Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abakkolinso
OMUTUME Pawulo afaayo nnyo ku mbeera y’eby’omwoyo ey’ekibiina ky’e Kkolinso. Awuliddeko nti waliwo enjawukana mu b’oluganda mu kibiina ekyo. Obukaba n’obwenzi bittirwa ku liiso. Ekibiina kiwandiikidde Pawulo okumwebuuzaako ku nsonga ezitali zimu. Bwe kityo, awo nga mu 55 C.E. ng’ali mu Efeso ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu, Pawulo awandiika ebbaluwa ye esooka eri Abakkolinso.
Ebbaluwa eyokubiri, eyongereza ku eri eyasooka kirabika nti yawandiikibwa nga waakayitawo emyezi mitono bukya eyasooka ewandiikibwa. Okuva bwe kiri nti embeera eyaliwo ebweru ne munda mu kibiina ky’e Kkolinso eky’omu kyasa ekyasooka mu bintu bingi efaanagana n’eyo eriwo mu kiseera kyaffe, obubaka obuli mu bbaluwa ebbiri Pawulo ze yawandiikira Abakkolinso bwa muganyulo nnyo gye tuli.—Beb. 4:12.
‘MUTUNULENGA, MUNYWERENGA, MUBEERENGA BA MAANYI’
Pawulo agamba nti: ‘Mwogeranga bumu.’ (1 Kol. 1:10) ‘Tewali musingi mulala okuggyako Yesu Kristo,’ engeri z’Ekikristaayo kwe zizimbirwa. (1 Kol. 3:11-13) Ng’ayogera ku mwenzi eyali mu kibiina ekyo, Pawulo agamba: “Omubi oyo mumuggye mu mmwe.” (1 Kol. 5:13) Agamba nti: “Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe.”—1 Kol. 6:13.
Ng’abaanukula ‘ku ebyo bye baamuwandiikira,’ Pawulo abawa amagezi amalungi ennyo ku bufumbo ne ku kubeera obwannamunigina. (1 Kol. 7:1) Bw’amala okwogera ku musingi gw’obukulembeze bw’Ekikristaayo, enteekateeka ennungi mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, n’obukakafu obulaga nti waliyo okuzuukira, Pawulo agamba nti: “Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi.”—1 Kol. 16:13.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:21—Ddala Yakuwa akozesa “busirusiru” okulokola abo abakkiriza? Nedda. Kyokka, okuva bwe kiri nti ‘ensi mu magezi gaayo tetegeera Katonda,’ ky’akozesa okulokola abantu kirabika ng’eky’obusirusiru eri ensi.—Yok. 17:25.
5:5—Kitegeeza ki “okuwaayo [omusajja omubi] eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gulokoke”? Omuntu akoze ekibi eky’amaanyi n’ateenenya bw’agobebwa mu kibiina, addamu okufuuka ekitundu ky’ensi ya Setaani embi. (1 Yok. 5:19) Bwe kityo ayogerwako ng’aweereddwayo mu mikono gya Setaani. Omuntu oyo bw’agobebwa, ekintu ekibi ekyandyonoonye n’abalala kiba kiggiddwa mu kibiina, ne kiba nti ekibiina kisigaza omwoyo gwakyo omulungi oba embeera yaakyo ennuungi.—2 Tim. 4:22.
7:33, 34—Bintu ki ‘eby’omu nsi’ omusajja omufumbo oba omukazi omufumbo bye yeeraliikirira? Pawulo yali ayogera ku bintu ebikwata ku bulamu obwa bulijjo Abakristaayo abafumbo bye beetaaga. Mu bino mwe muli eby’okulya, eby’okwambala, aw’okusula, naye nga tebizingiramu bintu ebibi ebiri mu nsi Abakristaayo bye balina okwewala.—1 Yok. 2:15-17.
11:26, (NW)—Mirundi emeka okufa kwa Yesu gye kulina okujjukirwa, era ‘kutuusa’ ddi? Pawulo yali tategeeza nti okufa kwa Yesu kulina kujjukirwa mirundi mingi mu mwaka, wabula yali agamba nti buli mulundi Abakristaayo abaafukibwako amafuta lwe balya ku bubonero bw’Ekijjukizo, omulundi gumu omwaka nga Nisani 14, baba ‘balangirira okufa kwa Mukama waffe.’ Kino bakikola ‘okutuusa lw’ajja,’ kwe kugamba, okutuusa lw’abatwala mu ggulu nga bazuukiziddwa.—1 Bas. 4:14-17.
13:13—Mu ngeri ki okwagala gye kusinga okukkiriza n’okusuubira? Ebintu “ebisuubirwa” bwe bimala okutuukirira, okukkiriza n’okusuubira omuntu by’abadde nabyo mu ebyo ebituukiriziddwa bikoma awo. (Beb. 11:1) Okwagala kusinga okukkiriza n’okusuubira olw’okuba kwo kubeerera emirembe gyonna.
15:29, (NW)—Kitegeeza ki ‘okubatizibwa olw’ekigendererwa eky’okubeera abafu’? Pawulo yali tategeeza nti abalamu balina okubatizibwa ku lw’abo abaafa nga si babatize. Yali ayogera ku bulamu Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe bayingiramu obubeetaagisa okusigala nga beesigwa okutuusa okufa, n’oluvannyuma ne bazuukizibwa ng’ebitonde eby’omwoyo.
Bye Tuyigamu:
1:26-31; 3:3-9; 4:7. Okwenyumiriza mu Yakuwa, mu kifo ky’okwewaana olw’ebyo bye tuba tutuuseeko, kireetawo obumu mu kibiina.
2:3-5. Bwe yali abuulira mu Kkolinso, ekifo omwali musinga okuba abafirosoofo n’abayivu ab’omu Buyonaani, Pawulo ayinza okuba yalowooza nti tajja kusobola kusikiriza abo abaali bamuwuliriza. Kyokka, teyakkiriza kintu kyonna kumutiisa oba kumulemesa kutuukiriza buweereza bwe obwamuweebwa Katonda. Mu ngeri y’emu, naffe tetusaanidde kukkiriza mbeera yonna nzibu mwe tuyinza okwesanga kutulemesa kulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Tusaanidde okwesiga Yakuwa okutuyamba nga Pawulo bwe yakola.
2:16. Okufuna ‘endowooza ya Kristo’ kwe kutegeera obulungi endowooza gy’alina n’okutegeera lwaki bw’atyo bw’alowooza, okuba n’endowooza y’emu nga gy’alina, okutegeera obulungi engeri ze, era n’okumukoppa. (1 Peet. 2:21; 4:1) Nga kikulu okusoma n’obwegendereza ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe!
3:10-15; 4:17. Tusaanidde okwekenneenya n’okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu oba gye tuyambamu abantu okufuuka abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Singa abayizi tetubasomesa bulungi, bayinza obutasigala nga beesigwa okukkiriza kwabwe bwe kugezesebwa, era tuyinza okuwulira obubi ennyo ne kiba nti obulokozi bwaffe buba ‘ng’obuyise mu muliro.’
6:18. ‘Okwewala obwenzi’ tekikoma ku kwewala bikolwa bya bwenzi (por·neiʹa) kyokka, naye era kizingiramu n’okwewala okulaba n’okusoma ebintu eby’obugwenyufu, okwewala obutali bulongoofu, n’okwewala okulowoolereza ku by’okwetaba, okuzannyirira n’omuntu bwe mutafaananya kikula—ekintu kyonna ekiyinza okusuula omuntu mu bwenzi.—Mat. 5:28; Yak. 3:17.
7:29. Abafumbo balina okwegendereza baleme okwemalira nnyo ku bufumbo bwabwe ekiyinza okubaviirako okussa eby’Obwakabaka mu kifo eky’okubiri.
10:8-11. Yakuwa yawulira bubi nnyo Abaisiraeri bwe beemulugunyiza Musa ne Alooni. Kya magezi ffe okwewala omuze gw’okwemulugunya.
16:2. Okuba n’enteekateeka ennungi kijja kutuyamba okubaako ne kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka.
‘MWEYONGERE OKUTEREEZEBWA’
Pawulo agamba Abakkolinso nti basaanidde “okusonyiwa n’okubudaabuda” omwonoonyi eyali yakangavvulwa naye oluvannyuma ne yeenenya. Wadde nga yabanakuwaza mu bbaluwa ye eyasooka, Pawulo asanyuka kubanga ‘baanakuwala n’okwenenya ne beenenya.’—2 Kol. 2:6, 7, NW; 7:8, 9.
‘Nga bwe basukkiridde mu byonna,’ Pawulo akubiriza Abakkolinso ‘okusukkirira’ mu kuwaayo. Bw’amala okwanukula abawakanyi, afundikira ng’awa bonna amagezi gano: “Mweyongere okusanyuka, okutereezebwa, okubudaabudibwa, okulowooza obumu, okuba mu mirembe.”—2 Kol. 8:7; 13:11, NW.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:15, 16—Mu ngeri ki gye tuli ‘evvumbe eddungi erya Kristo’? Kiri bwe kityo kubanga tukolera ku ekyo Baibuli ky’egamba era tubuulira obubaka bwayo. Wadde ‘ng’akaloosa’ ng’ako kayinza okuwunyira obubi abo abatali batuukirivu, naye eri Yakuwa n’abo ab’emitima emirungi kawunya evvumbe eddungi.
5:16—Mu ngeri ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye ‘batamanyi muntu yenna mu mubiri’? Tebatunuulira bantu nga basinziira ku ndabika yaabwe ey’okungulu, kwe kugamba, tebasosola muntu yenna nga basinziira ku nfuna ye, langi ye, eggwanga lye oba ensi mw’ava. Kye batwala ng’ekikulu y’enkolagana ey’eby’omwoyo ne bakkiriza bannaabwe.
11:1, 16; 12:11—Pawulo yali musirusiru eri Abakkolinso? Si bwe kyali. Kyokka, eri abamu ayinza okuba nga yalabika ng’eyeewaana era omusirusiru olw’ebyo bye yayogera ng’agezaako okulaga nti abo abaali bamuwakanya nti si mutume baali bakyamu.
12:1-4—Ani “yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda”? Okuva bwe kiri nti Baibuli teyogera ku muntu mulala yenna yafuna kwolesebwa ng’okwo, ate ng’ebigambo bino biddirira ebyo Pawulo bye yayogera ng’alaga nti abo abaali bagamba nti si mutume baali bakyamu, Pawulo ayinza okuba nga yali ayogera ku bintu ebyamutuukako ye kennyini. Okwolesebwa omutume kwe yaweebwa kwali kukwata ku lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo Abakristaayo lwe balimu mu ‘kiseera kino eky’enkomerero.’—Dan. 12:4.
Bye Tuyigamu:
3:5. Olunyiriri luno lulaga nti Yakuwa y’asobozesa Abakristaayo okutuukiriza obuweereza bwabwe ng’ayitira mu Kigambo kye, omwoyo gwe omutukuvu, n’ekibiina kye ku nsi. (Yok. 16:7; 2 Tim. 3:16, 17) Kiba kya magezi okufuba okwesomesa Baibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola, okunyiikirira okusaba Katonda okutuwa omwoyo gwe omutukuvu, n’obutayosa kubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okuzenyigiramu.—Zab. 1:1-3; Luk. 11:10-13; Beb. 10:24, 25.
4:16. Olw’okuba Yakuwa azza buggya ‘omuntu waffe ow’omunda bulijjo bulijjo,’ tetusaanidde kulagajjalira ebyo Yakuwa by’atuwa wadde okuleka olunaku okuyitawo nga tetufumiitirizza ku bintu eby’omwoyo.
4:17, 18. Okukijjukira nti ‘okubonaabona kwaffe tekuzitowa era nti kwa kiseera kitono’ kituyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ne mu biseera ebizibu.
5:1-5. Nga Pawulo alaga bulungi engeri Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye beesunga okufuna obulamu mu ggulu!
10:13. Okuggyako nga tusabiddwa okubuulira mu kitundu awali obwetaavu obusingako, tusaanidde kubuulira mu kitundu kyokka ekyaweebwa ekibiina kyaffe.
13:5. ‘Okwekebera obanga tuli mu kukkiriza’ kizingiramu okulaba obanga enneeyisa yaffe etuukana n’ebyo bye tusoma mu Baibuli. ‘Okukakasa ekyo kye tuli’ kizingiramu okwekenneenya embeera yaffe ey’eby’omwoyo, obusobozi bw’okukozesa “amagezi” gaffe n’okwekenneenya ebikolwa byaffe ebyoleka okukkiriza. (Beb. 5:14; Yak. 1:22-25) Bwe tussa mu nkola okubuulirira kwa Pawulo, kituyamba okweyongera okutambulira mu mazima.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26 27]
Makulu ki agali mu bigambo “buli lwe munaalyanga ku mugaati ne lwe munaanywanga ku kikompe”?—1 Kol. 11:26