-
Emyaka Kikumi ng’Obwakabaka Bufuga!Omunaala gw’Omukuumi—2015 | Noovemba 15
-
-
2. Bantu bameka abayinza okuba nga baaliwo nga Yesu awa ekiragiro ekiri mu Matayo 28:19, 20, era lwaki tugamba bwe tutyo?
2 Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yasisinkana abantu abasukka mu 500 abaali bajja okufuuka ababuulizi b’Obwakabaka. (1 Kol. 15:6) Kirabika ku olwo lwe yawa ekiragiro eky’okubuulira “abantu b’omu mawanga gonna” ebikwata ku Bwakabaka. Omulimu ogwo tegwandibadde mwangu.a Yesu yagamba nti omulimu ogwo gwandibadde gukolebwa okutuukira ddala “ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,” era bwe kityo bwe kibadde. Oyinza okuba nga naawe weenyigira mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo.—Mat. 28:19, 20.
-
-
Emyaka Kikumi ng’Obwakabaka Bufuga!Omunaala gw’Omukuumi—2015 | Noovemba 15
-
-
a Kya lwatu nti bangi ku abo abaaliwo ku olwo baafuuka Abakristaayo. Mu bbaluwa ye eri Abakkolinso, Pawulo yabayita “ab’oluganda abasukka mu bikumi bitaano.” Yagattako nti: “Abasinga obungi bakyaliwo naye abamu beebaka mu kufa.” Kirabika nti Pawulo n’Abakristaayo abalala abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bamanyi bangi ku abo abaaliwo nga Yesu awa ekiragiro ekyo.
-