Okyajjukira?
Onyumiddwa okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
• Ddi abasajja abalaguza emmunnyeenye lwe baakyalira Yesu?
Ekitabo ekimu ekyogera ku Baibuli kigamba nti: “Abamagi tebaakyalira Yesu ng’ali mu kiraalo ekiro kyennyini lwe yazaalibwa nga abasumba bwe baakola. Baamukyalira wayiseewo emyezi.” Mu kiseera ekyo Yesu yali “mwana” muto era baamusanga mu nnyumba. (Mat. 2:7-11) Singa Yesu yali aweereddwa zaabu n’ebintu ebirala eby’omuwendo mu kiro ekyo nga yaakazaalibwa, Malyamu yandiwaddeyo binyonyi bibiri byokka mu yeekaalu oluvannyuma lw’ennaku 40?—1/1, olupapula 31.
• Kiki bangi kye bayinza okukola okwongera obulamu bwabwe okuba obw’amakulu?
Omuntu ayinza okwebuuza, ‘Nsobola okukyusa mu mbeera y’obulamu bwange ne neggyako ebintu ebimmalako ebiseera?’ Amy bw’atyo bwe yakola. Yali mugagga naye nga si musanyufu. Yakizuula nti okubeera n’omulimu omulungi mu nsi eno kumpi kyali kimukyamizza okuva mu kukkiriza. Bw’atyo yasalawo okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwe era yasobola okuweereza nga payoniya okumala ekiseera. Amy agamba, “Mpulira ndi mumativu nnyo kati okusinga bwe nnali” ng’ebiseera ebisinga bigenda ku mulimu.—1/15, olupapula 19.
• Kiki ekiyinza okuyamba bamaama abamu okufuna essanyu?
Bamaama bangi bakola. Abamu bakola kuyimirizaawo ba mu maka gaabwe, ate abalala bakola kufuna ssente zaabwe ku bwabwe, oba kwetuusaako buli kye baagala. Eriyo n’abo abaagala obwagazi okukola. Bamaama Abakristaayo balina omulimu mukulu nnyo awaka—naddala ng’omwana akyali muto. Abamu basazeewo okukola emirimu egitali gya kiseera kyonna, oba baleseeyo okukola, basobole okulabirira amaka gaabwe era kino kibaleetedde essanyu lingi.—4/1, olupapula 26-29.
• “Omulembe” Yesu gwe yayogerako mu Matayo 24:34 (NW) be baani?
Yesu yateranga okukozesa ekigambo “omulembe” ng’ayogera ku bantu ababi oba ng’ayogera nabo. Naye si bwe kyali ku mulundi guno ng’ayogera n’abayigirizwa be, abaali banaatera okufukibwako omwoyo omutukuvu. Be baali basobola okutegeera obulungi amakulu g’ebigambo ebiri mu Matayo 24:32, 33. N’olwekyo, kirabika Yesu yali ayogera ku bayigirizwa be abaafukibwako amafuta, mu kyasa ekyasooka era n’abo abandibaddewo mu kiseera kyaffe kino.—2/15, olupapula 23-4.
• Mu ngeri ki Amateeka gye gaali omutwazi, nga Abaggalatiya 3:24 bwe wagamba?
Omutwazi yateranga kuba muddu mwesigwa, eyakuumanga omwana okulaba nti tatuukibwako kabi, era nti alabirirwa nga kitaawe bw’ayagala. Mu ngeri y’emu, Amateeka gaali gakuuma Abayudaaya obuteenyigira mu bikolwa bibi, ng’okufumbiriganwa n’abakaafiiri. Naye, ng’omulimu gw’omutwazi bwe gwatukanga ekiseera ne gukoma, n’Amateeka gaali ga kukoma nga Kristo azze.—4/1, olupapula 18-21.
• Engeri ezoogerwako mu Yakobo 3:17 ze tulina okwoleka ze ziruwa?
Okusobola okuba abalongoofu, tulina okwesamba ebintu ebibi amangu ddala. (Lub. 39:7-9) Era tusaanidde okuba ab’emirembe, nga twewala okukola ebintu ebiyinza okutabangula emirembe. N’olwekyo kiba kya magezi buli omu ku ffe okwebuuza nti: ‘Mmanyiddwa ng’omuntu aleeta emirembe oba ng’agitabangula? Ntera okufuna obutakkaanya n’abalala? Nnyiiga mangu, oba nkola nnyo ebinyiiza abalala? Nnyanguwa okusonyiwa era nneewala okukakaatika endowooza zange ku balala?’—3/15, olupapula 24-5.
• Lwaki amaaso g’omusajja muzibe Yesu yagenda agazibula mpolampola? (Mak. 8:22-26)
Baibuli tetubuulira nsonga. Naye Yesu ayinza okuba nga yakola bw’atyo omusajja oyo asobole okumanyiira empola okulaba. Mu ngeri eyo, Yesu yalaga omusajja oyo muzibe okwagala.—4/1, olupapula 30.