-
Okuzuukira—Ssuubi Kkakafu!Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma)—2020 | Ddesemba
-
-
12. Nga bwe kiragibwa mu 1 Peetero 3:18, 22, okuzuukira kwa Yesu kwayawukana kutya ku kuzuukira okwasooka okukwe?
12 Pawulo yali akimanyidde ddala nti “Kristo [yali] yazuukizibwa mu bafu.” Okuzuukira kwa Yesu kwali kusinga okwo okwali kubaddewo ng’okukwe tekunnabaawo, kubanga abantu abo abaazuukizibwa baddamu ne bafa. Pawulo yagamba nti Yesu “bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa.” Mu ngeri ki Yesu gye yali ebibala ebibereberye? Ye muntu eyasooka okufa n’azuukizibwa n’omubiri ogw’omwoyo, era ye yasooka okuzuukizibwa n’agenda mu ggulu.—1 Kol. 15:20; Bik. 26:23; soma 1 Peetero 3:18, 22.
-
-
Okuzuukira—Ssuubi Kkakafu!Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma)—2020 | Ddesemba
-
-
16. Pawulo yali ategeeza ki bwe yayita Yesu ‘ebibala ebibereberye’?
16 Pawulo yawandiika nti Kristo bwe yazuukizibwa ye yali ‘ebibala ebibereberye eby’abo abaafa.’ Kijjukire nti waliwo n’abalala, gamba nga Laazaalo, abaazuukizibwa ne baddamu okuba abalamu wano ku nsi. Naye Yesu ye yasooka okuzuukizibwa mu bafu n’omubiri ogw’omwoyo n’aweebwa obulamu obutaggwaawo. Yali asobola okugeraageranyizibwa ku bibala ebibereberye Abayisirayiri bye baawangayo eri Katonda. Ate era mu kuyita Yesu ‘ebibala ebibereberye,’ Pawulo yali ategeeza nti n’abalala nabo oluvannyuma bandizuukiziddwa ne bagenda mu ggulu. Okufaananako Yesu, abatume n’abalala ‘abali mu Kristo’ nabo oluvannyuma bandizuukiziddwa ne bagenda okubeera mu ggulu.
-