Weereza Yakuwa, Katonda ow’Eddembe
“Omwoyo gwa Yakuwa we guba wabaawo eddembe.”—2 KOL. 3:17.
1, 2. (a) Lwaki abantu abaaliwo mu kiseera ky’omutume Pawulo baali boogera nnyo ku nsonga ekwata ku buddu n’eddembe? (b) Ani Pawulo gwe yagamba nti y’asobola okuwa abantu eddembe erya nnamaddala?
ABANTU b’omu bwakabaka bwa Rooma, Abakristaayo abaasooka be baali babeeramu, baali beenyumiririza nnyo mu kukwasisa amateeka, mu kwoleka obwenkanya, ne mu kulwanirira eddembe. Naye okutwalira awamu, amaanyi n’ekitiibwa obwakabaka bwa Rooma bye bwalina byali bivudde ku bantu abangi be bwali bufudde abaddu. Waaliwo ekiseera ng’abantu 30 ku buli kikumi abaali mu bwakabaka bwa Rooma baddu. Tewali kubuusabuusa nti ensonga ekwata ku buddu n’eddembe abantu baagyogerangako nnyo, nga mw’otwalidde n’Abakristaayo.
2 Amabaluwa omutume Pawulo ge yawandiika googera nnyo ku ddembe. Naye ekigendererwa ky’obuweereza bwe tekyali kya kuleetawo nkyukakyuka mu mbeera z’abantu ne mu by’obufuzi, ebintu abantu b’omu kiseera ekyo bye baali bettanira ennyo. Mu kifo ky’okussa essuubi mu bufuzi bw’abantu oba mu bibiina byabwe nti bye byandisobodde okuyamba abantu okufuna eddembe, Pawulo n’Abakristaayo abalala baafuba nnyo okubuulira abantu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’ekinunulo kya Kristo Yesu. Pawulo yayamba Bakristaayo banne okumanya Ensibuko y’eddembe erya nnamaddala. Ng’ekyokulabirako, mu bbaluwa ey’okubiri gye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso yagamba nti: “Yakuwa gwe Mwoyo, era omwoyo gwa Yakuwa we guba wabaawo eddembe.”—2 Kol. 3:17.
3, 4. (a) Nga Pawulo tannaba kwogera bigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 3:17 kiki kye yasooka okwogerako? (b) Kiki kye tulina okukola okusobola okuba n’eddembe eriva eri Yakuwa?
3 Nga Pawulo tannaba kwogera bigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 3:17, yasooka kwogera ku kitiibwa Musa kye yalina ng’ava ku Lusozi Sinaayi okwogera ne malayika wa Yakuwa. Abantu bwe baalaba Musa, baatya nnyo, era Musa yeebikka ekitambaala mu maaso. (Kuv. 34:29, 30, 33; 2 Kol. 3:7, 13) Naye Pawulo yagamba nti: “Bwe wabaawo adda eri Yakuwa ekibikka kiggibwawo.” (2 Kol. 3:16) Kiki Pawulo kye yali ategeeza?
4 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyaggwa, Yakuwa Omutonzi w’ebintu byonna ye yekka alina eddembe ery’enkomeredde. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Yakuwa w’aba era ‘omwoyo gwe we guba,’ wabaawo eddembe. Kyokka okusobola okufuna eddembe eryo oba okuliganyulwamu, tulina ‘okudda eri Yakuwa,’ kwe kugamba, tulina okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Abayisirayiri bwe baali mu ddungu, ebintu baali tebabitunuulira mu ngeri ya bya mwoyo. Emitima gyabwe n’ebirowoozo byabwe byali ng’ebibikiddwako ekitambaala, ng’eddembe lye baali bafunye oluvannyuma lw’okuggibwa mu buddu e Misiri baagala kulikozesa mu kukkusa okwegomba kwabwe okw’omubiri.—Beb. 3:8-10.
5. (a) Ddembe ki omwoyo gwa Yakuwa lye guleeta? (b) Kiki ekiraga nti okusibibwa mu kkomera oba okuba mu buddu tekiremesa muntu kuba na ddembe eriva eri Yakuwa? (c) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
5 Kyokka eddembe omwoyo gwa Yakuwa lye guleeta, lisingira wala eddembe omuntu ly’afuna ng’asumuluddwa mu buddu obwa bulijjo. Omwoyo gwa Yakuwa gusumulula abantu mu buddu bw’ekibi n’okufa ne mu buddu bw’okusinza okw’obulimba awamu n’ebikolwa ebikolebwa mu kusinza okwo, era eddembe eryo tewali muntu yenna asobola kulireeta wabula omwoyo gwa Yakuwa gwokka. (Bar. 6:23; 8:2) Eddembe eryo nga lya kitalo nnyo! Omuntu asobola okuba n’eddembe eryo ne bw’aba ng’asibiddwa mu kkomera oba ng’ali mu buddu. (Lub. 39:20-23) Ekyo tukirabira ku ebyo bye tusoma ku Mwannyinaffe Nancy Yuen n’Ow’oluganda Harold King, bombi abaamala emyaka mingi nga basibiddwa mu kkomera olw’okukkiriza kwabwe. Osobola okulaba ebibakwatako ku ttivi yaffe eya JW Broadcasting. (Genda wansi wa INTERVIEWS AND EXPERIENCES > ENDURING TRIALS.) Naye tuyinza tutya okulaga nti eddembe lye tulina tulitwala nga lya muwendo? Era tuyinza tutya okukozesa obulungi eddembe lye tulina?
ENGERI GYE TUYINZA OKULAGA NTI TUSIIMA EDDEMBE KATONDA LYE YATUWA
6. Abayisirayiri baakiraga batya nti tebaasiima ddembe Yakuwa lye yali abawadde?
6 Bwe tukimanya nti ekirabo ekituweereddwa kya muwendo nnyo, kituleetera okusiima ennyo oyo aba akituwadde. Abayisirayiri tebaasiima ddembe Yakuwa lye yali abawadde bwe yabanunula okuva mu buddu e Misiri. Nga waakayita emyezi mitono nga bavudde e Misiri, baatandika okuyoya emmere n’eby’okunywa bye baaleka e Misiri era ne beemulugunya ku mmere Yakuwa gye yali abawa, ne batuuka n’okwagala okudda e Misiri. Kiteebereze, ‘ebyennyanja, ccukamba, wootameroni, obutungulu, ne katunguluccumu’ baabitwala nga bya muwendo okusinga eddembe ery’okusinza Katonda ow’amazima, Yakuwa lye yali abawadde. Tekyewuunyisa nti Yakuwa yabasunguwalira. (Kubal. 11:5, 6, 10; 14:3, 4) Ekyo nga kya kuyiga kya maanyi gye tuli!
7. Pawulo yakolera atya ku bigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 6:1, era tuyinza tutya okumukoppa?
7 Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo bonna okukiraga nti basiima eddembe Yakuwa lye yabawa okuyitira mu Mwana we, Yesu Kristo. (Soma 2 Abakkolinso 6:1.) Lowooza ku nnaku n’obulumi Pawulo bye yalina ng’omuntu we ow’omunda amulumiriza olw’okuwulira nti yali muddu wa kibi n’okufa. Wadde kyali kityo, yakiraga nti yali asiima Katonda, bwe yagamba nti: “Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe!” Lwaki? Yagamba Bakristaayo banne nti: “Kubanga etteeka ly’omwoyo oguwa obulamu okuyitira mu Kristo Yesu libafudde ba ddembe okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa.” (Bar. 7:24, 25; 8:2) Okufaananako Pawulo, naffe tusaanidde okukiraga nti tusiima Yakuwa olw’eddembe lye yatuwa bwe yatununula okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa. Okuyitira mu kinunulo, tusobola okuweereza Katonda nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo era nga tuli basanyufu.—Zab. 40:8.
8, 9. (a) Kulabula ki omutume Peetero kwe yawa okukwata ku ngeri y’okukozesaamu eddembe lye tulina? (b) Kusoomooza ki kwe twolekagana nakwo leero?
8 Ng’oggyeeko okukiraga nti tusiima Yakuwa olw’eddembe lye yatuwa, tulina n’okwewala okulikozesa obubi. Omutume Peetero yatukubiriza okwewala okukozesa eddembe lye tulina ng’ekyekwaso okukola ebintu ebibi. (Soma 1 Peetero 2:16.) Okulabula okwo kutujjukiza ebyo ebyatuuka ku Bayisirayiri nga bali mu ddungu. Naffe tusobola okugwa mu katego ke baagwamu. Buli lukya, Sitaani n’ensi ye batusendasenda okuyitira mu bintu ng’eby’okwambala n’okwekolako, eby’okulya n’eby’okunywa, eby’okwesanyusaamu, n’ebintu ebirala bingi. Obulango bungi bubaamu abantu abalabika obulungi abagezaako okutuleetera okulowooza nti waliwo ebintu bye twetaaga okuba nabyo, naye nga ddala tetubyetaaga. Bwe tuteegendereza tuyinza okutwalirizibwa obulango obwo, ne tukozesa bubi eddembe lye tulina.
9 Okubuulirira Peetero kwe yawa kukwata ne ku bintu ebirala ebikulu n’okusinga ebyo ebyogeddwako waggulu. Muno mwe muli ebintu omuntu by’asalawo bwe kituuka ku buyigirize oba omulimu gw’anaakola. Ng’ekyokulabirako, abaana leero bakubirizibwa nnyo okuluubirira obuyigirize obwa waggulu. Babaleetera okulowooza nti okugenda ku yunivasite kijja kubasobozesa okufuna emirimu egy’ebbeeyi era egisasula obulungi; era emirundi mingi babaleetera okulowooza ku njawulo ennene eriwo wakati w’essente abantu abamu abaagenda ku yunivasite ze bafuna n’abo abataagendayo ze bafuna. Bwe baba basalawo ku nsonga ezikwata ennyo ku bulamu bwabwe, ebintu ng’ebyo bisobola okubasikiriza ennyo. Naye kiki abaana ne bazadde baabwe kye basaanidde okukuumira mu birowoozo?
10. Kiki kye tulina okukuumira mu birowoozo nga tukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo?
10 Abantu abamu bayinza okugamba nti, okuva bwe kiri nti buli omu alina okwesalirawo ku nsonga ng’ezo, basobola okusalawo okukola kyonna kye baagala kasita kiba nti omuntu waabwe ow’omunda abakkiriza. Oboolyawo bayinza n’okujuliza ebigambo ebikwata ku mmere Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso, bwe yagamba nti: “Saagala eddembe lyange okusalirwa omusango okusinziira ku muntu ow’omunda ow’omulala.” (1 Kol. 10:29) Wadde nga tulina eddembe okwesalirawo ku buyigirize bwe tunaafuna n’omulimu gwe tunaakola, tusaanidde okukijjukira nti eddembe lyaffe liriko ekkomo era nti buli kye tusalawo kirina ekikivaamu. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo bwe yali tannayogera bigambo ebyo yasooka n’agamba nti: “Ebintu byonna bikkirizibwa, naye si byonna nti bigasa. Ebintu byonna bikkirizibwa, naye si byonna nti bizimba.” (1 Kol. 10:23) Ekyo kituyamba okukiraba nti bwe tuba tukozesa eddembe lyaffe ery’okwesalirawo, waliwo ebintu ebikulu bye tusaanidde okulowoozaako okusinga ebyo ffe bye twagala.
OKUKOZESA EDDEMBE LYE TULINA OKUWEEREZA KATONDA
11. Lwaki Yakuwa yatununula okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa?
11 Peetero bwe yali alabula Abakristaayo ku kwewala okukozesa obubi eddembe lye balina, era yalaga engeri gye basaanidde okulikozesaamu. Yabakubiriza okukozesa eddembe lye balina okuba “abaddu ba Katonda.” N’olwekyo, ensonga lwaki Yakuwa yatununula okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa okuyitira mu Yesu eri nti ayagala tumwemalireko ng’abaddu be.
12. Kyakulabirako ki ekirungi Nuuwa n’ab’omu maka ge kye baateekawo?
12 Engeri esingayo obulungi gye tusobola okwewala okukozesa obubi eddembe lye tulina, ne tutaddamu kufuuka baddu ba nsi ya Sitaani, kwe kwemalira ku bintu eby’omwoyo. (Bag. 5:16) Lowooza ku Nuuwa n’ab’omu maka ge. Baali beetooloddwa abantu abaali beenyigira mu bikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu. Wadde kyali kityo, tebaatwalirizibwa mpisa z’abantu abo. Kiki ekyabayamba? Baasalawo okwemalira ku mirimu Yakuwa gye yali abawadde, omwali okuzimba eryato, okukuŋŋaanya emmere gye bandiridde awamu n’ensolo, n’okulabula abantu. ‘Nuuwa yakola byonna nga Katonda bwe yamulagira. Yakolera ddala bw’atyo.’ (Lub. 6:22) Kiki ekyavaamu? Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonawo nga Katonda azikiriza abantu ababi.—Beb. 11:7.
13. Mulimu ki Yesu gwe yaweebwa era naye n’agukwasa abagoberezi be?
13 Mulimu ki Yakuwa gwe yatuwa? Abayigirizwa ba Yesu, twaweebwa omulimu ogw’okubuulira. (Soma Lukka 4:18, 19.) Leero abantu abasinga obungi bazibiddwa amaaso katonda w’ensi eno era bali mu buddu bw’amadiini ag’obulimba, obw’eby’obusuubuzi, n’obuddu obulala. (2 Kol. 4:4) Tusaanidde okukoppa Yesu nga tuyamba abantu okumanya Yakuwa, Katonda ow’eddembe, n’okumusinza. (Mat. 28:19, 20) Omulimu ogwo si mwangu era gulimu okusoomooza kungi. Mu nsi ezimu, abantu beeyongedde okuba nga tebakyefiirayo era bakambwe. N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Nsobola okukozesa eddembe lye nnina okwongera okuwagira omulimu gw’Obwakabaka?’
14, 15. Biki abantu ba Yakuwa bye bakoze okusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)
14 Kisanyusa nnyo okulaba nti bangi bakiraze nti bategeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu, ne bakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe ne bayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. (1 Kol. 9:19, 23) Abamu ku bo baweerereza mu bitundu byabwe, ate abalala bagenze mu bitundu ebirala awali obwetaavu obusingako. Lipoota ziraga nti mu myaka etaano egiyise ababuulizi 250,000 baatandika okuweereza nga bapayoniya, era kati omuwendo gwa bapayoniya gusukka mu 1,100,000. Bakkiriza bannaffe abo bakozesezza bulungi eddembe lye balina okuweereza Yakuwa!—Zab. 110:3.
15 Kiki ekiyambye baganda baffe ne bannyinaffe abo okukozesa obulungi eddembe lye balina? Lowooza ku John ne Judith, abaweerezzaako mu nsi eziwerako mu myaka 30 egiyise. Bagamba nti Essomero lya Bapayoniya bwe lyatandikibwawo mu 1977, ababuulizi baakubirizibwa okuba abeetegefu okugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako. Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, John agamba nti yakyusa omulimu emirundi egiwerako okusobola okusigala nga yeemalidde ku mulimu gw’okubuulira. Era ekiseera bwe kyatuuka ne bagenda okuweereza mu nsi endala, baakiraba nti okusaba Yakuwa n’okumwesiga byabayamba okuvvuunuka okusoomooza okutali kumu, gamba ng’okuyiga olulimi olupya, okumanyiira obuwangwa obupya, n’embeera y’obudde etaali nnyangu. Baakwatibwako batya? John ayogera bw’ati ku kiseera ekyo: “Nnawulira nga nneenyigira mu mulimu ogusingayo obulungi. Enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongera okunywera era nnakiraba nti ddala Yakuwa ye Kitange. Nnategeera bulungi ebigambo ebiri mu Yakobo 4:8 awagamba nti: ‘Musemberere Katonda naye anaabasemberera.’ Nnawulira nga nnali nzudde ekintu kye nnali nnoonya, nga kuno kwe kuba n’ekigendererwa mu bulamu.”
16. Abamu ku abo abatasobola kumala kiseera kiwanvu mu buweereza obw’ekiseera kyonna bakozesezza batya obulungi eddembe lyabwe?
16 Obutafaananako John ne Judith, abamu ku baweereza ba Yakuwa embeera yaabwe tebasobozesa kuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna kumala kiseera kiwanvu. Wadde kiri kityo, bangi ku bo bakozesa akakisa ke bafuna okukola nga bannakyewa mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe ebikozesebwa ekibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, ekitebe kyaffe ekikulu bwe kyali kizimbibwa mu Warwick, New York, baganda baffe ne bannyinaffe nga 27,000 beewaayo okuyambako mu mulimu gw’okuzimba, ng’abamu baamalayo wiiki bbiri, abalala mwaka gumu, ate abalala baamalayo ekiseera kiwanvuko. Bangi ku bo beefiiriza ebintu bingi okusobola okuyambako mu kuzimba. Mu butuufu bakkiriza bannaffe abo baakozesa bulungi eddembe lye balina okutendereza Yakuwa, Katonda ow’eddembe, n’okumuweesa ekitiibwa!
17. Nkizo ki ey’ekitalo abo abakozesa obulungi eddembe lyabwe gye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso?
17 Nga tulina enkizo ya kitalo okuba nti tumanyi Yakuwa n’okuba nti tulina eddembe eriva mu kusinza Katonda mu ngeri entuufu. N’olwekyo, ka tukirage mu bye tusalawo okukola nti eddembe eryo tulitwala nga lya muwendo. Mu kifo ky’okukozesa obubi eddembe lye tulina, ka tulikozese okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kufuna emikisa Yakuwa gye yasuubiza egijja okubaawo ng’ebigambo bino bituukiridde: “[Ebitonde] bijja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.”—Bar. 8:21.