Kirage nti Osiima ‘Ekirabo kya Katonda Ekitalojjeka’
“Katonda yeebazibwe olw’ekirabo kye ekitalojjeka.”—2 KOL. 9:15.
1, 2. (a) ‘Ekirabo kya Katonda ekitalojjeka’ kizingiramu ki? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
YAKUWA bwe yatuma Omwana we ku nsi, yawa abantu ekirabo ekisingayo okulaga nti abaagala nnyo! (Yok. 3:16; 1 Yok. 4:9, 10) Ekirabo ekyo omutume Pawulo yakiyita ‘ekirabo kya Katonda ekitalojjeka.’ (2 Kol. 9:15) Lwaki yakiyita bw’atyo?
2 Pawulo yali akimanyi nti okuyitira mu ssaddaaka ya Kristo, ebisuubizo bya Katonda byonna byandibadde bituukirira. (Soma 2 Abakkolinso 1:20.) N’olwekyo, ‘ekirabo ekyo ekitalojjeka’ kyandibadde kizingiramu ebintu ebirungi byonna Katonda bye yandikoledde abantu n’okwagala kwe yandibalaze okuyitira mu Yesu. Mu butuufu, ekirabo ekyo kya muwendo nnyo ne kiba nti tewali bigambo bantu bye basobola kukozesa kukinnyonnyola. Eky’okuba nti Katonda yatuwa ekirabo ekyo kyanditukutteko kitya? Era ekyo kyanditukubirizza kukola ki nga tweteekerateekera omukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu ogujja okubaawo ku Lwokusatu nga Maaki 23, 2016?
KATONDA YATUWA EKIRABO EKY’OMUWENDO ENNYO
3, 4. (a) Owulira otya ng’oweereddwa ekirabo? (b) Ekirabo eky’omuwendo ennyo kiyinza kitya okukyusa obulamu bwo?
3 Bw’oweebwa ekirabo, tewali kubuusabuusa nti osanyuka nnyo. Kyokka ebirabo ebimu biba bya muwendo nnyo ne kiba nti bireetawo enkyukakyuka mu bulamu bw’omuntu. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’osaliddwa ogw’okufa olw’omusango gwe wazza. Oba okyali awo ng’omuntu gw’otomanyi yeesowolayo n’asaba nti ekibonerezo kye bakusalidde bakiwe ye. Mu butuufu, omuntu oyo mwetegefu okuttibwa, ggwe osigale ng’oli mulamu! Ekyo kyandikukutteko kitya?
4 Kya lwatu nti ekikolwa ng’ekyo eky’okwagala kyandikukubirizza okulowooza ennyo ku ngeri gye weeyisaamu era n’obaako enkyukakyuka z’okola. Era ekyo kyandikuleetedde okwongera okulaga abalala okwagala era n’okusonyiwa abo bonna abaliko kye baakusobya. Okuva olwo, wandikiraze nti osiima ekyo omuntu oyo kye yakukolera.
5. Lwaki ssaddaaka ya Yesu kye kirabo ekisinga ebirabo byonna?
5 Kyokka ekirabo Katonda kye yatuwa okuyitira mu Kristo kya muwendo nnyo n’okusinga ekyo ekyogeddwako mu kyokulabirako waggulu. (1 Peet. 3:18) Lwaki? Olw’okuba twasikira ekibi, ffenna twasalirwa ogw’okufa. (Bar. 5:12) Naye olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, yasindika Yesu okujja ku nsi “asobole okulega ku kufa ku lwa buli muntu.” (Beb. 2:9) Era okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, Yakuwa ajja kumalirawo ddala okufa. (Is. 25:7, 8; 1 Kol. 15:22, 26) Abo bonna abakkiririza mu Yesu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo era bajja kunyumirwa obulamu ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Ate abaafukibwako amafuta bajja kufugira wamu ne Yesu mu ggulu. (Bar. 6:23; Kub. 5:9, 10) Mikisa ki emirala gye tufuna okuyitira mu kirabo Katonda kye yawa abantu?
6. (a) Mikisa ki gye weesunga gye tujja okufuna okuyitira mu kirabo Katonda kye yatuwa? (b) Ekirabo Katonda kye yatuwa kyanditukubirizza kukola bintu ki ebisatu?
6 ‘Ekirabo kya Katonda ekitalojjeka’ kijja kusobozesa abantu okuwonyezebwa endwadde zonna, kijja kusobozesa ensi okufuulibwa olusuku lwa Katonda, n’abafu okuzuukira. (Is. 33:24; 35:5, 6; Yok. 5:28, 29) Mu butuufu, tusiima nnyo Yakuwa n’Omwana we olw’okutuwa ekirabo ekyo. Naye ekyebuuzibwa kiri nti, Okwagala Katonda kwe yatulaga kwanditukubirizza kukola ki? Ka tulabe engeri okwagala Katonda kwe yatulaga gye kwanditukubirizza (1) okukoppa Yesu, (2) okulaga bakkiriza bannaffe okwagala, ne (3) okusonyiwa abalala.
“OKWAGALA KWA KRISTO KUTUSINDIIKIRIZA”
7, 8. Okwagala Kristo kwe yatulaga kwanditukubirizza kukola ki?
7 Okusookera ddala, okwagala okwo kwanditukubirizza okweyisa mu ngeri eweesa Yesu ekitiibwa. Omutume Pawulo yagamba nti: “Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza.” (Soma 2 Abakkolinso 5:14, 15.) Pawulo yali akimanyi nti bwe tuba nga tusiima okwagala Kristo kwe yatulaga kijja kutukubiriza okumwagala n’okumuwa ekitiibwa. Bwe tutegeera ekyo Yakuwa kye yatukolera, okwagala kwe yatulaga kujja kutukubiriza okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri esanyusa Kristo. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
8 Abo abaagala Yakuwa bafuba okukoppa Kristo nga batambulira mu bigere bye. (1 Peet. 2:21; 1 Yok. 2:6) Tukiraga nti twagala Katonda ne Kristo nga tuba bawulize. Yesu yagamba nti: “Oyo akkiriza ebiragiro byange era abikwata, anjagala. Era oyo anjagala Kitange ajja kumwagala, nange nja kumwagala era nneeyoleke gy’ali.”—Yok. 14:21; 1 Yok. 5:3.
9. Kupikirizibwa ki kwe twolekagana nakwo?
9 Mu kiseera ky’Ekijjukizo tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe. Weebuuze: ‘Nkiraze ntya nti nkoppa Yesu? Wa we nneetaaga okwongera okutereeza?’ Kikulu okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kubanga buli kiseera tupikirizibwa okugoberera emitindo gy’ensi ya Sitaani. (Bar. 12:2) Bwe tutaba beegendereza, tuyinza okwesanga nga tufuuse bagoberezi b’abantu abatwalibwa okuba abagezi mu nsi oba abantu abatutumufu. (Bak. 2:8; 1 Yok. 2:15-17) Kiki ekiyinza okutuyamba obutatwalirizibwa nsi ya Sitaani?
10. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza mu kiseera kino eky’Ekijjukizo, era eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo byanditukubirizza kukola ki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 12.)
10 Mu kiseera ky’Ekijjukizo kiba kirungi okutunula mu bintu byaffe, gamba ng’engoye zaffe, firimu n’ennyimba ze tulina, ebintu ebiri ku kompyuta zaffe, ku ssimu zaffe, ne ku bukompyuta bwaffe obw’omu ngalo. Bw’oba ng’otunula mu ngoye zo, weebuuze nti: ‘Singa mbadde ŋŋenda mu kifo Yesu gy’agenda okubeera, nnandiwulidde bulungi nga nnyambadde olugoye luno?’ (Soma 1 Timoseewo 2:9, 10.) ‘Bwe ndwambala, ddala abalala bakiraba nti ndi mugoberezi wa Yesu Kristo?’ Ate bwe kituuka ku firimu oba ennyimba ze tulina, tusobola okwebuuza nti: ‘Yesu yandisanyuse okulaba firimu zino oba okuwuliriza ennyimba zino? Nnandiwulidde nga nswadde ng’alabye ebyo ebiri ku ssimu yange oba ku kompyuta yange?’ Ate bwe kituuka ku mizannyo egiri ku kompyuta yo, weebuuze: ‘Kyandibeeredde kizibu okunnyonnyola Yesu ensonga lwaki nnyumirwa okuzannya emizannyo gino?’ Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kujja kutukubiriza okweggyako ekintu kyonna omugoberezi wa Kristo ky’atasaanidde kuba nakyo, ka kibe nti ekyo kizingiramu okwefiiriza okw’amaanyi. (Bik. 19:19, 20) Bwe twali twewaayo eri Yakuwa, twamusuubiza nti tugenda kulekera awo okuba abalamu ku lwaffe wabula ku lwa Kristo. N’olwekyo, tusaanidde okweggyako ekintu kyonna ekiyinza okutulemesa okutambulira mu bigere bya Yesu.—Mat. 5:29, 30; Baf. 4:8.
11. (a) Okwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga kwanditukubirizza kukola ki? (b) Okwagala kuyinza kutya okutukubiriza okuyamba abalala mu kibiina?
11 Okwagala kwe tulina eri Yesu era kujja kutukubiriza okukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20; Luk. 4:43) Mu kiseera ky’Ekijjukizo, tujja kuba n’akakisa okuweereza nga bapayoniya abawagizi nga tuwaayo essaawa 30 oba 50. Osobola okukola enteekateeka okukola nga payoniya omuwagizi? Ow’oluganda omu ow’emyaka 84 yali awulira nti tasobola kuweereza nga payoniya omuwagizi olw’emyaka gye n’olw’okuba nti alwalalwala. Wadde kyali kityo, bapayoniya abatali bamu baamuyamba. Baamufunira entambula era ne balonda ekitundu ekimwanguyira okubuuliramu, kimuyambe okuweza essaawa 30. Naawe waliwo omuntu mu kibiina kyammwe gw’oyinza okuyamba n’asobola okuweereza nga payoniya omuwagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo? Kya lwatu nti ffenna tetusobola kuweereza nga bapayoniya abawagizi. Wadde kiri kityo, tusobola okwongera ku biseera bye tumala nga tubuulira. Bwe tukola bwe tutyo, okufaananako Pawulo, naffe tuba tulaga nti tusiima Kristo olw’okwagala kwe yatulaga. Kiki ekirala kye tuyinza okukola okulaga nti tusiima okwagala Katonda kwe yatulaga?
TUGWANIDDE OKWAGALANA
12. Okwagala Katonda kwe yatulaga kutukubiriza kukola ki?
12 Eky’okubiri, okwagala Katonda kwe yatulaga kusaanidde okutukubiriza okwagala bakkiriza bannaffe. Omutume Yokaana yagamba nti: “Abaagalwa, bwe kiba nti bw’atyo Katonda bwe yatwagala naffe tugwanidde okwagalana.” (1 Yok. 4:7-11) N’olwekyo, tukiraga nti tusiima Yakuwa olw’okwagala kwe yatulaga nga tulaga bakkiriza bannaffe okwagala. (1 Yok. 3:16) Tuyinza tutya okulaga bakkiriza bannaffe okwagala?
13. Kyakulabirako ki Yesu kye yassaawo mu kwoleka okwagala eri abalala?
13 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Bwe yali ku nsi, yafangayo nnyo ku bantu, naddala abo abaali batwalibwa okuba aba wansi. Yayambanga abantu abaaliko obulemu, kwe kugamba, abalema, bamuzibe, bakiggala, n’abatoogera. (Mat. 11:4, 5) Yayagalanga nnyo okuyigiriza abantu abaali baagala okuyiga ebikwata ku Katonda, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya be baali batwala okuba ‘abaakolimirwa.’ (Yok. 7:49) Yesu yayagalanga nnyo abantu abeetoowaze era yafubanga okubayamba.—Mat. 20:28.
14. Kiki ky’oyinza okukola okulaga bakkiriza banno okwagala?
14 Ekiseera ky’Ekijjukizo kituwa akakisa okulowooza ku baganda baffe ne bannyinaffe abali mu bibiina byaffe. Bwe tubalowoozaako, kisobola okutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okubalagamu okwagala. Oboolyawo waliwo bakkiriza bannaffe abakaddiye abeetaaga okuyambibwa. Onoofuba okubakyalirako? Onoosobola okubatwalirayo eky’okulya, okubayambako ku mirimu gy’awaka, okubatwalako mu nkuŋŋaana, oba okubuulirako awamu nabo? (Soma Lukka 14:12-14.) Okwagala Katonda kwe yatulaga kusaanidde okutukubiriza okwagala bakkiriza bannaffe.
SONYIWA BAKKIRIZA BANNO
15. Kiki kye tusaanidde okujjukira?
15 Eky’okusatu, okwagala Yakuwa kwe yatulaga kusaanidde okutukubiriza okusonyiwa bakkiriza bannaffe. Ffenna twasikira ekibi n’okufa okuva ku Adamu. Tewali n’omu ku ffe asobola kugamba nti, “Nze ekinunulo sikyetaaga.” N’abaweereza ba Katonda abeesigwa ennyo nabo beetaaga ekinunulo. Buli omu ku ffe asaanidde okukijjukira nti Yakuwa yatusonyiwa ebbanja eddene ennyo. Lwaki tusaanidde okukijjukira? Eky’okuddamu kisangibwa mu lumu ku ngero Yesu ze yagera.
16, 17. (a) Olugero lwa Yesu olukwata ku kabaka n’abaddu lutuyigiriza ki? (b) Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku lugero lwa Yesu, kiki ky’omaliridde okukola?
16 Yesu yagera olugero olukwata ku kabaka eyasonyiwa omuddu we ebbanja eddene ennyo erya ttalanta 10,000, nga zino ze ddinaali 60,000,000. Kyokka, omuddu oyo gwe baasonyiwa ebbanja eddene teyali mwetegefu kusonyiwa muddu munne gwe yali abanja ddinaali 100 zokka. Ekyo kabaka bwe yakitegeera, yanyiiga nnyo era n’agamba omuddu oyo nti: “‘Muddu ggwe omubi, nnakusonyiwa ebbanja lyo lyonna bwe wanneegayirira. Naawe togwanidde kusaasira muddu munno nga nange bwe nnakusaasira?” (Mat. 18:23-35) Ekisa ekingi kabaka kye yalaga omuddu oyo kyandimukubirizza naye okusonyiwa muddu munne. Ekisa n’okwagala Katonda by’atulaze byanditukubirizza kukola ki?
17 Ekiseera ky’Ekijjukizo kituwa akakisa okulaba obanga waliwo mukkiriza munnaffe yenna gwe twasibira ekiruyi. Bwe kiba kityo, nga kiba kirungi okukoppa Yakuwa, ‘omwetegefu okusonyiwa!’ (Nek. 9:17; Zab. 86:5) Bwe tuba nga ddala tusiima ekisa Yakuwa kye yatulaga n’atusonyiwa ebbanja eddene ennyo, tujja kusonyiwa baganda baffe okuviira ddala ku mutima. Yakuwa tasobola kutwagala era tasobola kutusonyiwa okuggyako nga naffe twagala bakkiriza bannaffe era nga tubasonyiwa. (Mat. 6:14, 15) Wadde ng’okusonyiwa abalala kiyinza obutaggyawo ekyo kye baatukola, kituyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.
18. Okwagala Katonda kwe yalaga abantu kwayamba kutya mwannyinaffe omu okugumiikiriza obunafu bwa mukkiriza munne?
18 Oluusi tekiba kyangu kugumiikiriza bunafu bwa bakkiriza bannaffe. (Soma Abakkolosaayi 3:13, 14; Abeefeso 4:32.) Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Lily ali obwannamunigina, aliko mwannyinaffe omu nnamwandu ayitibwa Carol[1] gwe yayambanga. Lily yayambangako Carol mu by’entambula, yamuyambangako okugula ebintu, era yamukoleranga n’ebintu ebirala bingi. Wadde nga Lily yakolera Carol ebintu ebirungi bingi, Carol yeemulugunyanga nnyo era teyali mwangu kukolagana naye. Wadde kyali kityo, Lily essira yalissa ku ngeri za Carol ennungi. Yeeyongera okumuyamba okumala emyaka okutuusa Carol lwe yafa. Lily agamba nti: “Wadde kyali kityo, nneesunga nnyo okuddamu okulaba Carol ng’azuukidde. Nnandyagadde okumulaba ng’atuukiridde.” Okwagala Katonda kwe yatulaga kusaanidde okutukubiriza okugumiikiriza obunafu bwa bakkiriza bannaffe okutuusa ekiseera abantu bonna lwe baliba nga batuukiridde.
19. ‘Ekirabo kya Katonda ekitalojjeka’ kyandikukubirizza kukola ki?
19 Mu butuufu, Yakuwa yatuwa ‘ekirabo ekitalojjeka.’ Ekirabo ekyo tusaanidde okukitwala nga kya muwendo nnyo. N’olwekyo, naddala mu kiseera kino eky’Ekijjukizo, ka tufumiitirize ku kwagala okungi Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga. Era okwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga ka bulijjo kutukubirize okukoppa Yesu, okulaga bakkiriza bannaffe okwagala, n’okubasonyiwa okuviira ddala ku mutima.
^ [1] (akatundu 18) amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.