Essuubi ly’Okuzuukira Lirina Amaanyi
“Nnafiirwa ebintu byonna . . . ndyoke mmutereere [Yesu Kristo] n’obuyinza [“n’amaanyi,” NW] bw’okuzuukira kwe.”—ABAFIRIPI 3:8-10.
1, 2. (a) Emyaka mingi emabega, omukadde w’ekkanisa omu yannyonnyola atya okuzuukira? (b) Okuzuukira kunaabaawo kutya?
MU MATANDIKA g’emyaka gya 1890, emikutu gy’amawulire gyayogera ku kwogera okw’enjawulo okwaweebwa omukadde w’ekkanisa mu Brooklyn, New York, Amereka. Yagamba nti okuzuukira kujja kutwaliramu okukuŋŋaanya n’okuwa obulamu amagumba gonna n’ennyama ebyali mu mubiri gw’omuntu, ka bibe nga byazikirizibwa mu muliro oba mu kabenje, byaliibwa ensolo oba nga byafuuka ebigimusa. Omubuulizi oyo yagamba nti ku lunaku olumu olw’essaawa 24, ebbanga lijja kujjula engalo, emikono, ebigere, obugalo, amagumba, ebinywa, n’olususu by’obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaafa. Ebitundu bino biriba binoonya bitundu binnaabyo eby’omubiri. Olwo emmeeme ziriva mu ggulu ne mu hell okubeera mu mibiri gino egizuukiziddwa.
2 Okuzuukizibwa okuyitira mu kugatta awamu ebitundu ebyali bikola omubiri si kya makulu n’akamu, ate era abantu tebalina mmeeme etefa. (Omubuulizi 9:5, 10; Ezeekyeri 18:4) Yakuwa, Katonda w’okuzuukira, teyeetaaga kugatta wamu bitundu ebyali bikola omubiri gw’omuntu. Abazuukizibwa ayinza okubakolera emibiri emippya. Yakuwa awadde Omwana we, Yesu Kristo, amaanyi okuzuukiza abafu, nga balina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 5:26) N’olwekyo, Yesu yagamba: “Nze kuzuukira n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde aliba mulamu.” (Yokaana 11:25, 26) Ng’ekyo kisuubizo ekibuguumiriza! Kitunyweza okugumira okugezesebwa era n’okwolekagana n’okufa ng’Abajulirwa ba Yakuwa abeesigwa.
3. Lwaki kyali kyetaagisa Pawulo okulwanirira okuzuukira?
3 Okuzuukira tekukwatagana n’enjigiriza egamba nti abantu balina emmeeme etafa—endowooza omufirosoofo Omuyonaani ayitibwa Plato gye yalina. Kati olwo, kiki ekyaliwo omutume Pawulo bwe yawa obujulirwa Abayonaani abatutumufu mu Aleyopaago ey’omu Asene, n’asonga ku Yesu, era n’agamba nti Katonda yamuzuukiza? “Naye,” bwe bityo ebyawandiikibwa bwe bigamba, “bwe baawulira okuzuukira kw’abafu abamu ne baŋoola.” (Ebikolwa 17:29-34) Bangi abaalaba Yesu Kristo ng’azuukiziddwa baali bakyali balamu era, wadde nga baabasekerera, baawa obujulizi nti yali azuukiziddwa okuva mu bafu. Naye abayigiriza ab’obulimba abaali mu kibiina ky’omu Kkolinso baagaana enjigiriza y’okuzuukira. N’olwekyo, Pawulo yalwanirira enjigiriza y’Ekikristaayo eno eri mu 1 Abakkolinso essuula 15. Okwekenneenya engeri gye yannyonnyolamu kikakasizza ddala essuubi ly’okuzuukira n’amaanyi gaalyo.
Obukakafu obw’Amaanyi Obulaga Okuzuukira kwa Yesu
4. Bukakafu ki obw’okuzuukira kwa Yesu okuva eri abo abaalabako n’agaabwe Pawulo bwe yawa?
4 Weetegereze engeri Pawulo gye yatandikamu okunnyonnyola. (1 Abakkolinso 15:1-11) Okuggyako ng’Abakkolinso baafuuka abakkiriza awatali kigendererwa, balina okunywerera ku mawulire amalungi ag’obulokozi. Kristo yafiirira ebibi byaffe, n’aziikibwa, era n’azuukizibwa. Mu butuufu, Yesu eyazuukizibwa, yalabikira Keefa (Peetero), ‘ate n’alabikira ekkumi n’ababiri.’ (Yokaana 20:19-23) Oboolyawo, yalabibwa abantu nga 500, bwe yalagira nti: ‘Mugende, mufuule abayigirizwa.’ (Matayo 28:19, 20) Yakobo yamulaba awamu n’abatume abalala bonna abeesigwa. (Ebikolwa 1:6-11) Okumpi ne Ddamasiko, Yesu yalabikira Sawulo “ng’omwana omusowole”—nga gy’obeera ye, Pawulo, yali amaze okuzuukizibwa mu bulamu obw’omwoyo. (Ebikolwa 9:1-9) Abakkolinso baafuuka abakkiriza kubanga Pawulo yababuulira, era ne bakkiriza amawulire amalungi.
5. Ngeri ki Pawulo gye yannyonnyolamu 1 Abakkolinso 15:12-19?
5 Weetegereze engeri Pawulo gye yannyonnyolamu. (1 Abakkolinso 15:12-19) Okuva abajulirwa abaalabako n’agaabwe bwe babuulira nti Kristo yazuukizibwa, kiyinza kitya okugambibwa nti tewali kuzuukira? Bwe kiba nti Yesu teyazuukizibwa mu bafu, okubuulira kwaffe n’okukkiriza kwaffe bya bwereere, era tuli balimba abawa obujulirwa obw’obulimba ku Katonda nga tugamba nti yazuukiza Kristo. Singa abafu tebazuukizibwa, ‘tukyali mu bibi byaffe,’ era abo abaafa mu Kristo baazikirira. Ate era, “obanga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n’essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.”
6. (a) Pawulo yayogera ki ng’akakasa okuzuukira kwa Yesu? (b) ‘Omulabe ow’enkomerero’ y’ani, era anaggibwawo atya?
6 Pawulo akakasa okuzuukira kwa Yesu. (1 Abakkolinso 15:20-28) Nga Kristo bw’ali ‘ebibala ebibereberye’ eby’abo abeebase mu kufa, abalala nabo bajja kuzuukizibwa. Ng’okufa bwe kwava ku kujeema kw’omuntu Adamu, okuzuukira kuyitira mu muntu—Yesu. Aba Kristo baali ba kuzuukizibwa mu kiseera eky’okubeerawo kwe. Kristo ‘aggyawo okufuga kwonna n’amaanyi gonna n’obuyinza’ ebiwakanya obufuzi bwa Katonda era afuga nga Kabaka okutuusa Yakuwa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. Wadde “omulabe ow’enkomerero”—okufa okwasikirwa okuva ku Adamu—kujja kuggibwawo okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu. Awo Kristo aliwaayo Obwakabaka eri Katonda era Kitaawe, nga yessa wansi “w’oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.”
Babatizibwa ku lw’Abafu?
7. Baani ‘ababatizibwa olw’okufuuka abafu,’ era kino kitegeeza ki gye bali?
7 Abawakanya okuzuukira babuuzibwa: “Balikola batya ababatizibwa olw’okufuuka abafu?” (1 Abakkolinso 15:29, NW) Pawulo yali tategeeza nti abalamu baali ba kubatizibwa ku lw’abafu, kubanga abayigirizwa ba Yesu kinnoomu balina okuyiga, okukkiriza, n’okubatizibwa. (Matayo 28:19, 20; Ebikolwa 2:41) Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘babatizibwa olw’okufuuka abafu’ nga bannyikibwa mu bulamu obutuusa ku kufa n’okuzuukira. Okubatizibwa okw’ekika kino kutandika ng’omwoyo gwa Katonda gubateekamu essuubi ery’okugenda mu ggulu era ne kukoma nga bazuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu obw’obutafa.—Abaruumi 6:3-5; 8:16, 17; 1 Abakkolinso 6:14.
8. Abakristaayo bandibadde bakakafu ku ki singa Setaani n’abaweereza be babatta?
8 Ng’ebigambo bya Pawulo bwe biraga, essuubi ly’okuzuukira lisobozesa Abakristaayo okwolekagana n’akabi n’okufa buli lukedde nga bakola omulimu gw’okubuulira Obwakabaka. (1 Abakkolinso 15:30, 31) Bamanyi nti Yakuwa ayinza okubazuukiza singa akkiriza Setaani n’abaweereza be okubatta. Katonda yekka y’ayinza okuzikiriza emmeeme zaabwe, oba obulamu, mu Ggeyeena, ekitegeeza okuzikirizibwa ddala.—Lukka 12:5.
Obwetaavu bw’Okuba Obulindaala
9. Singa essuubi ly’okuzuukira lya kutuwanirira mu bulamu bwaffe, kiki kye tuteekwa okwewala?
9 Essuubi ly’okuzuukira lyawanirira Pawulo. Bwe yali mu Efeso, abalabe be bayinza okuba baamusuula mu bisaawe by’emizannyo okulwana n’ensolo enkambwe. (1 Abakkolinso 15:32) Ekyo bwe kiba nga kyaliwo, yawonyezebwawo nga ne Danyeri bwe yawonyezebwawo okuva ku mpologoma. (Danyeri 6:16-22; Abaebbulaniya 11:32, 33) Okuva bwe yalina essuubi mu kuzuukira, Pawulo teyalina ndowooza ya bakyewaggula ab’omu Yuda abaaliwo mu kiseera kya Isaaya. Baagambanga: “Ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.” (Isaaya 22:13, Septuagint) Essuubi ly’okuzuukira bwe liba ery’okutuwanirira mu balamu bwaffe nga bwe kyali eri Pawulo, tuteekwa okwewala abo abalina endowooza eyo embi. “Temulimbibwanga,” bw’atyo Pawulo bwe yalabula. “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33, NW) Kya lwatu, omusingi guno gukwata ku mbeera ezitali zimu ez’obulamu.
10. Essuubi lyaffe ery’okuzuukira liyinza litya okukuumibwa nga ddamu?
10 Eri abo ababuusabuusa okuzuukira, Pawulo yagamba: “Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abalala tebategeera Katonda: njogedde kubakwasa nsonyi.” (1 Abakkolinso 15:34) Mu ‘kiseera kino eky’enkomerero,’ twetaaga okutuukana n’okumanya okutuufu okukwata ku Katonda ne Kristo. (Danyeri 12:4; Yokaana 17:3) Kino kijja kukuuma essuubi lyaffe ery’okuzuukira nga ddamu.
Yazuukizibwa na Mubiri Ki?
11. Pawulo yawa kyakulabirako ki okulaga okuzuukira kw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta?
11 Pawulo yazzaako okwanukula ebibuuzo ebimu. (1 Abakkolinso 15:35-41) Oboolyawo ng’agezaako okubuusabuusa okuzuukira, omuntu ayinza okubuuza: “Abafu bazuukizibwa batya? Era mubiri ki gwe bajja nagwo?” Nga Pawulo bwe yalaga, ensigo esigiddwa mu ttaka efa bw’ekyuka okufuuka ekimera. Mu ngeri y’emu, omuntu azaaliddwa omwoyo ateekwa okufa. Ng’ekimera bwe kiva mu nsigo n’omubiri omuppya, mu ngeri y’emu omubiri gw’Omukristaayo eyafukibwako amafuta oguzuukiziddwa guba gwa njawulo ku mubiri gw’omuntu. Wadde abeera n’engeri ze zimu ne ze yalina nga tannafa, azuukizibwa ng’ekitonde ekippya ekirina omubiri ogw’omwoyo ekisobola okubeera mu ggulu. Kya lwatu, abo abalizuukizibwa ku nsi bajja kuzuukizibwa n’emibiri egy’obuntu.
12. Ebigambo “emibiri egy’omu ggulu” ne ‘emibiri egy’oku nsi’? bitegeeza ki?
12 Nga Pawulo bwe yalaga, omubiri gw’omuntu gwa njawulo ku gw’ensolo. Era n’emibiri gy’ensolo nagyo gyawukana. (Olubereberye 1:20-25) “Emibiri gy’omu ggulu” egy’ebitonde eby’omwoyo girina ekitiibwa kya njawulo okuva ku ‘mibiri egy’omu nsi’ egy’ennyama. Era ekitiibwa ky’enjuba, omwezi, n’emmunyeenye kyawukana. Naye abaafukibwako amafuta abazuukizibwa balina ekitiibwa ekisingawo.
13. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 15:42-44, kiki ekisigibwa era kiki ekizuukizibwa?
13 Ng’amaze okwogera ku njawulo ezo, Pawulo yagattako: “Era n’okuzuukira kw’abafu bwe kutyo.” (1 Abakkolinso 15:42-44) Yagamba: “Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda.” Wano Pawulo ayinza okuba ategeeza abaafukibwako amafuta ng’ekibiina. Gusigibwa mu kuvunda ku kufa, guzuukizibwa mu butavunda, nga tegulina kibi. Wadde ensi teguwa kitiibwa, guzuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu era ne gulabisibwa wamu ne Kristo mu kitiibwa. (Ebikolwa 5:41; Abakkolosaayi 3:4) Ku kufa gusigibwa nga “mubiri gwa mukka” ne guzuukizibwa nga “mubiri gwa mwoyo.” Okuva kino bwe kisoboka eri Abakristaayo abazaalibwa omwoyo, tuyinza okuba abakakafu nti abalala bayinza okuzuukizibwa mu bulamu ku nsi.
14. Pawulo yageraageranya atya Kristo ne Adamu?
14 Pawulo yaddako n’ageraageranya Kristo ne Adamu. (1 Abakkolinso 15:45-49) Adamu, omusajja ow’olubereberye, “yafuuka emmeeme ennamu.” (Olubereberye 2:7, NW) “Adamu ow’oluvannyuma”—Yesu—“yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.” Yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka y’ekinunulo, okusooka ku lw’abagoberezi be abaafukibwako amafuta. (Makko 10:45) Ng’abantu, ‘balina ekifaananyi eky’oyo eyava mu nfuufu,’ naye bwe bazuukizibwa bafuuka nga Adamu ow’oluvannyuma. Kya lwatu, ssaddaaka ya Yesu ejja kuganyula abantu bonna abawulize, nga mw’otwalidde n’abo abalizuukizibwa ku nsi.—1 Yokaana 2:1, 2.
15. Lwaki Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebazuukizibwa mu mubiri, era bazuukizibwa batya mu kubeerawo kwa Yesu?
15 Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe bafa, tebazuukizibwa mu mubiri gwa nnyama. (1 Abakkolinso 15:50-53) Omubiri oguvunda ogw’ennyama n’omusaayi teguyinza kusikira butavunda n’Obwakabaka obw’omu ggulu. Abaafukibwako amafuta abamu tebajja kwebaka kiseera kiwanvu mu kufa. Bwe bamaliriza obulamu bwabwe obw’oku nsi nga beesigwa mu kubeerawo kwa Yesu, ‘balifuusibwa, mangu ago nga kutemya kikowe.’ Ba kuzuukizibwa embagirawo mu bulamu obw’omwoyo mu butavunda era mu kitiibwa. Mu nkomerero, “omugole” wa Kristo ow’omu ggulu ajja kuwera abantu 144,000.—Okubikkulirwa 14:1; 19:7-9; 21:9; 1 Abasessaloniika 4:15-17.
Obuwanguzi ku Kufa!
16. Okusinziira ku Pawulo ne bannabbi abalala, kiki ekijja okutuuka ku kufa okwasikirwa okuva ku Adamu omwonoonyi?
16 Pawulo yalangirira n’essanyu nti okufa kwandiggiddwawo emirembe gyonna. (1 Abakkolinso 15:54-57) Abavunda n’abafa bwe balyambala obutavunda n’obutafa, ebigambo bino bijja kutuukirizibwa: “Okufa kumiriddwa [emirembe gyonna].” “Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa?” (Isaaya 25:8; Koseya 13:14) Okuluma okuleeta okufa kye kibi era amaanyi g’ekibi gaali Mateeka, agaasaliranga aboonoonyi omusango gw’okufa. Naye olwa ssaddaaka ya Yesu n’okuzuukira kwe, okufa okwasikirwa okuva ku Adamu omwonoonyi tekuliddamu kutuuka ku buwanguzi nate.—Abaruumi 5:12; 6:23.
17. Ebigambo ebiri 1 Abakkolinso 15:58 bitukwatako bitya leero?
17 “Kale, baganda bange abaagalwa,” bw’atyo Pawulo bwe yagamba, “munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongera bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng’okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 15:58) Ebigambo ebyo bikwata ku nsigalira y’abaafukibwako amafuta abaliwo leero era ne ku ‘ndiga endala’ eza Yesu wadde nga bafudde mu nnaku zino ez’oluvannyuma. (Yokaana 10:16) Okufuba kwabwe ng’abalangirizi b’Obwakabaka si kwa bwereere, kubanga balindiridde okuzuukira. Kale nno, ng’abaweereza ba Yakuwa, tubeere n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe nga tulindirira olunaku bwe tulyogerera waggulu n’essanyu nti: “Okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa?”
Essuubi ly’Okuzuukira Lituukirizibwa!
18. Essuubi Pawulo lye yalina mu kuzuukira lyali linywevu kwenkana wa?
18 Ebigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso essuula 15 biraga bulungi nti essuubi ly’okuzuukira lyalina amaanyi mu bulamu bwe. Yali mukakafu ddala nti Yesu yazuukizibwa mu bafu era nti abalala nabo bandizuukiziddwa okuva emagombe. Olina okukkiriza ng’okwo okw’amaanyi? Pawulo yatwala ebitiibwa byonna bye yalina emabega ‘ng’ebitagasa’ era ‘ne yeefiiriza byonna’ asobole okumanya Kristo n’amaanyi g’okuzuukira.’ Omutume yali mwetegefu okufa nga Kristo ng’asuubira okubeera mu ‘kuzuukira okusooka.’ Era nga kuyitibwa ‘okuzuukira okw’olubereberye,’ kutuuka ku bagoberezi ba Yesu 144,000 abaafukibwako amafuta. Yee, bazuukizibwa mu bulamu obw’omwoyo mu ggulu, songa ate “abafu abalala” bajja kuzuukizibwa ku nsi.—Abafiripi 3:8-11, NW; Okubikkulirwa 7:4; 20:5, 6.
19, 20. (a) Bantu ki ab’omu biseera bya Baibuli abajja okuzuukizibwa ku nsi? (b) Kuzuukira kw’ani kwe weesunga?
19 Essuubi ly’okuzuukira lituukiridde eri abaafukibwako amafuta ababadde abeesigwa okutuuka okufa. (Abaruumi 8:18; 1 Abasessaloniika 4:15-18; Okubikkulirwa 2:10) Abanaawonawo ku ‘kibonyoobonyo ekinene’ bajja kulaba okutuukirizibwa kw’essuubi ly’okuzuukira ku nsi nga ‘ennyanja ereeta abafu abagirimu, era okufa n’Amagombe nga bireeta abafu ababirimu.’ (Okubikkulirwa 7:9, 13, 14; 20:13) Mu abo abalizuukizibwa okufuna obulamu ku nsi mulibaamu Yobu, eyafiirwa abaana ab’obulenzi musanvu n’ab’obuwala basatu. Teebereza essanyu ly’aliba nalyo mu kubaaniriza nate—era nga nabo baliba basanyufu nnyo okumanya nti balina baganda baabwe abalala musanvu ne bannyinaabwe abalala basatu abalabika obulungi!—Yobu 1:1, 2, 18, 19; 42:12-15.
20 Nga kiriba kya ssanyu nnyo nga Ibulayimu ne Saala, Isaaka ne Lebbeeka—yee n’abalala bangi, nga mw’otwalidde “bannabbi bonna”—bazuukizibwa mu bulamu ku nsi! (Lukka 13:28) Omu ku bannabbi abo yali Danyeri, eyasuubizibwa okuzuukizibwa wansi w’obufuzi bwa Masiya. Okumala emyaka nga 2,500, Danyeri abadde yeebase mu ntaana, naye okuyitira mu maanyi g’okuzuukira, mu kiseera ekitali ky’ewala ajja ‘kuyimirira okufuna omugabo gwe’ ng’omu ku ‘balangira ku nsi.’ (Danyeri 12:13; Zabbuli 45:16) Nga kiriba kya ssanyu nnyo okwaniriza, si abeesigwa bokka ab’edda, naye era ne taata wo, maama wo, mutabani wo, muwala wo, oba abaagalwa abalala bonna abaatwalibwa omulabe kufa!
21. Lwaki tetwandironzalonzezza okukolera abalala ebirungi?
21 Abamu ku mikwano gyaffe n’abaagalwa baffe bayinza okuba baweerezza Katonda okumala amakumi g’emyaka era nga kati bakaddiye. Obukadde buyinza okukifuula ekizibu gye bali okwolekagana n’ebisoomooza mu bulamu. Nga kiba kikolwa kya kwagala okubayamba mu ngeri yonna nga bwe tusobola kati! Mu ngeri eyo tetujja kwejjusa nti tetwabayamba singa kufa abawangula. (Omubuulizi 9:11; 12:1-7; 1 Timoseewo 5:3, 8) Tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa tajja kwerabira ebirungi bye tukolera abalala, ka babeere na myaka ki oba mu mbeera ki. “Bwe tunaalabanga ebbanga,” bw’atyo Pawulo bwe yawandiika, “tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.”—Abaggalatiya 6:10; Abaebbulaniya 6:10.
22. Okutuusa ng’essuubi ly’okuzuukira lituukiriziddwa, kiki kye twandibadde abamalirivu okukola?
22 Yakuwa ye “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” (2 Abakkolinso 1:3, 4, NW) Ekigambo kye kitubudaabuda era kituyamba okubudaabuda abalala n’essuubi ery’okuzuukira ery’amaanyi. Okutuusa nga tulabye okutuukirizibwa kw’essuubi eryo ng’abafu bazuukizibwa mu bulamu ku nsi, ka tubeere nga Pawulo, eyalina essuubi mu kuzuukira. N’okusingira ddala ka tukoppe Yesu, eyalina essuubi mu maanyi ga Katonda okumuzuukiza era ne lituukirira. Abo abali mu ntaana ezijjukirwa mu kiseera kitono bajja kuwulira eddoboozi lya Kristo baveemu. Ekyo ka kituleetere okubudaabuda n’essanyu. Naye okusinga byonna, ka twebaze Yakuwa, awangudde okufa okuyitira mu Mukama waffe Yesu Kristo!
Oddamu Otya?
• Bukakafu ki obw’okuzuukira kwa Yesu okuva eri abo abaalabako n’agaabwe Pawulo bwe yawa?
• “Omulabe ow’enkomerero” y’aluwa era anaggibwawo atya?
• Ku bikwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, kiki ekisigibwa era kiki ekizuukizibwa?
• Bantu ki ab’omu Baibuli be wandyagadde okusisinkana nga bazuukiziddwa mu bulamu ku nsi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Omutume Pawulo yalwanirira nnyo okuzuukira
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
Okuzuukira kwa Yobu, amaka ge, n’abalala bangi kujja kuleeta essanyu ppitirivu!