Kirage nti Okkiririza mu Bisuubizo bya Yakuwa
“Okukkiriza . . . bwe bukakafu obumatiza nti ky’okkiriza ddala gye kiri wadde nga tekirabika.”—BEB. 11:1, obugambo obuli wansi.
1. Okukkiriza tusaanidde kukutwala tutya?
OKUKKIRIZA ngeri nkulu nnyo. Kyokka si buli muntu nti alina okukkiriza. (2 Bas. 3:2) Naye Yakuwa ayambye abaweereza be okuba n’okukkiriza. (Bar. 12:3; Bag. 5:22) Nga kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa atuyambye okuba n’okukkiriza.
2, 3. (a) Mikisa ki abo abalina okukkiriza gye bafuna? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?
2 Yesu Kristo yalaga nti Kitaawe ow’omu ggulu aleeta abantu gy’ali okuyitira mu Mwana we. (Yok. 6:44, 65) Omuntu bw’akkiririza mu Yesu, aba asobola okusonyiyibwa ebibi bye, ekyo ne kimuyamba okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Bar. 6:23) Ng’eyo nkizo ya maanyi nnyo! Olw’okuba tuli boonoonyi, tugwanira kufa. (Zab. 103:10) Naye buli omu ku ffe Yakuwa alina ekirungi kye yamulabamu. Olw’ekisa kye eky’ensusso, Yakuwa yaggulawo emitima gyaffe ne tukkiriza amazima. Bwe kityo, twatandika okukkiririza mu Yesu, era kati tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.—Soma 1 Yokaana 4:9, 10.
3 Naye kiki ekirala kye tusaanidde okumanya ku kukkiriza? Okumanya obumanya ebyo Katonda by’atukoledde n’ebyo by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso kiba kitegeeza nti tulina okukkiriza? Tuyinza tutya okwoleka okukkiriza?
YOLEKA OKUKKIRIZA OKUVIIRA DDALA KU MUTIMA
4. Lwaki okuba n’okukkiriza tekikoma ku kumanya bumanya kigendererwa kya Katonda?
4 Okuba n’okukkiriza tekikoma ku kumanya bumanya kigendererwa kya Katonda. Omuntu alina okukkiriza aba ayagala nnyo okukola ebyo Katonda by’ayagala. Okukkiriza kuleetera omuntu okubuulirako abalala amawulire amalungi. Omutume Pawulo yagamba nti: “Singa olangirira mu lujjudde n’akamwa ko nti Yesu ye Mukama waffe, era n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, ojja kulokolebwa. Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe okufuna obutuukirivu, naye ayatula na kamwa ke mu lujjudde okufuna obulokozi.”—Bar. 10:9, 10; 2 Kol. 4:13.
5. Lwaki kikulu okuba n’okukkiriza, era tuyinza tutya okuba n’okukkiriza okunywevu? Waayo ekyokulabirako.
5 Bwe tuba ab’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya, tulina okuba n’okukkiriza okunywevu. Okukkiriza kuyinza okugeraageranyizibwa ku kimera. Ekimera bwe kitaba na mazzi gamala, kikala ne kifa. Mu ngeri y’emu, bwe tutafuba kunyweza kukkiriza kwaffe, kujja kunafuna kuggweewo. (Luk. 22:32; Beb. 3:12) Naye bwe tufuba okunyweza okukkiriza kwaffe, kujja kweyongera okunywera, tube ‘balamu mu kkiriza.’—2 Bas. 1:3; Tit. 2:2, obugambo obuli wansi.
BAYIBULI ERAGA OKUKKIRIZA KYE KUTEGEEZA
6. Okusinziira ku Abebbulaniya 11:1, okukkiriza kuzingiramu bintu ki ebibiri?
6 Mu Abebbulaniya 11:1 (Soma), Bayibuli etubuulira amakulu g’ekigambo okukkiriza. Okukkiriza kuzingiramu ebintu bibiri ebitalabika: (1) Ebintu bye ‘tusuubira.’ Muno mwe muli ebintu Katonda by’asuubizza okukola mu biseera eby’omu maaso, gamba ng’okuzikiriza ababi n’okuleeta ensi empya. (2) Ebintu ‘ebiriwo naye nga tebirabika.’ Ng’ekyokulabirako, tuli bakakafu nti Yakuwa Katonda, Yesu Kristo, bamalayika, n’Obwakabaka weebiri wadde nga tetubiraba. (Beb. 11:3) Tuyinza tutya okulaga nti tukkiririza mu bisuubizo bya Katonda ne mu bintu bye tutalaba wadde nga weebiri? Tusobola okukiraga okuyitira mu bikolwa byaffe ne mu ebyo bye twogera.
7. Ekyokulabirako Nuuwa kye yassaawo kituyamba kitya okumanya kye kitegeeza okuba n’okukkiriza? (Laba ekifaananyi ku lupapula 26.)
7 Abebbulaniya 11:7 walaga nti Nuuwa yalina okukkiriza kubanga “bwe yalabulwa Katonda ku bintu ebyali bitannalabika, yakiraga nti yali atya Katonda n’azimba eryato ery’okuwonyezaamu ab’omu maka ge.” Nuuwa yayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe yazimba eryato. Abantu bateekwa okuba nga baamubuuzanga ensonga lwaki yali azimba eryato eddene bwe lityo. Nuuwa yasirika busirisi oba n’abagamba nti baleme kweyingiza mu nsonga ezitabakwatako? Nedda! Okukkiriza kwe yalina kwamuleetera okubuulira n’obunyiikivu n’okulabula abantu ku kuzikiriza okwali kugenda okubaawo. Nuuwa ayinza okuba nga yabuuliranga abantu ebigambo byennyini Yakuwa bye yamugamba. Yakuwa yali yamugamba nti: “Nsazeewo okuzikiriza abantu bonna, kubanga ensi ejjudde ebikolwa eby’obukambwe ku lwabwe . . . Ŋŋenda kuleeta amataba ku nsi okuzikiriza buli ekirina omubiri ekirina omukka ogw’obulamu ekiri wansi w’eggulu. Buli ekiri mu nsi kigenda kuzikirira.” Ate era Nuuwa ateekwa okuba nga yagambanga abantu nti okusobola okuwonawo, baalina ‘okuyingira mu lyato’ eryo. Bwe kityo, Nuuwa era yayoleka okukkiriza ‘ng’abuulira obutuukirivu.’—Lub. 6:13, 17, 18; 2 Peet. 2:5.
8. Kiki omuyigirizwa Yakobo kye yayogera ku kukkiriza?
8 Ebbaluwa ya Yakobo eyinza okuba nga yawandiikibwa nga wayiseewo ekiseera kitono oluvannyuma lwa Pawulo okuwandiika ekitabo ky’Abebbulaniya n’alaga ebizingirwa mu kuba n’okukkiriza. Yakobo yagamba nti: “Ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage okukkiriza kwange mu bikolwa byange.” (Yak. 2:18) Okufaananako Pawulo, Yakobo yakiraga nti okukkiriza okwa nnamaddala kulina okweyolekera mu bikolwa. Badayimooni bakkiriza nti Katonda gy’ali, naye tebalina kukkiriza kwa nnamaddala, kubanga bawakanya ebigendererwa bya Katonda. (Yak. 2:19, 20) Obutafaananako badayimooni, omuntu alina okukkiriza afuba okukola ebintu ebisanyusa Katonda. Ekyo kyennyini Ibulayimu kye yakola. Yakobo yagamba nti: “Ibulayimu kitaffe teyayitibwa mutuukirivu lwa bikolwa oluvannyuma lw’okuwaayo Isaaka mutabani we ku kyoto? Olaba nti okukkiriza kwe kwagendera wamu n’ebikolwa bye, era olw’ebikolwa bye okukkiriza kwe kwatuukirira.” Oluvannyuma Yakobo yakikkaatiriza nti okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba tekugasa. Yagamba nti: “Ng’omubiri ogutaliimu mwoyo bwe guba omufu, bwe kutyo n’okukkiriza okutaliiko bikolwa kuba kufu.”—Yak. 2:21-23, 26.
9, 10. Omutume Yokaana yakiraga atya nti kikulu okwoleka okukkiriza?
9 Nga wayiseewo emyaka egisukka mu 30, omutume Yokaana yawandiika Enjiri ya Yokaana n’amabaluwa asatu. Okufaananako abawandiisi ba Bayibuli abalala, Yokaana naye yali amanyi bulungi okukkiriza okwa nnamaddala kye kutegeeza. Emirundi mingi Yokaana yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekiraga nti okukkiriza kulina okweyolekera mu bikolwa.
10 Ng’ekyokulabirako, omutume Yokaana yagamba nti: “Oyo akkiririza [oba ayoleka okukkiriza] mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo; oyo ajeemera Omwana talifuna bulamu, wabula Katonda alimwolekeza obusungu bwe.” (Yok. 3:36) Tukiraga nti tukkiririza mu Mwana nga tugondera ebiragiro bya Yesu. Okusinziira ku ebyo Yokaana bye yawandiika, emirundi mingi Yesu yakiraga nti abagoberezi be balina okweyongera okwoleka okukkiriza.—Yok. 3:16; 6:29, 40; 11:25, 26; 14:1, 12.
11. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima Yakuwa olw’okutuyamba okumanya amazima?
11 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu n’atuyamba okutegeera amazima n’okukkiririza mu mawulire amalungi! (Soma Lukka 10:21.) Bulijjo tusaanidde okwebazanga Yakuwa olw’okutuleeta gy’ali okuyitira mu Mwana we, “Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe.” (Beb. 12:2) Tukiraga nti tusiima ekyo Yakuwa kye yatukolera nga tweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe okuyitira mu kusaba n’okusoma Ekigambo kya Katonda.—Bef. 6:18; 1 Peet. 2:2.
12. Tuyinza tutya okwoleka okukkiriza?
12 Tulina okweyongera okukiraga mu bikolwa byaffe nti tukkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okweyongera okubuulira abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, n’okubayamba okufuuka abayigirizwa ba Yesu. Ate era tusaanidde okweyongera ‘okukolera bonna ebirungi, naye okusingira ddala bakkiriza bannaffe.’ (Bag. 6:10) Tulina n’okufuba ‘okweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye,’ n’okwewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.—Bak. 3:5, 8-10.
KIKULU NNYO OKUBA N’OKUKKIRIZA
13. Lwaki kikulu nnyo “okukkiririza mu Katonda,” era okukkiririza mu Katonda kugeraageranyizibwa ku ki, era lwaki?
13 Bayibuli egamba nti: “Awatali kukkiriza tekisoboka kusanyusa Katonda, kubanga oyo atuukirira Katonda ateekwa okukkiriza nti gyali era nti y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.” (Beb. 11:6) Bayibuli egeraageranya “okukkiririza mu Katonda” ku bintu ebiri mu musingi. Ekyo kiri kityo kubanga okukkiririza mu Katonda kye kimu ku bintu ebisookerwako Omukristaayo by’alina okuba nabyo. (Beb. 6:1) Kyokka ng’oggyeeko okuba n’okukkiriza, waliwo n’engeri endala enkulu ze tulina okwoleka okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Soma 2 Peetero 1:5-7; Yud. 20, 21.
14, 15. Bwe kugeraageranyizibwa ku kwagala, okukkiriza kukulu kwenkana wa?
14 Okukkiriza ye ngeri esinga okwogerwako ennyo mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ekyo kitegeeza nti okukkiriza ye ngeri esingayo obukulu Abakristaayo gye basaanidde okwoleka?
15 Ng’ageraageranya okukkiriza ku kwagala, Pawulo yagamba nti: “Bwe mba . . . nga nnina okukkiriza okunsobozesa okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba sirina kye ngasa.” (1 Kol. 13:2) Yesu yakiraga nti okwagala Katonda kye kintu ekisingayo obukulu bwe yali addamu ekibuuzo kye baamubuuza nti: “Tteeka ki erisinga obukulu mu Mateeka?” (Mat. 22:35-40) Bwe tuba n’okwagala, kituyamba okwoleka engeri endala ez’Ekikristaayo, omuli okukkiriza. Bayibuli egamba nti: ‘Okwagala kukkiriza ebintu byonna.’ Okwagala kutuyamba okukkiririza mu bintu Katonda bye yayogera ebiri mu Bayibuli.—1 Kol. 13:4, 7.
16, 17. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti okwagala n’okukkiriza ngeri nkulu nnyo, naye ngeri ki ku zombi esinga obukulu, era lwaki?
16 Okuva bwe kiri nti okwagala n’okukkiriza ngeri nkulu nnyo, emirundi egiwerako abawandiisi ba Bayibuli baazoogererangako wamu. Pawulo yagamba bakkiriza banne okwambala “eky’omu kifuba eky’okukkiriza n’okwagala.” (1 Bas. 5:8) Peetero yagamba nti: “Wadde nga [temwalaba ku Yesu], mumwagala. Wadde nga temumulaba kaakano, mumukkiririzaamu.” (1 Peet. 1:8) Yakobo yabuuza bakkiriza banne abaafukibwako amafuta nti: “Katonda teyalonda abantu ensi b’etwala okuba abaavu okubeera abagagga mu kukkiriza, era abasika b’Obwakabaka bwe yasuubiza abo abamwagala?” (Yak. 2:5) Yokaana yawandiika nti: “Kino kye kiragiro [kya Katonda] nti tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, era twagalane.”—1 Yok. 3:23.
17 Wadde ng’okukkiriza kukulu nnyo, okukkiriza kwe tulina mu bisuubiza bya Katonda bye tulindirira kujja kuggwaawo bwe binaamala okutuukirira. Kyokka kijja kutwetaagisa okweyongera okwagala Yakuwa ne bantu bannaffe. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba nti: “Naye kaakano bino ebisatu bye bisigaddewo: okukkiriza, okusuubira, n’okwagala; naye ku bino, okwagala kwe kusinga.”—1 Kol. 13:13.
YAKUWA AWADDE OMUKISA OKUKKIRIZA KWAFFE
18, 19. Biki ebivudde mu kukkiriza abaweereza ba Katonda kwe boolese, era ani agwanidde okuweebwa ettendo olw’ekyo?
18 Abantu ba Yakuwa leero bakkiririza mu Bwakabaka bwa Katonda era babuwagira. Ate era baagalana nnyo olw’okuba bakulemberwa omwoyo gwa Katonda. (Bag. 5:22, 23) Kiki ekivuddemu? Abantu abasukka mu bukadde omunaana abali mu kibiina kya Yakuwa bali mu mirembe. Mu butuufu okukkiriza n’okwagala ngeri nkulu nnyo!
19 Yakuwa y’asobozesezza abantu be mu nsi yonna okuba obumu. Mu butuufu Yakuwa agwanidde okuweebwa ekitiibwa n’ettendo. (Is. 55:13) Tuli basanyufu nnyo okuba nti Katonda atusobozesa okufuna ‘obulokozi okuyitira mu kukkiriza.’ (Bef. 2:8) Yakuwa ajja kweyongera okuyamba abantu bangi okumukkiririzaamu. N’ekinaavaamu, mu biseera eby’omu maaso, ensi yonna ejja kujjula abantu abatuukiridde era abasanyufu abajja okutendereza Yakuwa emirembe n’emirembe!