Okwagala Kutusobozesa Okuba Abavumu
“Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw’okutya, wabula ogw’amaanyi era ogw’okwagala era ogw’okwegenderezanga.”—2 TIMOSEEWO 1:7.
1, 2. (a) Okwagala kuyinza okuleetera omuntu okukola ki? (b) Lwaki obuvumu Yesu bwe yayoleka bwali bwa njawulo?
OMUGOGO gw’abafumbo abaali baakafumbiriganwa baali bawuga nga bwe babbira mu mazzi okumpi n’ekibuga ekiri ku lubalama lw’ennyanja eri mu buvanjuba bwa Australia. Bwe baali babbulukuka mu mazzi, ogwennyanja ogunene gwayolekera omukazi. Mu buzira obw’ekitalo, omwami yasindika eri mukyala we ogwennyanja ne gutta ye mu kifo kya mukyala we. Ku mukolo ogw’okuziika omugenzi, nnamwandu yagamba nti, “Yawaayo obulamu bwe ku lwange.”
2 Mazima ddala, okwagala kuyinza okuleetera abantu okwoleka obuvumu obw’ekitalo. Yesu Kristo yagamba: “Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.” (Yokaana 15:13) Bwe zaali nga tezinnawera ssaawa 24 bukya Yesu ayogera bigambo ebyo, yawaayo obulamu bwe, si ku lwa muntu omu yekka, naye ku lw’abantu bonna. (Matayo 20:28) Ate era, ekikolwa eky’obuvumu Yesu kye yakola, eky’okuwaayo obulamu bwe, tekyabaawo mbagirawo. Yakimanyirawo nti yandisekereddwa, yandiyisiddwa bubi, yandisingisiddwa omusango mu butali bwenkanya era n’attibwa ku muti ogw’okubonyaabonyezebwako. Era yabuulirirawo abayigirizwa be ebyandimutuseeko, ng’agamba: “Laba, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w’omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n’abawandiisi; balimusalira omusango okumutta, balimuwaayo eri ab’amawanga: Balimuduulira, balimuwandira amalusu, balimukuba, balimutta.”—Makko 10:33, 34.
3. Kiki ekyaleetera Yesu okwoleka obuvumu obw’ekitalo?
3 Kiki ekyaleetera Yesu okwoleka obuvumu obw’ekitalo? Okukkiriza n’okutya Katonda bye byasinga okumuleetera okuba omuvumu. (Abaebbulaniya 5:7; 12:2) Kyokka, okusingira ddala obuvumu bwa Yesu bwava ku kwagala kwe yalina eri Katonda ne bantu banne. (1 Yokaana 3:16) Okukkiriza n’okutya Katonda bwe tubigattako okwagala ng’okwo naffe tujja kusobola okwoleka obuvumu ng’obwa Kristo. (Abaefeso 5:2) Tuyinza tutya okukulaakulanya okwagala ng’okwo? Twetaaga okumanya Ensibuko y’okwagala ng’okwo.
“Okwagala Kuva eri Katonda”
4. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yakuwa y’Ensibuko y’okwagala?
4 Yakuwa kwagala era y’Ensibuko y’okwagala. Omutume Yokaana yagamba nti: “Abaagalwa, twagalanenga: kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda. Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:7, 8) N’olwekyo omuntu asobola okuba n’okwagalang’okwa Katonda bw’aba ng’alina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era ng’enkolagana eyo ayinza okugifuna okuyitira mu kutegeera obulungi amazima era n’okugakolerako.—Abafiripi 1:9; Yakobo 4:8; 1 Yokaana 5:3.
5, 6. Kiki ekyayamba abagoberezi ba Yesu abaasooka okuba n’okwagala ng’okwa Kristo?
5 Mu kusaba kwe okwasembayo ng’ali wamu n’abatume be abeesigwa 11, Yesu yalaga akakwate akali wakati w’okumanya Katonda n’okukula mu kwagala bwe yagamba nti: “Nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.” (Yokaana 17:26) Yesu yayamba abayigirizwa be okukulaakulanya okwagala ng’okwo okwaliwo wakati we ne Kitaawe, era okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa yalaga erinnya lya Katonda kye litegeeza, kwe kugamba, engeri za Katonda ez’ekitalo. Bwe kityo, yali asobola okugamba “Alabye ku nze, ng’alabye ku Kitange.”—Yokaana 14:9, 10; 17:8.
6 Okwagala okulinga okwa Kristo kibala kya mwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Abaggalatiya 5:22) Ku Penteekoote 33 C.E., Abakristaayo abaasooka bwe baafuna omwoyo omutukuvu ogwasuubizibwa, tebaakoma ku kujjukira ebintu ebingi Yesu bye yali abayigirizza, naye era beeyongera n’okutegeera Ebyawandiikibwa. Awatali kubuusabuusa okutegeera obulungi ebyawandiikibwa kyabasobozesa okweyongera okwagala Katonda. (Yokaana 14:26; 15:26) Kiki ekyavaamu? Obulamu bwabwe ne bwe bwaba nga buli mu kabi, baabuulira amawulire amalungi n’obuvumu era n’obunyiikivu.—Ebikolwa 5:28, 29.
Obuvumu n’Okwagala Byolesebwa
7. Kiki Pawulo ne Balunabba kye baalina okugumiikiriza nga bali ku lugendo lwabwe olw’obuminsani?
7 Omutume Pawulo yawandiika nti: “Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw’okutya, wabula ogw’amaanyi era ogw’okwagala era ogw’okwegenderezanga.” (2 Timoseewo 1:7) Pawulo yali ayogera ku kintu ekyali kimutuuseeko. Lowooza ku ebyo ebyamutuukako ng’ali ne Balunabba nga bali ku lugendo lwabwe olw’obuminsani. Baabuulira mu bibuga ebitali bimu nga mw’otwalidde Antiyokiya, Ikonio ne Lusitula. Mu buli kibuga abantu abamu baafuuka bakkiriza naye abalala baabaziyiza. (Ebikolwa 13:2, 14, 45, 50; 14:1, 5) Mu Lusitula, ekibinja ky’abantu abaali baswakidde, baakuba Pawulo amayinja ne bamuleka nga balowooza nti afudde! “Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n’ayimirira n’ayingira mu kibuga: ku lunaku olw’okubiri n’agenda ne Balunabba okutuuka e Derube.”—Ebikolwa 14:6, 19, 20.
8. Obuvumu bwa Pawulo ne Balunabba bwayoleka butya okwagala okw’amaanyi kwe baalina eri abantu?
8 Abantu okwagala okutta Pawulo kyamutiisa nnyo awamu ne Balunabba ne kibaviirako okulekera awo okubuulira? N’akatono! Oluvannyuma ‘lw’okufuula abayigirizwa abangi’ mu Derube, abasajja abo ababiri “baakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya.” Lwaki? Okusobola okuyamba abapya okubeera abanywevu mu kukkiriza. Pawulo ne Balunabba baagamba nti, ‘tuteekwa okuyita mu bizibu bingi okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.’ Kya lwatu, obuvumu bwe baayoleka bwava ku kwagala okungi ennyo kwe baalina eri ‘endiga’ za Kristo. (Ebikolwa 14:21-23; Yokaana 21:15-17) Oluvannyuma lw’okulonda abakadde mu bibiina ebippya, ab’oluganda abo ababiri baasaba era, ‘ne babakwasa Mukama gwe bakkiriza.’
9. Abakadde abaava mu Efeso baakwatibwako batya olw’okwagala Pawulo kwe yabalaga?
9 Olw’okuba Pawulo yali muntu afaayo era nga muvumu, kyaviirako Abakristaayo bangi abaasooka okumwagala ennyo. Jjukira ekyo ekyaliwo ku lukuŋŋaana Pawulo lwe yalina n’abakadde abaava mu Efeso, gye yali amaze emyaka esatu ng’ayigganyizibwa nnyo. (Ebikolwa 20:17-31) Oluvannyuma lw’okubakubiriza okulunda ekisibo Katonda kye yali abakwasizza, Pawulo yafukamira n’abo era n’asaba. Awo, “ne bakaaba nnyo bonna, ne bamugwa mu bulago Pawulo ne bamunywegera, nga banakuwala okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba.” Ng’ab’oluganda abo baali baagala nnyo Pawulo! Mazima ddala, ekiseera bwe kyatuuka Pawulo ne munne ‘beewaliriza okubaleka’ olw’okuba abakadde baali tebaagala bagende.—Ebikolwa 20:36–21:1.
10. Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino balagaŋŋanye batya okwagala?
10 Leero, abalabirizi abatambula, abakadde mu kibiina, n’abalala bangi, baagalibwa nnyo olw’obuvumu bwe balaga ku lw’endiga za Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, mu nsi ezitaaguddwataaguddwa entalo oba omulimu gw’okubuulira gye guwereddwa, abalabirizi abatambula era ne bakyala baabwe batadde obulamu bwabwe mu kabi basobole okukyalira ebibiina. Mu ngeri y’emu, Abajulirwa bangi babonyaabonyezeddwa abafuzi abakambwe olw’okugaana okwogera bannaabwe gye bali oba okwogera gye bajja emmere ey’eby’omwoyo. Enkumi n’enkumi ez’Abajulirwa abalala bayigganyiziddwa, batulugunyiziddwa era n’abamu battiddwa olw’okuba tebasobola kulekera awo kubuulira amawulire amalungi oba okukuŋŋaana awamu ne Bakristaayo bannaabwe. (Ebikolwa 5:28, 29; Abaebbulaniya 10:24, 25) Ka tukoppe okukkiriza n’okwagala kwa baganda baffe ne bannyinnaffe aboolese obuvumu.—1 Abasessaloniika 1:6.
Tokkiriza Kwagala Kwo Kuwola
11. Mu ngeri ki Setaani gy’alwanyisaamu abaweereza ba Yakuwa era kiba kibeetaagisa kukola ki?
11 Setaani bwe yasuulibwa ku nsi, yali mumalirivu okwolekeza obusungu bwe eri Abaweereza ba Yakuwa kubanga ‘bakwata ebiragiro bya Katonda era bawa obujulirwa ku Yesu.’ (Okubikkulirwa 12:9, 17) Okuyigganya ke kamu ku bukodyo bw’Omulyolyomi. Kyokka, emirundi mingi, akakodyo kano tekatuukiriza ekyo ky’aba ayagala kubanga abantu ba Katonda beeyongera bweyongezi kwagalana na kubeera banyiikivu. Akakodyo ka Setaani akalala kwe kuleetera abantu okutwalirizibwa okwegomba okw’omubiri. Okusobola okuvvuunuka akakodyo kano, kyetaagisa obuvumu obw’enjawulo kubanga olutalo luno lwa munda, era tuba tulwanyisa okwegomba okubi okuli mu mutima gwaffe ‘omulimba era omubi.’—Yeremiya 17:9; Yakobo 1:14, 15.
12. Setaani akozesa atya “omwoyo gw’ensi” ng’agezaako okunafuya okwagala kwaffe eri Katonda?
12 Mu tterekero lya Setaani ery’oby’okulwanyisa, mulimu eky’okulwanyisa eky’amaanyi ennyo—“omwoyo gw’ensi,” kwe kugamba, engeri zaayo oba ebiruubirirwa byayo ebikontana n’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (1 Abakkolinso 2:12) Omwoyo gw’ensi gutumbula omululu n’okwagala ebintu—“okwegomba kw’amaaso.” (1 Yokaana 2:16; 1 Timoseewo 6:9, 10) Wadde ng’ebintu n’essente ku bwabyo si bibi, singa tubyagala okusinga Katonda, olwo nno Setaani aba atuwangudde. Omwoyo gw’ensi gulina amaanyi oba “obuyinza” mu ngeri nti, gusikiriza omubiri omunafu buli kiseera, era gusangibwa buli wamu. Tokkiriza mutima gwo kutwalirizibwa mwoyo gwa nsi!—Abaefeso 2:2, 3; Engero 4:23.
13. Obuvumu bwaffe buyinza butya okugezesebwa?
13 Kyokka, kyetaagisa obuvumu okusobola okuziyiza omwoyo gw’ensi. Ng’ekyokulabirako, kyetaagisa obuvumu okufuluma mu kizimbe gye balagira firimu oba okuggyako kompyuta oba ttivi nga batandise okulaga ebintu eby’obugwenyufu. Kyetaagisa obuvumu obutekkiriranya nga tupikirizibwa era n’okwekutula ku mikwano emibi. Mu ngeri yemu kyetaagisa obuvumu okunywerera ku mateeka ga Katonda n’emisingi gye nga tusekererwa basomi banaffe, be tukola nabo, baliraanwa baffe oba ab’eŋŋanda zaffe.—1 Abakkolinso 15:33; 1 Yokaana 5:19.
14. Kiki kye twandikoze singa tutwalirizibwa omwoyo gw’ensi?
14 N’olwekyo, nga kikulu nnyo okunyweza okwagala kwe tulina eri Katonda ne baganda baffe! Waayo ebiseera okwekenneenya ebiruubirirwa byo n’enneeyisa yo olabe obanga otwaliriziddwa omwoyo gw’ensi. Bwe guba nga gukutwaliriza, wadde ku kigero ekitono, saba Yakuwa akuwe obuvumu okugweggyamu. Yakuwa ajja kuwuliriza okusaba ng’okwo. (Zabbuli 51:17) Ate era, omwoyo gwe gwa maanyi nnyo okusinga ogw’ensi.—1 Yokaana 4:4.
Okwaŋŋanga Okugezesebwa nga Twoleka Obuvumu
15, 16. Okwagala okulinga okwa Kristo kuyinza kutya okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo? Waayo ekyokulabirako.
15 Ebizibu ebirala abaweereza ba Katonda bye boolekagana nabyo bizingiramu obutali butuukirivu n’okukaddiwa, emirundi mingi ebireetera omuntu okulwala, okulemala, okwennyamira n’ebizibu ebirala bingi. (Abaruumi 8:22) Okwagala ng’okwa Kristo kuyinza okutuyamba okwolekagana n’ebizibu ng’ebyo. Lowooza ku Namangolwa, eyakulira mu maka Amakristaayo mu Zambia. Bwe yali aweza emyaka ebiri egy’obukulu, yalemala. Agamba: “Nnali nneetya, nga ndowooza nti endabika yange egya kwesisiwaza abantu. Naye baganda bange ab’eby’omwoyo bannyamba okutunuulira ebintu mu ngeri ey’enjawulo. N’ekyavaamu n’alekera awo okwetya, era oluvannyuma lw’ekiseera n’abatizibwa.”
16 Wadde Namangolwa alina akagaali k’abalema, atera okutambuza emikono n’amaviivi ng’ali ku kkubo ery’ettaka. Wadde ali mu mbeera eyo, aweereza nga payoniya omuwagizi emyezi egitakka wansi w’ebiri buli mwaka. Omuntu omu gwe yabuulira amawulire amalungi yakaaba. Lwaki? Olw’okuba yakwatibwako nnyo okukkiriza n’obuvumu bwa mwannyinaffe oyo. Ekiraga nti Yakuwa amuwadde emikisa, abayizi ba Namangolwa bataano baabatizibwa era omu aweereza ng’omukadde mu kibiina. Agamba nti, “wadde amagulu gange gannuma nnyo, naye ekyo sikireka kunnemesa.” Mwannyinaffe ono y’omu ku Bajulirwa abangi mu nsi yonna abanafu mu mubiri naye nga banyiikivu mu buweereza olw’okuba baagala Katonda ne muliraanwa. Abantu abalinga abo nga bamuwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa!—Kaggayi 2:7.
17, 18. Kiki ekiyamba bangi okugumira obulwadde n’ebizibu ebirala? Waayo ebyokulabirako eby’omu kitundu kyammwe.
17 Obulwadde obw’olukonvuba nabwo buyinza okutumalamu amaanyi oba okutuleetera okwennyamira. Omukadde omu agamba nti, “gye nkuŋŋaanira okusoma ekitabo okw’ekibiina, mwannyinaffe omu mulwadde wa sukaali n’ensigo, omulala alina kookolo, ababiri balina obulwadde bw’ennyingo ate omu mulwadde wa lususu n’ebinywa. Emirundi egimu bawulira nga baweddemu amaanyi. Naye, tebasubwa nkuŋŋaana okuggyako nga balwadde nnyo oba nga bagenze mu ddwaliro. Bonna teboosa kugenda mu buweereza bw’ennimiro. Banzijjukiza Pawulo eyagamba nti: ‘Bwe mba omunafu, lwe mba ow’amaanyi.’ Mbeesiimisa nnyo olw’okwagala kwabwe n’obuvumu. Oboolyawo embeera yaabwe ebayamba okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku bulamu n’okukulembeza ekisinga obukulu.”—2 Abakkolinso 12:10.
18 Bw’oba oli mulema, oli mulwadde oba ng’olina ekizibu ekirala kyonna, ‘sabanga obutayosa’ oleme okuggwaamu amaanyi. (1 Abasessaloniika 5:14, 17) Kya lwatu ebiseera ebimu tojja kwewuliranga bulungi naye fuba okulowooza ku bintu ebizimba, eby’omwoyo, n’okusingira ddala lowooza ku ssuubi lyaffe ery’Obwakabaka ery’omuwendo. Mwannyinaffe omu agamba “obuweereza bw’ennimiro ddagala gyendi.” Okubuulira abalala amawulire amalungi kumuyamba okubeera n’endowooza ennuŋŋamu.
Okwagala Kuyamba Abakoze Ekibi Okudda eri Yakuwa
19, 20. (a) Kiki ekiyinza okuyamba abo abakoze ekibi okufuna obuvumu ne badda eri Yakuwa? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
19 Bangi abaddiridde mu by’omwoyo oba abakoze ekibi tekibabeerera kyangu kudda eri Yakuwa. Naye bajja kufuna obuvumu obwetaagisa okudda eri Yakuwa singa beenenyeza ddala ne baddamu okwagala Katonda. Lowooza ku Mario,a abeera mu Amerika. Mario yava mu kibiina Ekikristaayo, n’atandika okwekamirira omwenge n’okunywa enjaga, era oluvannyuma lw’emyaka 20 yasibibwa mu kkomera. Mario agamba “nnatandika okulowooza ennyo ku biseera byange eby’omu maaso era ne nziramu okusoma Baibuli.” Ayongera n’agamba nti, “ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnatandika okusiima engeri za Yakuwa, naddala ekisa kye, era nnamusabanga ansaasire. Bwe baansumulula mu kkomera, nneewala abo abaali mikwano gyange, ne ŋŋenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina era oluvannyuma lw’ekiseera nnakomezebwaawo mu kibiina. Kati nkungula bye nnasiga, kyokka nnina essuubi. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okuba yansaasira era n’ansonyiwa.”—Zabbuli 103:9-13; 130:3, 4; Abaggalatiya 6:7, 8.
20 Kya lwatu, abo abali mu mbeera efaananako eya Mario, balina okufuba ennyo okudda eri Yakuwa. Kyokka, okwagala kwe baba bazzeemu okufuna—okuva mu kwesomesa Baibuli, okusaba, n’okufumiitiriza—kujja kubasobozesa okuba n’obuvumu n’okubeera abamalirivu. Era Mario yanywezebwa essuubi ly’Obwakabaka. Awamu n’okwagala, okukkiriza, n’okutya Katonda, essuubi lisobola okutuganyula mu bulamu bwaffe. Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenya ekirabo kino eky’eby’omwoyo eky’omuwendo.
[Obugambo obuli wansi]
a Erinnya likyusiddwa.
Osobola Okuddamu?
• Okwagala kwasobozesa kutya Yesu okubeera n’obuvumu obw’ekitalo?
• Okwagala kw’ab’oluganda kwasobozesa kutya Pawulo ne balunabba okubeera abavumu?
• Kiki Setaani ky’akozesa okugezaako okunafuya okwagala kwaffe?
• Okwagala Yakuwa kutusobozesa okuba n’obuvumu era n’okugumiikiriza ebizibu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Okwagala Pawulo kwe yalina eri abantu kwamusobozesa okugumira embeera enzibu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Kyetaagisa obuvumu okusobola okunywerera ku misingi gya Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Namangolwa Sututu