibi. Ate era bulijjo Yakuwa aba mwetegefu okukuyamba. Amanyi bulungi engeri gy’ayinza okukuyambamu; kubanga amanyi ekiri mu mutima gwo. (Nge. 14:10; 15:11) N’olwekyo, musabenga buli lunaku era ba n’enteekateeka ey’okusoma Ekigambo kye buli lunaku.
10. Kiki ky’oyigidde ku ebyo Elie bye yayitamu?
10 Beera mukakafu nti okutambulira ku mitindo gya Yakuwa kye kisingayo obulungi. Byonna Yakuwa by’atugamba okukola bituganyula. Abo abatambulira ku mitindo gye baba n’obulamu obw’amakulu, era bafuna essanyu erya nnamaddala. (Zab. 19:7-11) Ku luuyi olulala, abo abatatambulira ku mitindo gya Yakuwa bafuna ebizibu ebiva mu kwenyigira mu bikolwa eby’omubiri. Lowooza ku Elie. Elie yakuzibwa abazadde abaagala Yakuwa. Naye bwe yali mu myaka egy’obutiini, yafuna emikwano emibi. Yatandika okwenyigira mu mize emibi gamba ng’okukozesa ebiragalalagala, okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, era n’okubba. Elie agamba nti, yafuuka muntu wa busungu. Era agamba nti: “Nnakola buli kintu kyonna kye banjigiriza nti Omukristaayo tasaanidde kukikola.” Naye Elie teyeerabira ebyo bye yali ayize ng’akyali muto. Oluvannyuma yaddamu okuyiga Bayibuli. Yafuba okukola enkyukakyuka era n’abatizibwa mu 2000. Aganyuddwa atya mu kutambulira ku mitindo gya Yakuwa? Agamba nti: “Kati nnina emirembe mu mutima, era nnina omuntu ow’omunda omuyonjo.”c Ebyo bye yayitamu biraga nti abo abatatambulira ku mitindo gya Yakuwa beereetako obulumi. Naye Yakuwa asobola okubayamba okukola enkyukakyuka.
11. Bintu ki Yakuwa by’akyawa?
11 Kyawa ebyo Yakuwa by’akyawa. (Zab. 97:10) Bayibuli egamba nti Yakuwa akyawa “amaaso ag’amalala, olulimi olulimba, n’emikono egiyiwa omusaayi ogutaliiko musango.” (Nge. 6:16, 17) Ate era “akyawa abantu abakola ebikolwa eby’obukambwe era abakuusa.” (Zab. 5:6) Yakuwa akyawa nnyo ebintu ebyo ne kiba nti yatuuka n’okuzikiriza abantu b’omu kiseera kya Nuuwa abaali bayitirizza okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe. (Lub. 6:13) Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Okuyitira mu nnabbi Malaki, Yakuwa yagamba nti akyawa abo abagattululwa ne bakyala baabwe nga beekwasa obusongasonga. Okusinza kw’abantu ng’abo Yakuwa takusiima era ajja kubasalira omusango.—Mal. 2:13-16; Beb. 13:4.
12. Kitegeeza ki ‘okukyawa ekibi’?
12 Yakuwa ayagala ‘tukyawe ebintu ebibi.’ (Bar. 12:9) Ekigambo ‘okukyawa’ kitegeeza obutayagalira ddala kintu, era n’okuwulira nti kikwesisiwaza. Lowooza ku ngeri gye wandiwuliddemu singa bakugamba okulya emmere envundu. Ekyo n’okukirowoozaako obulowooza kiyinza okukuleetera okwesisiwala. Mu ngeri y’emu, n’okulowooza obulowooza ku kukola ekintu Yakuwa ky’agamba nti kibi, kyandibadde kitwesisiwaza.
13. Lwaki tusaanidde okukuuma ebirowoozo byaffe?
13 Kuuma ebirowoozo byo. Ebyo bye tulowoozaako bye tutera okukola. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yatugamba okwewala okulowooza ku bintu ebiyinza okutuviirako okukola ekibi. (Mat. 5:21, 22, 28, 29) Olw’okuba twagala okusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu, kikulu nnyo okweggyamu mu bwangu ekirowoozo ekibi ekiba kitujjidde!
14. Enjogera yaffe eraga ki, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
14 Kozesa bulungi olulimi lwo. Yesu yagamba nti: “Ebyo ebifuluma mu kamwa biva mu mutima.” (Mat. 15:18) Ebyo bye twogera biraga ekyo ekiri mu mutima gwaffe. N’olwekyo weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Nfuba obutalimba wadde ng’okwogera amazima kiyinza okunviiramu ebizibu? Bwe mba ndi mufumbo, nneewala okuzannyirira n’abo be sifaanaganya nabo kikula? Nneewalira ddala okwogera ebintu eby’obugwenyufu? Njogera mu ngeri ey’obukkakkamu nga waliwo annyiizizza?’ Ojja kuganyulwa nnyo bw’onoofumiitiriza ku bibuuzo ebyo. Bye twogera biyinza okugeraageranyizibwa ku mapeesa g’olugoye. Bw’ogasumulula, kikubeerera kyangu okuluggyamu. Mu ngeri y’emu, bwe tufuba okwewala okukozesa ebigambo ebivuma, okulimba, n’okwogera ebintu eby’obugwenyufu, kijja kutwanguyira okweyambulako omuntu ow’edda.
15. Kitegeeza ki okukomerera omuntu waffe ow’edda “ku muti”?
15 Baako ky’okolawo. Omutume Pawulo alina ekyokulabirako kye yakozesa okutulaga obukulu bw’okubaako kye tukolawo okukyusa enneeyisa yaffe. Yagamba nti tulina okukomerera omuntu waffe ow’edda “ku muti.” (Bar. 6:6) Mu ngeri endala, tulina okukoppa Kristo. Yesu yali mwetegefu okukomererwa ku muti olw’okuba yali ayagala okusanyusa Kitaawe. Mu ngeri y’emu, naffe okusobola okusanyusa Yakuwa, tulina okuba abeetegefu okukyusa endowooza n’enneeyisa ebitamusanyusa. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, era n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 17:3; 1 Peet. 3:21) Kijjukire nti Yakuwa tajja kussa mitindo gye gisobole okutuukana n’egyaffe. Mu kifo ky’ekyo ffe tulina okukola enkyukakyuka tusobole okutuukana n’emitindo gye.—Is. 1:16-18; 55:9.
16. Lwaki osaanidde okuba omumalirivu okweyongera okulwanyisa okwegomba okubi?
16 Weeyongere okulwanyisa okwegomba okubi. N’oluvannyuma lw’okubatizibwa, kijja kukwetaagisa okweyongera okulwanyisa okwegomba kw’omubiri. Lowooza ku Maurício. Bwe yali akyali muto, yatandika okwenyigira mu muze ogw’okulya ebisiyaga. Oluvannyuma yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era yakola enkyukakyuka mu bulamu bwe n’abatizibwa mu 2002. Wadde ng’amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa, Maurício agamba nti: “Oluusi nfuna okwegomba okubi.” Naye ekyo Maurício takikkiriza kumumalamu maanyi. Agamba nti: “Kinzizaamu amaanyi okukimanya nti bwe nnwanyisa okwegomba okubi kisanyusa Yakuwa.”d
17. Ekyokulabirako kya Nabiha kikuzzaamu kitya amaanyi?
17 Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe, mu kifo ky’okwesigama ku busobozi bwo. (Bag. 5:22; Baf. 4:6) Tulina okufuba ennyo okusobola okweyambulako omuntu ow’edda, era n’okusigala nga tumweyambuddeko. Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Nabiha. Taata we yamulekawo nga wa myaka mukaaga gyokka. Agamba nti: “Ekintu ekyo kyampisa bubi nnyo.” Nabiha bwe yakula yafuuka muntu wa busungu era yatandika okukukusa ebiragalalagala. Oluvannyuma yakwatibwa n’asibibwa era n’amala emyaka egiwerako mu kkomera. Abajulirwa ba Yakuwa abaagenda okubuulira mu kkomera gye baali bamusibidde baatandika okuyiga naye Bayibuli. Oluvannyuma Nabiha yatandika okukola enkyukakyuka ez’amaanyi. Agamba nti: “Emize egimu gye nnalina gyannyanguyira okwekutulako, naye kyanzibuwalira nnyo okulekera awo okunywa sigala.” Nabiha yalwanyisa omuze ogwo okumala ebbanga erisukka mu mwaka, era oluvannyuma yagwekutulako. Kiki ekyamuyamba? Agamba nti: “Okusingira ddala ekyannyamba kwe kusaba ennyo Yakuwa.” Era agamba nti: “Bwe kiba nti nnasobola okukola enkyukakyuka okusobola okusanyusa Yakuwa, buli omu asobola okuzikola!”e
OSOBOLA OKUTUUKIRIZA EBISAANYIZO BY’OKUBATIZIBWA!
18. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 6:9-11, kiki abaweereza ba Katonda bangi kye basobodde okukola?
18 Mu kyasa ekyasooka, abamu ku basajja n’abakazi Yakuwa be yalonda okufugira awamu ne Kristo baali beenyigira mu mize emibi nga tebannafuuka Bakristaayo. Ng’ekyokulabirako, abamu ku bo baali benzi, balyi ba bisiyaga, era babbi. Kyokka omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwabayamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. (Soma 1 Abakkolinso 6:9-11.) Mu ngeri y’emu leero, Bayibuli eyambye abantu bukadde na bukadde okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe.f Ebayambye okuvvuunuka emize emibi ennyo. Ekyokulabirako kyabwe kiraga nti naawe osobola okuvvuunuka emize emibi, n’otuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa.
19. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
19 Ng’oggyeeko okufuba okweyambulako omuntu ow’edda, abo abaagala okubatizibwa balina okufuba okwambala omuntu omuggya. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri ekyo gye basobola okukikolamu, era n’engeri abalala gye basobola okubayambamu.
OLUYIMBA 41 Wulira Okusaba Kwange
a Okusobola okubatizibwa, tulina okubaako enkyukakyuka ze tukola. Mu kitundu kino tugenda kulaba omuntu ow’edda kye ki, ensonga lwaki tusaanidde okumweyambulako, era n’engeri gye tuyinza okukikolamu. Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri gye tuyinza okweyongera okwambala omuntu omuggya n’oluvannyuma lw’okubatizibwa.
b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: ‘Okweyambulako omuntu ow’edda’ kitegeeza okweggyamu endowooza ezitasanyusa Yakuwa. Ekyo tusaanidde okukikola nga tetunnabatizibwa.—Bef. 4:22.
c Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu—‘Nnali Nneetaaga Okudda eri Yakuwa,’” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 1, 2012.
d Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu—‘Bandaga Ekisa Kingi,’” ekiri mu Watchtower eya Maayi 1, 2012.
e Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu—‘Nnali Muntu Mukambwe Nnyo,’” ekiri mu Watchtower eya Okitobba 1, 2012.
f Laba akasanduuko, “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu.”
g EBIFAANANYI: Omuntu okweggyamu endowooza embi n’okwewala ebikolwa ebibi, kiringa okuggyamu olugoye olukadde.