Okubuulira Abantu nga Tutuukana n’Embeera Zaabwe
“Eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu.”—1 ABAKKOLINSO 9:22.
1, 2. (a) Mu ngeri ki omutume Pawulo gye yali omubuulizi omulungi? (b) Pawulo yayogera ki ekiraga engeri gye yatwalangamu omulimu gwe?
PAWULO yali musajja asobola okwogera n’abayivu, wamu n’abakozi ba weema abaali aba wansi. Ate era yasobolanga okumatiza Abaruumi ab’ebitiibwa n’abantu aba bulijjo ab’omu Firigiya. Ebiwandiiko bye byasikirizanga nnyo Abayonaani abaalinga abeetegefu okuwuliriza endowooza z’abalala, n’Abayudaaya abaalinga abakakanyavu. Yannyonnyolanga ensonga mu ngeri etegeerekeka obulungi era ng’atuukira ddala ku mitima gy’abamuwuliriza. Okusobola okuleetera abamu okukkiririza mu Kristo, yatandikiranga ku bintu bye baali bakkiriziganyako bonna. —Ebikolwa 20:21.
2 Awatali kubuusabuusa omutume Pawulo yali mubuulizi atuukana n’embeera z’abo be yabanga abuulira. (1 Timoseewo 1:12) Yesu ye yamuwa omulimu ‘gw’okulangirira erinnya lya Kristo eri amawanga, bakabaka n’eri abaana ba Isiraeri.’ (Ebikolwa 9:15) Pawulo yatwala atya omulimu guno? Yagamba: “Eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu. Era nkola byonna olw’enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo.” (1 Abakkolinso 9:19-23) Kiki kye tuyigira ku Pawulo ekiyinza okutuyamba okulongoosa mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira n’okuyigiriza?
Pawulo Yatuukiriza Omulimu Ogutaali Mwangu
3. Nga tannafuuka Mukristaayo, Pawulo yayisa atya Abakristaayo?
3 Naye, ddala Pawulo yalina obugumiikiriza n’ekisa alyoke aweebwe omulimu ogwo? N’akatono! Olw’okuba Sawulo (kati ayitibwa Pawulo) yali mu kibiina ky’Abayudaaya bannalukalala, kyamuleetera okuyigganya ennyo abagoberezi ba Kristo. Ng’akyali mu myaka gye egy’obuvubuka, Pawulo yasemba eky’okutta Suteefano. Oluvannyuma yatandika okuwenja Abakristaayo buli wamu. (Ebikolwa 7:58; 8:1, 3; 1 Timoseewo 1:13) Yeeyongera okwogera ebigambo “eby’okukanga n’eby’okutta abayigirizwa ba Mukama waffe.” Kyokka, wadde yali amaze okunoonya abakkiriza mu Yerusaalemi yonna, ekyo tekyamumalira. Yeeyongera okubanoonya n’atuukira ddala ne mu Damasiko.—Ebikolwa 9:1, 2.
4. Nkyukakyuka ki Pawulo ze yalina okukola okusobola okutuukiriza omulimu ogwali gumuweereddwa?
4 Pawulo yakyayira ddala Obukristaayo kubanga yali amanyi nti bujja kwonoona eddiini y’Ekiyudaaya nga bugitabikamu endowooza z’ab’amawanga. Ekyo kyali kityo kubanga Pawulo yali “Mufalisaayo,” amakulu gaakyo nti “omwawule.” (Ebikolwa 23:6) Nga kiteekwa okuba kyamuggya enviiri ku mutwe okukimanya nti Katonda amulonze okubuulira Kristo mu b’Amawanga! (Ebikolwa 22:14, 15; 26:16-18) Kiteeberezeemu, okumugamba okubuulira ab’amawanga ng’ate Abafalisaayo tebakkirizanga kulya na bantu be baatwalanga okuba abakozi b’ebibi! (Lukka 7:36-39) Mazima ddala Pawulo kyali kimwetaagisa okufuba ennyo okukyusa endowooza ye etuukane n’ekyo Katonda ky’ayagala. Katonda ayagala abantu bonna batuuke okulokolebwa. —Abaggalatiya 1:13-17.
5. Tuyinza tutya okugoberera ekyokulabirako kya Pawulo nga tubuulira?
5 Naffe kiyinza okutwetaagisa okukola ekintu kye kimu. Olw’okuba ebitundu bye tubuuliramu birimu abantu aboogera ennimi ez’enjawulo, twetaaga okwekebera n’okufuba okweggyamu engeri zonna ez’obusosoze. (Abaefeso 4:22-24) Engeri gye twakuzibwamu n’ebyo bye twayigirizibwa birina kye bikola ku ndowooza yaffe. Biyinza okutuleetera okuba n’endowooza ezigudde olubege, okubeera abantu abakalambira ku ndowooza zaabwe oba abasosola abalala. Tuteekwa okweggyamu engeri ng’ezo bwe tuba ab’okuyamba abo abalinga endiga. (Abaruumi 15:7) Ekyo kyennyini Pawulo kye yakola. Yakkiriza omulimu ogwamuweebwa ogw’okubuulira ab’amawanga. Olw’okuba okwagala kwe kwamukubirizanga okubuulira, yafuuka omuyigiriza omulungi naffe gwe tusobola okukoppa. Mu butuufu bw’osoma ku buweereza bw’omutume oyo ‘eyatumibwa eri ab’amawanga,’ ojja kulaba nti yeetegerezanga nnyo ebikwata ku abo be yabuuliranga era n’ayogeranga ku bintu ebyatuukananga n’embeera zaabwe.a—Abaruumi 11:13.
Engeri Pawulo Gye Yatuukana n’Embeera ez’Enjawulo ng’Abuulira
6. Kiki ekiraga nti Pawulo yalinga afaayo okumanya ebikwata ku abo be yabuuliranga, era biki ebyavaamu?
6 Pawulo yafangayo nnyo okumanya abantu bye bakkiririzaamu n’ebyo ebibakwatako. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe yali ayogera ne Kabaka Agulipa owokubiri, yakyoleka nti kabaka oyo yali ‘amanyi bulungi empisa z’Abayudaaya n’enjawukana zaabwe.’ Era bye yaddako okwogera naye byali ebyo kabaka oyo bye yali ategeera obulungi. Olw’okuba Agulipa yali ategedde bulungi ebyo Pawulo bye yali amubuulidde, yatuuka n’okumugamba nti: “Oyagala kunsendasenda onfuule Omukristaayo.”—Ebikolwa 26:2, 3, 27, 28.
7. Bwe yali abuulira abantu b’omu Lusitula, kiki Pawulo kye yayogerako?
7 Pawulo era yatuukananga n’embeera y’abo be yabanga abuulira. Weetegereze engeri gye yayogeramu n’abantu b’omu kibuga ky’omu Lusitula ng’abaziyiza okumusinza, n’okusinza Balunabba. Kigambibwa nti abantu abo abaali boogera Oluyikoniyo, tebaali bayivu era nga bakkiririza nnyo mu by’obufumu. Okusinziira ku Ebikolwa by’Abatume 14:14-18, Pawulo yabalaga nti Katonda eyatonda eggulu n’ensi n’ebintu ebirala ye Katonda agwanidde okusinzibwa. Ebyo bye yababuulira byali bitegeerekeka bulungi era kirabika ‘byaziyiza abantu abo okuwaayo ebiweebwayo’ eri Pawulo ne Balunabba.
8. Ne bwe waabangawo ebintu ebimuggye mu mbeera, Pawulo yeeyisanga atya?
8 Olw’okuba Pawulo teyali mutuukirivu, oluusi ebintu ebimu byamuggyanga mu mbeera. Ng’ekyokulabirako, Omuyudaaya ayitibwa Ananiya bwe yalagira abantu okumukuba emimwa, Pawulo yeesanga amuzzeemu bubi. Bwe baamugamba nti azzeemu bubi kabona omukulu, Pawulo yayanguwa mangu okwetonda. (Ebikolwa 23:1-5) Bwe yali mu Asene, “omwoyo gw[a]muluma [“kyamunyiiza,” NW] bwe yalaba ekibuga nga kijjudde ebifaananyi.” Kyokka bwe yali ayogera n’abantu mu Aleyopaago teyakiraga. Mu kifo ky’ekyo yayogera n’Abaasene abo ku bintu bye baali bakkiririzaamu, gamba ng’ekyoto “Kya Katonda Atategeerwa” n’ebigambo by’abagezigezi be baali bamanyi.—Ebikolwa 17:16-28.
9. Pawulo yayogera atya ku bintu eby’enjawulo ng’ayogera n’abantu ab’enjawulo?
9 Bwe yabanga ayogera n’abantu ab’enjawulo, Pawulo yakozesanga obukujjukujju. Yafangayo nnyo ku mpisa y’omu kitundu n’ensonga lwaki abantu b’omu kitundu ekyo beeyisanga bwe batyo. Ng’ekyokulabirako bwe yali awandiikira Abakristaayo mu Rooma, yali akimanyi bulungi nti baali mu kibuga ekikulu eky’ensi kirimaanyi. Ensonga enkulu eyali mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abakristaayo b’omu Rooma yali nti, ekibi kya Adamu kyawangulwa Kristo bwe yatununula. Ebigambo bye yakozesa ng’awandiikira Abakristaayo abo awamu n’abantu abalala byali ebyo ebyandibatuukidde ddala ku mutima.—Abaruumi 1:4; 5:14, 15.
10, 11. Pawulo yakozesanga atya ebyokulabirako ebituukirawo?
10 Kiki Pawulo kye yakolanga bwe yalinga ayagala okunnyonnyola abamuwuliriza ebintu ebizibu ebyogerwako mu Baibuli? Yakozesanga ebyokulabirako eby’ebintu abantu bye baalinga bamanyi obulungi, era nga byangu okutegeera. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yali akimanyi nti Abaruumi bonna bamanyi ebikwata ku buddu. Mu butuufu n’abantu abasinga obungi be yali awandiikira baali bakozesebwa ng’abaddu. N’olwekyo, yakozesa ekyokulabirako ky’omuddu okunnyonnyola kye kyali kitegeeza okuba omuddu w’ekibi oba ow’obutuukirivu.—Abaruumi 6:16-20.
11 Ekitabo ekimu kigamba nti “mu Rooma, omuntu yalinga asobola okuta omuddu oba omuddu yennyini yalinga asobola okuwa mukama we ssente n’amuta n’agenda. Ate era omuddu yateebwanga singa mukama we yabanga amuwonze eri katonda omu.” Omuddu bwe yabanga ayagadde, yalinga asobola okusigala ewa mukama we ne yeeyongera okumuweereza. Pawulo bwe yali awandiikira Abaruumi, yakozesa ekyokulabirako ekyo ng’abannyonnyola kye kitegeeza omuntu okwesalirawo okuba omuddu w’ekibi oba ow’obutuukirivu. Yalaga Abakristaayo b’omu Rooma nti baali basumuluddwa mu kibi era nga mu kiseera ekyo baali baweereza Katonda. Wadde baali basumuluddwa basobole okuweereza Katonda, baali bakyasobola okusalawo okuddamu okuweereza mukama waabwe ow’edda, kwe kugamba ekibi. Ekyokulabirako ekyo ekyangu kyandireetedde Abakristaayo abo okwebuuza nti, ‘Mukama wange y’ani?’
Okukoppa Pawulo
12, 13. (a) Biki bye tusaanidde okukola okusobola okutuuka ku mitima gy’abantu ab’enjawulo be tubuulira? (b) Ggwe biki by’olabye nga bisobola okukuyamba okutuukirira abantu ab’enjawulo ng’obuulira mu kitundu?
12 Okufaananako Pawulo, naffe tuteekwa okwetegereza ebikwata ku bantu ab’enjawulo be tuba tubuulira, era ne twogera ebituukana n’embeera zaabwe, tusobole okutuuka ku mitima gyabwe. Okusobola okuyamba be tubuulira okutegeera obulungi amawulire amalungi, tetwandikomye ku kubakyalira bukyalizi ne tubaako bye tubabuulira, oba okubaako ebitabo bye tubalekera. Naye era kitwetaagisa okutegeera ebibeeraliikiriza, bye baagala ne bye batayagala. Wadde kyetaagisa okufuba kwa maanyi, ababuulizi b’Obwakabaka okwetooloola ensi yonna bakola bwe batyo. Ng’ekyokulabirako, ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa ery’omu Hungary ligamba nti: “Ab’oluganda bassa ekitiibwa mu mpisa z’abantu abava mu mawanga amalala era tebasuubira bantu abo kweyisa nga bo.” Abajulirwa abali mu bitundu ebirala nabo bwe batyo bwe bakola.
13 Mu nsi emu ey’omu Buvanjuba bwa Asiya, abantu abasinga obungi bafaayo nnyo ku ngeri gye basobola okwekuuma nga balamu bulungi, okukuza abaana n’okufuna obuyigirize obulungi. Bino bye bintu byennyini ababuulizi b’Obwakabaka mu nsi eyo bye boogerako nga babuulira abantu, mu kifo ky’okwogera ku bizibu ebirala ebiruma abantu mu nsi endala. Era n’ababuulizi mu kibuga ekimu eky’omu Amerika baakyetegereza nti abantu b’omu kitundu ekimu kye babuuliramu, balina ebizibu ebibeeraliikiriza ennyo, gamba ng’obulyi bw’enguzi, omujjuzo gw’ebidduka ku nguudo, n’obumenyi bw’amateeka. Abajulirwa abo bakizudde nti basobola okutandika okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku Baibuli nga boogera ku bintu ebyo byennyini. N’olwekyo, abasomesa ba Baibuli abalungi, ka kibeere ki kye baba basazeewo okwogerako, bakozesa ebigambo ebizzaamu abantu amaanyi, ne babalaga obukulu bw’okukolera ku misingi gya Baibuli mu kiseera kino era n’ebisuubizo bya Katonda ebikwata ku biseera eby’omu maaso.—Isaaya 48:17, 18; 52:7.
14. Nnyonnyola bye tuyinza okukola nga tusanze abantu ab’embeera ez’enjawulo nga tubuulira.
14 Ate era okuva bwe kiri nti abantu balina empisa z’obuwangwa za njawulo, obuyigirize bwa njawulo, era nga n’amadiini gaabwe ga njawulo, kiba kya muganyulo okukyusakyusa mu ngeri gye tubatuusaako obubaka bwe tubabuulira. Ennyanjula gye tukozesa nga tusanze abantu abakkiririza mu Mutonzi naye nga tebakkiririza mu Baibuli ejja kwawukana ku eyo gye tunaakozesa nga tusanze abantu abagamba nti Katonda taliiyo. Ennyanjula gye tukozesa nga tusanze omuntu alina endowooza nti ebitabo byonna ebikubibwa amadiini bibuzaabuza ejja kuba ya njawulo ku eyo gye tukozesa nga tusanze omuntu akkiririza mu Baibuli. Ate era bwe tusanga abantu abalina obuyigirize obw’enjawulo, twandyogedde nabo mu ngeri etuukana n’obuyigirize bwabwe. Okusobola okuyigiriza obulungi abantu kitwetaagisa okunnyonnyola obulungi era n’okukozesa ebyokulabirako ebituukirawo.—1 Yokaana 5:20.
Okuyamba Ababuulizi Abapya
15, 16. Lwaki waliwo obwetaavu bw’okutendeka ababuulizi abapya?
15 Pawulo teyeemalira ku kulongoosa mu ngeri ye kennyini gye yali ayigirizaamu, naye era yafaayo n’okutendeka abalala abaali bakyali abato, gamba nga Timoseewo ne Tito basobole okufuuka ababuulizi abalungi. (2 Timoseewo 2:2; 3:10, 14; Tito 1:4) Ne leero, obwetaavu obw’okutendeka abalala bukyali bwa maanyi.
16 Mu 1914, waaliwo ababuulizi b’Obwakabaka 5,000 bokka mu nsi yonna. Kyokka, leero abantu nga 5,000 be babatizibwa buli wiiki! (Isaaya 54:2, 3; Ebikolwa 11:21) Abapya bwe beegatta ku kibiina Ekikristaayo, era ne baagala okutandika okubuulira, baba beetaaga okutendekebwa. (Abaggalatiya 6:6) Bwe tuba nga tuyigiriza era nga tutendeka abayigirizwa abapya, tusaanidde okukoppa enkola ya Mukama waffe Yesu.b
17, 18. Tuyinza tutya okuyamba ababuulizi abappya okuggwaamu okutya?
17 Yesu teyalaba bulabi kibiina ky’abantu n’agamba abagoberezi be batandike okubabuulira. Yasooka kubalaga bukulu bw’omulimu gw’okubuulira, era n’abakubiriza okusaba basobole okukola omulimu guno obulungi. Oluvannyuma lw’ekyo, yabakolera enteekateeka zino: omuntu ow’okubuulira naye, aw’okubuulira, n’obubaka obw’okubuulira. (Matayo 9:35-38; 10:5-7; Makko 6:7; Lukka 9:2, 6) Naffe tusobola okukola bwe tutyo. Ka tube nga tutendeka mwana waffe oba omubuulizi omulala yenna atannafuna bumanyirivu, kiba kirungi okukola nga Yesu.
18 Abappya beetaaga okuyambibwa ennyo basobole okufuna obumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka. Mubayambe okuteekateeka ennyanjula ennyangu era ezisikiriza. Bw’oba ogenze n’omubuulizi omuppya mu nnimiro, gwe oba obuulira ennyumba ezisooka asobole okukuyigirako. Kola nga Gidyoni eyagamba banne nti: “Mulabire ku nze, nammwe mukole bwe mutyo.” (Ekyabalamuzi 7:17) Oluvannyuma, muleke abuulire ennyumba eddako. Mwebaze era bwe kiba kyetaagisa mubuulire w’ayinza okulongoosaamu.
19. Kiki ky’oteeseteese okukola okusobola ‘otuukiriza obuweereza bwo mu bujjuvu’?
19 Okusobola ‘okutuukiriza obuweereza bwaffe,’ kitwetaagisa okukozesa ennyanjula ez’enjawulo ezituukana n’embeera z’abantu be tuba tusanze, n’okutendeka ababuulizi abappya okukola kye kimu. Olw’okuba ekigendererwa kyaffe ekikulu kwe kuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda basobole okulokolebwa, kikulu nnyo okufuuka byonna “mu byonna [tulyoke tulokolenga] abamu.”—2 Timoseewo 4:5; 1 Abakkolinso 9:22.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusobola okumanya ezimu ku ngeri Pawulo ze yakozesanga ng’abuulira, soma mu Ebikolwa 13:9, 16-42; 17:2-4; 18:1-4; 19:11-20; 20:34; Abaruumi 10:11-15; 2 Abakkolinso 6:11-13.
b Mu kiseera kino, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa byonna birina enkola eya Bapayoniya Okuyamba Abalala. Mu nkola eno, abo abalina obumanyirivu mu kubuulira, n’abo abakola ng’abaweereza ab’ekiseera kyonna, batendeka ababuulizi abatalina bumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira.
Ojjukira?
• Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo mu nga tuli mu buweereza?
• Nkyukakyuka ki ze tusaanidde okukola mu ndowooza yaffe?
• Tuyinza tutya okuzzaamu abantu amaanyi nga tubuulira?
• Kiki ababuulizi abapya kye beetaaga okusobola okufuna obumanyirivu?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 29]
Omutume Pawulo yeetegerezanga ebikwata ku bantu be yabanga abuulira, era n’ayogera ku bintu ebituukana n’embeera yaabwe
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 31]
Yesu yakolera abayigirizwa be enteekateeka zino: omuntu ow’okubuulira naye, aw’okubuulira, n’obubaka obw’okubuulira
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]
Pawulo yasobola okwogera n’abantu ab’enjawulo ng’atuukana n’embeera zaabwe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Ababuulizi abalungi bafaayo ku mpisa z’obuwangwa bw’abantu be baba babuulira
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Ababuulizi abalina obumanyirivu bayamba abappya okweteekerateekera omulimu gw’okubuulira