Ndowooza y’Ani gy’Olina?
“Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno.”—BAR. 12:2.
1, 2. (a) Yesu yaddamu atya Peetero bwe yamugamba okwesaasira? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Lwaki Yesu yamudamu bw’atyo?
ABAYIGIRIZWA ba Yesu baali tebakkiriza ekyo kye baali bawulira. Yesu, gwe baali basuubira okuzzaawo obwakabaka bwa Isirayiri, yabagamba nti yali anaatera okubonyaabonyezebwa era attibwe. Peetero yagamba Yesu nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.” Yesu yamuddamu nti: “Dda ennyuma wange Sitaani! Oli nkonge gye ndi, kubanga endowooza yo si ya Katonda wabula ya bantu.”—Mat. 16:21-23; Bik. 1:6.
2 Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yalaga enjawulo eriwo wakati w’endowooza eva eri Katonda n’endowooza eva eri ensi efugibwa Sitaani. (1 Yok. 5:19) Ebigambo bya Peetero byayoleka endowooza y’ensi ey’okwesaasira. Naye Yesu yali akimanyi nti endowooza ya Kitaawe ya njawulo. Yali akimanyi nti Katonda yali ayagala yeetegekere okubonaabona n’okufa ebyali bigenda okumutuukako. Engeri Yesu gye yaddamu Peetero yalaga nti yalina endowooza ya Yakuwa era nti yali yeewalira ddala endowooza y’ensi.
3. Lwaki si kyangu okwewala endowooza y’ensi n’okuba n’endowooza ya Yakuwa?
3 Ate ffe? Tulina ndowooza ya Katonda oba ya nsi? Kya lwatu nti tuyinza okuba nga tufubye okutuukanya enneeyisa yaffe n’emitindo gya Yakuwa. Naye ate yo endowooza yaffe? Tufuba okutuukanya endowooza yaffe n’endowooza ya Yakuwa? Ekyo kyetaagisa okufuba. Kyokka tekyetaagisa kufuba okusobola okufuna endowooza y’ensi. Ekyo kiri kityo kubanga omwoyo gw’ensi guli buli wamu. (Bef. 2:2) Ate era endowooza y’ensi esikiriza kubanga ereetera abantu okwerowoozaako bokka. Mazima ddala si kyangu kuba na ndowooza ya Yakuwa naye ate kyangu nnyo okuba n’endowooza ey’ensi.
4. (a) Kiki ekitutuukako singa tutwalirizibwa endowooza y’ensi? (b) Ekitundu kino kinaatuyamba kitya?
4 Bwe tukkiriza okutwalirizibwa endowooza y’ensi tutandika okwerowoozaako ffekka era tufuna omwoyo gwa kyetwala. (Mak. 7:21, 22) N’olwekyo tusaanidde okufuba okuba ‘n’endowooza ya Katonda,’ so si ‘ey’abantu.’ Ekitundu kino kijja kutuyamba mu nsonga eyo. Kiraga ensonga lwaki okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa tekitumalaako mirembe wabula kituganyula. Era kiraga engeri gye tuyinza okwewala okutwalirizibwa endowooza y’ensi. Ekitundu ekiddako kiraga engeri gye tuyinza okuba n’endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitali bimu.
OKUBA N’ENDOWOOZA YA YAKUWA KITUGANYULA ERA KIREETA ESSANYU
5. Lwaki abantu abamu tebaagala kuba na ndowooza ya mulala yenna?
5 Abantu abamu tebaagala kuba na ndowooza efaanana n’ey’omulala yenna. Batera okugamba nti, “Nze nneerowooleza.” Naye abantu abo kye baba bagezaako okutegeeza kiri nti beesalirawo kye baagala era nti balina eddembe okukikola. Tebaagala muntu yenna kubafuga oba kubaleetera kuba ng’abantu abalala.a
6. (a) Ddembe ki Yakuwa ly’atuwa? (b) Eddembe eryo teririiko kkomo?
6 Kyokka okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa tekitegeeza nti tetulina kye tusobola kwerowooleza. Nga bwe kiragibwa mu 2 Abakkolinso 3:17, “omwoyo gwa Yakuwa we guba wabaawo eddembe.” Yakuwa atuwa eddembe okusalawo ekyo kye twagala okuba. Tusobola okwesalirawo ebintu bye twagala n’ebitunyumira. Bw’atyo Yakuwa bwe yatutonda. Naye eddembe lye tulina liriko ekkomo. (Soma 1 Peetero 2:16.) Bwe kituuka ku kusalawo ekituufu n’ekikyamu, Yakuwa ayagala tugoberere endowooza ye nga tusalawo. Ekyo kitumalako emirembe, oba kya muganyulo gye tuli?
7, 8. Lwaki okuba n’endowooza ya Yakuwa tekitumalaako ddembe? Waayo ekyokulabirako.
7 Lowooza ku kyokulabirako kino. Abazadde bafuba okubaako ebintu ebirungi bye bayigiriza abaana baabwe. Bayinza okubayigiriza okuba abeesigwa, okuba abakozi abanyiikivu, n’okufaayo ku balala. Ekyo tekimalaako baana baabwe ddembe. Abazadde abo baba bateekateeka abaana baabwe basobole okuba abantu abalungi nga bakuze. Abaana bwe bakula ne bava awaka baba ba ddembe okwesalirawo kye baagala. Abaana abo bwe basalawo okukolera ku ebyo bazadde baabwe bye baabayigiriza baba basobola okusalawo mu ngeri ennungi eteebaleetere kwejjusa. Ekyo kibayamba okwewala emitawaana mingi.
8 Okufaananako omuzadde omulungi, Yakuwa ayagala abaana be babe n’obulamu obusingayo obulungi. (Is. 48:17, 18) N’olwekyo, atuwa emisingi egikwata ku mpisa ne ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu abalala. Yakuwa atukubiriza okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira n’okutambulira ku mitindo gye. Ekyo tekitumalaako ddembe, wabula kituyamba okuba n’endowooza entuufu. (Zab. 92:5; Nge. 2:1-5; Is. 55:9) Tuba tusobola okwesalirawo ebintu bye twagala mu kiseera kye kimu ne tuba nga tusazeewo mu ngeri entuufu era etuleetera essanyu. (Zab. 1:2, 3) Tewali kubuusabuusa nti okuba n’endowooza ya Yakuwa kituganyula nnyo era kireeta essanyu!
ENDOWOOZA YA YAKUWA YA WAGGULU NNYO
9, 10. Kyeraze kitya nti endowooza ya Yakuwa ya waggulu nnyo ku y’ensi?
9 Ensonga endala lwaki abaweereza ba Yakuwa baagala okutuukanya endowooza yaabwe n’endowooza ya Katonda eri nti endowooza ya Katonda ya waggulu nnyo ku y’ensi eno. Ensi ewa obulagirizi ku bintu ebitali bimu, gamba nga ku maka, ku mirimu, ku ngeri y’okweyisaamu, ne ku bintu ebirala. Naye obusinga obungi ku bulagirizi obwo bukontana n’endowooza ya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, ensi ekubiriza abantu buli omu okwenoonyeza ebibye. Era ekubiriza abantu okutwala obugwenyufu ng’ekintu ekitali kibi. Era oluusi ekubiriza abafumbo okugattululwa ne ku nsonga ezitali nkulu nti basobole okuba abasanyufu. Endowooza ng’ezo zikontana n’Ebyawandiikibwa. Naye amagezi ensi g’ewa ga muganyulo okusinga ago agali mu Bayibuli?
10 Yesu yagamba nti: “Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.” (Mat. 11:19) Ensi ekulaakulanye nnyo mu bya tekinologiya, naye tesobodde kugonjoola bizibu eby’amaanyi ebiviirako abantu okuggwebwako essanyu, gamba ng’entalo, obusosoze mu langi, n’obumenyi bw’amateeka. Ate era ensi etwala ebikolwa eby’obugwenyufu okuba nti si bibi. Naye abantu bangi bakirabye nti ekyo tekigonjodde bizibu wabula kiviiriddeko amaka okusattulukuka, endwadde okusaasaana, n’ebizibu ebirala. Ku luuyi olulala, Abakristaayo abalina endowooza ya Katonda balina amaka amasanyufu, beewala endwadde eziva mu bugwenyufu, era bali mu mirembe ne bakkiriza bannaabwe mu nsi yonna. (Is. 2:4; Bik. 10:34, 35; 1 Kol. 6:9-11) Ekyo tekiraga nti endowooza ya Yakuwa ya waggulu nnyo ku y’ensi?
11. Ndowooza y’ani Musa gye yalina, era biki ebyavaamu?
11 Abaweereza ba Katonda ab’amazima aboogerwako mu Bayibuli baali bakimanyi nti endowooza ya Yakuwa y’esingayo obulungi. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Musa yali yayigirizibwa “mu magezi gonna ag’Abamisiri,” yasaba Katonda amuwe “omutima ogw’amagezi.” (Bik. 7:22; Zab. 90:12) Ate era yasaba Yakuwa nti: “Mmanyisa amakubo go.” (Kuv. 33:13) Olw’okuba yali akolera ku ndowooza ya Yakuwa, Yakuwa yamukozesa mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye, era ayogerwako mu Byawandiikibwa ng’omusajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi.—Beb. 11:24-27.
12. Omutume Pawulo yeesigamanga ku ki ng’aliko by’asalawo?
12 Omutume Pawulo yali musajja mugezi nnyo, nga muyivu, era ng’amanyi ennimi ezitakka wansi wa bbiri. (Bik. 5:34; 21:37, 39; 22:2, 3) Naye bwe kyatuukanga ku kusalawo ekituufu n’ekikyamu, yeewalanga okugoberera amagezi g’ensi. Mu kifo ky’ekyo, yagobereranga endowooza eri mu Byawandiikibwa. (Soma Ebikolwa 17:2; 1 Abakkolinso 2:6, 7, 13.) N’ekyavaamu, Pawulo yasobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwe era yalina essuubi ery’okufuna empeera ey’olubeerera.—2 Tim. 4:8.
13. Ani alina okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa?
13 Tewali kubuusabuusa nti endowooza ya Katonda esingira wala endowooza y’ensi. Bwe tukolera ku ndowooza ya Katonda tufuna essanyu lingi era tuba n’obulamu obulungi. Naye Yakuwa tatukaka kuba na ndowooza ye. “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” tafuga ndowooza zaffe era n’abakadde tebafuga ndowooza zaffe. (Mat. 24:45; 2 Kol. 1:24) Kiri eri buli Mukristaayo okutuukanya endowooza ye n’eya Katonda. Ekyo tuyinza tutya okukikola?
WEEWALE OKUTWALIRIZIBWA ENSI
14, 15. (a) Okusobola okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa kiki kye tusaanidde okufumiitirizaako? (b) Okusinziira ku Abaruumi 12:2, lwaki tulina okwewala okuyingiza mu birowoozo byaffe endowooza y’ensi? Waayo ekyokulabirako.
14 Abaruumi 12:2, wagamba nti: “Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno, naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya, mulyoke mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” Ebigambo ebyo biraga nti ka kibe ki ekyali kifuga endowooza yaffe nga tetunnayiga mazima, tusobola okutuukanya endowooza yaffe n’endowooza ya Yakuwa. Kyo kituufu nti obuzaale bwaffe n’ebyo bye twayitamu birina kye byakola ku ndowooza yaffe. Naye endowooza esobola okukyuka. Kyokka okusingira ddala ebyo bye tuyingiza mu birowoozo byaffe n’ebyo bye tusalawo okulowoozaako birina kinene kye bikola ku ndowooza yaffe. Bwe tufumiitiriza ku ndowooza ya Yakuwa tujja kukiraba nti engeri gy’atunuuliramu ebintu bulijjo ye ntuufu. Ekyo kijja kukifuula kyangu gye tuli okutuukanya endowooza yaffe n’eyiye.
15 Naye okusobola okukyusa endowooza yaffe n’eba ng’etuukana n’eya Yakuwa tulina ‘okulekera awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno.’ Tulina okulekera awo okuyingiza mu birowoozo byaffe ebintu ebikontana n’endowooza ya Yakuwa. Okusobola okutegeera ensonga eno, lowooza ku kyokulabirako kino. Omuntu ayinza okwagala okuba omulamu obulungi ng’alya emmere erimu ebiriisa. Naye emmere eyo tesobola kumugasa singa era alya ne ku mmere etali nnyonjo. Mu ngeri y’emu, bwe tufuba okuyingiza mu birowoozo byaffe endowooza ya Yakuwa ate mu kiseera kye kimu ne tuba nga tubiyingizaamu n’endowooza y’ensi, kiba tekituyamba.
16. Kiki kye tusaanidde okwewala?
16 Tuyinza okwewalira ddala okuwuliriza endowooza z’ensi? Nedda. Tetusobola kuva mu nsi. N’olwekyo, tetusobola kwewalira ddala kuwuliriza ndowooza zaayo. (1 Kol. 5:9, 10) Ne bwe tuba tukola omulimu ogw’okubuulira tusanga abantu abalina endowooza enkyamu era abakkiririza mu bintu ebitali bituufu. Naye bwe twesanga mu mbeera nga tetusobola kwewala kuwuliriza ndowooza za nsi, tetusaanidde kuzifumiitirizaako oba okuzikkiriza. Okufaananako Yesu, tulina okwesamba mu bwangu endowooza ezituukiriza ebigendererwa bya Sitaani. Ate era tulina okukola kyonna ekisoboka okwewala okuwuliriza endowooza z’ensi.—Soma Engero 4:23.
17. Ebimu ku ebyo bye tuyinza okukola okwewala endowooza y’ensi bye biruwa?
17 Ng’ekyokulabirako, tulina okwegendereza nga tulonda abo be tufuula mikwano gyaffe egy’oku lusegere. Bayibuli etugamba nti bwe tukola omukwano ogw’oku lusegere n’abantu abatasinza Yakuwa, tujja kutwalirizibwa endowooza yaabwe. (Nge. 13:20; 1 Kol. 15:12, 32, 33) Ate era tulina okwegendereza nga tulondawo eby’okwesanyusaamu. Bwe twewala eby’okwesanyusaamu ebireetera abantu obutakkiririza mu Katonda n’ebyo ebirimu ebikolwa eby’obukambwe oba eby’obugwenyufu, tuba tukuuma endowooza yaffe ereme kwonoonebwa endowooza ‘eziwakanya okumanya okukwata ku Katonda.’—2 Kol. 10:5.
18, 19. (a) Lwaki tulina okwegendereza endowooza z’ensi ezitumbulwa mu ngeri enneekusifu? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza, era lwaki?
18 Ate era tulina okutegeera n’okwewala endowooza z’ensi ne bwe zireetebwa mu ngeri enneekusifu. Ng’ekyokulabirako, amawulire gayinza okuba nga galimu kyekubiira mu by’obufuzi. Ate era programu za ttivi ezimu oba eza leediyo ziyinza okuba nga zitumbula ebigendererwa by’abantu oba nga zitendereza nnyo ebyo abantu bye batuuseeko. Ate firimu ezimu n’ebitabo ebimu bitumbula endowooza egamba nti “ebyange oba eby’amaka gange bye birina okusooka,” era biraga nti endowooza eyo nnungi era ntuufu. Endowooza ezo zikontana n’endowooza ey’omu Byawandiikibwa eraga nti omuntu oba ab’omu maka okusobola okuba abasanyufu, Yakuwa gwe balina okukulembeza mu bulamu bwabwe. (Mat. 22:36-39) Ate era n’engero ezimu ez’abaana wadde nga ziyinza okulabika ng’ezitalina mutawaana, ziyinza okusiga mu baana empisa ez’obugwenyufu.
19 Kyokka ekyo tekitegeeza nti kikyamu okwesanyusaamu mu ngeri esaana. Naye tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ndaba mangu endowooza y’ensi ne bw’eba ng’ereeteddwa mu ngeri enneekusifu? Nteekawo ekkomo ku ebyo abaana bange oba nange kennyini bye ndaba, bye mpuliriza, ne bye nsoma? Nnyamba abaana bange okumanya endowooza ya Yakuwa baleme kutwalirizibwa ndowooza za nsi ze baba bawulidde?’ Bwe tumanya enjawulo eriwo wakati w’endowooza ya Katonda n’endowooza y’ensi, tusobola okwewala “okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno.”
OLINA NDOWOOZA Y’ANI?
20. Kiki ekinaatuviirako okuba n’endowooza ya Katonda oba ey’ensi?
20 Kijjukire nti waliwo endowooza za mirundi ebiri. Waliwo endowooza ya Yakuwa n’endowooza y’ensi eri mu buyinza bwa Sitaani. Ndowooza y’ani gye tulina? Endowooza gye tulina esinziira ku ani gwe tuwuliriza. Bwe tuyingiza mu birowoozo byaffe endowooza z’ensi tujja kulowooza nga yo era tweyise ng’abantu baayo bwe beeyisa. N’olwekyo kikulu nnyo okwegendereza ebyo bye tulowoozaako.
21. Kintu ki ekikulu kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
21 Nga bwe twalabye, okusobola okuba n’endowooza ya Yakuwa tetulina kukoma ku kwewala bintu ebyonoona endowooza yaffe. Tulina n’okuyingiza mu birowoozo byaffe endowooza ya Yakuwa, nga tulina ekigendererwa eky’okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Mu kitundu ekiddako tujja kweyongera okulaba engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.
a Ekituufu kiri nti n’abantu abasingayo okwagala okuba n’endowooza eyaabwe ku bwabwe tebasobola kwewalira ddala ndowooza z’abalala. Ka babe nga bafumiitiriza ku kintu ekikulu ennyo, gamba ng’ensibuko y’obulamu oba nga basalawo ku bintu ebya bulijjo, gamba nga kye banaayambala, mu ngeri emu oba endala bakolera ku ndowooza z’abalala. Kyokka tusobola okusalawo ndowooza y’ani gye tunaagoberera.