Yakuwa Ye Mukama Waffe Afuga Byonna!
“Mukama Afuga Byonna Yakuwa gwe nfudde ekiddukiro kyange.”—ZAB. 73:28, NW.
1. Mu bigambo bye ebiri mu 1 Abakkolinso 7:31, Pawulo ensi yagigeraageranya ku ki?
OMUTUME Pawulo yagamba nti: “Embeera y’ensi eno ekyukakyuka.” (1 Kol. 7:31) Kirabika, ensi yali agigeraageranya ku siteegi okuzannyirwa omuzannyo ogulimu ebitundu eby’enjawulo, ng’ekimu bwe kiggwa, abazannyi bava ku siteegi abalala ne baddako.
2, 3. (a) Okusoomoozebwa kw’obufuzi bwa Katonda kuyinza kugeraageranyizibwa ku ki? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?
2 Leero, waliwo omuzannyo omukulu ennyo oguzannyibwa—nga naawe oli omu ku bazannyi! Omuzannyo ogwo okusingira ddala gukwata ku ky’okuba nti Yakuwa Katonda y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Omuzannyo guno gusobola okugeraageranyizibwa mu mbeera eyinza okubaawo mu nsi emu. Mu nsi eyo mulimu gavumenti entongole efuga obulungi abantu. Ate mu kiseera ky’ekimu mulimu n’ekibiina kya bakyewaggula abanyazi, abakambwe, era abatemu. Ekibiina kya bakyewaggula kisoomooza obufuzi obugwanidde okufuga era kyagala okuleetera abantu okujeemera gavumenti yaabwe.
3 Embeera ng’eyo y’eriwo mu butonde bwonna. Waliwo gavumenti ya “Mukama Afuga Byonna Yakuwa” egwanidde okufuga. (Zab. 71:5, NW ) Kyokka waliwo n’ekibiina kya bakyewaggula ekikulemberwa “omubi.” (1 Yok. 5:19) Ekibiina ekyo kisoomooza obufuzi bwa Katonda era kyagala okuleetera abantu okujeemera gavumenti ye. Embeera eno yajjawo etya? Lwaki Katonda akyagireseewo? Buli omu ku ffe asaanidde kukola ki?
Ebintu Ebiri mu Muzannyo
4. Bintu ki ebikulu ebibiri ebiri mu muzannyo oguzannyibwa mu butonde bwonna?
4 Omuzannyo guno oguzannyibwa mu butonde bwonna gulimu ebintu ebikulu bibiri: Obufuzi bwa Yakuwa n’obugolokofu bw’abantu. Mu Byawandiikibwa, Yakuwa atera okuyitibwa “Mukama Afuga Byonna.” Ng’ekyokulabirako, ng’alaga nti obwesige bwe bwonna yali abutadde mu Yakuwa, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mukama Afuga Byonna Yakuwa gwe nfudde ekiddukiro kyange.” (Zab. 73:28, NW ) Waliwo ensonga nnyingi lwaki Yakuwa Katonda agwanidde okuyitibwa Oyo Ali Waggulu Ennyo.—Dan. 7:22.
5. Lwaki tusaanidde okuwagira obufuzi bwa Yakuwa?
5 Ng’Omutonzi, Yakuwa ye Mufuzi w’ensi n’obutonde bwonna. (Soma Okubikkulirwa 4:11.) Yakuwa era ye Mulamuzi waffe, Muteesi w’Amateeka, era Kabaka waffe. (Is. 33:22) Olw’okuba Katonda ye yatutonda era y’abeesaawo obulamu bwaffe, tusaanidde okumutwala nga Mukama waffe Afuga Byonna. Tujja kusobola okuwagira obufuzi bwe singa bulijjo tukijjukira nti “[Yakuwa] yanyweza entebe ye mu ggulu; n’obwakabaka bwe bufuga byonna.”—Zab. 103:19; Bik. 4:24.
6. Obugolokofu kye kiki?
6 Okusobola okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, kitwetaagisa okukuuma obugolokofu bwaffe. “Obugolokofu” kwe kubeera n’empisa ennungi oba okwemalira ku Yakuwa. Omuntu akuuma obugolokofu aba taliiko kya kunenyezebwa era aba mutuukirivu. Omusajja ow’edda Yobu bw’atyo bwe yali.—Yob. 1:1.
Engeri Omuzannyo gye Gwatandikamu
7, 8. Sitaani yaleetawo atya okubuusabuusa obanga Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna?
7 Emyaka egisukka mu 6,000 egiyise, waliwo ekitonde eky’omwoyo ekyaleetawo okubuusabuusa obanga Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Ebigambo ekitonde ekyo bye kyayogera awamu n’ebikolwa byakyo byalaga nti kyali kyagala okusinzibwa. Ekitonde ekyo kyasendasenda abantu ababiri abaasooka, Adamu ne Kaawa, okujeemera obufuzi bwa Katonda era kyagezaako okusiiga erinnya lya Yakuwa enziro nga kigamba nti mulimba. (Soma Olubereberye 3:1-5.) Ekitonde ekyo kyafuuka Omulabe omukulu, Sitaani (Omuziyiza), Omulyolyomi (Omuwaayiriza), omusota (omulimba), era ogusota (omussi).—Kub. 12:9.
8 Sitaani yeefuula omufuzi awakanya obufuzi bwa Katonda. Mu mbeera ng’eno, Mukama Afuga Byonna Yakuwa yandikoze ki? Yandizikiririzzaawo abajeemu abo abasatu—Sitaani, Adamu, ne Kaawa? Kituufu nti ekyo yali asobola okukikola, era ekyo kyandiraze bulungi nti Yakuwa y’asinga amaanyi mu butonde bwonna. Era kyandiraze nti byonna Yakuwa bye yali ayogedde ebyandivudde mu kujeemera etteeka lye byali bituufu. Lwaki Katonda teyabazikiririzaawo?
9. Kubuusabuusa ki Sitaani kwe yaleetawo?
9 Ng’alimba era ng’agezaako okuggya Adamu ne Kaawa ku Katonda, Sitaani yaleetawo okubuusabuusa obanga abantu bagwanidde okugondera Yakuwa. Ate era, mu kusendasenda abantu ababiri abaasooka okujeemera Katonda, Sitaani yaleetawo okubuusabuusa obanga ebitonde byonna ebitegeera bisobola okunywerera ku Katonda. Ng’ebyo ebyatuuka ku Yobu, omusajja eyanywerera ku bufuzi bwa Yakuwa, bwe biraga, Sitaani yali ng’agamba nti asobola okuggya abantu bonna ku Katonda.—Yob. 2:1-5.
10. Katonda obutakolerawo kiraga nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, kiwadde kakisa ki?
10 Yakuwa obutakolerawo kiraga nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna n’obutazikiririzaawo Sitaani, awadde Sitaani akakisa okulaga obanga ebyo bye yayogera byali bituufu. Era Katonda awadde abantu akakisa okukyoleka nti bawagira obufuzi bwe. Kiki ekibaddewo ekiseera bwe kigenze kiyitawo? Sitaani ataddewo ekibiina kya bakyewaggula ekinene. Kyokka Yakuwa ajja kuzikiriza ekibiina ekyo awamu n’Omulyolyomi; olwo kijja kweyolekera ddala nti Katonda y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Yakuwa Katonda yali amanyi bulungi nti mu kulekawo obujeemu obwo kyandivuddemu ebirungi, era ekyo yakiragulako ng’obujeemu obwo bwakabaawo mu Adeni.—Lub. 3:15.
11. Abantu bangi bakoze ki okulaga nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa?
11 Waliwo abantu bangi abakiraze nti balina okukkiriza era ne bakuuma obugolokofu bwabwe, nga balaga nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa era nti baagala erinnya lye litukuzibwe. Mu abo mwe muli Abbeeri, Enoka, Nuuwa, Ibulayimu, Saala, Musa, Luusi, Dawudi, Yesu, abayigirizwa ba Kristo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, awamu n’abo abaliwo leero. Abantu ng’abo bakoze kinene mu kulaga nti Sitaani mulimba era n’okuggya enziro Omulyolyomi gye yasiiga ku linnya lya Yakuwa ng’agamba nti asobola okuggya abantu bonna ku Katonda.—Nge. 27:11.
Tumanyi Engeri Omuzannyo gye Gunaakomekkerezebwamu
12. Lwaki tuli bakakafu nti Katonda tajja kukkiriza bubi kubaawo emirembe gyonna?
12 Tuli bakakafu nti Yakuwa anaatera okulaga nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Tajja kuleka bubi kubaawo mirembe gyonna era tukimanyi nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma. Yakuwa yaleeta Amataba n’azikiriza ababi. Yazikiriza ebibuga Sodomu ne Ggomola era yazikiriza Falaawo awamu n’eggye lye. Sisera n’eggye lye, Sennakeribu awamu n’eggye lya Busuuli tebaasobola kuwangula Muyinza w’Ebintu Byonna. (Lub. 7:1, 23; 19:24, 25; Kuv. 14:30, 31; Balam. 4:15, 16; 2 Bassek. 19:35, 36) N’olwekyo tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa Katonda tajja kukkiriza linnya lye kuvumibwa mirembe gyonna era tajja kukkiriza Bajulirwa be kweyongera kunyigirizibwa. Ate era, tulaba akabonero ak’okubeerawo kwa Yesu n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.—Mat. 24:3.
13. Tuyinza tutya okwewala okuzikirizibwa awamu n’abalabe ba Yakuwa?
13 Okusobola okwewala okuzikirizibwa awamu n’abalabe ba Katonda, tulina okunywerera ku bufuzi bwa Yakuwa. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Tukikola nga tufuba obutaba na kakwate konna na bufuzi bwa Sitaani obubi era nga tetukkiriza kutiisibwatiisibwa bagoberezi be. (Is. 52:11; Yok. 17:16; Bik. 5:29) Bwe tukola tutyo, tuba tuwagira obufuzi bwa Kitaffe ow’omu ggulu era tuba n’essuubi ery’okuwonyezebwawo Yakuwa bw’aliba atukuza erinnya lye era bw’aliba akiraga nti ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna.
14. Bintu ki ebyogerwako mu bitundu bya Baibuli ebitali bimu?
14 Ebintu ebikwata ku lulyo lw’omuntu ne ku bufuzi bwa Yakuwa byogerwako mu Baibuli yonna. Essuula essatu ezisooka mu Baibuli zoogera ku kutondebwa kw’ebintu n’engeri omuntu gye yagwa mu kibi, ate nga zo essuula essatu ezisembayo ziraga engeri ebizibu ebyava mu kibi gye bijja okumalibwawo. Essuula endala eza Baibuli ziraga ekyo Mukama Afuga Byonna Yakuwa ky’akoze okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye eri olulyo lw’omuntu, ensi, awamu n’obutonde bwonna. Ekitabo ky’Olubereberye kiraga engeri Sitaani n’obubi gye byayingira mu nsi, ate zo essuula ezisembayo mu kitabo ky’Okubikkulirwa ziraga engeri obubi gye bujja okumalibwawo, engeri Omulyolyomi gy’ajja okuzikirizibwamu, n’engeri ebyo Katonda by’ayagala gye bijja okukolebwa mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Mu butuufu, Baibuli eraga engeri ekibi n’okufa gye byajjawo era eraga n’engeri gye bijja okumalibwawo ku nsi, olwo ensi ejjule abantu abagolokofu era abasanyufu emirembe gyonna.
15. Buli omu ku ffe asaanidde kukola ki okusobola okuganyulwa ng’omuzannyo ogukwata ku bufuzi gukomekkerezeddwa?
15 Mu kiseera ekitali kya wala embeera y’ensi eno egya kukyukira ddala. Omuzannyo ogukwata ku bufuzi ogumaze ebyasa n’ebyasa nga guzannyibwa gujja kukomekkerezebwa. Sitaani ajja kuggibwa ku siteegi, oluvannyuma azikirizibwe, olwo Katonda by’ayagala bikolebwe mu nsi. Kyokka okusobola okuganyulwa mu nkyukakyuka eno awamu n’emikisa egyogerwako mu Kigambo kya Katonda, tulina okuwagira obufuzi bwa Yakuwa kati. Tetusobola kubeera awo nga tetuliiko ludda lwe tuwagira. Okusobola okugamba nti: ‘Yakuwa ali ku ludda lwange,’ naffe tulina okusigala ku ludda lwe.—Zab. 118:6, 7.
Tusobola Okukuuma Obugolokofu!
16. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti abantu basobola okukuuma obugolokofu bwabwe eri Katonda?
16 Tusobola okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’okukuuma obugolokofu bwaffe, kubanga omutume Pawulo yagamba nti: “Okukemebwa kwonna okubatuukako kwe kwo okutuuka ku bantu bonna. Naye Katonda mwesigwa, tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira, naye bwe mukemebwa ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.” (1 Kol. 10:13) Okukemebwa Pawulo kw’ayogerako kuva ku ki, era Katonda atuteerawo atya obuddukiro?
17-19. (a) Bikemo ki Abaisiraeri bye baagwaamu nga bali mu ddungu? (b) Lwaki tusobola okukuuma obugolokofu bwaffe eri Yakuwa?
17 Ng’ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri nga bali mu ddungu bwe biraga, “okukemebwa” kusobola okuva ku mbeera eziyinza okutuleetera okumenya amateeka ga Katonda. (Soma 1 Abakkolinso 10:6-10.) Abaisiraeri baali basobola okuziyiza okukemebwa, naye beegomba “ebintu ebibi” Yakuwa bwe yabawa obunyonyi obuyitibwa obugubi mu ngeri ey’ekyamagero bwe bandiridde okumala omwezi mulamba. Wadde ng’Abaisiraeri baali bamaze ebbanga ddene nga tebalya nnyama, Katonda yali abawadde emaanu ebamala okulya. Kyokka baayoleka omululu bwe baali bakuŋŋaanya obugubi.—Kubal. 11:19, 20, 31-35.
18 Emabegako, Musa bwe yali agenze ku Lusozi Sinaayi okuweebwa Amateeka, Abaisiraeri beenyigira mu kusinza ebifaananyi, nga basinza ennyana era nga beenyigira mu bikolwa ebirala ebibi. Baasalawo okwenyigira mu bikolwa ebikyamu olw’okuba Musa teyaliiwo kubaziyiza kubikola. (Kuv. 32:1, 6) Bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Abaisiraeri bangi baasendebwasendebwa abakazi Abamowaabu ne bakola obwenzi. Ku mulundi ogwo, Abaisiraeri bangi battibwa olw’ekibi ekyo kye baakola. (Kubal. 25:1, 9) Ebiseera ebimu Abaisiraeri beemulugunyanga, era olumu beemulugunya ku Musa ne Katonda kennyini! (Kubal. 21:5) Era Abaisiraeri beemulugunya oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Koola, Dasani, Abiraamu, ne bannaabwe, nga bagamba nti tekyali kya bwenkanya kutta bakyewaggula abo. N’ekyavaamu, Katonda yaleeta kawumpuli eyatta Abaisiraeri 14,700.—Kubal. 16:41, 49.
19 Tewali kikemo na kimu ku ebyo ebyogeddwako waggulu Abaisiraeri kye baali batasobola kuziyiza. Abaisiraeri baagwa mu bikemo ebyo olw’okuba baali tebakyalina kukkiriza era nga beerabidde Yakuwa, engeri gye yali abalabiriddemu, awamu n’amakubo ge ag’obutuukirivu. Okufaananako Abaisiraeri, naffe ebikemo ebitutuukako by’ebyo ebituuka ku bantu bonna. Singa tukola kyonna ekisoboka okubiziyiza era ne twesigama ku Katonda okutuwanirira, tujja kusobola okukuuma obugolokofu bwaffe. Tusobola okukuuma obugolokofu bwaffe kubanga “Katonda mwesigwa” era tatuleka “kukemebwa kusukka ku kye [t]uyinza okugumira.” Yakuwa tayinza kutuleka kukemebwa kutuuka ku kigero omuntu ky’atasobola kugumira.—Zab. 94:14.
20, 21. Bwe tuba tukemebwa, Katonda atuteerawo atya “obuddukiro”?
20 Yakuwa ‘atuteerawo obuddukiro’ ng’atuwa amaanyi ageetagisa okusobola okuziyiza okukemebwa. Ng’ekyokulabirako, abo abatuyigganya bayinza okututulugunya nga baagala twegaane okukkiriza kwaffe. Ekyo kiyinza okutuleetera okwagala okwekkiriranya tusobole okwewala okukubibwa, okutulugunyizibwa, oboolyawo n’okuttibwa. Naye okusinziira ku bigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 10:13, tukimanyi nti okukemebwa kwonna kwe tufuna kuba kwa kaseera buseera. Yakuwa tasobola kutuleka kukemebwa kutuuka ku kigero we tutasobolera kusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Katonda asobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe n’okutuwa amaanyi ageetaagisa okusobola okukuuma obugolokofu bwaffe.
21 Yakuwa atuwa amaanyi ng’ayitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Omwoyo ogwo era gutuyamba okujjukira ebyawandiikibwa bye twetaaga okusobola okuziyiza okukemebwa. (Yok. 14:26) Ekyo kituyamba okusalawo obulungi. Ng’ekyokulabirako, tumanyi ensonga lwaki kikulu okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’okukuuma obugolokofu bwaffe. Okumanya ensonga ezo kiyambye bangi okusigala nga beesigwa eri Katonda okutuukira ddala okufa. Kyokka okufa si kwe kubayamba okufuna obuddukiro, wabula Yakuwa y’abayamba okuguma ne batekkiriranya nga bakemebwa. Mu ngeri y’emu naffe asobola okutuyamba. Ate era Katonda akozesa bamalayika be okutuyamba nga bakola ng’emyoyo egiweereza, “egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.” (Beb. 1:14) Ng’ekitundu ekiddako bwe kiraga, abo bokka abakuuma obugolokofu bwabwe be bajja okufuna enkizo okuwagira obufuzi bwa Katonda emirembe n’emirembe. Tusobola okuba mu bantu abo singa tunywerera ku Yakuwa nga Mukama waffe Afuga Byonna.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki tusaanidde okukkiriza Yakuwa nga Mukama waffe Afuga Byonna?
• Kitegeeza ki okukuuma obugolokofu bwaffe eri Katonda?
• Tumanyira ku ki nti Yakuwa anaatera okulaga nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna?
• Okusinziira ku 1 Abakkolinso 10:13, lwaki tusobola okukuuma obugolokofu bwaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Sitaani yasendasenda Adamu ne Kaawa okujeemera Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Beera mumalirivu okuwagira obufuzi bwa Yakuwa