Okuzuukira kwa Yesu Kutusobozesa Okufuna Obulamu Obutaggwawo!
WADDE nga Yesu yazuukira dda nnyo, okuzuukira kwe kutuganyula leero. Omutume Pawulo yagamba nti: “Kristo yazuukizibwa mu bafu, era ye bye bibala ebibereberye eby’abo abeebaka mu kufa. Kubanga ng’okufa bwe kwayitira mu muntu, n’okuzuukira kw’abafu nakwo kuyitira mu muntu. Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.”—1 Abakkolinso 15:20-22.
Yesu yazuukizibwa nga Nisaani 16, mu mwaka gwa 33, ogw’embala eno. Olwo lwe lunaku Abayudaaya lwe baawangayo ebibala ebibereberye eby’ebirime byabwe eri Katonda mu yeekaalu e Yerusaalemi buli mwaka. Omutume Pawulo bwe yagamba nti Yesu bye bibala ebibereberye, yali ategeeza nti waliwo abalala abandizuukiziddwa.
Omutume Pawulo yagattako nti: “Ng’okufa bwe kwayitira mu muntu, n’okuzuukira kw’abafu nakwo kuyitira mu muntu.” Ffenna tufa olw’ekibi n’obutali butuukirivu bye twasikira okuva ku Adamu. Naye Yesu bwe yawaayo obulamu bwe obutuukiridde ng’ekinunulo, yatuggulirawo ekkubo eritusobozesa okusumululwa okuva mu kibi n’okufa okuyitira mu kuzuukira. Mu Abaruumi 6:23, omutume Pawulo yawumbawumbako bulungi ensonga eyo ng’agamba nti: “Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.”
Yesu kennyini yannyonnyola engeri gye tuganyulwa mu kufa kwe n’okuzuukira kwe. Yagamba nti: “Omwana w’omuntu ateekwa okuwanikibwa, buli muntu yenna amukkiriza afune obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.”—Yokaana 3:14-16.
Teeberezaamu ng’oli mu bulamu obutaggwawo omutaliba bulumi, kubonaabona, wadde ennaku! (Okubikkulirwa 21:3, 4) Teweesunga kuba mu bulamu ng’obwo? Omuwandiisi w’ebitabo omu yagamba nti: “Wadde ng’entaana ziyinza okutujjukiza nti obulamu bumpi, okuzuukira kutukakasa nti okufa si kwa lubeerera.” Awatali kubuusabuusa, okuzuukira kwa Yesu kutusobozesa okufuna obulamu obutaggwawo.